Yiga Olulimi Oluganda

This topic contains 64 replies, has 10 voices, and was last updated by Omumbejja Omumbejja 11 years, 1 month ago.

Viewing 15 posts - 16 through 30 (of 65 total)
  • Author
    Posts
  • #19760
    Kulabako
    Kulabako
    Participant

    Obuwakatirwa n’okuwangaala

    Bya Polof. Livingstone Walusimbi

    WALIWO ebikolwa ebimu sembyayo ennukuta ‘a’. Ebikolwa bino ebisinga bya nnyingo emu. Ebigambo bino bwe bigattibwako akawakatirwa ng’ate akawakatirwa ako katandika na mpeerezi, tufuna empeerezi eza nnabansasaana.

    Ekyokulabirako:
    Beera kiva mu ba – era nga mbeera wano.
    Seera kiva mu sa – era nga nseera ku lubengo.
    Weera kiva mu wa – era nga mmuweera ku kikopo.
    Liira kiva mu li – era nga liira wano.
    Fiira kiva mu fu – ira nga mu yafiira eyo.
    Tiisa kiva mu ki – isa nga tontiisa.
    Teera kiva mu ta – era nga teera Kato.
    Ggweesa kiva mu ggwa – esa nga okuggweesa.
    (weetegereze obugambo bwonna obusooka n’empeerezi bwe buwakatirwa bwe njogeddeko.)
    Weetegereze:
    Ekigambo tiisa kiva mu kikolwa tya. Ekikolo ky’ekigambo ekyo ye ti. Noolwekyo bw’ogattako akawakatirwa – isa ofunamu ekigambo ekyo tiisa (okutiisa) era bw’ogattako akawakatirwa akalala nga ibwa ofunamu tiibwa.

    Ebyokulabirako: Okutiibwa, ekitiibwa, omutiibwa oba oweekitiibwa.
    N’ekigambo liira kiva mu kikolwa lya. Ekikolo ky’ekigambo ekyo ye li. Ekikolwa ekyo bw’okigattako akawakatirwa -ira ofunamu ekigambo liira – okuliira ate bw’ogattako ibwa – okuliibwa.
    from bukedde

    Published on: Saturday, 27th September, 2008

    #19761
    Kulabako
    Kulabako
    Participant

    Okuwandiika kwe kukuuma olulimi

    Bya Anthony Ssempereza

    DR. Michael Bazzebulala Nsimbi, MBE, ye Muganda asaanidde okwenyumirizaamu olw’emirimu gye yakola. Yawandiika ebitabo by’oluganda bingi ate mu buzibu.

    Olw’okuba ye muwandiisi eyasooka, talina gwe yakoppa ebibye ye yabitandika, kyokka n’abiwandiika bulungi buli abisoma abitenda okunyuma.

    Yayagala Oluganda era yalulwanirira ng’ayita mu bitabo. Yali tayagala bantu batawa kitiibwa lulimi lwabwe naddala abatabiikiriza ennimi. Okutabiikiriza ennimi kye kivaako eggwanga okufiirwa olulimi lwalyo. Yatusomesa nnyo ebikwata ku Buganda ng’ayita mu butabo bwe. Bye yawandiika yabiraba, byaliwo era biribeerawo kubanga bya mazima. Mu kitabo kye, ‘Ennono za Buganda’ aggyayo ebikwata ku bika bya Baganda omuli abakulu b’ebika gye batuuula, emiziro, akabbiro n’emirimu gy’abakulu b’obusolya. Yaleka asibiridde abawandiisi abajja entanda y’okunoonyerezanga n’okuggyayo amazima.

    Ayita mu butabo bwe n’asomesa Abaganda ebyobuwangwa okugeza mu ‘Bwali Butamanya’ akuba ekifaananyi ky’ekyalo Kyamutuula ekijjuddeko ebyobuwangwa ebifananira ddala n’ebyobuwangwa ebiri kumpi mu byalo byonna ebisangibwa mu Buganda. Ategeeza Abaganda ku byafaayo by’ensi Buganda nga bwe yali efaanana okuva edda nti, mwalingamu emisambwa, ebibira eby’emizizo nga tebitemwamu miti.

