Yiga Olulimi Oluganda

  • This topic has 10 voices and 64 replies.
Viewing 15 posts - 46 through 60 (of 65 total)
  • Author
    Posts
  • #21494
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Enju eziri mu lubiri lwa Kabaka zirina amannya

    Bya Polof. Livingstone Walusimbi, Dr. Michael Nsimbi, Keefa Ssentoogo

    MU mbuga ya Kabaka mwabeerangamu ennyumba Ggombolola Katikkiro mwe yasaliranga emisango, era na kati ekyalimu.

    Amakulu nti mwe mugombolerwa abantu abajja bakwataganye nga balina empaka.

    Kyo ekyoto Ggombolola kyabeeranga ku Wankaaki w’olubiri ku mukono ogwa kkono ng’oyingira mu lubiri ne kaakano weekiri.

    Ekyakituumya erinnya eryo, abatongole bonna abaaleetanga

    enku za Kabaka ez’okwota n’abaazikazanga ekisanja baabagombololeranga awo okubasalira emisango gyabwe.

    Ate munda nga ky’ojje oyingire mu Wankaaki ng’olaba ebigango bibiri, ekyabeeranga ku gwa kkono nga kya batebe

    era na kati weekiri era mwe muli entebe ya Kabaka enkulu; Nnamulondo

    n’ekyabeeranga ku ddyo nga kya baggazi.

    Ate bwe wasinziiranga mu mbuga ey’omunda ng’olaba ennyumba ez’olunyiriri ku luguudo ku kkono ne ku ddyo.

    Eyasooke-rwangako Muzibwazaalampanga, yabeeranga ya mukyala Kadduluba-ale

    era yabeeranga n’ekitiibwa okusinga endala kubanga omukyala waamu ye yafuganga abakyala ba Kabaka,

    era ye yafuganga endala zonna.

    Erinnya eryo lyakozesebwanga ku lubiri lw’e Nabulagala

    olwa Kabaka Muteesa Mukaabya Walugembe ,

    Naye buli Kabaka yagituumanga erinnya lye yayagalanga.

    Emmanju waayo yabeerangayo ne zinnaazo;

    Makumbi n’akagango,

    Mututuma n’ento ssatu nga zonna zaabeeranga za Kaddulubaale

    era mu Makumbi Kabaka mwe yamaliranga emizizo gyonna.

    Bandabyekiwujja n’entono nnya ennyumba zaabeeranga za mukyala Nassaza,

    ng’omwo mw’ateeka obumwano obumwa Kabaka n’ebirala.

    Gazimbye n’entono bbiri zaabeeranga za mukyala Luyiga.

    Balemubulungi ne Njagalakasaanyi

    Kabaka mwe yaweesezanga obwambe kubanga lyalinga ssasa.

    Ate ku ddyo kwabeerangako; Luvumbi n’entono bbiri ezaabeeranga eza mukyala Nakaddu.

    Luccaca, n’akagango n’entono bbiri zaabeeranga za mukyala Bayita.

    Mawome n’entono emu n’akagango Ndiwulira zaabeeranga za mukyala Ssaabaddu.

    Mu Ndiwulira omwo Kabaka mwe yakomagiranga embugo.

    Bwe wavanga ku luggi Nsigo n’otuuka ku kagango nako Nsigo.

    Ng’oyita ku luggi Bawanika n’otuuka ku kigango

    Ndogoobukaba omwasulanga eng’oma zonna, kyabeeranga ku kkono ng’oyingira mu Lubiri.

    Bwe wavanga awo n’oyita mu kakubo kamu n’otuuka ku kigango

    Masengeregansaze Katikkiro mwe yasaliranga emisango n’abakungu abalala mwe baatuulanga.

    Kabaka bwe yasalanga omusango omuntu ne gumusinga, abambowa baamusibanga emigwa, ne bamutwala nga bamukulula.

    Obwogi bw’ettaka obwo ne balyoka babuyita amasengere

    nti, “Lino erinsaze si ttaka wabula masengere ge gansaze, kubanga amasengere ge galina obwogi okusinga ettaka.

    Laga empisa z’omu lubiri lwa Kabaka nga bwe zaalinga.

    #21495
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Bwe wavanga awo n’odda ku ddyo n’oyita mu kakuubo kaamu n’otuuka ku luggi Wakooli,

    Bwe wayitanga ku olwo n’otuuka ku nnyumba Bulange

    Eyabeeranga n’ekitiibwa ekinene ennyo kubanga Kabaka mwe yalabikiranga era mwe yasaliranga n’emisango.

    Mu luggya lwayo mwabeerangamu ebigango bibiri:

    Ndimunyorosirimuganda ekyabeeranga eky’abasenero abakuuma omwenge gwa Kabaka gw’anywako

    Era n’Omulindamazzi mwe yabeeranga.

    Ate okyokubiri mwe mwasulanga abalenzi abaakwatanga entebe za Kabaka ng’atambula abaayitibwanga Abatuuza.

    Mu luggya lwa Bulange mwe mwasimbwanga omulongooti ogwasimbwangako bendera

    Anti Muteesa bwe yamala okusoma n’asimba omulongooti ogwo era buli ssabbiiti baawaniikanga bendera eyo.

