Yiga Olulimi Oluganda

  • This topic has 10 voices and 64 replies.
Viewing 15 posts - 31 through 45 (of 65 total)
  • Author
    Posts
  • #20572
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    1. Mbuulira amannya ga
    Nnamasole wa Ssekabaka Ssuuna II ?

    Nakkazi Kannyange.

    2. Waliwo ekisoko ekigendera ku mutaka Mulindwa. Kimpe.
    Ow’e Namataba.

    3. Lubaale Mukasa mwana wa Wannema. Ekiggwa kya Mukasa ekikuli kiri ku kizinga ki?

    Bubembe.
    4. Ekinyonyi ekidda ku muti awo ne kikuuma enkoko kizirye Omuganda akiyita atya?

    Eddiirawamu.

    5. Amasiro ga Ssekabaka Kimera gali Bumera mu Busiro. Bw’otayitayo Bumera oyitayo otya?

    Lunnyo.

    6. Emiti egimu gibeera n’obukoola obusondowavu. Obukoola obwo buyitibwa butya?
    Bwa njule.

    7. Ekibuga kya Ssekabaka Ssuuna II kiyitibwa Wamala. Edda olusozi olwo lwayitibwa nga lutya?

    Wammunyeenye.

    8. Maliriza olugero luno: Omuti w’ebbanja……..?
    Ennaku alaga ntono.

    9. Omuzira mu Bazira ow’Entanda ya Buganda 2003, y’ani?
    Samuel Mutaawe.

    10. Bw’oggya engogo ku kitooke nga bwe zigwa wansi, olwo oba okola ki?
    Osalira.

    11. Nnende Lubaale wa wano. Ekiggwa kye ekikulu kiri ku kyalo ki?
    Bukeerere . Kyaggwe
    .
    12. Kalindaluzzi wa Kabaka ava mu kika ki?
    Ngeye.

    13. Omwami wa Kabaka afuga essaza ly’e Kabula aweebwa linnya ki?
    Lumaama.

    14. Mpa erinnya lya Kabaka eyafiira e Kijungute.
    Kalema.

    15. Akatabo: Ndikumma Okulya kaawandiikibwa S .E. K Mpalannyi. Mu katabo ako, ani muntu omukulu?

    Zansanze.

    16. Mpa erinnya ly’omutaka akulira ekika ky’abeddira ensuma.
    Kibondwe.

    (Bukibondwe).

    17. Okugerengejja omuntu kitegeeza ki?

    Kumulogaaloga.

    18. Amasiro ga Ssekabaka Kiggala gali ludda wa?
    Ddambwe.

    19. Teeka ekisoko ekituufu mu mpungu erekeddwaawo:

    Yabassa …………okutuusa lwe baamala okwogera.

    Akasiiso.

    20. Ekisibo ky’embuzi bwe kirwawo okwerebwa kiwunya bubi. Ekyo ekiwunya mu kiyumba ky’embuzi kiyitibwa kitya?
    Kigungu.
    21. Ntenjeru mbuga nkulu ya ssaza lya wa?
    Bugerere.
    22. Enju y’olukiiko lwa Buganda eyitibwa Bulange, eri Mmengo. Ekifo ekyo edda

    kyali kiyitibwa kitya?

    Namirembe.

    23. Maliriza olugero luno; Wano situukawo…………..?
    Bw’avaawo assaawo mmanvu.

    24. Omuzira mu bazira ow’Entanda ya Buganda 2004 y’ani?
    Abby Kabanda.

    25. Bw’oddira enti z’enkejje n’ozinyookereza mu lusuku, tugamba nti okola ki?
    Oyambaza olusuku.

    26. Nagaddya Lubaale wa wano wa dda. Ekiggwa kye kiri ku kyalo ki?
    Nkumba (Busiro).

    27. Oluzzi Kalindaluzzi lw’akuumira Kabaka , luli ku kyalo ki?
    Ndeeba.

    28. Omwami wa Kabaka afuga essaza ly’e Buweekula aweebwa linnya ki?
    Luweekula.

    29. Mpa erinnya ly’omutaka akulira ekika ky’abeddira enkusu?
    Senkusu/ Sonja.

    30. Akatabo: Bwali Butamanya, akaawandiikibwa M.B Nsimbi, ani muntu omukulu mu katabo ako?

    Yakobo Kasolo.

    31. Ekikolwa ky’okulayiza n’okubuulira empewo omukongozzi ky’akola kiweebwa linnya ki?

    Kuwoomereza.

    32. Amasiro ga Ssekabaka Ssuuna I gali ludda wa?
    Kkongojje.

    33. Teeka ekisoko ekituufu mu mpungu erekeddwaawo: Ssente ze babba zaali kagumba ………………..anti basatu ku bebaakwata bafu

    Weegoge.

    34. Omuntu bw’aba yeekubye akawoowo, tugamba nti awunya akaloosa, ate ennyama bw’ewunya obulungi tugamba nti ewunye ki?

    Ekke.

    35. Mwera mbuga nkulu ya ssaza lya wa?
    Busujju.

    36. Waliwo Kabaka eyafiira mu bunnya bwe yali nga alwanirira ensi ye. Mpa erinnya lya Kabaka ono.

    Nakibinge.
    37. Olukiiko lw’Obwakabaka bwa Buganda olukulu luli Mmengo. Ekifo ekyo edda kyali kiyitibwa kitya?

    Nkaawo.

    38. Maliriza olugero luno: Senkuba ya ggulo………..?
    Bw’etekuba mubbi ekuba musezi.

    39. Omuzira mu Bazira ow’Entanda ya Buganda 2005, y’ani?
    Ddamba Kaye John.

    40. Bw’okwata ekiwabyo /ekyabyo n’osala ebisanja okuva ku bitooke nga bwe bigwa wansi tugamba nti okola ki?

    Okubirira olusuku.

    41. Oluzzi Kabaka mw’anywa amazzi luyitibwa lutya?
    Kanywabalangira.

    42. Ekiggwa kya Lubaale Kibuuka kiri ku kyalo ki?
    Mbale, Mawokota.

    43. Omwami wa Kabaka afuga essaza ly’e Buvuma aweebwa linnya ki?
    Mbuubi.

    44. Mpa erinnya ly’omutaka akulira ekika ky’abeddira akayozi
    Kafumu ( Nsasa/Kyango- Mawokota.

    45. G. Kiwanuka Musisi ye muwandiisi w’olugero Kikonyogo. Ani muntu omukulu mu katabo ako?
    Toomusange.

    46. Abaana abamu bazaalibwa balogeddwa okuva mu mbuto za bannyaabwe. Eddogo eryo liweebwa linnya ki?

    Bukko.

    47. Amasiro ga Ssekabaka Nakibinge gasangibwa ludda wa?

    Kongojje.

    48. Teeka ekisoko ekituufu mu mpungu erekeddwawo: Omuyaaye yasala empale ya kintu n’amubbako ssente zonna era Kintu agenda okukwata mu nsawo mbu agule omugaati yakwata mu lya……………

    Mpiki.

