Yiga Olulimi Oluganda

This topic contains 64 replies, has 10 voices, and was last updated by Omumbejja Omumbejja 10 years ago.

Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 65 total)
  • Author
    Posts
  • #19178
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant


    Olujjuliro luzza obwasseruganda mu maka

    Yiga Oluganda ne Kefa Ssentoogo

    OMUKYALA Omuganda ng’amaze okusiba omuwumbo gw’emmere agisitula ng’omukono ogumu gukutte wansi w’omuwumbo omulala nga gukutte ebyayi n’aguteeka mu kibbo n’asitula okutwala mu ffumbiro.

    Ekikwasa omuwumbo wansi waagwo kiwanuuzibwa nti bwe gulengezzebwa abali tebakkuta.

    Omukazi bw’atuuka mu ffumbiro ateekateeka bulungi sseppiki oba sseffuluya oba entamu. Entamu yabanga mmumbe mu bbumba. Ateeka entamu ku kitata (ekitata kikolebwa mu ssanja erizingibwa ng’enkata ne lisibwa ebyayi okwetoolooza. Ekigendererwa butayasa ntamu oba kugoomya sseppiki n’okugibotola mu kisera ky’okusaaniika. Atandika okunyoola emizing’oonyo n’agiganzika bulungi mu ntamu nga yeegendereza okulaba nga temuli makovu. (Nazzikuno ng’abaami bayita bakayala baabwe ba ‘Munyoola mizing’onyo’. Emitendera gy’okusaaniika gikolebwa. Omugondoli ky’ekyayi ekiteekebwa ku muwumbo ne kyewunzika eruuyi n’eruuyi era ng’ekyayi ekyo kikozesebwa mu kukuba essaaniiko mu kiseera ky’okujjula n’okuseruza ng’emmere esowodde. Okuseruza kwe kuteeka enva endiirwa ku mmere ng’esowodde. Okusowola y’emmere okuba ng’efulumya omukka mungi.

    Okunyiga emmere kubaako emisoso. Wateekwa okubaawo ekiwempe ekiruke mu byayi omukyala kwafukamira n’anyiga emmere. Emmere bw’etuuka mu ddiiro abantu bonna batuula ku lujjuliro. Omusoosootozi abega ku muwumbo ekitole n’akibikkira mu kibbo ekyajjudde olw’ensonga nti wandibaawo omugenyi atazunza njuki atuuka olwo ne bamujjirayo ekijjulo ekikye. Kyokka emmere eyo yaliibwanga bwetaabangako mutazunza njuki. Olujjuliro lulina obulombolombo anti abakulu kwe balabira omwana aliba omulungi n’omubi, aliba ow’omululu n’ebirala.

    Olujjuliro terubuukibwa, bw’oba omaze okulya tosituka ku lujjuliro ng’abalala bakyalya. Naye bwe wabaawo ekikutwala amangu weetonda nti bannange munsonyiwe okubuuka olujjuliro. Olujjuliro lugatta obwasseruganda. Abaasoowagana tebasobola kuliira ku lujjuliro lumu kyokka bwe badding’ana baluliirako era bagamba nti, ‘ twadding’ana tugatta n’olujjuliro.’ Ku lujjuliro tekwogererwa era kwe kuva n’enjogera nti ‘Omuganda bw’aba alya tayogera.’ Ekigendererwa kutangira kulaga bannaabwe mmere eba egaayibwa mu kamwa.

    Published on: Saturday, 23rd August, 2008

    #19703
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Abakomazi balina obukwakkulizo obukulu 3

    Bya Keefa Ssentoogo

    ABAGANDA baayimba nti, “Omuganda kijjo, kijjo, kijjo eky’entamu ennene obulako bw’okitegeka anti ne bwe liba essaanyi nti Omuganda wuuyo anamwambalira anaava wa, gira tudduke..” Bino mbiwandiise okukulaga nti kuva dda Omuganda kijjolooto.

    Olubugo kyambalo kye okuviira ddala ku Ssekabaka Kimera eyali owookusatu. Lwayiiyiizibwa mutabani wa Ssenkungu ayitibwa Wakyama.

    Wakyama, amannya ge amalala ye Wamala, Buyungo ne Kaboggoza. Amannya Buyungo ne Kaboggoza ga bazzukulu ba Kisolo Abengonge. Gajja bwe gati, Wakyama bwe yalaba omutuba, yagulabamu eky’omugaso. Yagusasambula oba n’aguyimbula ekikuta wabula olw’okuba nga waggulu yali talina bw’ayinza kusalayo kikuta ekyo, kwe kuyiiya obuyungo awo Abaganda ne bamuyita Buyungo.

    Buyungo ye yakomaga olubugo Luyiira olusumikibwa Kabaka era n’okutuusa kati omulangira agenda okulya Obwakabaka lumusumikibwa. Kaboggoza y’alukwasa Mugema bw’aba agenda okusumikira omulangira ng’alya Obwakabaka. Olubugo lwa mikolo mingi mu Buganda n’awalala.

    Abaganda baatuuma Wakyama erya Wamala okuva mu bigambo bye baayogeranga nti, “Bwe wakomagira Kabaka olubugo wamala.” n’afuna erya Wamala.

    Abakomazi bakozesa ebibajje ebiyitibwa ensaamu ku muti ogulambikibwa mu kkomagiro oguyitibwa omukomagiro. Mu kukomaga mwe muva erya Kaboggoza kuba ensaamu ziwulikika nga ziboggola.

    Abakomaga amaloboozi g’ensaamu bagaggyamu oluyimba luno, “Kankukube nkuttule, kankukube nkuttule, omukazi ky’atalya kye kiwunya olwendo lwe.”

    Mu kkomagiro temweggamwa nkuba, temunyumizibwa mboozi era temutuulwamu mukazi.

    Published on: Saturday, 20th September, 2008

    #19721
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Alaze emikolo gy’okunaaza ku Kabaka amaziga

    Nabikande ng’akaaba olw’Amasiro.

    Bya Anthony Ssempereza

    PEREPETWA Nabikande kati atemera mu myaka 110 egy’obukulu y’agenda okunaazaako Kabaka amaziga nga bwe kiri mu bulombolombo bwa Buganda.

    Nabikande akola emirimu mingi mu Buganda omuli okunaaza Bakabaka amaziga n’okuzaalisa abazaana be ne Nnaabagereka. Guno gujja kuba mulundi gwakubiri nga Nabikande ono anaaza Kabaka amaziga oluvannyuma lw’okunaaza Ssekabaka Muteesa II amaziga bwe yali yaakadda okuva mu buwang’anguse gye yali asindikiddwa Abazungu mu 1955.

    Emikolo Nabikande gy’akola ku Kabaka ng’amunaazaako amaziga agyogerako bwati:

    Okusooka okunaaza amaziga nasookera ku Ssekabaka Muteesa II bwe yava mu buwanganguse e Bungereza mu 1955. Okunneebaza Ssekabaka Muteesa yanzimbira ennyumba eno mwe nsula kati.

    Kabaka Mutebi II guno gugenda kuba mulundi gwakubiri gwe mmukolako emikolo nga ogwasooka gwali gwa kumunaaza kye bayita ekirira bwe yali agenda okuwasa mu 1999. Wabula yali waakudda okumunaaliza ddala yenna naye ne bamubuzaabuza ne bamutwala e Mpereerwe ewa Namasole Baagalayaze eyamukolako emikolo emirala.

    Kabaka bw’anajja ku luno okumunaaza amaziga ng’enda kunoga eddagala lyange nditeeke ku lulagala mmunaaze oluvannyuma mufumbire ekijjulo ky’entula omutali munnyo mmuwe awuuteko.

    Oluvannyuma nja kumutuuza ku lubugo mmumwe mu kyenyi mmusaleko ne ku kaviiri katono era ebintu bino mbiterekera ddala wala, era bino byonna mbikola nnaamiriza.

    Bwe nnaamala okukakasa nti ajja nja kusiba olubugo olunene aleme okutunula ku malaalo ga Nabikande eyasooka kubanga mu byobuwangwa bya Buganda, Kabaka tatunula ku malaalo.

    Kyokka ndabula bekikwatako bonna bafube okulaba nti Kabaka ajja mmukoleko omukolo guno ogw’okumunaazaako amaziga kubanga bw’ataakikole kitegeeza nti amaziga gamusigaddeko ne Buganda ejja kusigalanga mu maziga buli kiseera era kino kitegeeza mitawaana”.

    Bino biddiridde Kabaka okugenda ku Masiro n’ayunguka amaziga bwe yalabye nga gafuuse muyonga, era abantu bonna olwamulabye ng’aggyeeyo akatambaala asiimuula amaziga mu maaso olwo bonna ne bakaaba.

    Ensibuko ya Nabikande okunaazaako Kabaka amaziga eviira ddala ku Ssekabaka Muteesa I. Agamba nti Ssekabaka Ssuuna bwe yakisa omukono yaleka mukyala we Nabikande

    Muteesa n’ayita bakyala be bonna n’abakwasa Nabikande abalabirire era okuva olwo yatandika okubalabirira nga y’abanogera eddagala lyonna.

    Mu Buganda Nabikande y’asooka okumanya nti Nnabagereka alina ettu olwo n’amunogera eddagala ly’okunaaba

    #19723
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant


    Ennyambala n’obuvo

    Bya Dean Lubowa

    Nazikuno, ng’abantu bayita kyenkana bukunya, okuggyako okwesiba amakoola g’emiti mu kiwato, okubikka obwereere bwabwe.Emirembe bwe gigenze gikyuka, nabo ne beeyongera okuyiiya okuva ku bikoola, baabo ku maliba, embugo n’oluvannyuma engoye. Ezaasooka tezaali mpeweevu nga ze twambala leero.

    Eddiba

    Kino kye kyambalo ky’Abaddugavu ekitongole ekyasooka, era gwali mulimu gwa basajja okugenda okuyigga ensolo ez’okulya ate baggyeko amaliba ag’okwambala.

    Wano mu Buganda, amaliba Kabaka ge yayambalanga, gaabanga makunye nga gagonda nnyo. Gaabanga ga nsolo nkambwe ng’engo.

    Abantu abamu, nga Abazulu beesibanga mu bulago amagumba g’ensolo ze balidde oba ze basse.

