WHATS LOVE or OKWAGALA KYEKKI ANI YALI AYAGADDEKO

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Emboozi Ezenjawulo / General Discussions WHATS LOVE or OKWAGALA KYEKKI ANI YALI AYAGADDEKO

  • This topic has 4 voices and 5 replies.
Viewing 6 posts - 1 through 6 (of 6 total)
  • Author
    Posts
  • #18606
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    O kwagala kwekutandika okulowooza kubyekifuusa byoyinza okukola munno aberewo mukiseera newatasoborera , kwekutunula akalyolyongo ngolowooza ebirungi byayinza okukolako oba gwe omumukolako , kwekuloota okumukwaasa eggulu nebweriba lizitowa litya ate naye nomusubira okuliwanirira , ngomulowooza okuba kirimanyi namige. love_is_power_to_destroy_1796.jpg

    #24997
    MachatiMachati
    Participant

    Putting someone and their needs above your own.

    #25002
    MulongoMulongo
    Participant

    a) a profound tender and a passionate affection for another person.
    b) a feeling of warm personal attachment or deep affection as for parents, children or friend.
    c) an affectionate concern for the well-being of others/patriotism.
    d) an enthousiasm for object and things: I love apples, I love playing football etc..
    e) sexual passion or desire of one person for another.

    Also check out the etymology of love.
    http://www.etymonline.com/index.php?term=love

    #27654
    Mirembemirembe
    Participant
    Quote:
    Bya Robert Mutebi

    ENTEEKATEEKA z’embaga y’omuyimbi Sherry Matovu (Sharifa Namatovu) n’omukubi w’obulango Thadious Katumba ziguddemu nnabe abazadde bwe beekiise mu mbaga yaabwe nga buli ludda lukalambidde lwa ddiini.

    Namatovu eyayimba ennyimba okuli Nsiimye Ggwe, Onkakasizza, Love Genero n’endala yasooka kwanjula bba Katumba mu bakadde be nga January 24, 2010 era omuko n’asuubiza nga bwe bajja okugattibwa ku ntandikwa ya 2011.

    Wiiki eyaddirira okwanjula, Katumba yeeyama nga bw’aja okusiramuka era n’atoola ne ‘Shahadah’ ne bamuwa n’erinnya lya Ashraf.

    Ekikolwa kino bazadde be tebaakisanyukidde. Wadde erinnya yafuna erya Asraf, Katumba agamba nti tannakyuka. Balina omwana omu omuwala era naye aliko enkalu ku linnya ly’eddiini ng’alina ery’Ekisiraamu n’eryEkikristaayo. Obuzibu bwe batubiddemu babwogerako bati:

    Sharifa Namatovu (Sherry Matovu)
    Katumba yasooka kubeera maneja wange ng’atumbula kitone kyange eky’okuyimba. Twatandika okwagalana okukkakkana nga mmwanjudde.

    Omukwano gwaffe gufunye okusoomozebwa bannatabula bwe baawozanga nti tetuggya kumalako era si gwa kuwangaala.

    Kino kimpisizza bubi ne nkuba oluyimba lwa Nattabula era olwaggwa bwe luti ne mmwanjula mu bakadde. Kuno nagattako okumuzaalira omwana nsobole okusirisa aboogezi.

    Wadde tuli mu mukwano enkonge gye tulina y’eddiini kubanga nze ndi Musiraamu ate ye Mukristaayo ekiremesezza embaga yaffe.

    Katumba akoze bingi okunkakasa nti ddala anjagala era bwe baamugamba nti kizibu okwanjula ewaffe nga tasoose kusiramuka yakkiriza ne mmutwala mu Bamaseeka n’atoola Shahadah (okukkiriza kusiramuka) ne bamuwa n’erinnya lya Ashraf wadde nga tebaamusiramulirawo anti yasaba bamugumiikirize akituukirize nga tugenda kugattibwa.

    Mu maaso ga bakadde bange
    yakkiriza nga bwe bajja okutugattira e Kibuli mu Muzigiti era mmanyi nti bino byonna yabikola lwa mukwano.

    Bino yabikola lwa mukwano naye kirabika tekyasanyusa ba ludda lwe. Omuwaatwa omunene gwaggyawo naye nze ne ng’uma kuba twagalana.

    Bingi bye ndowooza bwe tudda ku bintu by’eddiini kyokka ne mbulwa annyamba okubiddamu. Ekisooka okuva mu kwanjula simulabangako nga yeeyita Ashraf wadde okubaako ky’akola ekiraga nti yasiramuka. Ngezezzaako nnyo okulaba nga tugenda mu muzigiti naye buli kiseera omukulu abeera ‘bbize’.