    49. Omuvubuka awunya kaabuvubuka, ate olwo embuzi ennume ewunya ki?
    Kaggwiggiri.

    50. Maggyo mbuga nkulu ya ssaza lya wa?
    Buvuma.

    51.Waliwo Kabaka eyafiira mu kkubo bwe yali akomawo nga ava okulwanyisa Abaziba. Mpa erinnya lye.

    Ssekabaka Ssuuna II

    52. Ekinyonyi Abaganda kye bagamba nti kye kikatikkiro kya Katonda kye kiri wa?

    Namunye.

    53.Amasiro ga Ssekabaka Mulondo gali Bulondo. Bw’otayitayo Bulondo olwo oyitayo otya?

    Mityebiri.

    Published on: Thursday, 20th November, 2008

    #20659
    TontoTonto
    Participant

    Nyonyola enjogera eno:

    Eyeyambudde tatya mpewo.

    #20680
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Aba agenda kuwuga bukunya skindive oba nga genze kuyiggira makage bya kugaayaako mu ngeri yekisezi? yeyambulira mu nyumba oba bweeru?

    #20696
    TontoTonto
    Participant

    Engeri nyingi omuntu jayinza okuba nga yeyambudde. Example: ayinza okuba ng’agenda kunaaba.

    Wabula enjogera erina amakulu mangi golina okunyonyola.

    #20700
    Justus ZaguduJustus Zagudu
    Participant

    Tonto wrote:

    Quote:
    Engeri nyingi omuntu jayinza okuba nga yeyambudde. Example: ayinza okuba ng’agenda kunaaba.

    Wabula enjogera erina amakulu mangi golina okunyonyola.

    I’m all ears, I mean all eyes.

    #20706
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Tonto plse tuwe amakulu nze nkuwadde ebyaalo ngate temuli kirimu ntobazzi ate nga gwe mayumba kkumi waayo , ngezaako obutatunulira avatar yo

    #20711
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Amaka g’ekkonkome gasangibwa wa ?

    1. Malayo olugero luno: Obuzira obwogerere…………..
    Tebukuweesa bugabe.

    2. Amasiro ga Ssekabaka Kyabaggu gali ku kyalo ki ?
    Kyebando. (Busiro).

    3. Mu nsinza y’Abaganda ey’ennono mulimu Lubaale w’abakakaalukanyi. Y’ani ?
    Ddungu.

    4. Enkoko enjeru yonna eyitibwa etya ?
    Luzira.

    5. Ebibala ebibeera ku mutuba ogwa butana, biyitibwa bitya?
    Ntonto/ntontogolo.

    6. Ssekabaka Dawudi Ccwa II teyali ku mbuga nkulu e Mengo we yakisiza omukono. Yali mu kifo ki ?
    Lukuli.

    7. “Okweriira mu muntu obuzza” kisoko. Kitegeeza ki?
    Kwesasuliza ku muntu.

    8. Ebigambo ebissiddwa mu bukomera bisikize ekigambo ekituufu. Ssekabaka Daniel Mwanga yawoomerwanga nnyo “ennyama enjokye”.
    Omusito.

    9. Mpa amannya g’omwami w’essaza eyakwata Kabaka Mwanga II n’Omukama Kabaleega.
    Andereya Luwandagga.

    10. Mpaayo ekisoko ekitegeeza omuntu okuba ng’akkuse nnyo.
    Olubuto okuba nga lumuli mu mannyo.

    11. Mpa amakulu g’olugero olukuweereddwa. “Kasugga kagoba kasambu”.
    Abaana batera nnyo okufaanana bakadde baabwe.

    12. Ani yawandiika akatabo : Omusajja Waakulira ?
    Muwulya Wasswa.

    13. Mu mulimu gw’obukomazi mulimu ekigambo Jegeju. Kitegeeza ki? Buba busaanyi obulya omutuba.

    14. Waliwo abooluganda babiri abaafugako Obuganda naye baalwanagana omu n’atta munne. Mpa oyo eyattibwa.
    Jjunju.

    15. Mpaayo ekisoko ekitegeeza okwogera ekintu ekirabika.
    Okwogera ekirabika ng’ow’ejjanga abika.

    16. Malayo olugero luno: Akikuba empola akitta………..
    Nnabe taba na minyolo.

    17. Amasiro ga Ssekabaka Jjunju gali ku kyalo ki?
    Luwunga (Busiro).

    18. Mu nsinza y’Abaganda ey’ennono, mulimu Lubaale omulezi w’abaana. Y’ani ?
    Nabuzaana.

    19. Enkoko bw’oba toyagala etakule bitooke byo, ogisiba amagulu gombi kyokka ng’esobola okutambula. Ekyo kiyitibwa kitya?
    Kulijja.

    20. Ensigo eziva ku kitooke ekiyitibwa ekitembe ziwe erinnya ?
    Amatembe.

    21. Ssekabaka Ssuuna II yaggya omukono mu ngabo nga tali ku kibuga. Yali mu ssaza ki ?
    Ggomba.

    22. “Okubika abalamu” kisoko. Kitegeeza ki ?
    Bulogo.

    23. Ekigambo ekissiddwa mu bukomera kisikize ekigambo ekituufu: (Omugenzi) Kabaka Muteesa II ye yali Pulezidenti wa Uganda eyasooka.
    Ssekabaka.

    24. Ssekabaka Mwanga II ye yasimisa ennyanja y’omu Ndeeba. Mpa amannya g’omwami eyakulembera omulimu guno.
    Kiwanuka Ndikumulaga.

    25. Mpaayo ekisoko ekitegeeza okulumwa enjala.
    Olubuto okuba omuntu ku mugongo.

    26. Mpa amakulu amakusike ag’olugero luno: “Nnajjukiranga ne nseka, nga tebakigambye ye”
    .
    Abantu batera nnyo okusanyukira ebizibu bya bannaabwe.
    27. Ani yawandiika ekitabo: Manya Ebifa mu Ssaza ly’e Bulemeezi ?
    Ssentoogo Wilson.

    28. Mu mulimu gw’obukomazi, mulimu ekigambo mbula. Kitegeeza ki ?
    Olubugo omutali katuli wadde akamu bwe kati.

    29. Waliwo Kabaka wa Buganda eyayagala ennyo nnyina era n’awera n’empisa ya Bakabaka obutaddamu kulaba ku bannyaabwe. Yali Kabaka ki oyo?
    Ssuuna II.

    30. Mpaayo ekisoko ekitegeeza omuntu ok
    wereetera yekka ebizibu ?

    Okweyokerera omukira okubulwa ky’otuuza.

    31. Malayo enjogera eno: Ataalaba nnyina nga muto…………
    Y’agamba nti kitange baamuseera omukazi.

    32. Amasiro ga Ssekabaka Ssemakookiro gali ku kyalo ki?
    Kisimbiri mu Busiro.

    33. Mu nsinza y’Abaganda y’ennono Lubaale abaza emmere.Y’ani?
    Nagawonye.

    34. Enkoko ey’amagulu amampi ennyo eyitibwa etya?
    Nkwekwe.
    35. Amasanda g’omuti oguyitibwa omuwafu gayitibwa gatya?
    Kabaane.
    36. Ssekabaka Kalema teyabuulira ku kibuga kye.Yabulira mu ssaza ki ?
    Ssingo.
    37. “Endeku okutayirana”, kisoko. Kitegeeza ki ?
    Kusabiriza.