    Yayagala Abaganda baagale olulimi lwabwe ate balukuume. Okukuuma olulimi oteekwa okulwogera n’ okuluwandiika. Ye teyakoma ku kwogera ng’abamu bwe bakola naye yalulwanirira ng’aluwandiikamu ebitabo.

    Okutaputa ekibuuzo 2: Laga emirimu gya Nsimbi gy’akoze ng’ayita mu kuwandiika ebitabo.
    Ekibuuzo 3: Singa Nsimbi azuukira kati, waliwo ebyandimukaabizza amaziga. Biki ebyandimukaabizza?
    from bukedde

    Published on: Saturday, 27th September, 2008

    #19940
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    1. Mu bambowa ba Kabaka, mulimu ayitibwa Kawuuzuumo. Omumbowa ono wa kika ki?

    Nnyange.

    2. Ekisoko kino kitegeeza ki? “Endeku okuyiguliza”.
    Butaba na mmizi.

    3.Bonsatule bano baaliko Bakatikkiro ba Buganda; Samuel Wamala, Honorato Nnyonyintono, Muguluma. Gyamu omu atagenderamu owe n’ensonga lwaki omuggyeemu.
    Samuel Wamala; Abalala baali bawang’ami.

    4. Malayo olugero luno; Okirimbye basuze….. Nti abalungi baagenda n’omwami.

    5. Gwe nnatutte baamuliisizza omuyoola. Omuyoola gwe mu ki?
    Olumanyo.

    6. Ensuwa ekimirwamu amazzi eweebwa linnya ki? Nkulembe.

    7. Mpa amannya g’omuntu eyavaako ekibuga ky’e Ntebe okufuna erinnya eryo?
    Omutaka Mugula.

    8. Mpa erinnya ly’omutaka akulira ekika ky’abeddira omutima omusaggi.
    Nakirembeka ( Butale Buddu).

    9. Eno kwe bagirabira nti ekuze kuba kubuuka. Enki eno?
    Entakke (Enswa ento).

    10. Emmandwa yonna bw’ekoma ku kyuma ekyengeredde, ekikolwa ekyo kiweebwa linnya ki?
    Kunywa kasera.

    11. Nnatuuse kiro era enva nnalidde za nkolwa. Olwo nnalidde ki?
    Amazzi omuli omunnyo.

    12. Mpaayo erinnya eddala eritegeeza oluggya olw’omu maaso g’enju ? Eddembo.

    13. Mpa amannya g’omuntu eyavaako omuggavu w’amatu okumuyita ow’e Ddambwe?
    Kabaka Kiggala e Ddambwe.

    14. Banfumbidde emimbati n’ebinyeebwa bya nsanyuse. Emimbati gye miki?
    Muwogo omulamba ng’afumbiddwa.

    15. Mu ssabo mubeeramu ekifo ekitegekebwa olw’omukongozzi okutuulangako. Kiyitibwa kitya?
    Entindi.

    16. Omukulu w’abaweesi ba Kabaka ye Walukagga. Obutaka bwe buli ku kyalo ki?
    Kibugga e Butambala

    17. Kizira omulenzi okukomba entamu. Bw’okikola kiba ki?
    Towasa.

    18. Olusozi luno lwogerwako ng’okuli ekiggwa kya Katonda….
    Muggulu.

    19. Malayo olugero luno; Nantaggwa malambula ……..
    Ng’omukwano gw’olusuku.

    20. Kimenya mpisa ya nsi , Kabaka wa Buganda okusamira. Kabaka ki eyasembayo okusamira?
    Sekabaka Tebandeke.

    21. Ekituli ekyetooloovu ekibeera ku nkumbi mwe bawanga omuyini kiyitibwa kitya?
    Ng’ango.

    22. Omutuba gwange gwonna Suulensaamu agulidde.Suulensaamu y’ani?
    Obusaanyi obulya obukoola bw’omutuba.

    23. Maliriza enjogera eno; Amutaddeko amaanyi……
