Wine,Cool,Chagga,Namubiru,Nakimera Batatanya Baana

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Rediyo ya Baganda / Baganda Radio Wine,Cool,Chagga,Namubiru,Nakimera Batatanya Baana

  • This topic has 2 voices and 1 reply.
Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
  • Author
    Posts
  • #18814
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Waliwo star system of sorts eyatandikawo e Uganda mu bayimbi nabazannyi ba films nabalala. Naye abantu bano bangi si kyakulabirako kirungi eri emigi emito egya Baganda. Abaana abato balaba abantu abawaniibwa mu ggwanga lyaabwe nabo nebagala okubeera nga abantu bano. Naye abantu abasinga abeyita Abaganda abayimba oba abali waggulu mu ssawa eno bantu bagoomu nnyo, abasinga kubo bogeera nebintu ebityoobola Obuganda. Jjaako nti tewali ggwanga liyinza kuddira bantu bangi bwebatyo abaawaasa ebweeru weggwanga nelibateeka waggulu, yadde Bungereza yadde America ezetenda okubeera ne human rights. Mu ba actors 100 boyinza okumenya bameka abatawasa oba kufumbirwa ba Americans? Ebyo nga biri bwebityo mu biseera ebye ddembe. Tebeereza bwekibeera mu kiseera nga America erina omulabe ku ttaka lyaayo! Wano ewaffe waliwo nabalina abakazi mu balabe ba Buganda nga Bobie Wine, chagga ne Bebe Cool kyokka nga bafuulibwa mbu ba stars!! Irene Namubiru, Maddox ne Grace Nakimera bafumbirwa bazungu. Ate abamu bagattako nokuvuma abakazi nabasajja Abaganda. Buganda eteekwa okwongera okwenyweeza mu buli ngeri. Abantu bano mubaleke bangende bayimbire eri gyebawasa negyebafumbirwa. Obuganda bulina ebizibu bingi, baleme kutulemaliza nabaana.

    #25798
    KulabakoKulabako
    Participant

    Buganda yaffe gyevudde eri eyaffe eyedda ,nayo yali ekola nga mawanga amalala bwegakolanga nga bazadde bafumbiza abaana baabwe mumaka gebaalabamu omwaana aba atuuse okuwasa oba okufumbirwa , nga bamaze okulaba empisa nga nnungi ezo muntu gwebanayingiza mu kika kyaabwe,

    Okusobola okukola Obuganda obunyweevu
    Era kyoova olaba nga obwamalaaya babulaba nge kivve, bamanyanga nti eyo anabukola ajja kusangangayo kabbira yonna era nga bwetukirabye , aba mawanga amalala bwebamaze nga betuuma amannya amaganda nga bagenze okukuba obwamalaaaya nebwebaba babukuba ku beeru naye ate nebayitira nebajjayo obuze bwaabwe obubaloopa nti banyamulenge , ebintu nga bino Abaganda byebavumiriranga
    Buli mulembe gubaddeko abagufunamu naye nga webigweera nga bantu abagukozesaako nge kyokufunamu besanze nga tebigwedde bulungi

    gwaate bwoyimba enyimba naye nga ate bewadduka bewalaba nti bo tebakusaanira ate boleese okuyimbiramu enyimba zo, era bebaba bakuwa sente zaabwe olwo zo ziba nnungi ngo nzetaaga, nga oyo gwewasalawo okugenda naye nge waabwe tosobola kukolerayo mirimu gyo olwobusosoze bwaabwe ate nga nabo baba batuufu, buli omu asika azza wuwe era kyoova osanga ngenzi zo eza gaana okuyingirirwa abagwiira nga bwowasa omugwiira teri akuwa bussiness mu nsi eyo nandibadde obeera mutuuze nga bakugamba nti mpozzi nga mwawukanye nooyo omugwiira gwewawasa.
    Kati naffe kyetulaba nga Baganda bakomyeewo okukola emirimu gyaabwe mu Buganda kuba webababasigazzaakatale.

    Naye nga Abaana baffe abato bo tulina okubabulira ekituufu nti bwosigala nowegwanga lyo buli lutalo olubatukako mululwaana mwenna songa bwooba nomuntu atali wagwanga lyo omala ebbanga lyonna either nga wewozaako oba ngolwanyisa abatakukkiririzaamu mundowooza zo ate kasita biyingiramu abaana awo negubula asala kuba baba tebamanyi ludda ki lwebateekwa kulwanira

Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.