    Sirina mulimu gwe nkola kubanga omwami tayagala nkole era amperekera ne mu kuyimba kyokka wadde byonna mbigumidde ekintu ky’embaga yange kinsuza ntunula. Saagala kusubwa mukwano gwe mmaze emyaka esatu nga njiirwa olw’eddiini.

    Embeera eriwo eringa eraga nti eby’embaga yaffe byandigwa obutaka kuba nage kizibu okukyuka. Omwana waffe simanyi linnya lyakumuwa kubanga kitaawe ayagala abatizibwe era ayitibwe lya kikristaayo.

    Thadious Katumba:
    Ekituufu kiri nti bw’oba oyagala omuntu osobola okukola buli kintu nga bw’aba akikusabye okukuuma omukwano gwammwe.

    Kituufu munnange bwe yantegeeza ku ky’okukyuka nakkiriza nga sirina na gwe nneebuuzizzaako kyokka ate abantu bange bwe baamanya ku nteekateeka zange ne gujabagira anti abazadde tebaakisanyukira.

    Mu mazima eky’okukola kimbuze kubanga mukyala wange mwagala era yanyanjula bulungi mu bakadde be ne tulagaana okukola embaga naye bwe ntunula mu bintu ebimu nkiraba ng’alidde mu nsi yange olukwe. Wali olabyeko obulamu omuntu mw’akolera ekika ekikye n’atandika obulamu obuggya nga talina muntu we yenna!

    Ekikulu kyandibadde kugenda mu bufumbo bwa kitala naye abavubuka ab’emyaka gyaffe okukugattira mu kasenge akabeeramu abantu abatono nakyo tekirya ‘sho’. Sikirowoozangako nti nsobola okwawukana ne Sherry kuba tuvudde wala mu bintu bingi.

    Omwana waffe eyanditugasse naye ate alabika alanga birala kubanga ndowooza ku bulamu bwe obw’omu maaso omuli okumubatiza n’okumutuuma amannya agatambula n’eddiini mwenkulidde. Ekirala tewali kizibu nga kukyusa ddiini ng’okuze ssaako okunyiiza bazadde bo.

    Published on: Saturday, 28th May, 2011

    #27656
    MachatiMachati
    Participant

    Muli Baganda, mufumbiriganwe mu buwangwa nga bwemwetegeka
    .

    #27660
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Kyannaku nnyo nti abatuletera amadiini okwabuluzaamu obuganda bo baddayo kuzaabwe nebasigala mu katu kyokka bebaziretera bo nebasigala nga nakati bakyeyawula , kyokka wewuunye bwooba ogenda munsi za bawalabu ngooli mu kristaayo bible togiyingiza naye bo ensi ezitanyweeza buwangwa bwaazo namateeka gaazo bo bayingira kyeere .

    Mutebereze batusanga nobulombolombo bwaffe era nga tuli muddembe munjawukana zebika byaffe nga twegatta bulungi tewali asukkuluma kumunne ,naye kati nabenju emu eyulikayulika nga buli omu alonze diini ndala .Banange Abaganda mukulembeze gwanga lyammwe nabuwangwa bwammwe, bo abazungu bwebakola ewaabwe kubaabwe nandibadde bwebatuuka kubantu abalala bebakajiiko nattabula naye ebintu bikyuuse luli ababadde bakyekwasiza mbu fenna tuli baganauganda kati tambula munsi olabe ababonabona tebagala nnyo kwesembereza bababonya bonya kuba era abakutte emiggo bo balaba nti kyebakola okutulugunya abatali bantu baabwe kituufu ,
    Kati awo mulinga abatalaba nti obuganda bugwaawo ate okweyongera okwesalira mumadiini nga baganda batutta batumalawo , wemunakitegeerera nti mulina kukulembeza gwanga nabuwangwa bwammwe nge biseera bibayiseeko
    Bassekabaka baffe bagezaako okukunga abantu baabwe bakwaate ediini emu naye nga basigadde bumu naye bo abaleeta amadiini nga sibyebaliko era okumaliriza nga ba Ssekabaka baffe bonna babasse , naye era tetunazibuka maaso ,
    MUNAZAAWO MUTYA OBUGANDA NGA MUKYAALI MUKWEYAWULA?

Viewing 6 posts - 1 through 6 (of 6 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.