    Ttimba ku mbwa.

    24. Ab’engeye balina omubumbi wa Kabaka. Ayitibwa atya?
    Sseddagala.

    25. Mpaayo erinnya egganda eriyitibwa olubalaza .
    Ekifugi

    26. Mpa erinnya ly’omunnyo ogumanyiddwa ng’omunnyo omuluku.
    Ogw’endago.

    27. Essomero lya Namilyango College lyatandika mu mwaka ki?
    1902.

    28. Ekiggwa kya Lubaale Ddungu kisangibwa mu ssaza ly’e Kyaggwe. Mpa erinnya ly’ekitundu ekiggwa kino mwe kisangibwa?
    Mabira.

    29. Nakawere akumirwa ekyoto ky’akasaana n’akyota. Ekyoto kya Nnakawere Omuganda yakiwa linnya ki?
    Kaali.

    30. Ssekabaka Kalema yatta abaaana b’eng’oma bangi anti yalowooza nti baali bajja kumutwalako Obwakabaka bwe. Mpa erinnya ly’ekifo mwe yattira Abalangira bano.
    Katereke ( Busiro).

    31. Omuti; Mu linnya eryo ennyingo -mu- gituume erinnya…..
    Nnyingo ya Lubu.

    32.Kabaka ayogerwako nti yawasa omuzaana Nalunga muwala wa Ssemaluulu e Nabutitti era n’amwagala nnyo .Kabaka ki oyo?
    Jjuuko.

    33.Emabbali n’emabbali w’akantu akakulumbavu , akabeera wakati ku nkumbi wayitibwa watya?
    Matama.

    34. Omwana gwe watumye ewa Ssaalongo yasanze “ Eggendabusa” oba Ekigendabusa”. Olwo aba yasanze ki?
    Omusota .

    35. Ab’engo balina omubumbi wa Kabaka .Ayitibwa atya?
    Kaawonawo Bbanda.

    36. Maliriza olugero luno; Omulangira Nvubu……
    Terindwa buziba.

    37. Mpaayo erinnya egganda eriyitibwa akayumba akakyamirwamu?
    Kabini.

    39. Omunnyo Omuganda baguggya wa?
    Mu lusa

    40. Ekiggwa kya Lubaale Ndawula kisangibwa mu ssaza ly’e Buweekula. Mpa erinnya ly’ekyalo ekiggwa kino kwe kwe kisangibwa?
    Mubende.

    41. Ekyoto ekikumibwa mu luggya lw’omwami kiweebwa linnya ki?
    Kizaana .

    42. Ani yawandiika akatabo; Amaggwa n’Emitego mu Buvubuka?
    Ruth Kaboggoza.

    43. Ekiswa ekiri e Naggalabi mu Busiro Kabaka kw’alinnya ng’atikkirwa enguugu kiyitibwa kitya?
    Nakibuuka.

    44. Akantu akakulumbavu akabeera wakati ku nkumbi era bw’eggweerera kasigala kasongodde. Kawe erinnya.
    Olulimi.

    45. Omusajja bwe yalabye sekkesa yamuyise linnya ddala. Yamuyise linnya ki?
    Ekkomante.

    46. Maliriza enjogera eno; Benkanyenkanye………
    Ng’ow’ebbango ayimbula ennyana.

    47. Mu buwangwa bw’Abaganda, ku kyalo Nakigalala mu Busiro wakolerwayo ki?
    Bubumbi/ Bujoona.

    48. Mpaayo erinnya egganda eriyitibwa emyango?
    Emifuubeeto.

    49. Bw’okwata omunnyo n’engalo bbiri osse mu nva ekyo kiyitibwa kitya?
    Ensero y’omunnyo.

    50. Ani yawandiika akatabo ; Omuganda Ne Kabaka
    Mawanda K.

    51. Omugga Kato gwazaalibwa omumbejja Nazibanja. Mpa erinnya ly’ekifo omugga guno we guzaalibwa?
    Seguku.

    Ekkanisa y’e Namirembe ddi? 1904.
    52. Ani yawandiika akatabo; Olulimi Oluganda Amakula.
    Bonny Lubega.