    38. Maliriza ekisoko kino: “Nnakatindigiri……….”
    Ng’omuzaana adduka obuko.

    39. Amaka g’ekkonkome gali ludda wa ?
    Mu kigaji.

    40. Ekitiibwa ky’Obwannaalinnya kyatandika ku mulembe ki ?
    Muteesa I.

    41. Essubi eriserekuluddwa ku nju liyitibwa litya ?
    Nkaajumbe.

    42. Ssekabaka Dawudi Ccwa II yasikira ddi Obwakabaka? 1910.
    43. “Okubumba emmindi” kisoko, kitegeeza ki?
    Kukola bya kito.

    44. Omuntu gwe bagamba nti baamusuulira omukinga y’aba atya?
    Nga by’akola tebirabika.

    45. Abassi b’enswa ensejjere, tebayiting’ana mannya bwe baba bagenze okuzizuuka. Bayiting’ana batya?
    Mukoko.

    46. Bw’oba otambula , enviiri n’owulira nga zikuvudde ku mutwe, Omuganda embeera eyo agitaputa atya?

    Nti okumpi awo wandibaawo ekintu ekiyinza okukuviiramu obuzibu.

    47. Ani yawandiika akatabo: Ebitontome Eby’ensibo ?
    Semwanga Bantubalamu.

    48. Ekiba ekiddugavu ekyetoolodde ennywanto y’ebbeere , Omuganda yakiwa linnya ki?
    Kizigo.

    49. Bw’oba tolina akuyamba, weefaako wekka. Mpa olugero olugya mu mbeera eyo ?
    Atalina amukaamwana, yeekaamwana yekka.

    50. Mpaayo ennukuta emu esiiya. S.

    51. Emyaka 1914-18 girina kyafaayo ki ekikulu ekituleetera okugijjukira ennyo. Ssematalo I

    52. Abaana baabadde babiri, omu n’ayita munne nti: Mugoziita, oli n’addamu nti tojja ndya, omuzannyo ogwo guyitibwa gutya ?
    Tojjaandya.

    Published on: Thursday, 27th November, 2008

    #20714
    JonaJona
    Participant

    Tonto wrote:

    Quote:
    Engeri nyingi omuntu jayinza okuba nga yeyambudde. Example: ayinza okuba ng’agenda kunaaba.

    Wabula enjogera erina amakulu mangi golina okunyonyola.

    Eyeyambudde tatya mpewo:

    Bwewewaayo okukola omulimu gukolere ddala nga omaliridde, ssi nsonga ‘mpewo’ ki eyinza okukutawaanya nokukulemesa. Okumalirira mwemuva obuwanguzi. Abantu bwebalaba ng’otandise ekintu kyonna, ng’abamu batandika kukuterebula nakukusekerera. Naye bwewewaayo, omaliriza era n’owangula.

    Mungeri endala, enjogera eyo efananako nenjogera egamba nti “Ssebukoko buto, bukungiriza kyebunamalawo”. Bwolaba omuntu nga yewadde okukola ekintu, manya nti yakitegeka dda okukikola, era namalirira okukitandikako. Nolwekyo tekigasa kugezaako kumuterebula. Omugezi kyakola, kumwongera bumalirivu. Kyova olaba nga abaganda tebayita kumuntu akola mulimu nga tebamwebazizza. Kuba kumuzzaamu maanyi.

    Nengeri endala nyingi…

    #20773
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Olukiiko lulina obulombolombo obukuuma ekitiibwa kya Kabaka

    1228046016zulu.jpg

    Olukiiko lwa Buganda nga lutudde mu Bulange e Mmengo.

    Bya Polof. Livingstone Walusimbi, Keefa Ssentoogo, Dr. Michael Nsimbi

    OLUNAKU lw’olukiiko bwe lwatuukanga Katikkiro ng’ayambala n’agenda ewa Kabaka okukiika. Bwe yafulumanga mu kisaakaate kye ne bakuba eng’oma ye n’egenda ng’evuga okutuusa lw’ayingira mu Lubiri. Awo n’atuula mu kigango Masengeregansaze n’abaami bonna.

    Awali Kabaka waabeerangawo abantu ab’amagezi era abaayiga okuweereza era Kabaka be yatumanga okujja mu kigango, Masengeregansaze oba mu Ndogobukaba, n’asanga omwo Katikkiro ng’atudde n’Abaamasaza, n’abaalya ebitongole ebinene era n’olukiiko lwonna.

    Awo omubaka n’agamba Katikkiro nti, ‘Kabaka antumye okukulaba.’ Katikkiro n’addamu nti, ‘Asinze?’ Omwanjuzi n’addamu nti, ‘Asinze.’

    Era oyo atumiddwa n’agamba Katikkiro nti, ‘Nzize okubuuza olukiiko.’ Katikkiro n’addamu nti, ‘Yee baabo bonna.’ Awo Abaami ne beeyanjula nga boogera amannya gaabwe, ne kuddako abaamasaza, abamyuka baabwe, abaalya ebitongole ebikulu, abamyuka baabwe, Bassaabaddu, n’abalala ne balyoka beemenya amannya gaabwe eri omwanjuzi. Buli Mwami yayogeranga amannya abiri, ery’omwami n’erirye, olwo omwanjuzi ng’amuddamu nti, ‘Nkulabye’.

    Era olukiiko bwe lwabeerangamu Abaamasaza bonna n’Abaami abawera nga 500 oba okusingawo, omwanjuzi yategeeranga amannya gaabwe gonna awatali kugatamattama. Awo omwanjuzi n’agamba abaami bonna nti, ‘Nze Kabaka gw’atumye ng’enze’. Ne baddamu nti, ‘Osinza.’ Awo n’agenda. Omwanjuzi bwe yatuukanga awali Kabaka n’afukamira bulungi ng’abwamye ku ttaka n’amugamba nti, ‘Katikkiro antumye okukulaba n’olukiiko lwonna.’ Kabaka n’akkiriza nti, ‘Yee.’ Omwanjuzi n’ayanjula amannya gaabwe n’obwami bwabwe. Abanjuzi baabeeranga bagezi kubanga oluusi ku mannya 500 bwe yayogerangako 200 oba 300 n’alyoka ayogerera wamu abo b’atamenye mannya nti, “N’Obuganda bwonna weebuli”

    Kabaka bwe yabeeranga ayagala okujja mu lukiiko olwo n’ayambala n’ajja mu Bulange oba mu Masengere-gansaze n’alabika. Era bwe yabeeranga alabise ng’asooka kuyita Katikkiro n’owOmulongo Kimbugwe, Abaamasaza n’Abaami abaganzi. Yabeeranga nabo ekiseera kitono, abaami ne bajja ku luggi ne beeyanjula buli omu nti “Nze Omutabuuza nzize okulaba ku mufumbo”. Omu ku baami abo abasoose okujja eri Kabaka n’amuddamu nti, “Awulidde Ssemanda agamenya embazzi n’okuyunga.” Oba nti, “Akuwulidde Magulunnyondo Nnantalinnya mu ku kateebe.”

