Winter or summer?

  • This topic has 6 voices and 9 replies.
Viewing 10 posts - 1 through 10 (of 10 total)
  • Author
    Posts
  • #18875
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Abali ku mawanga mu nsi ezirimu obunyogovu nakasana aka ppereketya, mutubulire mulondawo ki, ku summer ne winter era lwaaki?

    #19222
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Nze kulwange mpa summer ppereketya wo musana kizibu okutambula ebweeru newera likirira okukutukako ekitundu ekimu ku mu biri gwo , wewaawo ne bbugumu toyinza ku lilwaamu nga tonafun sun strock ha obudde bwabeeru bukubuza embiibya .
    Naye nze winter , obutiti sikolagana nabwo bwebuba buzze wesabika nga genda ku mqweezi bwogamba nti kanyambale bitono ntambula nga nyanguwa nja kubuguma , obuguma naye nekakutanda noyimirira omusaayi negutandika okutambula omusaayi gwonna , notandika okwetagula nge yalwaala olukuku, ate nekitakoma awo wokka wotakula ne wakubabukirira era okumaliliza nga wazimbye nga lwadde ekilogologo
    Simanyi mmala gasigaza ku pereketya

    #19231
    KulabakoKulabako
    Participant

    Nange kulwange nfunda ne summer ,Pereketya kuba embeera za winter sizisobola ,wenasookera okumulozaako oli yali wakwemoola bweneyonngera mubitundu ebirara gyaagwa omungi nze nasigalanga mu nju nga neyoteza, wewaawo nalinina okumutambulamu naye abalala bebagogolanga wenayitanga.

    Kyokka ekyo tekyalema kunzisa kubunkenke kusooka ku tebereza nakuyiga nti awaba wamasamasa siteekwa kulinyawo kuba oyo ababalaafu nga serera okujjako nga njoya kya bugazi.

    Gyeneyongera okutambula gyaagwa omungi nandibadde teyanyogoga nnyo nga wennali mu ku sooka wali woyiwa amazzi mu bbanga negakomawo wansi nge kiso, wano gwaali gugwiisa kajanja, nga gulinga ogutagala kuddamu ku gwa mwaaka guddirira.
    Nnali nina okufuluma ngwangange kuba gwagamba nti bwotofuluma kusenda luggi lwo otuuse okuyita mu kamooli.
    okumanya guno omuzira gwaali mujoozi nga womalilayo drive way okutuuka ku kkubo erikukyaamya ku nju yo nga joova bwonyumizaawo omuntu eyo nva kusendawo , agamba nti obulimba bwolina sibwabantu balamu .

    Kati ngo maze okutuuka kukkubo wokyaama nabalongoosa ekkubo eddene nabo kwekujja neberula ekkubo nebakuyiira akasozi komuzira ogulimu omunnyo nga kyenkaana gulinga musenyu mu bisi.

    Awo nosooka otulako wabbali nowunga kuba okwerula ekkubo erikukyaamya kiba kikutwalira essawa bbiri namba ate kasita oguguba notogujjaawo nga gukwaata ice, awo nga wezikidde ddala bulungi ate jjukira gyoova wajjudde, nomala ekiro kyenkana ngo senda muzira . ,
    Waliwo lwegwaagwa nga saawa yakunnyuka nga nemmotoka ezilongoosa amakubo tezirina weziyita abasangibwa mukkubo basula mu bizimbe bibalilaanye.

    Omuzira naguviira ngo mugongo sisisgazza ngojeeko nti engalo nebigere obyerabira ngo tuuse okusenda ate bwodda munyumba nobinyika mutuzzi otwekisususu enduulu gyokuba kuba ebigere nengalo bizimba nga bisiiwa ate nga bitujja OMUZIRA KKOYI AGWAGALA AGWEYONGERE

    #19252
    MulongoMulongo
    Participant

    Nze tompa nnyo muzira naye mpa obunyogovu tompa kino kisiriiro. Bannange nze ebbugumu kkoyi. Omuntu notomanya oba oli mulwadde oba bbugumu! Ahaa, nze ebbugumu sagala, ssi ka lunaku luwanvu! Kaasita nfunawo essawa omwenda ogwe misana ate nesiberanga abe Norway bempulira abafuna essaawa ebbiri mu winter ezemisana. Eyo nayo bwekiba bwekiri bali ku santiri.

    #19257
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Kyokka banange Mulongo wasobagana kati olwo ezo esaawa ebbiri bazikozesaaki, sikwekugenda emugga nga bukedde nakomawo eka nga buzibye.