    Published on: Tuesday, 14th October, 2008

    by SEMEI WESSAALI bukedde

    #19946
    Mulongo
    Mulongo
    Participant

    Mumbejja tweyanze ebyokuyiga bino byotuleetera.

    #19961
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Kabaka talamusibwa, tumukola ki?

    by Richard Ssemakula

    Mpa ekigambo kimu ku bino bye nkuwadde; Assa muwembe ku mubisi? Asiwa

    Amementula bulo nga yeeyambisa enseeso n’olubengo? Assa

    Ente tekyalina mata mu mabeere ennyana g’esobola kuyonka? Ekamizza

    Mu bino ddamu kituufu oba si kituufu; Omuyiisa yeeyagalira nnyo mu biseera bya kateketwe? Si kituufu

    Omulunnyanja yeegiriisiza nnyo mu biseera by’enjaako? Si kituufu

    Nabaka nazo nva? Kituufu

    Bino byombi bibira naye byawukanamu, enjawulo eyo gituwe; ekibira ky’omu Mabira osangayo miti ate mu kibira ky’Omumasiro tusangamu ki? Tusangamu emibiri gya ba Ssekabaka.

    Omukolo gw’okusumika Omulangira Ronald Muwenda Mutebi kati Kabaka wa Buganda waliwo ng’enjole ya Sir Edward Muteesa emaze okuzzibwa, bino byaliwo mu Lubiri olusangibwa? e Baamunaanika

    Wano mu Buganda Kabaka talamusibwa, wabula tukola ki? Tusinza Nnamulondo oba tusinza ekiwu.

    Ebyafaayo tebisanguka era abalitaganjula ebyafaayo bya Uganda balizuula Pulezidenti w’ensi Uganda ey’awamu eyasooka yali Ssekabaka Muteesa II,

    obwa pulezidenti buno Ssekabaka yabumalako emyaka emeka? Emyaka 3

    Ssaabasajja yategeezezza abantu b’e Baamunaanika nti ateekateeka okuzimba Olubiri olupya mu kifo ky’e Luweero, bukyamu ki obuli mu mboozi eyo? Kabaka tazimba akuba kibuga

    Omuko nkoko naye ate bw’ebulamu oluyina eba ya ngera, oluyina luno luwe erinnya? Baluyita olukete

    Omukazi azadde abaana ababiri aweebwa erinnya erya Nnaalongo, singa ogenze okulaba omukyala oyo e Lubaga gy’azaalidde n’omusangayo n’omubuuza meeru oba maddugavu singa agamba nti maddugavu otegeera ki? Otegeera nti abaana bombi baabuwala

    Singa otuukayo ne bagamba nti meeru, onootegeera ki? Aba azadde omuwala n’omulenzi

    Abaana okubeera nti maddugavu, abakyala abasinga tebamanya ki kwe kiva, mu kutegeerakwo okutonotono nnyonnyola kiva ku ki abaana okufaanagana ennyo?

    Kiva ku butafaali obukola eggi erivaamu omwana ng’eggi erimu lyegabanyamu emirundi ebiri

    Omuganda awoomesa nnyo olulimi ng’ayita mu kukubaebifaananyin’okugeraageranya

    Okugeza omuntu eyeeyagala ennyo Omuganda amugeraageranya ku bulago bw’enkoko, abaffe obulago bw’enkoko bweyagala butya?

    Obulago bw’enkoko kuba obutafaananako obw’embuzi kuba bwo tebusibwamu muggwa.