    Ennyambala eno yalwawo nnyo mu mawanga g’Abaddugavu, okutuusiza ddala mu myaka gya 1880.

    Olubugo

    Lwavumbulwa ku mulembe gwa Ssekabaka Kimera.

    Oluvannyuma lw’emyaka kafukunya ng’abantu bambala maliba, omusajja okuva mu kika ky’Enngonge nga ye Lule Ssenkungu ye yayiiya okukomaga.Yatuumwa Buyungo kuba yayunga emiti n’akola eddaala n’alinnya okwo nga bw’ayimbula.Era yatuumwa Wamala, kuba yamala ensonyi ku Baganda anti edda Abaganda baayitanga kyenkana bukunya.

    Bwe yali agenda okuluka enkuta z’emituba akolemu olutuula ayigge, yeekanga akozeemu lubugo, era buli lwe yakoonanga ekiriba ky’omuti kino nga kigaziwa agenda, okwekanga nga akozeemu ekintu ekiwanvu ate nga kigonvu, kwe kuggyamu eddiba lye yali ayambadde n’ayambala olubugo. Teyava mu kkomagiro nga tannakomagira Kabaka lubugo, era bwe yalumutwalira n’alusiima nnyo, n’alutongoza ng’olugoye olutongole abantu be lwe banaayambalanga, bawone amaliba agaabakunamyanga.

    Ekkanzu

    Kino kyambalo kya Bawalabu abasuubuzi. Kyajja mu Buganda ku mulembe gwa Ssekabaka Ssemakookiro, naye kyasooka kubeera kyambalo kya Kabaka n’Abalangira. Gwali mulembe gwa Muteesa I, abantu lwe bakkirizibwa okwambala engoye enkole mu ppamba ze baayitanga kaliko.

    Okuva olwo, ekkanzu n’ecaaka nnyo. Busuuti abakungu gye beesuulira yava Zanzibar ewa Kabaka Surutaani nayo yali ya Bawalabu. Gomasi z’abakyala zajja lunojjolyabalamu ng’essomero ly’e Gayaaza litandise. Zaasulwangamu busulwa kye zaava zituumibwa bboodingi(Boarding).

    #19725
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Okwogera enkeremette kitegeeza ki ?

    Mu lukontana olwasembyeyo,omukontanyi Tamale Mutuuse ey’eddira e Nkima teyalabizza ku njuba Julius Buyuki Kiwaalabye eyeddira e Kkobe ku bubonero

    29 ku 17 era Mutuuse ne yeesogga olukontana olusembayo e Lugogo. Ebimu ku bibuuzo ebyabuuziddwa mwabaddemu;

    1.Ddamu kituufu oba si kituufu……….Okufuga era kwe Kuteregga? Kituufu.

    2.Beene okumwawula ku Kampijja tekikutwalira kaseera? Si kituufu

    3.Lugero lumaleeyo; Eng’ombe ey’ekikaayi?……… Tekulagaanyisa na munno.

    4.Eng’ombo ekwata omwami; malayo olugero olwo mu ngeri bbiri? Eng’ombo ekwata omwami tereka muganzi, eng’ombo ekwata omwami ebuna ekyalo.

    5.Buno obubeera n’omugga nga bunatta mbu ensero tebuteekebwamu nga buli ku masiga, wanuuza? Buba butiko ate nga bubaala tebuteekebwamu munnyu nga buli ku masiga bawanuuza nti bw’oguteekamu ekiswa oba ekibaala kisenguka.

    6.Omugenzi abadde n’emyaka 23 era obulwadde obumusse si bulala bwe bwo obw’enkiki obwamukwata ku ntandikwa y’omwaka guno. Omugenzi afudde bulwadde ki? Obulwadde obw’enkiki obukwata ku kyenda ne bulemesa ekyenda okukola omulimu gwakyo ogw’okumerengula ememere.

    7.Ebitiibwa bino oba ebifo eky’Obuwanika n’eky’Obulamuzi tebyasangibwaawo mu byafaayo bya Buganda, ebitiibwa bino byatandika ku mirembe gya Ssekabaka Daudi Chwa11, ono n’abeera nga ye yasooka okufuuka omulamuzi mu byafaayo bya Buganda ? Stanislous Mugwaanya.

    8.Stanislous Mugwaanya bw’aba nga ye yali omulamuzi eyasooka ate olwo omuwanika eyasooka mu byafaayo bya Buganda ne Uganda y’ali ani? Zakaliya Kisingiri.

    9.Abantu abasinga batera okwogera ku kuzza njole ya Sir Edward Muteesa II lwe yakomezeebwawo Field Martial Idi Amin Dada naye ne Ssekabaka Mwanga okukisa omukono yali mu buwang’anguse era gye yaziikibwa wabula enjole n’ezzibwa ku butaka mu mwaka gwe ssijjukira?

    Mu mwaka gwa 1910.

    10.Mwana wange ku mulembe gwa Ssekabaka ono lwe kyazuulibwa nti obulwadde bwa Kawumpuli bwali buva ku mmesse, Ssekabaka ki? Ssekabaka Kyabaggu.

    11.Abantu abaabizaawo olumbe nga baakava emaggombe baba tebaabizza lumbe. Lwaki nze ng’amba bw’entyo?

    Lwa kuba olumbe luba lulina okutambuzibwa mu bakulu b’ekika naye ekyo bakiyita okuggyawo ekitayiro.

    12.Ab’ekika ky’ente be batuuma erinnya Kakooza oba Nnaabakooza naye bwe mbeera ku mukolo ne ng’amba nti Abakooza mwenna musigaleeko emabega tubeetaaga, olowooza b’ani abo ababa balina okusigala emabega? Babeera abajjwa mu nju eyo.

    13.Yogera enkeremette tulabe? Kuba kwogera nga tosiriikirira.

    14.Sala enkerere tulabe? Okusala enkerere kubeera kutiitiira.
    15.Mwattu enjoka zange ez’omu lubuto ziizo. Ezo z’enjoka nnabaki? Aba ategeeza omwana we gwe yeezaalira.

    16.Ekikolwa ky’okuwuuya tekitera kuwulirwa naye ate era si kipya, kola emboozi ng’okozesa ekigambo ekyo oggyeyo bulungi amakulu gaakyo abadde takimanyi akitegeere bulungi? Nnabadde n’abaana ku ssomero ne wajja abasajja ne bawuuya oba ne batwala omwana mu ngeri etaategeerekese.

    17.Ekigambo okulinnimula eri omuntu amanyi olulimi kirina amakulu mangi, mpaayo asatu? Kitegeeza okuyiwa ebintu ebingi, okuwa omuntu ebintu mu bungi, oba okugoba ente.

    18.Enkero, enkulo enkonga, enkingi mu kubyatula biringa ebifaanagana naye byawula amakulu era gampe?

    nkero liba ddiba abaweesi lye basiba ku mivubo ne bafukuta okusobola okusanuusa amayinja, enkonga kika kya kikere oba kya lukere, enkingi kitegeeza ensalosalo oba ensalo, enkulo nnyama eva mu maliba.

    19.Bwe nkugamba nti tusisinkane enkya ku ssaawa ya kalasamayanzi mba nkugamba ssaawa nnya ez’oku makya, ate bwe nkugamba tusisinkane ku ssaawa eya matyabanku ziba ssaawa mekka?
    Ssaawa 9 z’ennyini.

    20. Oli bw’akuyitanga ku mikolo n’akugamba okutuuka ku ssaawa ya kasendabazaana otuuka ku ssaawa 12 ez’akawuungezi z’ennyini naye bw’akuyita okutuuka ku ssaawa eya ggulolimu otuuka ssaawa mekka?

    Otuuka ku ssaawa 10 zennyini.

    21.Okulonda kwa bonna okwasookera ddala mu byafaayo by’ensi yo Uganda kwaliwo mu mwaka gwe sikyajjukira, nzijukiza tulabe? 1961.

    22.Obusosoze mu langi obwali bukudde ejjembe mu South Africa bwayaniriza nnyo okuteebwa kwa Pulezidenti Nelson Mandela ng’akabonero akaali kalaga nti obusosoze bugenda buseebengerera, abaffe Nelson Mandela yatebwa mwaka ki? 1990.

    23.Ekibiina ky’amawanga amagatte kirina omukulu Ban Ki moon nga n’ekya Commonwealth bwe kirina? Karmalesh Sarmah.

    24.Omusumisi omulimu ogwo tagwekebejjera kakule, akalombolombo kano bw’oba okamanyi bulungi wa omusumisi omugabo gwe omutongole? Ddiba ly’ensolo eyo yennyini eyasaliddwa ku mukolo ogwo.

    25. Endwadde ya kabootongo eruma ennyo Bannayuganda, okujja mu Buganda yajja ku mulembe gwa Ssekabaka ani? Ssekabaka Mawanda.

    26.Ssekabaka eyasinga okufugira ebbanga ettono mu Buganda yafugira bbanga ki?

    Ennaku 9 zokka.

    Bya Richard Ssemakula

    Published on: Wednesday, 5th December, 2007

    #19726
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    1.Ekikolwa ky’omuzizi okukiika obuti mu kkubo ly’ensolo okulaga nti ensolo eyo yawedde dda okuziga kiweebwa linnya ki? Okuggalira ensolo.

    2.Nnabulagala ne Wamala, byombi bisangibwa mu ssaza ly’e Kyaddondo. Mpa erinnya lya Ssekabaka eyakuba ebibuga bye ku mitala egyo gyombi ? Ssuuna II.

    3.Oluusi ebizibu bye tugwamu ffe ffennyini ffe tuba tubyereetedde. Mpa olugero olugya mu mbeera eyo. Kimaza bbiri, y’aliwa ogw’omugenyi.

    4.Mpa nakasigirwa eyeetengerera enkozi mu muntu asooka mu bungi? Ffe.

    5.Ani yawandiika akatabo; Kiyitawaggulu ? C. S Kalinda. 6.Musoke akaddiye nnyo n’amaanyi musajja wattu takyalina. Mpa ekisoko ekiggyayo embeera eyo? Akuba za ku magi (ezipapala takyazisobola).

    7.Mpaayo omuzizo gumu ogugendera ku mmere eng’anda? Tebagikoza mu nva zirimu munnyu.

