Why Does He Find Pleasure In Hurting Me?

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Ebyokumawanga / Diaspora Data Why Does He Find Pleasure In Hurting Me?

  • This topic has 8 voices and 12 replies.
Viewing 13 posts - 1 through 13 (of 13 total)
  • Author
    Posts
  • #18832
    MulongoMulongo
    Participant

    One of my very good friends is buffled over why her lover finds pleasure in hurting her. He doesn’t batter or give any such physical pain, but she complains that he says and does things that she feels are cultulated to make her feel unhappy inside. I suppose that’s the way love is, and I said so. She thinks he’s trying to convey a message, like that he’s calling it quits with her. I don’t have a clue. Pray help out with a comment or something if you know about these things.

    #21246
    KulabakoKulabako
    Participant

    Eno love ewulikika nge yabeeru naye bwebaba bombi banda ya Nakalaama nze amagezi gembawa buli omu asooke agonjoole ekimutawaanya ku side ye noluvannyuma begatte okusobola okutambulira awamu ekitali ekyo bwebuba obuzibu buli ludda lumu , kyokka nga nazibuwalizibwa ali overwhelmed tasobola kweyagalira mu mukwaano guliwo wakati waabwe.

    Kuba aba nga eyetaaya ate ebizibu bye nebyekiika mukkubo lyaabwe, osanga ayagala munne ategeere ekimusibye naye nga tamanyi bwakimugamba nasalawo okukola ate e bimulumyaamu oluusi mubutali bugenderevu naye nga yengeri yokka gyalaba eyokweewaamu akadde , mungeri yokumusindika eri kyokka ngaate amunywezezza , ebye mikwaano bizibu naye nze wano ndabawo okusooka , mukwaano gwo okwewaamu ka break amale okwekakasa oba ddala kino kyayagala okuberamu .

    Kuba teri kintu kisinga kuzibuwala nga butamanya wa wemuli oba omukwaano weguli oba byakuzannyako buzannyi
    teri kisinga bubi ngo muntu okufuula toy ye nga zanyisaako lwayagala lwokka lwaaba mu mood lwatayagadde nagissa eri mu kanyomero.

    #21254
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Ayinza okuba nga takikola mu bugenderevu naye nga atya commitment nebigigenderako , oba seekyo akyetegereza mbeera amanye oba yeyongerayo oba asigala nga bwaali ,
    naye nga amazima gali nti tewali ayagala kwesanga ku ludda olwebuuza oba mbiveeko oba nninde.

    #21265
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Mulongo nakugamba dda ojje eno mu ffumbe ewali emirembe oli mukwetawaanya. Omusajja wo oyo gwonyumyako alina abakazi bangi, yetamwa tamwa dda. Ogwo mukkuto gwegumudaaza. Jangu kale mu sabbiti bbiri bwemba sinamukwerabiza nga oddayo.

    #21287
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Musajjalumbwa erinnya lyo lyetaaga okukyuusa ,neweyita Musajjamatiza

    #21321
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Musajjalumbwa wrote:

    Quote:
    Mulongo nakugamba dda ojje eno mu ffumbe ewali emirembe oli mukwetawaanya. Omusajja wo oyo gwonyumyako alina abakazi bangi, yetamwa tamwa dda. Ogwo mukkuto gwegumudaaza. Jangu kale mu sabbiti bbiri bwemba sinamukwerabiza nga oddayo.

    Ate kati ggwe bino Musajja obijje wa? Nze bwensomye ndabyenga Mulongo ayogera ku mukwano gwe. Anyway amagezi gempa ku kizibu kino, Mukwano gwo Mulongo atuuze Muganzi we oyo bogere. Ye yekka yayinza okumubulira lwaki akola byakola. Bwagaana okwogera naye amanye nti amukooye bukooyi. Atandike okulowooza ekiddilira.

    #21330
    MugerekaMugereka
    Participant

    Abantu abamu omukwano gwabwe bwegutyo gwa bulumi. Olina kugumanyira bwokowa duka. Kubanga wona wabera mu bamwagala mu ngeri eno ebyo byakola. Era emabega wabwe oja kusangayo relationships nyingi ezalema. abamu kwabo abakola ebintu ebyo mu mukwano baba bezni. Kale oyina okuyiga okwawula, nti ebintu bye bwebiri oba ampa mesage. Naye ekisinga okuvaako obuzibu, buba butamanya mukwano. Oli nga ayagala bamuwe buwi, natamanya nti namuwa ayagala okumudiza.

    #21336
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Oba mupangire Musajjalumbwa anti wuuyo kati alondobamu byayagala kusoma ye tafaayo oba oyogera ku mukwano gwo ye agamba kimu nti abakyaala mulina okwebuza buza okwenjawulo Nti ebizibu byamukwano gwo kasuka eri Mulongo ye ali ready okwerabiza munno kati wano simanyi wekigenda kuyambira mu kwano gwo oli ndowooza bwonoova ewa Musajjalumbwa it will rub on your friend naye ebizibu bye bigweewo.

    #21353
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Wamma Mumbejja sebbo webale kumpagira. Mulongo akitegeere nti omuntu okuyamba mikwano gyo otandikira ku kweyamba gwe wenyini.

    #21356
    KulabakoKulabako
    Participant

    Nange Musajjalumbwa nja kumuwagira Mulongo mukwano gwo bwaaba alina gugudde webizibu gwe kati tukirira Musajja lumbwa bwonoddayo osanga onomunyumizaako naye namanya ekyokkola, bwanaaba takutte ka shortcut kugenda naye Musajja alumbwa amutikkule li gugudde lye.

    #21368
    MulongoMulongo
    Participant

    Emboozi ekwata ku mukwano gwange, muve kwooyo Musajja eyetaputira byayagala. Kaliba ogambye nti amubuuze ekimutabula, naye bwamubuuza tamuddamu, oba nga akyuusa emboozi oba nga abuza buza. Nze namugamba akwane mu muntu omulala nga Musajja bwagamba, naye agamba kizibu okutwaala omutima awalala nga gwo gwagala bubeera walala. Agamba nti singa asobola okumanya kiki ddala kyaliko awo ayinza okumwagaliza emirembe namulekera eddembe.

    #21374
    SengoobaSengooba
    Participant

    Abakazi basukka kuyisawo ensangi zino. Mugambe amulage omukwano ajja kutereera, bwanaba owo kutereera. Bwebaba bamaze ebbanga nga bagalana , mu kino talina kyafiirwa, nga ojjeko mpozi obugumikiriza.

    #21391
    KulabakoKulabako
    Participant

    Mulongo nze mukwano gwo muwa ga bwereere asooke yeewe akaseera omanyi oluusi omuntu omala kumuviira nalyooka aku missing-a awo bwanaaba takomyeewo kumunoonya mukwano gwe amanye nti tewaali mukwaano in the first place era areme ku kola nsobi ye okuddayo abuuze munne oba amu missi-nze kuba ayinza oku kamutema nti how can i miss if you won’t go away in kind of rude-sh way
    sometimes love is a gamble, sometimes it sucks naddala bwooba omukwaano gufuuse ogwokutundulamu obutunduzi mu muntu. Oba nga olina kugukamula mu lwaazi. which is kind of impossible.

Viewing 13 posts - 1 through 13 (of 13 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.