    Omuganda bw’ayogera ku mawemuukirano ofuna eby’okulabirako bingi naye

    bw’ayogera ku majjankunene oyinza kutuwaayo kyakulabirako ki ekiyinza okuggyayo amakulu?…………………

    Ku mulembe guno muwulira ebibiina bya Nnigiina nga bakyesigamya ku kikolwa okunigiina, tuweeyo eky’okulabirako kimu ekyoleka omuntu anigiina?…………………..

    Olugero Ssebagema kuzaala lumaleeyo? Beerabira obukadde
    Lutimba lukadde?
    ……………………….
    Lunaayabira emmanga?.. nga yeekira oluganda
    Laga enjawulo eri mu bino ebisatu w’eba w’eri; Kakoolakoola, mbwabwa n’emmandagaze? Enjawulo mpaawo

    Mwattu omwoyo ogwo bw’ogwekatankira ojja kuba bulungi,
    ebyo bwe biba nga babigambye ggwe kiki kye weetegekera okukutamira?
    Mazzi agoozeddwaamu ebintu ebiddugala okuwonya ekimbe ekikuli obukiika

    Bwe namusanze agudde amagadaala saabuuzizza nti yabadde ava wa
    kubanga akalimiro kaabadde kamubunye.

    Emboozi eno mpulidde ng’erimu okukoonagana ggwe owulidde otya?
    Sirabamu kukoonagana kuba akalimiro kabadde kamubunye kuba yabadde ava kulima ng’akooye.

    Abaffe mukuyitika ku mukolo ogw’okufumbya omugole waliwo ekikolwa eky’okwetikka ettooke naye nga lyetikiddwa bulanga, awo ogamba nti lyetikiddwa litya? Busimba

    Mpa amakulu abiri ag’okwetika obulanga oba obusimba? Nti omusajja kawasa mulamu katebule ate n’obufumbo si kulaanya.

    Obulwadde obumuli obukika bwa maaso amalombojje, munnyonyole oyo abugendere ku nsiko?

    Amaaso amalombojje gabeera mamyufu ng’amayiweemu kamulali nga gamubalagala nnyo era nga galimu ebinyinyi.

    by Richard Ssemakula

    Published on: Wednesday, 15th October, 2008

    #19980
    Tonto
    Tonto
    Participant

    Waliwo enjawulo wakati w’okusa, (asa) n’okussa (assa). Tuwe enjawulo eno.

    #19997
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Asa…. katugambe asa obulo , Assa oyinza okukikozesa ngosika omukka ngogufulumya wabweeru katugambe ngokozesa omumwa oba enyiindo

    ate assa kwekukolebwa ngooli attissa omuntu nekintu katugambe nti
    1.omubbi wa nsssf bamuttissa miggo ekyo kyakulabirako.

    2.oba oli nomugamba nti nja kussa kasiiso nge kyokulabirako nti abatulugunya Abaganda babassa kasiiso.

    nyongere oba matizza ticha?

    #20002
    Kulabako
    Kulabako
    Participant

    Nange kanyongerezeeko assa
    okussa ekintu wansi nogamba nti assa wansi

    Oba oli okukka kudaala erya wansi katugambe nti assa munne wansi mungeri yokunyooma

    #20012
    Tonto
    Tonto
    Participant

    Malayo era onyonyole enjogera eno:

    “Amussa kasiiso, ow’e……”

    #20014
    Musajjalumbwa
    Musajjalumbwa
    Participant

    Nze kyenjagala okumanya, lwaki mwami Tonto ebibuuzo oleeta bizibu byokka?

    #20031
    Kulabako
    Kulabako
    Participant

    Musajjalumbwa bwooba tomanyi yiiya

    nze eyange ansa egamba nti owe bbango gyassa owe ntumba

    #20048
    Jona
    Jona
    Participant

    Musajjalumbwa wrote:

    Quote:
    Nze kyenjagala okumanya, lwaki mwami Tonto ebibuuzo oleeta bizibu byokka?

    Nange Tonto yansobera. Naye eno enjogera ssi nzibu nyo. Bagamba nti amussa kasiiso owendali kassa omukukumi. Olwokuba endali ze, olowooza nti atunudde eri era takulaba awo wewekweese, sso nga atunulidde ggwe.