    8.Genda ompitire bbaawo. Tereeza ssentensi eyo mu lulimu Oluganda olutuufu? Genda ompitire balo.

    9.Koyi koyi; Nnantimbisi bamufukumulira mu nantinkalu ne bamutwala gye baagala. Omwenge mu kita.

    10.Enkejje esemba ku luti ebbali eyitibwa? Engoba.

    11.Omuntu okuvuma munne nti alinga ekimongwa, aba amuvumye nnyo. Ekimongwa kye ki? Ekiwuka ekikulunga obusa.

    12.Malayo olugero luno; Nkoko yange ebuuka miyagi………………….. Nti ggwe nnyini yo obuuka mivule?

    13.Eppipa yange yonna ekubyeko bugule be………….. Ddu.

    14.Ensagazi/ emmuli n’omala ozisiba awamu olw’okuzikoleezaako omuliro olwo ziyitibwa zitya? Mimuli.

    15.Ekikolwa eky’okukungula kasooli kiwe erinnya. Kutema.

    16. Obubonero obw’enkukunala abayizzi bwe bagenda baleka emabega, okulagirira bannaabwe abasigalidde buweebwa linnya ki? Obuwa .

    17. Nnabbingo kyalo ekisangibwa mu ssaza ly’e Busiro so ate Nakabootongo (Nakawa) kyo kisangibwa mu ssaza ly’e Kyaddondo. Mpa amannya ga Kabaka eyakuba ebibuga bye ku nsozi zino? Mukaabya Muteesa I

    18.Ekintu ekitajja kuvaamu muganyulo okirabirawo. Mpa olugero olugya mu mbeera eyo. Ekitaakule, kizimba mu lumuli.

    19. Mpa nakasigirwa eyeetengerera enkozi ey’obuntu mu muntu owookusatu mu bungi? Bo.

    20. Ani yawandiika akatabo; Muto wa Kasooba Masagazi Fred.

    21.We yatuukidde ng’akooye nnyo nga n’enjala emuluma ekisusse. Mpa ekisoko ekiggyayo obulungi embeera eyo? We yatuukidde nga n’ow’embwa bamulaga mulage.

    22.Mpaayo omuzizo gumu ogugendera ku lumonde ? Omusajja ow’abakazi ababiri talya lumonde/ Lumonde tayokebwa ng’akyali ku nsobyo (omuggo).

    23.Nzize ne bba wange. Sentensi eyo gitereeze mu lulimi Oluganda olutuufu? Nzize ne baze.

    24.Koyi koyi; Katonda ali waggulu ne wansi ne buli wantu wonna? Enkota y’ettooke.

    25. Akatundu k’omukira gw’ente akasembayo okubeera obwoya obuwanvu kawe erinnya. Enkinga.

    26. Omuntu eyeesesaasesa bamwogerako nti amwenyereketa ng’ekikutuzi ekirabye eyeeyalira. Ekikutuzi kye ki? Ekiku.

    27.Malayo olugero luno; Ky’ofuna oyagala, bwe kikudibirira oyita Katonda………….. Nti ayi Katonda ssinga okinzigyako.

    28. Omwana mulenzi oyo yamenye ekikajjo omulundi gumu be………………… Ppwa.

    29. Olumuli olukalidde ku kikolo kyalwo n’omala olusanga eyo ku ttale oluyita otya? Olw’enkubiira.

    30. Ekikolwa eky’okukungula ebijanjaalo kiwe erinnya? Kukuula.

    31.Obusubi abayizzi bwe basuula ku kizigo okulaga nti ensolo kw’eri Omuganda yabuwa linnya ki?. Omwoleko.

    32.Ekyalo Salaama kisangibwa mu Kyaddondo ate Baamunaanika ne kisangibwa mu ssaza ly’e Bulemeezi. Mpa amannya ga Kabaka eyakuba ebibuga bye ku mitala egyo gyombi? Daudi Ccwa II.

    33.Ekizibu ekitaakutte tekikuwalirizanga kukola kintu kiyinza kukuviiramu buzibu. Mpa olugero olugya mu mbeera eyo? Entubiro etaakumire tekukwasa ku nkanaga.

    34. Mpa nakasigirwa eyeetengerera enkozi mu muntu owookubiri mu bungi? Mmwe.

    35. Ani yawandiika akatabo; Lwaki Abaganda Baabya Olumbe ? Ssentoogo Wilson.

    36. Mpaayo omuzizo gumu ogugendera ku muwogo ? Muwogo bw’aba akaawa tayatuukirizibwa. 37. Agenze ne bbaawe. Ssentensi eyo gitereeze mu lulimi Oluganda olutuufu? Agenze ne bba.

    38. Koyi koyi; Nnina mukazi wange abaana azaala lumu taddamu kuzaala balala…………. Ekitembe.

    39.Akawagu k’ettooke akasemba wansi kayitibwa katya? Kensubi. 40.Malayo olugero luno; Kye siirye kukkuta ndekera baana…………… Nnasswi takwata ku nkejje.

    41.Akakopo ako olwakataddemu caayi ne kaatika omulundi gumu be …………….. Ppya.

    42.Ebisagazi ebito bw’obinuulayo olwo biyitibwa bitya? Birumbirumbi.

    43.Ekikolwa eky’okukungula ebinyeebwa kiwe erinnya? Kusola.

    44.Omwana oyo atambula nnyo, ggwe ssebo atayinza na kulowooza nti ka mpummuleko! Mpa ekisoko ekigya mu mbeera eyo. Atambula ng’eyawunya mu bigere by’embwa.

    45.Omuntu okugamba munne nti amatu ge ga kikonge agamba nti tawulira. Amatu g’oku kikonge ge galuwa? Amatu ag’ekikonge ge g’obutiko obumera ku biswa.

    Published on: Thursday, 6th December, 2007

    #19727
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Kintu ki abantu bonna kye balina kyokka nga Adamu ne Kaawa kye bataalina? Tebaalina bazadde sso nga buli omu amulina.

    Omutwe ogw’empookowooko gufaanana gutya? Omutwe ogw’empokowooko gufaanana bubi nnyo,
    gubaamu ebiwonvu ate n’ekyenyi kiba kimpi. Omutwe ogw’engalama gwe gufaanana gutya?

    Guba mubyabyatavu ate nga munene era nga n’ekyenyi kimpi.

    Mu luggya lwa Kabanda waliwo abanaatera okusuulamu enkata. bakutenda okuvvuma kale kwata gannemeredde anaafuuka ensonga omuwolobole.

    Mu luggya lwa Kabanda mulimu omuwala agenda okufumbirwa ng’asaana kubuulirirwa.
    Abagenda okwanjula batwala ogwawasa nnyabo nga mu kita mwe gutwaliddwa kiruma omwenge, mu mbeera eyo kabula kata omukyala abalemereeyo.

    Ekita batwala kifaanana kitya? Okutwala ekita nga kiruma kuba tekuli luyina.

    Linnya ki eritagya mu mannya gano?
    Nakitokolo, Wansanso, Kalaala, Wankaaki
    Nakitokolo terigagyamu kubanga amalala miryango egiyingira ewa Kabaka.

    Kabaka aweebwa amannya agawera wano mu Buganda.

    Genda mu lulimi lw’abaweesi oggyeyo erinnya erimuweebwa ?

    Maggulunyondo.

    Njawulo ki eri wakati w’oluggya n’enju mu buvo bw’Omuganda?
    Oluggya luba lwa jjajjaawo ate enju n’ebeera ya kitaawo.

    Essinzi kyeki? Essinzi liba kkobe erigudde wansi ate ne lirokerawo.

    Empu kyeki? Empu ly’ettu ly’evvu, ery’ecaayi oba ery’enswa.

    Erinnya oli ly’ayitibwa mu Buganda likuyamba okumanya ebyafaayo bye wadde ng’oli tabikubulidde,

    weesigame kw’ebyo ombuulire Mperesi y’ani ? Mperesi ye mwana atakulidde mu bakadde be. Webyale ssebo?

    Wazze omazeeko nga muwogo, Muwogo amalako atya? Waggulu nva, wakati nku, wansi mmere.

    Kabanda atema nkoko. mu kigambo ‘nkoko’ wagikamu ‘o’ ompe amakulu g’ekigambo ekikoleddwa? Bw’ossaamu ‘o’ kifuuka ‘nkooko’ ne kitegeza okutema omulanga.

    Bwe wazze mu kuyonsa omuyini olwo ebyokulya n’obifuuwa mu ng’ombe.

    Okuyonsa omuyini yabadde akola ki? Yabadde alangazze, ng’ayimiridde oba ayoleseza obunafu.

    Bassekabaka ba Buganda bano bonna Kabaka Mutebi abayita baganda be okugyako omu yekka;

    Mwanga II, Daudi Chwa ne Mutesa I? Ssekabaka Mwanga II.

    Mu Buganda omuzzukulu tazaala muzzukulu, azaala ki? Azaala mwana.

    Kitaawo omumanyi naye ate bakitaabo be baluwa?Be balenzi bonna jjajjaawo b’azaala.

    Njawulo ki eri wakati w’omwana wa zzooboota ne Kizibwe?

    Kizibwe ye mwana wa ssenga wo ate ssenga y’ayita abaana ba mwanyina nti zzooboota.

    naye bonna babeera ba ssenga wo naye lwakuba nti omu abeera ku ludda lw’omuwala ate omulala n’abeeraku ludda lw’omulenzi

    Omusajja taata wa kizibwe wo gwe oba omuyita otya? Mukoddomiwo.

    Mu manya gano gonna londamu limu eritagajaamu ompe n’esomga lwaki;

    Bujjabukala, Bwanika, Kagerekamu ne Nabuzaana? Nabuzaana lwe litagajjamu kuba ebisatu ebiralala ziba nnyumba za Kabaka ezisangibwa mu Buganda.

    Ekimanyire bwe kiba, weekuse ku guno ogw’erira omunyale omaleeyo olugeero olwo? Ekimanyire bwe kiba amaaso g’omunya tegafa munyale.

    Ekiri ewala mpenduzo y’ekijja era malaayo olugeero luno nga wesigama ku kibumbe ekisookerwako oba ekiyigirwako?