    Bwe yalabanga abeeyanjudde baweze nga kkumi n’alagira okubaggulirawo. Ne bajja ne bafukamira mu maaso ga Kabaka walako ng’ebigere 30 ne bagamba nti, ‘Businze?’ Bakungu bannaabwe ne babaddamu nti, ‘Businze Obusiro.” Awo ne batuula mu bifo wabbali ate nga tewali kwogera nnyo. Kyalinga kizibu atali musajja wa Kabaka okumutuu-kako nga talina bw’ayinza kweyanjula.

    Wabula ku lukiiko olunene, oluusi abaami tebeeyanjulanga. Omwanjuzi bwe yatuukanga mu maaso ga Katikkiro ng’amugamba nti, ‘Ssebo nkuddukidde’ Awo ng’omwami n’abantu bonna abalala bayimuka ng’omwanjuzi abakulembera. Katikkiro bwe yatuukanga mu maaso ga Kabaka n’afukamira okumubuuza nti, ‘Osinze?’ N’addamu nti, ‘Yee’, olwo Abaami bonna ne babuuza bwe batyo, ne baddayo mu bifo byabwe.

    Naye Kabaka Muteesa I bwe yayiga okusoma n’adibya okusinzibwa n’alagira abakungu be abakulu okumulamusa nti, ‘Sibwakeri’ (Saba heeri) eky’Oluwalabu ekitegeeza nti, ‘Bulumgi.’ Bwe yalwala n’akikyusa mu Luganda nti, ‘Bulungi?’ Naye n’addamu bw’atyo nti, ‘Bulungi’ Era n’empisa y’okumenya amannya g’abakungu n’ekendeera kubanga yali takyayagala kukooyesebwa. Ng’awo ayita Abaami abakulu bokka ne bamulabako katono.

    Ekibuuzo
    Wandiika ku mpisa y’okulanya nga bwe yalinga mu Buganda.

    Published on: Saturday, 29th November, 2008

    #20894
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Abaggazi ba Kabaka baatambulanga n’enzigi

    EKITIIBWA kya Kabaka kyeyolekeranga mu bintu bingi. Okugeza; bwe yabeeranga agenda okulabika, kwe kujja mu Lukiiko, ng’eng’oma eza buli ngeri nga zivuga, era n’abambowa nga batambulatambula n’emigwa gyabwe nga balindirira okusiba omuntu yenna asingiddwa omusango ku Lukiiko.

    Buli musango ogwasalibwanga, ng’ab’eng’oma bakuba, era omuntu ng’asingiddwa omusango n’ayagala okwegayirira Kabaka okumusonyiwa, nga kizibu eddoboozi lye okuwulikika.

    Awali Kabaka tewaabulangawo baloopa bannaabwe n’ababawaayiriza, bagobebwe mu bwami bwabwe oba banyagibweko ebintu byabwe, abaloopi babyefunire. Wabula Kabaka Muteesa y’ataayagala baloopi. Bwe waloopanga munno, yamuyitanga n’amugamba nti, ‘Gundi y’akundoopedde.’ Ate bwe wazzanga omusango n’omutegeeza amazima yakusonyiwanga. Naye bwe wamulimbanga n’aleeta abajulirwa ne bakulumiriza ne gumala gukusinga nga tolema kuttibwa.

    Kabaka bwe yabeeranga atambula nga wabeerawo abantu bangi nnyo, era bwe yatuukanga awatali kkubo, nga bayinza okuwagulawo obuwaguzi amangu ago ne wafuuka ekkubo. Ate era mu kutambula kwe, abaggazi bonna baagendanga n’enzigi zaabwe, naye bwe baawummulangako, ne balyoka basimba enzigi ezo ne zifaanana ng’olubiri, Kabaka n’awummula bulungi munda. Teyaziyizibwanga mu kulagira kwe kwonna, ekigambo kye nga kye kifuga byonna.

    Bano be baakuumanga ekitiibwa kya Kabaka;

    Mulamba Omuggazi nga y’afuga abaggazi,

    Kawuuta Omufumbiro nga y’afuga abafumbiro,

    Sseruti Omusenero nga y’afuga abasenero,

    Kawuula Omugoma nga y’afuga abagoma,

    Nsanja nga y’afuga abamese abaakuumanga amayembe ga Kabaka,

    Banda Omubumbi nga y’afuga ababumbi,

    Nakyeyo ne Masiko nga be balongoosa empya n’obukubo bwonna,

    Omukwenya nga ye yeetikka emigugu gya Kabaka ng’atambula,

    Omusolooza nga y’akung’aanya enku za Kabaka.

    Abo nga bw’obagattako n’abambowa, wasangiranga ddala ekitiibwa kya Kabaka nga kijjudde be ddu.

    Omwami eyafuganga Olubiri lwa Kabaka nga ye Ssaabakaaki, era yalinanga obuyinza ku buli muntu mu lubiri, nga ky’alagira kikolebwa mangu ago.

    Kabaka bwe yajjanga ku lukiiko nga Katikkiro amwanjulira emisango gy’amaze okusala, era abajulidde Kabaka nga nabo bawoza. Omubaka wa Katikkiro omuddu era n’omukyala tebaavanga mu kkubo okutwala eri Kabaka ebifa ebweru, era n’omubaka wa Kabaka teyavanga mu kkubo okugenda eri Katikkiro okumutegeeza ebifudde mu Lubiri, oba ebweru by’abadde tannawulira.

    Naye mu bigambo byonna, Kabaka ne Katikkiro baateesanga bumu era nga kye bateesa kye kikola, ate era nga bawang’ana ekitiibwa mu ngeri ennungi ddala, anti Kabaka bwe yatumanga omubaka okugenda okukima ekintu kyonna oba nte, n’atagenda na mubaka wa Katikkiro nga tazireeta. Buli ow’essaza yenna n’omwami omukungu, n’abaami ab’ebitongole nga bw’ajja ku kibuga tasooka kugenda mu Lubiri lwa Kabaka nga tannalaba Katikkiro n’okumanya ebifa mu kibuga.

    Buli kigambo ekinene oba eky’ekyama ekibuulirwa Kabaka kyasookanga kumanyibwa Katikkiro. Kabaka bwe yabeeranga yeetamiddwa Katikkiro ng’ayagala okumugoba, n’okuzzaako omulala, yasookanga n’aziyiza ebigambo eby’ekyama okuyita gy’ali, ne bifuluma ku Kimbugwe omukulu w’olubiri eyasitulanga omulongo, okutuusa Kabaka lwe yalondanga Katikkiro omulala.

