Wasigadde kawugiro awatikkirirwa Kabaka

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Mirembe mirembe 7 years, 2 months ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #17780
    Mirembe
    mirembe
    Participant

    ]Bya Angel Lubowa
    MMENGO n’abavunaanyizibwa ku by’obuwangwa n’ennono mu Buganda beeraliikirivu olw’engeri ettaka ly’ebifo by’ennono mu Buganda gye lisaanawo ng’abakikola bayita mu kulyesenzaako so nga mu bitundu ebirala abagagga balisibirako ddala envumbo.

    Kino we kinokoleddwaayo, nga wiiki ewedde ensonga z’ettaka lya Mujaguzo e Kabowa zituuse wa RCC w’e Lubaga, Zaina Muwonge eyayimirizza omugagga Moses Mayengo okugenda mu maaso n’okusengulako abantu
    ng’agamba ettaka yaligula.

    Ekifo kino we bakolerako Kabaka emikolo n’okukuumirwa eng’oma z’Obwakabaka. Ekifo ekirala ekitunuuliddwa ng’ekisaanyizibwawo ye Naggalabi –Buddo.

    Eno ettaka litandise okulyebulwamu obupoloti ne litundibwa mu ngeri etategeerekeka. Abamanyi Naggalabi bagamba nti bwe wataabeerewo kikolebwa mu bwangu akasozi konna okukolerwa emikolo gy’okutuuza Omulangira alya Nnamulondo katuuse okumaamirwako konna abasenze ekiyinza okuleka ng’ekifo kino kisaanyewo.

    “Tutidde olw’engeri abantu gye bagulaagulamu poloti n’ebibanja mu kifo kino kubanga kyongera okufunzibwa era gye bujja Naggalabi yenna ajja kubeera amaamiddwa abasenze,” bwatyo omu ku bataka Henry Kavuma atuula okumpi n’olusozi bwe yategeezezza.

    Kyokka ssentebe wa LC1, Eddy Ssegane yategeezezza nti wadde abantu bongedde okusenga ku Naggalabi abadde tannalabawo mbeera etiisa kubanga abasinga baana nzaalwa ab’oku Naggalabi ng’ebibanja oba poloti bibaweebwa bakadde baabwe.

    “Abasinga kuno baana abazimbye ku bibanja bya ba kitaabwe kubanga nabo babaddeko n’ebibanja yadde nga bakimanyi nti ettaka lya Buganda era bano toyinza kubagaana kukola byabwe,” bwatyo Ssegane bwe yategeezezza.

    Omutaka John Baptist Ssemanobe asumikira abalangira abagenda okulya Nnamulondo era omu ku batunuuliddwa ku kukuuma ettaka ly’e Naggalabi yagambye nti alowooza nti abantu bonna abafunye poloti oba ebibanja ku Naggalabi, Mmengo eteekwa okuba ng’ebamanyi.

    Yagasseeko nti wabula amaze ebbanga nga talambula lusozi lwonna olw’obukosefukosefu bw’alina. Omutaka omulala Paul Sserwanja yategeezezza nti ekikyayambye lwakuba ebifo byennyini eby’ensonga naddala Nakibuuka, Buganda, Mboneredde n’ebirala bikyalina embuga zaabyo nti naye bwe wabateeberewo kikolebwa mu bwangu nabyo bikyayinza okusengebwako abantu abatafaayo ku makulu gaabyo.

    Waliwo abatuuze abategeezezza nti ekyabantu okusenga ku Naggalabi tebakitutte bubi kubanga ne Kabaka awulirwa ng’awa abantu amagezi okudda mu byalo by’ewaabwe bakulaakulanyeyo nti mu mutima guno
    n’abazaalwa ku Naggalabi bakomyewo okumusenga akule.

    Kyokka avunaanyizibwa ku ttaka ly’ebifo eby’obuwangwa n’ennono e Mmengo, Hajji Mohamed Ssekimpi yalabudde nti tewali muntu akkirizibwa kumala gatunda kibanja, poloti oba okusenga ku ttaka ery’engeri eno.

    Yagambye nti aludde ng’awulira ebyogerwa ku ttaka lya Naggalabi ng’era alina entegeka okukwatagana n’abakulu e Mmengo bagende balambule Naggalabi n’okulaba engeri gy’alimu kiseera kino.

    Yagaseeko nti bwekinaabeera kyetaagisizza agenda kukwatagana n’ab’e Mmengo ebifo bino ebyobuwangwa n’ennono naddala e Naggalabi bizimbibweko bbuggwe okubitangalira abasenze abayinza okuzimba n’okutunda embuga zaabyo.

    Ebifo ebirala ettaka lyabyo okusengeddwa n’okubaako enkaayana kuliko n’ery’amasiro ga Kanyage e Kanyange okuzimbiddwa ne kalina kyokka ng’eno gye buvuddeko akulira ekitongole ky’ebyettaka e Mmengo, ekya Buganda Land Board, Kyewalabye Male yategeeza nti ensonga ezo zo baali bazirondoola.

    Kigambibwa bannakigwanyizi be beenyigira mu kutunda ettaka lino n’erimu okulisibako envumbo.:evil: 👿 bukedde

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.