    Eyo eba mindi, olugero lugwaayo be luti- ekiri ewala mpenduzo y’ekijja amalusu ga ssezaalawo ogalabira ku mindi.

    Amira bukago ate omulala amira bugobo, emboozi ezo enjawulo mpaawo ebyo bigambo byange gwe ogamba otya?

    Kituufu amira obugobo era aba amira bukago.

    Kabindi we bamutidde yabadde agogyedde Birabwa, Kabindi yabadde yefuunyiridde ku ki ku Birabwa?

    Yabadde aswamiridde, yebakiridde ategeredde Birabwa.

    Kano bwe kabula mu ngoma teba yiyo; akasule oba obusule, omutima gw’engoma,

    ery’okusatu yamba oliwe abawuuliriza? Omuzimu gw’engoma oba ndi kungulu.

    Jjamu ekitali kyamwo mu bino ebikuweeredwa: ennembe, ekimpukumpuku, embalule, bbonda?

    ……………………….. Bwanika yazaala abaana basatu bonna ne bafuuna amaka, kino kikoko kyegendereze Bwanika alina abako bameka?……………………………….

    Njawulo ki eri wakati w’ekitawuuluzi n’e kitawuuliro? Ekitawuuluzi kye kifo Kabaka we yagonjooleranga ensonga ate ekitawuuliro ky’ekisiki ky’omuliriro.

    Mu Buganda Kabaka tafa akisa mukono,

    ekyotto kizikidde,

    ng’ogyeko Kabaka tuweeyo omuntu omulala mu Buganda atafa?

    Ssalongo taffa yewuungula bwe wunguuzi n’Abalongo tebafa babuka bubuusi.

    Enkola y’okwetuuma amanya abiri amagatte ag’ekika ekimu mu Buganda kiba kikyamu ekyo bakikola mu bagwira,

    wano mu Buganda omuntu yatumibwanga erinya Nsuubuga Bwalyokwabe aba mutuufu?

    Oyo taba mukyamu kuba amanya ago ganjawulo si ga kika kimu kyalibadde kikyamu singa omuntu yeyiise Mubiru Nsubuga .

    Kabaka awebwa amanya mangi okusibuuka mu nsonda ez’enjawulo, mpaayo erinya lya Kabaka limu erisibuuka mu lulimi oluweesi?
    Kalemakansinjo.

    Ekikolwa eky’okutabula omubisi gunoge bulungi omuwembe oyinza okukyogera mu kigambo kimu kyokka n’ogamba nti ono? Asiwa.

    Omwenge guli mu kita bw’ogusunda gusobole okwetabula obulungi obuka bugubune olwo ogamba nti ?

    Akuya Yawula wakati w’ekitaliri n’ekisisiro?

    Ekitaliri kwe balinyira amenvu nga basoggola ne muvaamu omubisi ate

    ebisisiro bye biwedemu omubisi.

    Ekigambo ‘oluwe’ oli bwa kyogera oyinza okufuuna amakulu ga mirundi ena, gampe?

    Singa omuntu bamubba ebintu byonna asigala luwe,

    enviri bwe bazisaalako zonna oyinza okugamba enviri luwe,

    omuddo bwe bagulima ne guggwawo ettaka lisigala luwe, n’enkoko kwe zirinya luba luwe.

    Kato akolera nnyo ku nsiko, Rose asamba nnyo ensiko byonna mulimu ensiko naye tebifaanagaana, gwe owuulide otya?

    Kato okukolera ku nsiko Kato abeera alimu ebikolwa eby’obwenzi ate Rose musambi wa nsiko abeera musezi.

    #19728
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Enkata eranga omwenge ku kkubo eyitibwa etya?

    SEMEI WESSAALI akutuusaako ebimu ku bibuuzo ebisoyeddwa wiiki eno.

    1.Omuggulanda n’omuggalanda kalombolombo ki ke bafaanaganya mu mpisa y’okuwasa n’okufumbirwa?

    Tebawasa yadde okufumbirwa mu bika bya bannyaabwe.

    2.Ekita ky’omwenge tebakisunda. Bakikola ki?

    Bakuya kikuye.

    3.Mpa amannya ga Katikkiro wa Buganda eyasaba Gavumenti ya Bungereza (enkuumi) amazzi, poosita n’amasannyalaze?

    Michael Kawalya Kaggwa.

    4.Mpaayo ebigambo bibiri ekimu nga kiri mu mbeera eya bulijjo, ekirala nga kiriko akawakatirwa akalazi.

    Tema………..Temerera.

    5.Ekigambo sikaati kyagandawazibwa naye kirinayo erinnya egganda. Limpe.

    Ekipumpulira.

    6.Omuntu bw’alemwa ekintu waliwo ekisoko kye bamugerezaako, nga kirina akakwate ne Ntambi eyaliko Katikkiro wa Ssekabaka Kagulu Tebucwereke. Mpa ekisoko ekyo.

    Zikulemye, ezaalema Ntambi e Lubya.

    7.Empisa y’okuggya akaba ku njole ya Kabaka, ani yagidibya?

    Ssekabaka Muteesa 1.

    8.Tunaabiwulira, tadduukirira nduulu. Olugero olwo lutuyigiriza ki?

    Tusaana okuyamba bannaffe abali mu buzibu.

    9.Kiki ky’otegeera singa owulira ebigambo bino; Okubika abalongo?

    Kwe kulangirira nti gundi azadde abalongo.

    10.Ani yayimba oluyimba; “Baalaba taliiwo” omuyimbi mw’ategeereza nti ddala Omutanda yali abuze?

    Dan Mugula.

    11.Engalabi ez’omu lumbe tezivuga buvuzi, zikola ki?

    Zisekebbuka busekebbusi

    12.Emmere eno efaanana ey’omu ttaka wadde nga tekulira mu ttaka. Mmere ki ?

    Kkobe

    13.Malayo olugero luno; Ssekirembwe kitaakule……..

    Kizimba mu lumuli..

    14.Mpaayo amasaza ga Buganda abiri agasimbye ku mugga Kiyira?

    Bugerere ne Kyaggwe.

    15.Kabaka tawasa. Akola ki?

    Akuba nkanamu oba akula.

    16.Malayo olugero luno; Omuddu talwewa aluwa mukama we………

    Nti omwami enkya anaagenda mu kibuga.

    17.Mu Buganda mulimu omuti yadde ng’endabika yaagwo ssi nnungi, kyokka gulina akakwate ku Ssaabalangira. Muti ki?

    Omwennyango.

    18.Singa omuzadde atuuma omwana we erinnya eritali lya kika kye, wabula ng’aliggye bukojja oba mu beemikwano olwo tugamba nti aba akoze ki?

    Abbudde.

    19. “Nnyini kitiko talya bwa mpologoma”.Ekisoko ekyo kiri mu ng’oma ekubirwa omu ku baami abakulu wano mu Buganda. Mwami ani?

    Nnamasole..

    20.Mpaayo emizizo ebiri egigenda ku nseenene.

    Omukazi takwata nseenene nga bba taliiwo

    Omukazi tawa musajja atali bba nseenene.

    21.Akaddo abagenda okwanjulwa ke bagaaya, kayitibwa katya?

    Tonjatula oba Mukoweewumbeko.

    22.Ekyayi omusogozi kye yeekwatako aleme kugwa ng’asogola, Omuganda yakiwa linnya ki?

    Kigambwa.

    23.Yali Katikkiro wa Buganda eyasaba Abazungu amazzi, amasannyalaze ne poosita. Gwali mwaka ki?

    1946

    24.Ekigambo kanvaasi kya lulimi lungereza. Mu Luganda engatto ezo ziyitibwa zitya?

    Lusejjera.

    25.Bw’ogenda okukyalira omuntu n’otomulinda kukulaga w’otuula, ggwe n’otuula w’oyagala, oba weefaanaanyirizzaako omutaka w’e Ntebettebe. Omutaka w’e Ntebettebe (Kyaddondo) y’ani?

    Natuddedda

    26. Empisa y’okuggya akaba ku njole ya Kabaka yatandikira ku ani?

    Omulangira Kalemeera.

    27.Anaalemwa ebbuzi okutuga nti lintunuulidde. Olugero olwo lutuyigiriza ki?

    Bwe tulemwanga okukola bye tuteekwa okukola, tusaanye tumanye obunafu we buvudde.

    28.Ani yayimba oluyimba “Olulimi lwange” omuyimbi mw’annyonnyolera obulungi bw’olulimi Oluganda.

    Omugenzi Paulo Kafeero.

    29.Kabaka teyeebaka. Akola ki?

    Awummulako.

    .Mpaayo amasaza ga Buganda abiri agali mu nnyanja Nalubaale.

    Buvuma ne Ssese.

    30.Malayo olugero; Ebyokulya tebyandeeta……….

    Ng’omugenyi akiina nnyinimu.

    31.Eng’oma ezitendereza Omutonzi tebakuba nkube, bazikola ki?

    Bawuunya mpuunye.

    32.Waliwo akalombolombo k’omuwala omuto obutaleka mukulu we ku luggya ng’agenda okufumbirwa. Singa omuto asooka okufuna amutwala, bakola ki?

    Mwannyinaabwe aleeta ekita ky’omwenge eggulolimu, nga enkya y’embaga n’atwala mwannyina oyo omukulu omumwe. Naye aba tamuwasizza.

    33.Enkata abatunzi b’omwenge gye bateeka ku kkubo okulaga nti wano waliwo omwenge ogutundibwa eyitibwa etya?

    Enkaaka.

    34.Abaganda tebaasanyukira kya Katikkiro waabwe kusaba Bazungu masannyalaze. Lwaki amasannyalaze baageekengera?

    Mbu gaali gajja kukaza ttaka lyabwe.

    35.Teapot (Tipoota) kigambo kya lulimi Lungereza. Mpa erinnya lya Teapot ery’olulimi Oluganda.

    Bbuli.

    36.Mpaayo ebigambo bibiri, ekimu nga kiri mu mbeera eya bulijjo, ekirala nga kiriko akawakatirwa akajjuluzi.

    Vumbika………Vumbula

    37.Ekikolwa ky’ebinyomo okulya ennyama ku kaba kiyitibwa kitya?

    Kusira.

    39. Kiki ky’otegeera singa owulira ebigambo bino; Okumulisa abalongo.

    Kwe kunoonya abalongo abaabula.