    Katikkiro bwe yabeeranga aweebwa Obwakatikkiro, Kabaka yabugabanga ayimiridde ku nju y’Olukiiko ng’akutte omuggo Ddamula oba Bagambira. Abaami abaalondebwa okunona anaalya Obwakatikkiro ne bayimirira mu maaso ga Kabaka, n’akwasa oyo gwe yalonda okulya Obwakatikkiro omuggo, gwe bagukwasizza n’agamba nti, “Nnaabulamulanga n’obwesigwa nga nsala emisango n’amazima.” Awo n’ayingira mu kisaakaate kya Katikkiro, ne Kabaka n’addayo ewuwe, naye tewaabeerangawo kweyanza ng’Obwami obulala bwonna.

    Menya abaami abakulu mu Lubiri lwa Kabaka 10 olage ebika mwe bava n’emirimu gye bakola.

    Published on: Saturday, 6th December, 2008

    #20962
    NdibassaNdibassa
    Participant

    1. Omuntu abeera na njala. Olwo ente n’ebeera na ki ?
    Nnganja.

    2. Olubugo olwokubiri mu kuyimbula omutuba luyitibwa lutya ?
    Nakabirye.

    3. Kkoyi kkoyi: Waggulu bisagazi, wakati ndeku, wansi nviiri ?
    Akatungulu.

    4. Maliriza olugero luno : Ndifiira ku baganda bange……….
    Nga n’akamwa kalungi.

    5. Enkuba esooka okutonnya mu mwaka gw’enswa eytibwa etya?
    Enzigulamatabo.

    6. Obusa bw’embuzi buwe erinnya?
    Ssaabwe/ bukiringi.

    7. Abayizzi bwe basanga ng’ekizigo ensolo ekidduseeko, ekizigo ekyo bakiwa linnya ki?
    Mwabukirabusa.

    8. Mpa akalombolombo k’omujjwa ku mukago ogusobye ?
    Omujjwa y’asikira omukago ogusobye.

    9. Omukazi bw’aba agenda okusimba emmere eno asooka kugyekuba ku ntumbwe esobole okugejja. Mmere ki ?
    Ndaggu.

    10. Ekimu ku bitundu by’omubiri gw’omuntu ye kalijjonjo. Mpa erinnya eddala erya Kalijjonjo.
    Nasswi.

    11. Ekitongole ekirabirira amayembe ga Kabaka kiweebwa linnya ki?
    Kimese.

    12. Ani yawandiika ekitabo: Ekisirisa Afumba ?
    Kakomo Godfrey.

    13. Mpa erinnya ly’eddiini erya Kabaka wa Buganda eyakisiza omukono e Bungereza ?
    Edward/ David/ Fredrick.

    14. Ekikolwa ekikuweereddwa kiteekeko akawakatirwa akasoboka era okalage. Sala.
    Salika.

    15. Teeka ekisoko ekituufu mu mpungu erekeddwawo. Omulenzi atambula nga ………….. mu bigere by’embwa?
    Eyawunya.

    16. Kkoyi kkoyi: Nnengera mayembe ennyama sigirabako?
    Endagala mu lusuku (zikweka amatooke).

    17. Ettabi eritemwa ku mutuba nga lyakusimba liwe erinnya.
    Ensimbo.

    18. Omuntu awulira kaloosa, olwo yo embwa ewulira ki ?
    Lusu.

    19. Malayo olugero luno: Mukadde ayigga…………..
    Olutabaalo atenguwa lutenguwe.

    20. Amazzi g’ennyanja gayitibwa gatya ?
    Meere.

    21. Obulwadde obutta embuzi ekirindi buyitibwa butya ?
    Naganga.

    22. Ekifo awakung’anira emisu wayitibwa watya ?
    Ekyole.

    23. Omuntu bw’afa ng’abadde mulima, omujjwa akola mukolo ki kiwonye emmere obutagenda na mufu?
    Awangula enkumbi y’omugenzi.

    24. Omukazi bw’aba awaata ettooke eririmu nguju, akola atya okulaba nga nguju tayingira mu ttooke asigala mu bikuta?

    Alamusa nguju ( Nguju eradde?).

    25. Ekimu ku bitundu by’omubiri gw’omuntu kiyitibwa ntanyeenya. Mpa erinnya eddala ery’entanyeenya ?
    Amatu.

    26. Ekimu ku bitongole ebisangibwa mu Lubiri kye kitongole ekirabirira engatto za Kabaka. Mpa erinnya ly’ekitongole kino.
    Kigatto.

    27. Ani yawandiika akatabo: Emmwaanyi Gye Weesiga?
    Nagaddya Grace.

    28. Mpa erinnya ery’eddiini erya Kabaka wa Buganda eyakisiza omukono mu bizinga by’e Ssesere?
    Daniel.

    29. Ekikolwa ekikuweereddwa kiteekeko akawakatirwa akalazi era okalage: Sala.
    Salira.

    30. Olubugo olusooka okuyimbulwa ku mutuba luyitibwa lutya?
    Nnassubula.

    31. Omuntu abeera na nkwawa. Ente n’eba na ki?
    Nkwakwa.

    32. Malayo olugero luno: Olukula luyonka abaana baalwo…….
    Omuliro gwebikka evvu.

    33. Enkuba etonnya ng’obudde bunaatera okukya eyitibwa etya?
    Ya Mujimbi.

    34. Mpa erinnya eriweebwa embuzi enkazi.
    Nakabege.

    35. Enkofu we zinaabira tewamera muddo. Ekifo ekyo kiyitibwa kitya ?
    Embuga ya Ddungu.

    36. Ekitongole ekyetikka emigugu gya Kabaka kiweebwa linnya ki ?
    Kikweya.

    37. Omukazi asimba lumonde akola mukolo ki okubaza emmere eyo? Atuula mu bikata oluvannyuma lw’okubyala.

    Published on: Tuesday, 9th December, 2008

    #20993
    KulabakoKulabako
    Participant

    Omusiri gw’entula guyitibwa gutya ?

    ASEMEI WESSAALI azze n’ebimu ku bibuuzo ebibatuuyanyizza wiiki eno:

    1. Amasiro ga Ssekabaka Mwanga I gasangibwa ku mutala ki ?
    Kavumba e Busiro.

    2. Abayizzi bwe bamala okugabana ennyama enjigge, omukulu w’omuyiggo akuba omuggo mu bbaagiro nga bw’alaamiriza nti:

    Abadde asera omuyiggo gwa ddungu alekere awo. Ekikolwa ekyo kiweebwa linnya ki ?
    Okuloga omuyiggo.

    3. Bwe nkubuulira emitwe gy’ebitabo nga ggwe ontegeeza eyabiwandiika: Bukadde Magezi, Zinunula omunaku ?
    E.K N Kawere.

    4. Ekiwuugulu bwe kikaaba, Abaganda embeera eyo bagiwanuuza nti kiba kizze kubika. Abaganda bakola batya okulaba ng’ekiwuugulu bye kizze okubika tebituukirira ?
    Bakikasuukirira ekitawuliro ky’omuliro.