    Nze ndowooza nti mukumussa akasiiso, oba oyagala omuntu oyo aleme kumanya nti byakola obitegeera, asobole okukukwasa obulungi.
    Ate ku baana abato, ndowooza nti oba owa omwana ono omukisa yeddeko, ate nga naawe bwomulabula mpola asobole okuyiga ekituufu.

    Sebo ticha, ekyo ssikituufu?

    #20049
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Nze ndaba akasiiso owomu Mambuka kassa owe Bugwanjuba

    Nange ticha mpa akagoba kuba natakisse afuna ezokwetabamu gwe ate olabawo ansa za bano wano:
    Dikuula,Mulongo,Enfulansi,Migereka ,Kalibattanya, nabalala besimennye mu jje mutulage obumanyirivu

    #20333
    Kulabako
    Kulabako
    Participant

    Omuti okubala entula guyitibwa gutya?

    1. Mpaayo amakulu abiri g’omanyi mu kigambo: Okusiiga.
    Endwadde, Langi.

    2. Kkoyi kkoyi: Muti ki ogufuga ginnaagyo.
    Enzirugaze.

    3.Omuti okubala entula guyitibwa gutya?
    Muyagi.

    4. Maliriza olugero luno: Najjukiranga ne nseka………..
    Nga tebakigambye ye.

    5. Mpa erinnya eriweebwa omukulu w’ekika ky’Ekkobe.
    Namwama.

    6. Tetugamba nti munafu kafulu.Tugamba tutya?
    Munafu luboje.

    7. Anaafumba emmere ey’omugoyo, yeetaga ki?
    Lumonde n’ebijanjaalo.

    8. Mpaayo omulimu gumu ogukolebwa omujjwa kojja we ng’agenda okuzimba ennyumba?
    Agisera (afuka omusulo mu musingi).

    9. Mpa omutwe gw’ekitabo ky’engero ensonge ekyawandiikibwa Ferdinand Valser?
    Luganda Proverbs.

    10. Mpa olugero olugya mu mbeera eno: Omuntu bw’aba anaagwa mu buzibu, ne bw’omulabula tawulira.
    Akanaafa tekawulira ng’ombe.

    11. Tereeza sentensi eno mu lulimi Oluganda olutuufu: Ye nze akuyita.
    Nze nkuyita.

    12. Lwaki ekiyenje bw’okisuula ku mazzi kifa?
    Kubanga obutuli bwe kissizaamu buba bubikkiddwa amazzi anti bubeera ku lubuto.

    13. Mu katabo Pawulo Kirimuttu, Perusi kikazikazi alina kakwate ki ku Pawulo?
    Kizibwe we.

    14. Enswa esooka okuva mu kiswa teriibwa. Eweebwa linnya ki?
    Mulalu.

    15. Teeka ekisoko ekituufu mu mpungu erekeddwaawo: Muwogo akaawa nga ……….?
    Mususa.

    16. Mpaayo amakulu abiri g’omanyi ku kigambo: Ddungu.
    Linnya/Lubaale/Ekitundu ky’eddungu.

    17. Kkoyi kkoyi: Omuti ogusinga okubeera ewala.
    Akeyeeyo.

    18. Endeku okula nga ya bulago buwanvu eyitibwa etya?
    Enng’unda.

    19. Maliriza olugero luno: Omugenyi asooka…….
    Y’ayita banne emigulungu.

    20. Mpa erinnya eriweebwa omukulu w’ekika ky’Envubu?
    Kayita.

    21. Tetugamba nti ndi mugezi kafulu. Tugamba tutya?
    Mugezi nnakinku.

    22.Olulagala olusooka mu ddiiro balyoke basseewo emmere, luwe erinnya.
    Olujjuliro.