    40.Kabaka talya. Akola ki?

    Aba mu bibbo.

    41.Mpaayo amasaza ga Buganda abiri agakwata ku nnyanja Nalubaale?

    Buddu, Mawokota, Busiro, Kyaggwe.

    42.Malayo olugero; Ssebuko bunaafa…………………

    Olabira ku nsugga.

    43. Emmere eno bw’efumbwa, ne bw’erwawo, mu kifo ky’okuvunda ekala bukazi. Mmere ki?

    Bikongo.

    44.Ensaasi z’omu ng’oma, tezivuga buvuzi, zikola ki?

    Zisaakaanya busaakaanya.

    45.Ani yayimba oluyimba; “Eddaame lya Ccwa”. Omuyimbi mw’abuulirira omusika wa Ccwa?

    Christopher Ssebadduka.

    #19729
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Ebirevu by’enkoko Omuganda abiyita atya?

    ENTANDA ya Buganda eyingidde ekitundu ekyokubiri ekiyitibwa Kyawulantamu.

    1.Ennyonyi eno olw’okutya omuliro ekisu kyayo ekiba ekinene ennyo , ekizimba ku muti waggulu oguli okumpi n’amazzi. Nnyonyi ki eyo? Naddibanga.

    2.“Okukoona ku Mujaguzo” kisoko, kitegeeza ki? Kuzza musango ku Kabaka.

    3.Omukazi bw’ayambala n’asuulira, anana nnyo. Bw’aba musajja nga y’asuulidde atyo tetugamba tutyo, tugamba tutya? Anagidde.

    4.Evvuuvuumira etto liyitibwa litya? Kisokomi.

    5.Amazzi g’omugga agali ku misinde egya yiriyiri, galina eddoboozi lye gakola. Liyitibwa litya?. Kuyira.

    6.Malayo olugero luno; Luzigo lwa mumanyi……………. Bw’osanga bw’otyaba.

    7.Ensuwa yavudde ku mutwe n’egwa omulundi gumu bwe be……….? Bbwa

    8.Mpa amannya g’omuwandiisi w’ekitabo “ Lwaki Sir Apollo Kaggwa yawummula?” Daudi Chwa II.

    9.“Teyalina buyinza”, lwe lumu ku nnyimba ezaacaaka ennyo wano e Buganda, Ssekabaka Muteesa

    11 bwe yakomawo okuva mu buwang’anguse mu 1955. Mpa amannya g’oyo ayeeyezebwa nga bw’ataalina buyinza? Gavana Andrew Cohen.

    10.Obudde obuziba buliisa enkoko omuddo. Mpa olugero olulala olulina amakulu ge gamu n’olwo waggulu. Omuyonjo omutono gukyama enkoko ekyensuti.

    11.Abaganda baakyawa nnyo emize era ne bayiiya n’ennyimba ezitali zimu nga zigenderera okuvumirira emize n’obuyisayisa obw’enjawulo.

    Mpaayo akayimba akajeeja ogumu ku mize egisinga obubi. Kabbira baamutema ekyambe.

    12.Embwa ziboggola. Erinnya eriri mu sentensi eyo liwuntuwaze. Wambwa.

    13.Omuntu bw’aba akkuse nnyo waliwo ekisoko ekikozesebwa okutegeeza embeera eyo. Kimpe. Olubuto okuba nga lumuli mu mannyo.

    14.Omuleezi w’eng’oma alina ejjembe ly’agiteekamu ng’agireega. Liyitibwa litya? Ndikungulu.

    15.Ebirevu by’enkoko Omuganda yabiwa linnya ki? Mayunju.

    16.Ennyonyi eno wadde ng’eyita mu bire, Abaganda baamanya dda nti terya bire kye bava bagitega. Bagitegesa ki?

    Mafumu.

    17.“Okukwata mu mmanvu” kisoko.Kitegeeza ki? Okujulira ewa Kabaka.

    18.Oluusi abakyala bwe beesiba gomesi bayinza okuwogola. Mpa ebigambo ebirala ebitegeeza okuwogola? Okutaayira omugongo.

    19. Eggongolo ekkulu ennyo era nga ddene nnyo, Omuganda aliyita atya? Nakawuka.

    20.Enswa ennyingi eziva mu kiswa zirina eddoboozi eriwulirwa lye zikola.Liyitibwa litya? Okupukula.

    21.Malayo olugero luno; Ekkubo litemwa mukulu……… Nga tebannabagoba.

    22.Enjuki yavudde eri n’ennuma omulundi gumu be ………. Jjwi.

    23.Bwe nkuwa erinnya ly’ekitabo nga ggwe ompa amannya g’omuwandiisi waakyo.“ Engero amakumi Abiri mu Ebbiri? Ekibiina Ky’Olulimi Oluganda.

    24.“ Asinziira Salaama, N’alengera ebifa e Mmengo” oluyimba olwo lwacaaka nnyo mu Buganda ku mulembe ogumu. Gwali mulembe ki ogwo? Mucwa II.

    25.Kikonyogo bakikasukira kulaalira ne kijja n’ebirimba.Mpaayo olugero olulala olulina amakulu ge gamun’olwo waggulu. Baazibumbira kwatika ne ziramira mu kyokero.

    26. Musisi atema emiti. Ekikolwa ekiri mu sentensi eyo kifuule Nnakongezalinnya Mutemi

    27.Omusana bwe gwaka ennyo waliwo ekisoko kye tweyambisa okutegeeza embeera eyo. Mpa ekisoko ekyo? Omusana okwaka ne guzuukusa ne Kaweekwa e Gangu.

    28.Ekitundu ky’eng’oma ekyawaggulu kye bakubako kiweebwa linnya ki?. Bbusu.

    29.Omuntu bw’akugamba nti genda mu katale ondeetere olubuuya, olwo omuleetera ki? Ekyennyanja ekikazibwa n’omusana.

    29.Omukazi Omuganda okwambala n’abuuta aba ayambadde atya?. Ng’aggumidde.

    30.Nnyonyi ki erabula abatambuze b’ekiro naddala singa mu maaso eyo ebaayo abantu abalala?Olubugabuga.

    31“Okuwa ekitooke omutemero” kisoko . Kitegeeza ki? Okuwa omuntu omusingi omulungi ng’akyali muto.

    32.Empologoma envubuka eyitibwa etya? Empalabwa.

    33.Eddoboozi eriva mu mmundu liyitibwa litya? Omusinde.

    34.Malayo olugero luno; Ekyokwebikka kirintwala akapaalo……………… Nga gy’anaakiggya amanyiiyo.

    35.Embwa yamulumyeko ekifi omulundi gumu be…….. Kkecu

    36.Ani yawandiika ekitabo “ Eddiini mu Uganda”? Rev. Fr. Joseph Ddiba.

    37.Baseesa gwaka. Mpa olugero olulala olulina amakulu ge gamu n’olwo waggulu. Batindira kibaze.

    39. Maama Emma yawuliddwa ng’atuma maama Musiitwa nti ndeeteraayo ku malombe. Gwe baatumye amalombe yaleese ki?. Yaleese mazzi

    40.Eng’oma ebeera n’enng’ango bbiri omusibibwa olwambalizo. Eng’ango ezo ziwe erinnya eddala. Matu.

    41.Omuntu enjala bw’eba emuluma nnyo waliwo ekisoko kye yeeyambisa okutegeeza embeera eyo. Olubuto okuba nga lumuli ku mugongo.

    42.Nsanze wali ente. Erinnya eriri mu sentensi eyo liyinjiwaze. Eggana ly’ente.

    43. Ennyimba zaakola nga kinene mu kujjumbizisa abantu okukola emirimu.Mpaayo akayimba akayeeya obunafu? Amagezi g’omunafu ngamanyi……….!

    BYA SEMEI WESSAALI

    Published on: Tuesday, 13th November, 2007

    #19730
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    . 1.Kimenya mpisa ya nsi okukaabira mu nju y’omugenzi oluvannyuma lw’okussaako omusika anti kiba kikungula omusika.

    Ataaliwo mu kwabya olumbe bw’ajja akaabira wa? Mu Lwayaba.

    2.Omuntu bw’akugamba nti “Mbadde nzija ne nsanga ekyogoobe omanya nti asanze ki? Embwa ennyingi

    3.Mu Buganda ku mulembe gwa Ssekabaka Mwanga mwalimu ekitongole ekyavunaanyizibwanga ku kugumbulula abakozi b’ebikolobero.Ekitongole

    ekyo kyali kiyitibwa kitya? Kisigula

    4.Abantu abamu tebafa ku bintu bya bannaabwe,bamala gabikwata nga bwe baba balabye.Mpa olugero olutuukira obulungi ku bantu bano. Atali nnyini mbooli, asima aligguula

    5.Mpa amannya g’Omuwandiisi w’ekitabo; Kalimagezi Omuzirakisa? Rev.Fr. F.X Mbaziira

    6.Batte tumulabye.Ennukuta “e” ku kigambo tumulabye mu sentensi eyo eyitibwa etya mu ggulaama w’olulimi Oluganda? Kabonero ka kiseera ekiyise

    7.Abaganda okwekalakaasa olw’obutali bumativu ku ngeri ensonga z’ettaka gye ziba zikwatiddwamu, tekitandise myaka gino, anti ne mu 1917 kyaliwo.Ekibiina ekyategeka okwekalakaasa okwo kyali kiyitibwa kitya? Bataka Movement.

    8.Mpa ekisoko ekitegeeza omuntu okukola ekintu ekinyiiza banne ye n’alabika nga tafaayo? Okukunnumba ng’embuzi eyasizza entamu

    9.Jjuza ekisoko mu mpungu erekeddwawo; Omwana oyo akaaba nga……….. Njoga.

    10.Waliwo ejjinja ly’Abengo eriyitibwa Nakyejwe erigambibwa nti lyamira abaana.Lisangibwa mu ssaza ki? Butambala

    11.Olulagala olusibwamu enkoko egenda ku buko luyitibwa lutya? Olukeete

    12. “ Okulya omuntu enkokola kisoko”. Kitegeeza ki? Okutwala ensimbi z’omuntu n’otakola mulimu gwe.