    5. Ekkubo ly’ekinyomo liweebwa linnya ki?
    Muwanda.

    6. Ebintu byonna ebyanyagibwa mu lutabaalo biweebwa linnya ki ?
    Omwandu.

    7. Omwana omuwanvu agenze. Ekigambo omuwanvu kiwe erinnya lya ggulama.
    Nakongezalinnya.

    8. Obutiko obumera olw’enswa embobya buyitibwa butya?
    Ggudu.

    9. Leetayo erinnya eddala eritegeeza endiga enkazi ?
    Nakibeyu.

    10. Mu buwangwa bw’Abaganda, omukazi tafuga basajja. Ddi lw’akkirizibwa okubafuga?
    Ng’omwana we afuuse Kabaka ( nga ye afuuse Namasole).

    11. Entula eng’anda Omuganda yagiwa linnya ki?
    Entongo.

    12. Malayo olugero luno: Teweetenda bulima ………?
    Nga ku nsambu kwe balaba.

    13. Embidde eya nsowe ebeerako ebyayi ebiddugavu. Erangi eno giwe erinnya ?
    Naluyonga.

    14. Omukazi takkirizibwa kugenda mu lutabaalo. Ddi lw’akkirizibwa?
    Bw’aba agenda okusima lumonde, akwata engabo (ekibbo) n’effumu (ensobyo).

    15. Leetayo erinnya eddala eritegeeza enseenene gye bayita kibazzi?
    Mwebe.

    16. Obutiko obumera olw’enswa ez’ebisisiro (ebikamulo), buyitibwa butya ?
    Nnassogolero.

    17. Mpa ekisoko ekigya mu mbeera ekuweereddwa: Omwana ono sikyamwesiga.
    ………..Namuterebukamu dda.

    18. Ekigambo ekissiddwa mu bukomera kisikize ekigambo ekituufu: Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II (atufuze) bulungi.
    Atulamudde .

    19. Mu lulimi lw’aba mulimu ekigambo: Eggami. Eggami kye ki ?
    Mu maaso w’eryato munda.

    20. Mpa erinnya lya Kabaka wa Buganda eyagatta essaza lya Buweekula ku Bwakabaka bwa Buganda ?
    Kamaanya.

    21. Ani yawandiika ekitabo: Kulyennyingi ?
    M.B Nsimbi.

    22. Maasombira ye Nnamasole wa Ssekabaka Ccwa II. Olubiri lwe lusaangibwa wa?
    Kanyanya ( Kyaddondo).

    23. Omuggo gwe babajja nga guliko akeewese waggulu guweebwa linnya ki?
    Gwa nkono.

    24. Erinnya lino lisse mu bibinja: Omuti (emiti).
    Ekibira.

    25. Omusiri gw’entula, guyitibwa gutya?
    Enkulubagga.

    26. Malayo olugero luno: Akatono akatuuse………….
    Kakira eddene essuubize.

    27. Ekitooke bwe kireeta endu ennyingi ,bagamba nti kikoze ki?
    Kikkulidde.

    28. Olwabadde okutuuka, ne bampa ekiryabatabaazi. Olwo bampadde ki ?
    Amatooke amayiwemu.

    29. Mu buwangwa bw’Abaganda,omukazi taba mutaka. Naye waliwo abakazi abayitibwa abataka. Mpaayo omu.
    Nakku.

    30. Mpaayo ekigambo ekitegeeza “Kaalugendo”.
    Kaamuwanda.

    31. Obutiko obumera olw’enswa ez’akasanjasanja, buyitibwa butya?
    Busukkusukku.

    32. Mu lulimi lw’abavubi mulimu ekigambo : Akalumba. Akalumba kitegeeza ki ?
    Emabega w’eryato munda.

    33. Enkoko gye bandeetedde yabadde esibiddwamu olulagala. Luwe erinnya.
    Lukeete.

    34. Mpa erinnya ery’awamu eriweebwa abaami ba Kabaka ku mutendera ogusooka.
    Batongole.

    35. Malayo olugero luno: Endwadde y’omuto tekwata…………..
    Nga wa muganzi gw’ekutte.

    36. Mpa amakulu agali mu kisoko kino: Emmwanfuda okuyunguka ezziga:
    Ebizibu okusukka.

    37. Mpaayo ekigambo ekirala ekitegeeza ekitto (embeera). Ekikome.

    38. Kalimbwe w’enkoko bwe bamussaamu evvu afuna erinnya eddala. Limpe.
    Kasookolindo.

    39. Kkoyi kkoyi: Nnina mukazi wange ayambala buziina n’amala anyuma.
    Enkoko.

    40. Amasiro ga Ssekabaka Kayemba gasangibwa ku mutala ki ?
    Nabulagala.

    41. Ennyamba enjigge Kabaka gy’alya tefumitibwako ffumu. Bagikola batya.
    (Kozesa ekigambo kimu).
    Bagikanda.

    42. Mpa erinnya ly’omuntu eyawandiika ebitabo bino: Guluma Yaguzza, Nkeesa Lukya.
    Ndawula J.

    43. Ekibe bwe kikaaba, Abaganda bawanuuza nti kiba kizze kubika. Okuziyiza ekyo, bakiwereekereza ebigambo. Bimpe.
    Bakikolimira nti “ Genda ofe”.

    44. Omukululo ogusigala ekkovu we liyise guweebwa linnya ki?
    Kalindi.

    45. Mu lutabaalo, omuntu eyewaayo n’awanika emikono aweebwa linnya ki?
    Munyage.

    46. Omwana agenze. Ekigambo agenze kiweebwa linnya ki erya grammer?
    Kikolwa.

    47. Amazzi ge yaleese tegaabaddemu lulaga kye gaavudde gamuyiikira. Olulala olwo luwe erinnya.
    Olubuzo.

    48. Embuga z’abaami ba Kabaka ziyitibwa zitya?
    Bisaakate.

    49. Maliriza enjogera eno: Eby’e Buganda byatereezebwa…………..
    Nga kye bamutumye ky’aleese.

    50. Mpaayo erinnya eddala eritegeeza obuggalamatu.
    Obumpowooko.

    51. Mpa amakulu agali mu kisoko kino: Okukaaba akayirigombe.
    Kubonaabona okutakoma.

    52. Endiga bw’erundirwa mu nte efuna erinnya eddala. Limpe.
    Nabyewanga.

    53. Kkoyi kkoyi: Omugenyi asengudde omutaka.
    Nnabe mu kiswa.

    54.Malayo olugero luno: Mimwa etoloba………
    Ng’ageya bwe bajja.

    Published on: Thursday, 11th December, 2008

    #21073
    MubiruMubiru
    Participant

    Omwana tawasa mu kika kya nnyina

    Bya Dr. Michael Nsimbi, Polof. Livingstone Walusimbi, Keefa Ssentoogo

    OBUKO gye mizizo egyabeeranga mu bufumbo nga gino; Omukazi bwe yamalanga okufumbirwa, omusajja eyamuwasizza teyalabanga ku nnyina wa mukazi we, era n’abakazi abalala baganda ba nnyina mukazi we, nga bonna abayita bakoddomi be anti kyabeeranga kya nsonyi.