    Naye awo kibawa empoza nti sasobodde kumala mirimu gikolebwa misana obudde bwabadde tebumala , kati abakola day shift bakola saawa bbiri zokka ,

    bwebazukuka ngobudde bukedde webavugira nokutereeza files zaabwe mu office nga te banatandika kukola nga buzibye nga bannyuka.

    Obwo bwebwetaaga ewaffe abaana abasoma baba balina kutambula na tochi ok dda eka anti ku nguudo tekuli bitaala.

    #19278
    JonaJona
    Participant

    Teri kintamye nga winter. Buli lwogendako ebweeru olina kwesabika. Leero nno okugenda mu disco, anti bikusobera. Olina okwesabika okufuluma ebweru, nengoye olina kwambala zibuguma, ate bwotuuka mu disco nojula okufa ebbugumo. Bwogenda okuzina, nolyooka otuuyana nga gwebayiiridde amazzi.

    Ffe abaddugavu oluusi kyetwerabira nti twakulira mu Vitamin D, asinga okuva mu kasana. Jokomya okwesabika ebikooti omusana negutakutuuka kumubiri (bweguba gwaase. Oluusi tegwakira ddala olunaku lwonna, week yonna), ne vitamin eno jekoma okukendeera. Abantu abakendedde vitamin D, balina okwegendereza ennyo, kuba kivaako omuntu okulwaala, nga diabetes, oba obulwadde bwa sukali.

    #19289
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Wali okyegenderezza nti akasana kaleeta ne kisa nze ndabye ebitundu ebisingamu obunnyogovu nga nabantu baayo baba si basanyufu bwogerageranya abali mu musana . Kino nkiraba ngo budde bukyuuse kasita Autumn atuuka nga ne mbeera zabantu zikyuuka nga batandika okubeera depressed .
    Naberako mukitundu awabuguma naye nga oyinza okusanga omuntu mu kkubo nebwaaba mweeru nakubuuza nga kumanyi , kati nno bwekyatukanga ku baddugavu nga ayinza okkuwa obuzibu okutebereza oba waali osomyeeko naye.
    Okumanya ebitundu ebyalimu obunyogovu nga abantu baayo tebagala kumanya ki mulala kyaliko olaba nga nebwoleka emmotoka yo nga togisibye nga n’ababbi bennyini tebagala kujibba wadde okubbamu ebintu

    #19295
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

    Ekitta winter ne summer kuyitiriza! Ekitali ekyo nze nfiira ku kabugumu nninga nswaaswa. Kyenva mba nga nsinga kwagala eri ewaffe e Buganda. Era eri ewaffe nga bwebanzukusa okugenda okusoma, ate nzira ku lubalaza nenjota akokumakya. Nga kangumya gumyako, engeri gyebanzijanga mu buliri nga seyagalidde. Naye akabugumu oba kabeera ate kabugayavu? Ndabanga mu bunyogovu mwetusinga okukolera emirimu obulungi.

    #19316
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

    Naye ndowooza kisinzira buli omu waali. Waliwo abalina omuzira omungi, enkuba ennyingi , omusana omungi, kibuyaga omungi. Naffe wano tulina ebbugumu lingi. Omuzira nempewo bibeera bisaamusaamu, okusinzira ku bannaffe abalala bwebali. Naye nze obudde bwa summer okulwaawo okuziba nange nkyagala. Obudde obuziba amangu bwelarikiriza.

    #19327
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Bagamba nti mukama gwaawa amannyo gwamma ennyama naye waliwo mukwano gwange eyannyumiriza nti ye yagenda Alaska yali Summer nti naye ngobudde bukwatamu esaawa bbiri zokka nti ngeera abantu bakolera mu Summer sente nga bagenda okuvuba crabs ne salmon nga basibayo kyenkana nokusulayo nti naye nga olina okwegendereza kuba neddubu lyaali litembeeya nga kekakutanda noleka ebisaniiko ebilimu ebyenyanja oba emmere ngo lyeyitidde . Ngeera bakulabula nti wegendereze eddubu oba abayizzi , ngojeeko nti omuwendo gwabetta munene kuba bangi bekaliga omwenge olwa depression. Kale nno buli lwobanga ogenda okwebaka webazanga Mukama okutuwa Buganda amakula .

    AWANGAALE SSABASAJJA

Viewing 10 posts - 1 through 10 (of 10 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.