    13.Engabo eyitibwa ennyami y’eba etya? Y’erukiddwako n’enjulu

    . 14.Ejjenje ekkazi liyitibwa litya? Essaabi.

    15.Malayo olugero luno; Wambwa ayiggira agage……… N’aga mukama we

    16.Basimba oluwaanyi emitwetwe w’entaana ne bassaako n’akalagala ke basala ku kitooke kwe baayunze ettooke ly’omukolo. Ebyo babikolera ku mukolo ki? Gwa kulima biggya.

    17.“Mwana ggwe otambula ekiro, naye bw’oligwa mu kikwangwa olikola otya?” Ekikwanga kye ki? Ekibondo ky’abakozi b’ebyambyone

    18.Mpinga yali mu mbowa. Effumu lya Mpinga ery’omulimu liyitibwa litya? Ndabamuliiso

    19. Tekiba kirungi kulekera bannaffe mirimu naddala egyo emikalubo.

    Mpa olugero olugya mu mbeera eyo.

    Omukomago ddiba lya mbogo,terizingwa omu.

    #19731
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    20.Mpa amannya g’omuwandiisi w’akatabo; Magezi Muliro.? Ssennambi Muhammad

    21.Batte tumulabye.

    Ennyingo “tu” eyitibwa linnya ki mu ggulaama w’olulimi Oluganda? Nakasigirwa enkozi.

    22.King Freddie, mu katabo ke, ke yatuuma The Desecration of My Kingdom, waliwo w’agambira ebigambo bino;
    “Ekimu ku bintu ebisobola okutabangula emitima gy’Abaganda y’ensonga y’ettaka”.
    Ensonga eno yavaayo mu bulungi mu 1998 etteeka ly’ettaka lye tutambuliramu bwe lyayisibwa.
    Abaganda kino baakikola batya? Nga bakungubaga (Baayambala ekkanzu enteera ne basiba ebimyu.Tebaakuza matikkira ga Kabaka ag’omwaka ogwo.

    23.Mpaayo ekisoko ekitegeeza omuntu okuba ng’ayagala nnyo ekintu? Okukyagala ng’awava erinnyo.

    24.Jjuza ekisoko mu mpungu erekeddwaawo; Omusajja oyo adduka nga……………… Kaweewo

    25.Waliwo ejjinja ly’Abenkima eriyitibwa Ssali, erigambibwa nti lyasenguka okuva ku lukalu ne lidda mu nnyanja. Lisangibwa mu ssaza ki? Mawokota.

    26. Olulagala oluteekebwa mu ntamu omuli amazzi galeme kuyiika ng’ogeetisse, luyitibwa lutya? Olubuzo/ Oluwuzo

    27.“Okusereekerera ku kitaggumira” kisoko. Kitegeeza ki? Kulya.

    28.Engabo eyitibwa ey’Ensinga y’eba etya?. Erukiddwako n’ebibo.

    29.Okukaaba kw’ejjenje kuwe erinnya. Kulanga.

    30.Malayo olugero luno; Atazze mbwa ye kumpi………… Nti eyange eyigga n’ekiro.

    31.Bwe baba balima ebiggya bigambo ki bye boogera nga babitegeeza omugenzi? Munnaffe totululumiranga, tumaze okukulima, abazzukulu obakkirizanga ne bakuzannyirako.

    32.Musisi yawuliddwa nga yeebuuza nti, “Ani aleese wano olwegeeya?”. Olwegeeya kye ki? Embaata ennyingi.

    33.Abambowa abaakuumanga emmanju wa Kabaka baaweebwanga linnya ki? Batete.

    34.Mpa amannya g’omuwandiisi w’ekitabo, Ssempala Bba Mukyala Ssempala? Wycliff Kiyingi.

    35Batte tumulabye. Ennyingo- mu- eyitibwa etya mu ggulaama w’olulimi Oluganda? Nakasigirwa ekolebwako.

    36.Obusuulu n’envujjo bye bigatta nannyini ttaka n’omusenze.Etteeka eryassaawo busuulu n’envujjo lyakolebwa mwaka ki? 1928

    37.Jjuza ekisoko mu mpungu erekeddwawo; Omukazi oyo atemya nga…………… Kikami.

    38.Waliwo ejjinja ly’Abeempeewo eriyitibwa Kkungu erigambibwa nti edda lyali lyogera. Lisangibwa mu ssaza ki? Kyaddondo

    40. Engabo etali nduke eyitibwa etya? Mpaala.

    41.“Omuzadde omusajja okusala ekisasi”, kisoko. Kitegeeza ki? Okutuula n’abaana be ku lujjuliro

    . 42.Ejjenje essajja liyitibwa litya? Ekkaabi

    43.Olulagala olusibwa mu ntamu esaaniikiddwa luyitibwa luyina. Mpaayo erinnya lyalwo eddala. Olukubiro

    44. Malayo olugero luno; Embwa yange tebba………….. Ng’eyise ku lwa taba

    45.Abakondeere bakwanya kimu, Kye kiri wa? Mikka.

    Published on: Thursday, 15th November, 2007

    #19732
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Kintu ki omuntu ky’asembayo okugaba ku nsi?

    OMUKONTANYI Omusoga yeenenyezza engule ya Simba n’agirekera Abaganda oluvannyuma lwa mukontanyi munne okumuwangula.

    Prossy Nabirye ey’eddira e Mbogo okuva e Bwaise yawanguddwa Moses Sserukka ey’eddira e Nkima okuva ku kyalo Busulu e Luweero ku bubonero 22 ku 18 n’agenda ku lukontana oluddako.

    Namulanda bwe bamumala nga bagenda mu ‘Ziddokunywa’ mwe babuuliza ebibuuzo 12 n’oluseembayo olwa ‘Ffululabiswa’ namwo ne babuuzamu ebibuuzo 12 kwe bajja omuwanguzi w’olunaku.

    1. Namuginga awalana kikajjo ate kasooli n’awalanyizibwa ki? Ndiwulira.

    2. Kabaka tafa akola ki? Abula.

    3. Omunwe gw’amatooke oguvudde ku ttooke ne gugwa baguyita batya? mpaguka

    4. Assa muwemba ku mwenge? Asiwa

    5. Assa mmere mu ntamu ng’eno bwabikkako endagala? Asaaniika

    6. Konoweeka? Tokalinda kusaabaana ttaka

    7. Mwamawattu olinkutula akaligirigi, olowooza akaligirigi kye ki? Nkizi

    8. Bwe nagenze ewa Musa okulyayo obugenyi kyambuuseeko, anti kye nnasanzeeyo baabadde batabaazi bokka, abatabazi bwe tubatwala mu kiti ky’okulya bakuwadde ki? Bijanjaalo naye nga byabuzeemu omuliro

    9. Nyamba ompereeze w’oliggwa yange oyo tulabe, mba nkutumye ki? Engabo.

    10. Lugero lumaleeyo, Asimasima akatiiko? Yakaggyaako omukonda.

    11. Eggye ekise? Lirwanira mu kyama.

    12. Kikuva munda ddala kituufu tekiba kibi naye omwana gwe wazaala yafuuka mugogo, omwaana wo ali mu mbeera ki ? Munafu teyeesobola era bayamba muyambe

    13. Omuntu ey’ekenneenya obufuzi bwa Buganda tayinza kusussa liiso ebika,

    ebika z’empagi okuzimbibwa Obuganda mu ngeri y’enjawulo kale no omutaka asookerwako mu

    Bataka ab’ennono ayitibwa ani? Omutaka w’olujja

    14. Ssaabasajja aweebwa erinnya erimufaananya omutenza ggulu, linnya ki eryo? Musisi

    15. Singa oyagadde okwogera ku kitaawe wa Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II n’osabibwa oweeyo amannya ng’asatu, onaawa mannya ki? Sir Edward Muteesa Walugembe II

    16. Mu Buganda twawula tutya ku Abataka b’ennono ku bataka abafuna obufunyi erinnya eryo okusinzira ku bugundiivu bwabwe mu bitundu byabwe mwe bali?

    Abataka ab’ennono bbo bansikirino ate bali abalala bayitibwa abatakansi kuba balondebwa bulondebwa ku nsi.

    17. Ennukuta okuzimbibwa ebigambo mu luzungu tuziyita ‘Alphabet’ ate mu Luganda ne tuziyiita tutya? Walifu

    18. Mwana wange Nabakooza ebintu ebikozesebwa mu kiyigo tobiteekanga mu ffumbiro,

    mpaayo ebirala bisatu ebigwa mu kiti ekyo?

    Essefuuliya tegenda mu kaabuyonjo, ebbaafu tegenda mu ffumbiro, ekinu omusekulirwa ebinyeebwa tekigenda mu kaabuyonjo.

    19. Ddamu kituufu oba si kituufu, Maseeneko era ye Byekwaso? Kituufu

    20. Kasita basuula enkata mu lujja ng’ekyama kitiddwa? Kituufu

    21. Ekyaatiti kya Nte gwe n’oba ng’olina ki?………………………..

    22. Kabuye mukwano gwange nfa nfe, oli bwa wuulidde emboozi eno emitaafu ne gimwetimba mu kyenyi olowooza lwaki? Ssebo ekigambo tekiba nfa nfe naye kiba ffa nffe

    23. Kazzi omutaka Ssezinnyo atuula ku mutala ki? Abeera mutakka w’embuule.

    24. Ate omutakka we Ssambwe n’abeera ani? Nabugwamu.

    27. Kintu ki omuntu ky’asembayo okugaba ku nsi? Buba bulamu kuba ng’omuntu assa omukka ogusembayo agamba nti obulamu bwange mbukwasiza Katonda eyantonda.

    28. Mw. Richard Ssemakula yazaala abaana abalenzi 10 ate buli mwana mulenzi alina mwannyina, Ssemakula alina abaana bameka?

    Alina abaana 11 kuba mwannyina omu abeera mwannyina wa buli mulenzi kw’abo 10.

    29. Omuntu asobola okwefuula atamanyi naddala singa wabeerawo obwetaavu bw’amagezi ge eri abalala bwe kibaawo tugamba omuntu oyo aba akola ki? Aba yeesiiriwaza.