    Ng’omukazi takwata ku Ssezaala we, newankubadde baganda be, ne bassenga be abakazi bwe bali ab’olubu. Ng’abo bonna abayita bassezaala be. Era nga tayita mu mpya zaabwe wakati, wabula okuyita ku mabbali ng’abalaamiriza oluggya gye lukoma. Kyabeeranga kya nsonyi omukazi okuyita mu luggya lwa kitaawe wa bba, oba okumukwatako, oba okumuwa ekintu mu ngalo.

    Era nga ne kitaawe w’omusajja tayinza kukwata ku mukazi wa mutabani we, kubanga amuyita mukamwana we. Naye nga ye mukamwana abamuzaalira bba abalabako, era ng’atuula n’ayogera nabo naye nga tatuula kumpi ddala, wabula ng’atuula ludda lwa nnyumba, wakati mu ddiiro ne wabeerawo ebbanga. Ne bassezaala be batuula oludda olulala awo ne balyoka banyumya awatali kusobya gamba ng’engeri ewemula, nga boogera n’okwegendereza.

    Okutegeera ng’ekigambo ky’obuko kyatiibwanga nnyo, omuntu bwe yasobyanga n’akwata ku mukazi w’omwana we ate oluvannyuma n’alwala, nga bajjukira ekyo nti, ‘Munnaffe nno ky’avudde alwala yakwata ku muko mukamwana we.’

    Era omwana wa ssengaawo adda ku kitaawo, naye omwana gw’azaala yayitibwanga Kizibwe era tomukwatako, newankubadde okusula mu nnyumba yo. Nga bw’asulamu ne weegatta ne mukazi wo, bwe yalwalanga nga bagamba nti, ‘Ky’avudde alwala obulwadde buno, n’okukankana, yakwata ku muko Kizibwe we, naye musowelere lw’anaawona.

    Awo ng’omusowerera ebintu bino;

    Enkoko emu enjeru, embuzi emu enjeru, empeke emu enjeru, n’ensinda emu. Ne bagenda nabyo ku ttale, ne babifumbira eyo. Baafumbanga nnyama njereere, tekwabeeranga mmere era nga babiriirayo. Ensinda n’empeke omuko ye yabisibanga ku mukono gw’omulwadde nga bw’ayogera nti, ‘Oba nze nakukwatako, kati nkusoweredde, wona.’ Awo nga taddamu kumukwatako. Naye eyakwata ku muko bwe yawonanga nga bamaze okumusowerera, nga banne bamanya nti yali asobezza ku bako. Ate bw’ataawonanga nga bagamba nti yalwala obulwadde bwe bulala.

    Era omwana teyawasanga oba okufumbirwa ku kika kya nnyina, naye okusinga ku nda omwazaalibwa nnyina mwennyini kubanga bonna yabayitanga bakojja be. Era tewabeera awasa mwannyina, kitaabwe bw’abazaala, newankubadde omuntu yenna ow’ekika kye. Naye bwe baakulabanga ng’oyenze ku ssengaawo, mwannnyina kitaawo, baakukwatanga ekivve ne bakutwala ku kyalo Luwuube ekiri e Bulemeezi ne bakuttira eyo mu ttambiro Kkubamutwe oba eddala eriyitibwa Balitta eriri e Bulemeezi.

    Omwana omuwala bwe yakabawalanga n’amala afuna olubuto ng’akyali ku luggya lwa kitaawe, ago gaayitibwanga ‘amawemukirano’. Omusajja eyamukolanga olubuto yateekebwangako omusango. Yatanzibwanga embuzi, n’agireetera kitaawe w’omuwala ne bagitta nga buwungeera n’efumbibwa ne bagirya n’eyaganza omwana waabwe era baagiryanga bwe bati;

    Kitaawe w’omuwala ye yasookanga okukoza ekitole ky’ettooke n’akiwa omulenzi, n’omulenzi n’akoza n’akiwa kitaawe w’omuwala. Ate ne nnyina w’omuwala n’akoza n’awa omuwala, n’omuwala n’akola bw’atyo. Awo nga balyoka balya emmere, era baagibeerangako bana bokka, abalala bonna baabeeranga mabega nga tebasembera ku lujjuliro. Awo ne baawukana, kitaawe w’omuwala n’agenda abuuka mukazi we, era n’omulenzi n’agenda abuuka muganzi we. Awo ng’omuzizo guwedde. Baagambanga nti omwana omuwala okubeera olubuto ku luggya lwa kitaawe, ne batalya mawemuukirano, nga kitaawe afa obuko.

    Leeta obulombolombo busatu obwayambanga Abaganda okuziyiza obwenzi. Bunyonnyole bulungi.

    Published on: Saturday, 13th December, 2008

    #21106
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    WESSAALI azze n’ebimu ku bibuuzo ebyayingizza abamegganyi ku luzannya oluddako:

    1. Olusuku lwa Kabaka oluyitibwa olw’abatabaazi lubeeramu bitooke ki?
    Bya mbidde.

    2. Eddagala erisekuddwa ne lissibwamu akazigo ne balisiba mu kyayi liweebwa linnya ki?
    Akamooli.

    3. Obutaka bw’Abenkerebwe obukulu buli ku lusozi ki?
    Budimbo/ Bwanja Ssingo.

    4. Maliriza olugero luno: Ow’entondo alunda zize……….
    Ebisige tebyegatta na nviiri.

    5. Taggulula ekikokko kino: Kiki ekigenda waggulu eyo nga tekirina biwaawatiro, era olw’obutaba na biwaawatiro, tekidda.
    Omukka.

    6. Embuga y’essaza ly’e Buvuma eri ludda wa?
    Maggyo.

    7. Seruti ye musenero wa Kabaka omukulu. Obwaseruti bwatandikira ku mulembe ki?
    Ku Mikookiro oba ku mulembe gwa Ssekabaka Ssemakookiro.

    8. Mpa olugero oluva mu linnya lino: Sentamu.
    Ssentamu nkadde, togiteresa munno.

    9. Essubi erisibiddwa awamu liweebwa linnya ki?
    Kinywa.

    10. Lwaki bwe basuula ebyawongo mu luggya, omujjwa n’abiggyawo, ye tebimukwata?
    Si wa kika ekyo ( Aba mwana muboole).

    11. Malayo olugero luno: Obumpi bw’ensuwa ……..
    Bugiyisa ensumbi.
    12. Mpa erinnya eddala ly’oyinza okukozesa okutegeeza minvuuli?
    Tamusiya.

    13. Bw’owulira eng’oma ng’evaamu amaloboozi gano, otegeera ki: “Bwake, bwake muliro, mpaawo alikutabaala……….” ?
    Nga bakuma ekyoto Ggombolola.

    14. Engalo eya wakati bw’otagiyita kwemmembekedde, ogiyita otya?
    Nnantabulawo.

    15. Akaddo kano Abaganda kwe balabira nti awo waali wabaddewo ente. Kaddo ki?
    Kalandalugo.

    16. Mpa erinnya eritegeeza Kanywabirezi?
    Nakabutuzi.

    17. Mpa ebigambo ebyogerebwa jjajja eno nga bw’aasiba bamulekwa amafuvu ekiro enkeera nga kwe kussaako omusika.
    Kaaba, mukadde wo yafa.