    23. Mpaayo omulimu gumu ogukolebwa omujjwa nga waliwo omuntu eyeetuze?
    Okusala omulambo ku muguwa.

    24. Mpa omutwe gw’akatabo k’engero ensonge akaawandiikibwa Ssennambi Matembe?
    Magezi Muliro.

    25. Mpa olugero olugya mu mbeera eno: Abantu beeyunira nnyo omuntu bw’amala okuyitimuka.
    Baagala mugagga.

    26. Tereeza sentensi eno mu lulimi Oluganda olutuufu: Ekyo kye mbadde sitamanyi?
    Ekyo kye mbadde simanyi.

    27. Lwaki bw’oyiwa butto ku mazzi ensiri amagi ge zibiiseeko gafa?
    Gaba tegakyafuna mpewo egayamba kuba malamu.

    28. Mu katabo Pawulo Kirimuttu, Sensalire alinamu bukulu ki?
    Y’asala omulambo gwa Pawulo ku muguwa.

    29. Waliwo ekiwuka ekiyingira mu kiswa, ekiswa ekyo ne kisenguka. Kiwuka ki ekyo?
    Nnabe.

    30. Teeka ekisoko ekituufu mu mpungu erekeddwaawo: Twagenda okutuukayo twamusanga yenna azimbye nga ………..?
    Obudde.

    31. Mpaayo amakulu abiri g’omanyi ku kigambo: Amayengo.
    Ag’ennyanja, ag’enviiri.

    32. Kkoyi kkoyi: omulaalo mu nte ze?
    Olusolobyo mu lusuku.

    33. Akambe bwe kawanguka kayitibwa katya?
    Ngera.

    34. Maliriza olugero luno: Obutazimbye…….?
    Bumanyibwa nnyini bwo.

    35. Mpa erinnya ly’omukulu w’ekika ky’Empindi.
    Mazige.

    36. Tetugamba nti muyizzi kafulu. Tugamba tutya?
    Muyizzi kkungwa.

    37. Olulagala olusibwamu emmere naddala ey’amatooke, balyoke bagisaaniike baluyita batya?
    Olwaliiro.

    38. Mpa omukolo gumu ogukolebwa omujjwa mu lumbe?
    Okukooza.

    39. Mpa omutwe gw’akatabo k’engero ensonge akaawandiikibwa M.B Nsimbi.
    Siwa Muto Lugero.

    40. Mpa olugero olugya mu mbeera eno: Abafugibwa kiba kirungi ne baba bawulize eri bakama baabwe.
    Ez’enkanankana n’ebisiki tezaaka.

    41. Tereeza ssentesi eno mu Lugunda olutuufu; Tugenda nnaaba.
    Tugenda kunaaba.

    42. Eggi bw’olisiigako langi, ( yadde nga lisigadde mu langi yaalyo), n’oliwa enkoko okulimaamira teryalulwa. Lwaki?
    Liba teririna werissiza..

    43.Mu katabo Pawulo Kirimuttu, Rev. Yerimiya Ziddawalime alinamu bukulu ki?
    Y’akulembera okusaba mu kuziika Pawulo.

    44.Ekiswa ekitakyabuuka kiweebwa linnya ki?
    Kifulufu.

    45. Teeka ekisoko ekituufu mu mpungu erekeddwaawo: Nambi mumyufu nga……………….
    Ettungulu.

    46.Amazzi agava mu muwogo nga bamuwaata gawe erinnya.
    Obukundugulu.

    47.Ebikoola by’ensujju bwe byeyambisibwa ng’enva biweebwa linnya ki?
    Ssunsa.

    48.Erinnya kasooli liri mu lubu 1mu. Lisse mu lubu 3.
    Musooli.

    49.Ku mulembe gwa Kabaka ani eggwanga Buganda kwe lyafunira erinnya eryo?
    Kabaka Buganda.

    50. Omusajja bw’awasa abakazi abangi agenda abagabira obuvunaanyizibwa. Omukazi mu maka akwatibwako ogw’okugaba enva aweebwa linnya ki?
    Nassaza.

