Wycliff Kiyingi:Omuwandiisi w’emizanyo gy’Oluganda

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Ebitabo / Books Wycliff Kiyingi:Omuwandiisi w’emizanyo gy’Oluganda

This topic contains 0 replies, has 1 voice, and was last updated by Mulongo Mulongo 8 years, 11 months ago.

Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #18636
    Mulongo
    Mulongo
    Participant

    Wycliff Kiyingi: Omuwandiisi w’emizannyo gy’Oluganda atannafuna amwenkana
    Bya Edward Kalumba

    ENJOGERA egamba nti ataakulaba y’akugaya, etuukira bulungi ku muwandiisi w’emizannyo, Wycliff Kiyingi, 81 mu kiseera kino alabika ng’agonze olw’obukosefu. Atawaanyizibwa obulwadde bwa puleesa obumutambuza ng’akema.

    Kiyingi ayatiikiridde nnyo mu kuwandiika emizannyo okuva mu myaka gya 1950 okutuusa leero.

    Obulamu bwe abwogerako bw’ati:

    “Nazaalibwa nga December 29, 1929 mu maka g’omugenzi Anesiti ne Esineemu Kaggwe e Bukeerere. Okuva obuto nanyumirwanga Obugero bw’omu Bayibuli era bwe twazannyangamu obuzannyo obutali bumu mu masomero aga wansi.

    Lumu mu 1940, kitange yantwala mu kwolesa kw’essomero erimu kwe nazibukira amaaso.

    Abayizi baazannya omuzannyo ku bulamu obwa bulijjo ne mmanya nti abantu basobola okuzannya ku nsonga endala yonna. Wano we nafunira ekinyegenyege ne mpandiika omuzannyo gwange ogwasooka gwe natuuma ‘Pio Mberenge Kaamulali’.

    Gwali gukwata ku Ssemaka eyalina abakazi abangi kyokka n’asigala nga tagwa kusoma kwa Klezia okwa buli Ssande. Lumu Omusosodooti yamutuuza n’amutegeeza ng’embeera eno bwe yali eyolekedde okumusubya eggulu.

    Mberenge olw’okutya okusubwa eggulu, yagoba bakyala be bonna n’alekawo omu.Wabula yayita mu buzibu bw’otolabanga okutuukiriza kino. Embeera eno ye yali mu maka g’abasajja abasinga bwe gutyo omuzannyo ne gukwata abantu omubabiro.

    Gavumenti y’abafuzi b’amatwale wano we yasinziira mu myaka gya 1950 n’ensaba okuwandiika emizannyo egy’ekika kino egyazannyibwanga ku Radio Uganda. Kino kyannyongera ettutumu oluvannyuma Gavana, Sir Andrew Cohen yampa sikaala ne ng’enda e Bungereza mu Bristol University School of Drama ne nkuguka mu kuwandiika emizannyo gy’oku leediyo era namalayo emyaka ebiri.

    Nagenda mu maaso ne mpandiika emizannyo egitali gimu omuli; Ku Muduuma kwe kwaffe, Ne buba enkya ne buba eggulo, Obwavu musolo, W’okuulira n’emirala.

    Nasomera King’s college Buddo ne Makerere yunivasite kyokka e Makerere saamaliriza kuba nagwa okubala.

    Nakolako nga maneja ku ssundiro ly’amafuta erya Shell era ng’omukung’aanya omukulu mu lupapula lw’amawulire olwa Uganda empya.’

    Wabula Kiyingi avudde mu kuwandiika emizannyo ng’akukkulumira abantu b’agamba nti yabakwata ku mukono n’abayingiza mu mulimu guno kyokka ne bamaliriza nga bamukungula.

    “Abantu be mpita abange kati mbanyeenyeza mutwe olw’ebyo bye bantuusizzaako.

    Bwe bandabye nga sikyesobola ne basekera mu kikonde. Entuuyo zange bamaze ebbanga nga kwe balya. Ensimbi ezandibadde ez’okunsasula olw’entuuyo zange bazibuliza mu kkubo nze ne nsigala nga nneekomba binkumu.

    Kiyingi mufumbo, yazaala abaana bataano nga kati alinawo bana. Mukyalawe, Joan amaze naye emyaka 60 e Mutundwe – Kirinnyabigo.
    Published on: Saturday, 21st August, 2010

Viewing 1 post (of 1 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.