    18. Omuti Kintu kwe yasinga ente ye , enjuki zimale zigirume efe , guli mu ssaza ly’e Busujju. Guyitibwa gutya?
    Kanjuki.

    19. Mpaayo erinnya limu erigwa mu lubu 13 ?
    Tunnyu.

    20. Twagenze okusena amazzi mu nsuwa twasanze nkalu be……….
    Nngwa.

    21. Omuntu bw’agamba nti gundi alokompoka, makulu ki g’oggya mu bigambo ebyo?
    Amala googera ebitasaana/ ebitaliimu nsa.

    22. Mpa amakulu g’ekisoko kino: okugwa mu masiga.
    Musajja kwefumbira mmere.

    23. Mpaayo enjogera y’Abaganda eraga nga bwe baali bamanyi nti eriyo okuzuukira?
    Kitaka talya, atereka buteresi.

    24. Mpa erinnya eriyitibwa olusuku lw’oku kibira.
    Nakitokolo.

    25. Akaddo kano Abaganda ke baziguza ebyuma eby’ekikomo. Kaddo ki?
    Kajjampuni.

    26. Kizira omujjwa okwera oluggya n’ataweebwa ssente. Kiki ekibaawo nga taweereddwa ssente?
    Oyavuwala.

    27. Malayo olugero: Ssekikubo kitutte ente……………
    N’omusumba gy’omusanga.

    28. Mpa ebigambo ebyogerwa omukulu w’olumbe eno nga bw’ayokya enkejje y’omugenzi?
    Ayita erinnya lye n’agamba nti gundi, eyakwalula esiridde.

    29. Omuwafu Kintu mwe yatuulanga nga n’alamula Obuganda guli Naggalabi: Guyitibwa gutya?
    Mboneredde.

    30. Ani kalabaalaba w’omwenge ogw’omuzizo abava okutabaala gwe banywa?
    Ssenkoole.

    31. Ekigambo ekissiddwa mu bukomera kisikize ekirala ekirina amakulu ge gamu: Mukasa (atema) ettooke.
    Ayunja.

    32. Abeddira Enseenene akabbiro kaabwe ki?
    Nabangogoma.

    33. Maliriza olugero luno: Siva we boogera……….
    Y’abuuka n’akabalangulo.

    34. Ebintu ebisibwa ku butimba buleme kukka mu mazzi biyitibwa bitya?
    Amalindi.

    35. Taggulula ekikokko kino: Omusajja yazimbirwako enju, oluvannyuma yagisitula n’agiggya mu kifo era n’aba nga y’asinga amaanyi…………..
    Ekkovu ery’essonko.

    36. Embuga y’essaza ly’e Kkooki eri ludda wa?
    Rakai.

    37. Mpa ebigambo Abaganda bye boogeza obukoko obuto ennyo naddala mu budde obw’empewo.
    Obutiti obutiti.

    38. Mpa amannya ga Katikkiro eyayomba ne Kabaka Abaganda bamale bamuwalirize alekulire.
    Sir Apollo Kaggwa.

    39. Mpaayo oluyimba lumu oluyimbibwa mu kwalula abaana.
    “Ekiku ekivunduvundu,
    Kye kiziika omuliro.

    40. Mpa erinnya ly’ekiwuka abawala kye balumisa ku mabeere gaabwe okusobola okusuna ?
    Enfuuyirizi.

    41. Mpaayo erinnya limu erigwa mu lubu 16.
    Wamberi.

    42. Yamusozze effumu be……….
    Ccu.

    43. Omwenge ogw’omuzizo ogunywebwa abava mu lutabaalo gubeera mu ki?
    Mu nsuwa.

    44. Ekigambo ekissiddwa mu bukomera kisikize ekirala nga tokyuusizza makulu. Omwana (alya entungo) yange.
    Awema.

    45. Ab’eddira Enkusu akabbiro kaabwe ki?
    Namugala.

    46. Maliriza olugero luno: Kuno tekuli kabi…………..
    Yeerabira ekigenyi.

    47. Engege zisima engeri y’ebinnya mwe bizaalira. Ebinnya ebyo biwe erinnya.
    Amabya.

    48. Omwami wa Kabaka afuga essaza ly’e Kabula aweebwa linnya ki?
    Lumaama.

    49. Obukoko obusookerreza okubuukira emiyagi buweebwa linnya ki?
    Bwambulabbombo.

    50. Mpa amannya g’omwami eyayomba ne Katikkiro n’alekulira n’okulekulira.
    Stanslas Mugwanya.

    51. Omuntu owoolugambo ennyo ageraageranyizibwa ku kitonde ki?
    Nseenene.

    52. Eng’oma Kabaka gye yakubanga ng’agenda okugaba olutabaalo yaweebwanga linnya ki?
    Entamiivu.

    53. Tonda erinnya okuva mu kikolwa kino: kulunga.
    Nkulungo.

    #21339
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Nakasigirwa eggumiza tegattibwa ku kigambo

    NAKASIGIRWA eziggumiza ze zino;
    Nze, gwo, lwo, kwo, gwo, mmwe, zo, go, ggwe, yo, lyo, two, bo, byo, bwo, ye, kyo, ffe, gyo, zo, go, yo, n’endala.

    Ebigambo ebyo tebigattibwa ku binnaabyo.

    Ebyokulabirako

    Nze nkuyita
    Ggwe olisooka okumpandiikira.
    Ye alitutegeeza lw’alijja.
    Be basekedde waggulu.
    Ye akuyita.
    Yo eringa endwadde.
    Ffe b’ayagala.
    Nze tammanyi.

    Buli
    Akagambo ako olubeerera kawandiikibwa kokka.
    Ebyokulabirako
    Buli lunaku alya wano ekyeggulo.
    Asekaaseka buli kiseera.
    Buli ajja amuwa empaawo y’omwenge.
    Buli akola asaanira empeera.

    Bulijjo
    Ekigambo bulijjo kiwandiikibwa nga kiri kimu nga wano;
    Ajja wano bulijjo.
    Bulijjo antawaanya.
    Tatera kulabika bulijjo.
    Bulijjo amukuba.

    Ka
    Bulijjo akagambo ka kawandiikibwa kokka. Naye mu maaso gaako bw’ebaayo ekigambo ekisookako enjatuza, a evaawo mu kifo kyayo ne wateekebwawo akabonero akasukkize.
    Ebyokulabirako;
    Ka tugende
    K’ayimbe tuwulire
    Ye k’asome nga nze mpandiika
    K’olabe
    Ka mulabe
    Ka bagende banaalabira eyo

    Ga
    Akagambo ako kagattibwa ku kigambo ekikaddirira
    Ebyokulabirako
    Mmaze gagenda
    Tumaze galya
    Tumala galya
    Tofaayo mala gakola
    Mala gatuukayo

    Published on: Saturday, 27th December, 2008

Viewing 15 posts - 31 through 45 (of 65 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.