    Published on: Tuesday, 4th November, 2008

    #20375
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Enzimba y’Abaganda yalimu obukugu

    1226148750woman.jpg

    Amasiro g’e Kasubi galaga enzimba y’Omuganda bwe yabanga.

    ENNYUMBA mu Buganda yazimbibwanga mu mmuli, obukeedo, obuti obuyitibwa obukakala, empagi, emiti emitonotono egiyitibwa emisituliro kaakano egiyitibwa emikomba, entoogo n’ebinsambwe.

    Omusajja omugezi w’amayumba ng’aleetebwa n’alasa ennyumba. Yalasibwanga bw’eti: Baddiranga emmuli entonotono ne bazitegeka bulungi ne bazissa ku nkata ey’akatemyo, ne bbuggwe ne balasa akasolya, ne bayising’anya emmuli nga bazigombaganya ebiba bisatu nga bwe bakola ekisaakaate.

    Okulasa okwo kwayitibwanga Kibandwa. Ate mu ngeri endala baagombaganyanga olumuli lumulumu ne lubeera ng’oluzizi oluluke obulungi era ne lutereezebwa mu katemyo wakati, ne balyoka basookako emmuli endala, ne baggumiza akasolya, ne basiba nnyo ne banyweza olusolya nga balusiba ku miti mukaaga emAisituliro.

    Bwe lwanyweranga, ne bassaako olubugirizo oluyitibwa ekivumula, lwe luddirira bbugwe ne bongera okuzimbako olubugirizo olulala nga bwe bawangizaamu n’empagi munda w’olulala eziyamba emisituliro obutayuuguuma era n’olusolya okwenkanankana.

    Bwe baagituusanga we baagala etuuke mu bunene, ne basimba emiti egiyitibwa emikwero, ne bagiweta okugisibira ku mmuli eziri ku kasolya ne ginywera bulungi. Okwo kwe kuyitibwa okutala enju.

    Ne bateekako olubugirizo ne bagenda nga bazingirira bwe batyo nga basookamu n’emmuli nga munda bwe bawangizaayo empagi okutuusa wansi. Ne baleeta enkumbi okutereeza obulungi munda n’amabanga. Omugezi n’agera n’obuti ennyiriri ne baba nga buli awanaabeera empagi, ebinnya bisimwa, ne bagera empagi nga bazissaako amannyo agakwata embugirizo ziryoke zinywere, ne balyoka babugiriza enju yonna.

    Olwo basimba empagi mukaaga oba munaana ez’okuwanirira ekisasi nga buli emu eri mu lubu lwayo. Ne balasa ekisasi, era ekyo kyakolebwanga bulungi n’obwegendereza kubanga buli ayingira mu nnyumba ku kisasi kw’atuusiza amaaso. Bwe baamalanga ekisasi nga bakisibyeko n’olubugirizo oluyitibwa akabendobendo, nga n’essubi liwedde okuteekateeka, nga basereka ennyumba.

    Olubu olusooka okuserekebwa ku nnyumba ebikolo byalwo biraba wansi ne lusibibwa bulungi n’ebyayi ate oluddako ebikolo byalwo byalabanga waggulu, ne basereka bwe batyo okutuusa ku kasolya. Ogwo gwe mututumba. Olwo ne basereka ekisasi nga basooka kusiba ssubi ery’enjole ennene eryasookanga okukubira ekisasi ne balisiba ne linywera bulungi, ne bakisereka.

    Ekisasi bwe kyaggwanga n’omututumba, omuseresi n’asereka ng’asongoza; n’addira omuti gwa buwanvu bwa kifuba kimu n’ekitundu n’agusimba mu kasolya wakati ne gunywera n’asereka ng’agwetoolooza essubi. Naye bwe yalabanga nga gusigaddeko ekitundu ekiweza ebigere nga bibiri n’ekitundu, n’addira essubi eddungi n’alisiba ku muti ogwo, n’alibundula mpolampola, n’asalako obusongezo bwalyo.

    Published on: Saturday, 8th November, 2008

Viewing 15 posts - 16 through 30 (of 65 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.