    30. Omuganda akukubiriza bulijjo obutejeeguula, atamanyi kwejeeguula kimubuulire ng’omugereza ku nswa?

    Okwejeegula ku nswa kuba enswa eba tennatuuka gy’eraga nga yeeyambula kwe tuyita okwejeeguula .

    Published on: Wednesday, 21st November, 2007

    #19733
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Eng’oma ‘Bwenunudde’ evuga ddi mu Buganda?

    2.Ekikolwa eky’okuddaabiriza ebita ebyatise kiyitibwa kitya?

    Okuganda.

    3.Kabaka bw’afunira Obuganda Nnaabagereka, waliwo eng’oma evuga. Eng’oma eno eyitibwa etya?

    Bwenunudde.

    4.Mpa amannya ga Ssekabaka eyawangula essaza ly’e Ssese?

    Tewali, lino essaza lya balubaale.

    5.Ssekabaka Kamaanya yayisa ekiragiro ekyatuuma (“ Ekya Kasaagira”. Kyali kigenderera ki?

    Kukuuma bufumbo.

    6.Endawule egenda n’eggoong’onnyo! Ekitooke okuggyibwa eggong’oonyo eryo kiyitibwa kitya?

    Nabyewanga.

    7.Ekiryo tekiranda, kikola ki?

    Kikuukuuta.

    8.Mpa erinnya erigatta ebigambo bino; Mityana, Rwenzori,Namatovu, Kidepo.

    Mannya ga nkalakkalira.

    9.Kabaka bw’agenda okukuba enkanamu, aweereza bakadde b’omuwala ebintu. Ebintu ebyo biweebwa linnya ki?

    Ndaalira.

    10.Ekikolwa ky’okuddaabiriza oluggi olwa muluke olukutuseemu enzizi, kiyitibwa kitya?

    Okusiita.

    11.Mpa amannya ga Kabaka eyawangula essaza ly’e Ggomba.

    Ssekabaka Kateregga.

    12.Eddaala lye beeyambisa okuyimbula omutuba lissibwako enkata. Enkata eyo eyitibwa etya?

    Bwenyi.

    13.Empandiika y’olulimi Oluganda entongole gye tugoberera kati yatongozebwa ddi?.

    1947.

    14.Ebisigo by’ekita Omuganda yabiwa linnya ki?

    Bisimbo.

    15.Omukwasi w’enseenene bw’awulira enseenene nga zikaaba, agenda okulinga.

    Akwata enseenene emu n’agiggyako omutwe n’agisulika. Kino akikola alina ebigambo by’ayogera.Bimpe.

    Sirya nseenene ng’enda Bujubi.

    16.Malayo olugero luno nga bwe lwogerwa. Ekinene kigenda na kusingirwa………..

    Enseenene zigenda na vvu.

    17.Ekifo ekyali kibaddemu ebyagi olina ebimera kw’oyinza okukitegeerera. Bye biruwa?

    Ssettaaba.

    18.“Okukongojja omumbejja” kisoko. Kitegeeza ki?

    Kunywa mwenge n’otamiira.

    19. Abambowa edda baakozesanga malenge okubaguliza ku bannaabwe. Amalenge gakolwa mu ki?

    Kiwuuwa.

    20.Omuntu gwe bagamba nti “Yakoma entamu” y’aba atya?

    Tawasa kyokka talina nsonga.

    21.Embuzi bw’ogisanga nga omugwa gugituze, okola ki?

    Ogiggyamu omuguwa n’ogisala obulago n’ogiziika.

    22.Kinyonyi ki Abaganda kye boogeza ebigambo bino; “Eeh, buno si bwavu bugagga!

    Kataayi.

    23.“Omuge ogutikkirwa Ssaalongo omukulu ku mukolo gw’okumala abalongo, gukolwa mu ki?

    Byoya bya nkusu.

    25.Ani yawandiika akatabo “Omuganda N’enswa”?

    Jackson Kaswa.

    27.Malayo olugero luno; Ajjanjaba omulwadde si y’amusikira.

    Enswa tezibuukira mu mpompogoma.

    28.Ssekabaka Muteesa II bwe yawang’angusibwa mu 1953,waliwo omuntu eyagamba nti Kibuuka Omumbaale yali amuzze ku jjoba era n’alagula nti Kabaka yali wa kudda mu nsi ye n’obuwanguzi. Mpa amannya g’omuntu oyo.

    Kibuuka Kigaanira.

    29.Yasuzeeyo. Ebigambo ebyo bisikize ekisoko ekituufu.

    Yaliddeyo ekisula.

    30 Engabo eyali ey’omuzira olina engeri gy’oyinza okugitegeererako. Ogitegeerera ku ki?

    Ku nkovu.

    31.“Okukongojja Ebbemba” kisoko.Kitegeeza ki?

    Kukongojja Kabaka.

    32.Enseege kivuga ekisaakanyiza mu bivuga ebirala.Enseege ekolwa mu ki?

    Buseekende n’amalanga.

    33.Omwana gwe bagamba nti “Baamukuba enkinga mu mutwe” y’aba atya?

    Atawulira bakulu.

    34.Ne kasooli yeetuga, yeetuga atya era kiki ekikolebwa?

    Yeemenyamu ng’omususa olwo n’asuulibwa mu luggya.

    35 Kinyonyi ki Abaganda kye baggyako ebigambo bino;

    “Ssaabasaaliza abaana mwerolere”

    .Nng’aali.

    36. Ku mukolo gw’okumala abalongo, kubeerako okuzina amazina.Ssaalongo empina z’azinisa ziva ku ki?

    Nsansa.

    37.Ani yawandiika akatabo Nkyalira Walumbe e Ttanda?

    S. Kaddu.

    38. Emirimu gye tukola tusaana okugiteekamu obugumiikiriza, anti obuwanguzi oluusi kiba kitwala ebbanga okubatuukako. Mpa olugero olugya mu kunnyonyola okwo.

    Asimba kasooli tamulya makoola, amulinda kwengera.

    39. Malayo olugero luno; Atabubira nsiko ye taliira……….

    Emisu tegirya mwami.

    40.Omukazi bw’akwata enseenene n’atuuka awaka nga bba taliiwo akola atya?

    Ayita enkoko empanga n’ataako enseenene emu enkoko n’egirya.

    41.I K Musaazi ye yatandikawo ekibiina ky’eby’obufuzi ekyasooka mu Uganda. Gwali mwaka ki?

    1952

    42.Amaka agaali gabaddemu ente, waliwo ebitonde kw’oyinza okugategeererako. Bitonde ki ebyo?

    Kalandalugo / Amayirikiti.

    43. “ Okukongojja Ndawula’’ kisoko.

    Kitegeeza ki?

    Kulwala lukusense.

    44.Ekkondeere kye kimu ku bivuga ebivugira Kabaka. Kiki kye bakolamu ekkondeere?

    Omuboga.

    45.Omuntu gwe bagamba nti, “Baamuyoola ettaka” y’aba atya?

    Nga talina mukisa.

    46.Ettooke lyetuga litya era kiki ekikolebwa ng’olisanze?

    Enng’o yeewanula waggulu n’egwa ku ttaka. Esuulibwa ku kkubo oba ku ttale.

    Published on: Thursday, 22nd November, 2007

    #19734
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Njawulo ki eri wakati w’ekiggya n’amagombe?

    Bya Richard Ssemakula

    Bino by’ebibuuzo ebyabuuziddwa ku Lwokusatu;

    1.Ggyako eddiba ku nsolo, kuba kukola ki ? Kubaaga.

    2.Nywa ku mwenge olabe oba gwayiisiddwa bulungi. ekikolwa ekyo ne tukiyita? Okulega ku mwenge.

    3.Awandiika by’ayagala bikolebwe ng’afudde, aba akola ki? Aba alaama.

    4. Gano amayinja asatu kwe batuuza entamu nga bafumba, bagayita batya? Masiga.

    5.Essinzizo lya bajjajjaffe ne tuliwa linnya ki? Ssabo

    6.Saba mu nsaba eri eya bajjajjaffe eyedda ?…..……….

    7.Ekika kino kyesiimye anti kye kifumba embuga kati? Musu

    8.Erinnya Ssenga ne ligwaayo litya? Ssenga tewali mukazi wandibadde kitange.

    9. Abaganda bokka be basibuka mu jjajja ffe Kintu .

    10. Ssaabasajja omukolo gw’okuziika akola gumu gwokka mu Buganda abaffe Ronald Muwenda Mutebi ogugwe yagumala dda oba tannaba? Tagumalanga.

    11.Ssenga ne muwala we basobola okufumba mu ddya erimu. Nnimbye oba sirimbye? Tolimbye.

    13.Tolaba nnaku zino bamaama kugenda mu ntalo zaabwe nga bakakaatanye n’ebintu by’omwana atannaba kuzaalibwa, edda kyali kivve,

    empanuuza ku kino yali etya? Nti singa ateekateekera omwana gw’atannaba kulabako oba kuzaala,

    kyawanuuzibwanga nti munda mu lubuto muyinza okubeeramu ekikulekule.

    14.Singa nnazadde gannemeredde

    nnaalimutuumye Nambi wabula engeri gye nnazadde nantukirira mmutumye Mukasa.

    Omwana gwe nnazadde aliko mawano ki? Alina endira bbiri kuba wasooka kugenda wa jjajja Mukasa okusaba oluzaalo

    15. Mu kutikkira Nsamba, omukolo gw’okufumita ensolo gubeera ku mwanjo nnyo,

    ensolo gy’afumita eba ya kika ki era eyitibwa etya? Ebeera nte ey’ekika kya kayinda.

    16. Kabengwa kanyomu, kanyomu kabengwa. Kwanaganya ebigambo ebyo tulabe

    Kanyomu y’ente ya Kabaka aba Nakinsige gye balunda.

    17. Kabaka bw’omuyita ‘Kkalata’ tokoma kusekererwa naye bayinza n’okukuyisaako ow’embuya n’olwekyo kitwale nti erinnya Luliika teririiyo.

    Mu luliika ggyamu ettuufu ate ogerenjule? Mu luliika nzigyamu Luli ka kuba luli ka terubulwa kye lukola.

    18. Ku lyato bwe njogera ku kitundu ‘ggulumba’ otegera ki?……………

    19.Mwannyina wa Kabaka owokubiri asingayo obuto y’ani? Omumbejja Diana Teyeggala

    20. Mu bazaana ba Kabaka, muzaana ki amanyiddwa ng’emu ku mpagi eziwanirira obwaKabaka? Omuzaana Nassaza.

    21.Ono Ssekabaka yatta nnyo emmandwa n’azimalawo naye ebyavamu tebyali birungi.
    Yali Ssekabaka ki oyo era n’ebyavaamu bisomese oyo atabimanya? Ssekabaka Tembo .

    22.Weegendereze obulombolombo bwa Buganda. Olowooza lwaki Kabaka oluguudo lwe Nabulagala taluyitamu ng’agenda e Kasubi ku Masiro?

    Olwo oluguudo lumutwala amaze okukisa omukono.

    23. Bwe nkutuma ettabi ly’omuti eriyitibwa ‘Omwesigama bakyala’ bw’ogenda mu kibira osibira ku muti ki?

    Osibira ku muti gwe bayita omusasa.

    24. Emiryango egiyingira mu mayumba gyonna giyitibwa miryango

    naye ate bwe njogera ku kiryango ekibi otegera ki?

    Ekiryango gwe mulyango oguyisibwamu enjole ya Kabaka oba abalala abali mu ttuluba eryo mu masiro.

    25. Mpalanyi n’abalala abawuliriza bategeeze amakulu g’ekigambo akanena?…………

    26. Okuyomba ettulumuko ng’ayombera ogukaze, guno mu ki gwaba ayogerako? Omukwano.

    27.Ofunye ekkobe ate ng’oyombera essinzi? Kozzi essinzi kye ki? Essinzi gy’emirandira gy’ekkobe.

    28. Luno lugero lumaleeyo; Kibeere kya nkukunyi? Owanda mu ngalo amalusu n’olyoka okisitula.

    29. Kimanje nalwo lugero lumaleeyo? Bwe kita ensuwa nga lujjo.

    30. Kola emboozi mu kigambo kino atakimanyi akitegeere ‘Okusoboya’ ? Kitegeeza kunoga, Mukwate ebibbo baana mmwe tugende tusoboye ettimpa.

    31.Njawulira wakati w’ekiggya n’emagombe? Ekiggya ky’ekifo ekyenkalakkalira we baziika abafu ate emagombe kifo ekibeerawo kaseera buseera nga baziika.

    32. Ekifo kye tugambye waggulu kiyitibwa ekiggya, olowooza kyava ku ki ?

    Ekigambo kiggya kyava nti edda bajjajjaffe bwe baafanga nga babaaziika mu luggya olwo olubadde oluggya ne kifuuka ekiggya.

    .Tuweeyo ebintu bisatu eby’enkukunala Radio Simba by’esinza ku leediyo endala? Essomesa olulimi oluganda ng’eyita mu Ngule, Etutegekera Ekiggunda ky’omwaka e Nakivubo era ye leediyo eweereza mu lulimi oluganda lwokka abantu lwe tusinga okutegeera .

    Published on: Sunday, 25th November, 2007from bukedde

    #19735
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    1.Lumonde enkukumu gwe munwe gwa lumonde ogubeera gwekwese mu lwaliiro.
    Kalombolombo ki akali ku lumonde oyo?

    Aliibwa nnyinimu.

    2.Siraje Ntumwa aleese obwana bw’enkoko obutandise okubuukira emiyagi.

    Ebigambo obwana bw’enkoko obutandise okubuukira emiyagi bisikize ekigambo kimu?

    Obwambulabbombo.

    3.Ensonyi ezisusse zifiiriza. Mpa olugero olugya mu mbeera eyo.?

    Omukono ogw’ensonyi tegukkusa baana baagwo.

    4.Mpa amannya ga Kabaka eyadibya okuggya Bassekabaka obuba.

    Walugembe Muteesa 1.

    5.Mpaayo ekintu kimu omukadde omukazi ky’atateekwa kuwa musajja awasa muwala we ( nga kyakulya).

    Gonja/ kasooli.

    6.“Tuva kulima”. Mpa ekisoko ekigya mu kunnyonyola okwo.

    Tuva kuliisa ggoonya.

    7.Ani yawandiika akatabo; “Tokiiya Ng’onge nto”?

    Robert Mukasa.

    8.Enjoka eziruma abaana abawere era ne zibakaabya, Omuganda yaziwa linnya ki?

    Obwandu.

    9.Ekikolwa eky’okutwala ente mu kifo mwe zinywera amazzi, kiyitibwa kitya?

    Okweserera.

    10.Essubi lye basasira mu nju okutuulako bwe likaddiwa liyitibwa litya?

    Kkukuuzi.

    11.Olulagala omukyala agenda mu ssanya okuzaala lwe bamusiba luyitibwa lutya?.

    Kiyina.

    12.Malayo olugero luno; Nnaagunywanga ne nsulayo…………….

    Nga gy’agunywedde gy’akwanye..

    13.Mu nsinza y’Abaganda ey’ennono mulimu ebigambo bino; “Lubaale okunywera ku jjoba”. Bitegeeza ki?

    Lubaale okwerondera omuntu gw’aba yeerondedde.

    14.Mpa erinnya eddala erya nkokonkulu?

    Oluguve.

    15.Bw’oba ogenda okulya lumonde, oddira omunwe n’okunyuulako akatundu n’okasiigako mu bulago nga bw’oyogera ebigambo bino;

    “Nkuseerereza ddala”.Makulu ki agali mu kintu ekyo?

    Oba ogema kikeeto.

    16.Amata g’embwa bw’ogagattamu olufufugge lw’ekimuli ky’omulamula, n’ogattamu n’omwenge n’owa omuntu gw’oyagala ave ku mwenge, aguvaako.

    Ebigambo “amata g’embwa” bisikize ekigambo kimu.

    Amabwabwa.

    17.Eyali afunye ekizibu buli kaseera aba yeekengera. Mpa olugero olugya mu mbeera eyo.

    Eyali alumiddwa ku musota, bw’alaba omunya adduka.

    18.Edda omusajja bwe yafanga, ng’asikirwa muganda we oba muzzukulu we.

    Yali Kabaka wa Buganda eyadibya empisa eno, olwo abaana ne batandika okusikira bakitaabwe.

    Kabaka ki eyatandikawo empisa eyo?

    Mukaabya Muteesa 1.

    19. Kizira mukaamwana okukwasa ssezaala we ekintu. Mpa ekintu kyokka mukaamwana kyakkirizibwa okukwasa ssezaala we?

    Omwana.

    20. Baatuukayo ne bamulabako. Mu kikolwa baatuukayo, ennyingo -yo eyitibwa
    linnya ki mu ggulaama w’olulimi Oluganda?

    Nzirugaze.

    21.Abaana baayombye ne batuuka n’okulwana. Mpa ekisoko ekigya mu mbeera eyo? Baalidde matereke.

    22.Ani yawandiika akatabo; Emmwaanyi gye Weesiga”!

    Grace Nagaddya.

    23.Enjoka eziruma abawala abatandika okuvubuka, Omuganda yaziwa linnya ki?

    Za ddumi.

    24.Ekifo ente kye zigumbamu nga zimaze okunywa amazzi kiyitibwa kitya?

    Ssaazi.

    25. Essubi erisalibwa olw’okubikka olusuku, Omuganda aliyita atya?

    Ssisiro/ ggugu.

    26.Endagala ze baaliirira mu nvubo y’ekiswa olw’okuttiramu enswa, Omuganda aziyita atya?

    Bitutubiko.

    27.Malayo olugero luno; Naku za mbwa………………….

    N’ataajoola aboggoza.

    28. Mu nsinza y’Abaganda ey’ennono, mulimu ebigambo bino; “Lubaale ow’ekikandulo”

    Y’oyo Lubaale ayogererawo nga eng’oma tezinnabukala bulungi.

    29. Enkoko enkazi etannaba kuzaalako, Omuganda yagiwa linnya ki?

    Nseera.

    30. Omukazi abyala lumonde akola ki lumonde asobole okutuula (okubala)?

    Bw’amala okubyala atuulako mu bibibi (bikata).

    31.Embwa erina eggwako. Ssentensi eyo gitereeze mu lulimi Oluganda olutuufu.

    Embwa eri bubulugu oba ebwagabwaga.

    32.Bw’oba ne gy’olaga, tosaana kweraliikirira anti eyo gy’olaga osobola

    okufunayo emikwano.Mpa olugero olugya mu mbeera eyo.

    Omusajja gy’agenda, gy’asanga basajja banne.

    33.Kabaka y’assaawo empisa y’ensi era y’agidibya. Mpa Kabaka eyassaawo empisa

    y’okutta omusajja eyabanga akabawazza omwana omuto?

    Ssekabaka Ssuuna II.

    34. Omulimu omukadde omukazi gw’atateekwa kukola nga waliwo omulenzi awasa muwala we gwe guli wa?

    .Okuluka ekibbo/ okutunga engoye n’empiso..

    35. Ani yawandiika akatabo; “Balya N’Enseekeezi”?

    Abayiiya Abajja.

    36.Enjoka ezitera okuluma bannakawere ziyitibwa zitya?

    Za kawammansi.

    37. Ekisinde ente mwe ziyita okugenda okunywa amazzi kiyitibwa kitya?.

    Kikuute.

    38. Essubi eriserekebwa ku nju bwe likaddiwa olwo liba liyitibwa litya?

    Nkaajumbe.

    39.Olulagala bassenga lwe beesiba nga bafiiriddwa mwannyinaabwe luwe erinnya?

    Mayina.

    40.Malayo olugero luno; Nakawere akankana………..

    Ng’alabye amuweereza.

    41. Mu nsiza y’Abaganda ey’ennono mulimu ebigambo bino; “Bamusudde ejjoba”. Bitegeeza ki?

    Omukongozzi/ mmandwa bamumweddeko enviiri.

    42. Mu maka g’omuganda nga temubulamu nkoko ya lujumba. Eba n’obugere bumeka?

    Buna ku buli kigere..

    43.Kabi, Sande ne Kalema baatuukayo kikeerezi. Mu kikolwa “Baatuukayo”, ennukuta “a” ekulembeddwa ennyingo “-ba”eweebwa linnya ki mu ggulaama w’Oluganda ?

    Kabonero ka kiseera ekyayita

Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 65 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.