    Mu luggya olwo mwabeerangamu emizizo etaano:

    Wakooli, Ogwagendanga enkuluze mu ggwanika n’ennyumba endala nnya,

    Ogwagendanga mu ffumbiro,

    ogwagendanga wammanju wa Masengere

    n’ogwagendanga ku nju ya Kabaka nga bw’oguyitamu n’otuuka ku kakubo

    Ako kaabeerangako enzigi bbiri nga bw’oziyitako n’otuuka mu kagango

    mu kakuubo kamu, kaabeerangamu enzigi ssatu awo n’otuuka ku nnyumba ya Kabaka mwe yasulanga.

    Published on: Saturday, 3rd January, 2009

    #21737
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Bulange y’ennyumba esinga ekitiibwa mu Lubiri

    Ebyobuwangwa byaffe

    KU nnyumba ezisangibwa mu Lubiri lwa Kabaka mulimu Bulange eyabeeranga n’ekitiibwa ekinene ennyo kubanga Kabaka mwe yalabikiranga era mwe yasaliranga n’emisango. Mu luggya lwayo mwabeerangamu ebigango bibiri:

    Ndimunyorosirimuganda

    ekyabeeranga eky’abasenero abakuuma omwenge gwa Kabaka gw’anywako n’Omulindamazzi mwe yabeeranga. Ate ekyokubiri mwe mwasulanga abalenzi abaakwatanga entebe za Kabaka ng’atambula abaayitibwanga Abatuuza.

    Mu luggya lwa Bulange mwe mwasimbwanga omulongooti ogwasimbwangako bendera anti Muteesa bwe yamala okusoma n’asimba omulongooti ogwo era buli Ssabbiiti baawaniikanga bendera eyo.

    Ate ku luuyi olwa kkono ng’oyimiridde ku luggya lwa Twekobe yabeerangayo ennyumba Kabakebezi oba Kabanywa nga ya mukyala Omunywa. Mu nnyumba eyo Kabaka yabeerangamu nnyo era nga mw’awummulira.

    Emmanju wa Twekobe yabeerangayo ennyumba

    Kakyalakokka

    ekuumibwa ab’omusu, era kye kiyigo kya Kabaka n’okutuusa kati gy’eri. Ate ku kkono yabeerangayo ennyumba Biseera, nga ya mukyala Omukookiro.

    Mu luggya lwa Twekobe mwabangamu omuzigo ogwagendanga mu nnyumba
    Bummenya,

    amakulu nti obuganzi bummenya kubanga omuganzi y’abeera omuwombeefu mu buli kigambo, era takaayana alyoke akuume obuganzi bwe era obuganzi bwe butyo bwe bumenya. Ennyumba eyo mwe mwabeeranga olukiiko lw’abakyala olunene, yabeeranga ku luuyi olwa ddyo era nayo yabeeranga ya mukyala Omunywa.

    Emmanju wa Bummenya yabeerangayo ennyumba ssatu: Balimwagula
    amakulu nti bw’onoogenda eri Kabaka ng’aliko obusungu anaakutta. Eyo yabeeranga ya mukyala Omujuna. Endala
    Bweserandabetebumalamanda,
    amakulu nti, ekigambo ekijja ng’okiraba osala amagezi ag’okukirongoosa. Eyo yabeeranga ya mukyala Omusuuna.
    Kitente yabeeranga ya mukyala Omuwalula.

    Bwe wavanga ku nnyumba ezo n’oyita mu luggya lwa Bummenya ng’otuuka ku nnyumba
    Nawonabukopi,
    amakulu nti, ‘Asenga Kabaka n’amuwa obwami ng’awonye obukopi era aba tayagala kubuddamu lwakubiri’. Eyo yabeeranga ya bakyala abaasulanga ebisanja eri Kabaka. Abakyala abakulu baalondanga abawala Abasebeyi abalungi ennyo ne bagenda mu nnyumba eyo mwe baavanga ne bagenda mu nju ya Kabaka okumuweereza n’okumukuuma, era be baakolanga emirimu mu nnyumba ya Kabaka.

    Mwalimu n’ennyumba ssatu eza mukyala Kabejja era nga mw’asinga okusula wadde yalina olubiri lwe.

    Laga era onnyonnyole ebintu ebyoleka ekitiibwa kya Kabaka mu Buganda.

    #22185
    KulabakoKulabako
    Participant

    0.Mpa amannya g’omuwandiisi w’akatabo; Magezi Muliro.? Ssennambi Muhammad

    .
    1.Batte tumulabye.
    Ennyingo “tu” eyitibwa linnya ki mu ggulaama w’olulimi Oluganda? Nakasigirwa enkozi.

    2.King Freddie, mu katabo ke, ke yatuuma The Desecration of My Kingdom, waliwo w’agambira ebigambo bino; “Ekimu ku bintu ebisobola okutabangula emitima gy’Abaganda y’ensonga y’ettaka”.

    Ensonga eno yavaayo mu bulungi mu 1998 etteeka ly’ettaka lye tutambuliramu bwe lyayisibwa.

    Abaganda kino baakikola batya? Nga bakungubaga (Baayambala ekkanzu enteera ne basiba ebimyu.Tebaakuza matikkira ga Kabaka ag’omwaka ogwo.

    3.Mpaayo ekisoko ekitegeeza omuntu okuba ng’ayagala nnyo ekintu? Okukyagala ng’awava erinnyo.

    4.Jjuza ekisoko mu mpungu erekeddwaawo; Omusajja oyo adduka nga……………… Kaweewo
    .
    5.Waliwo ejjinja ly’Abenkima eriyitibwa Ssali, erigambibwa nti lyasenguka okuva ku lukalu ne lidda mu nnyanja. Lisangibwa mu ssaza ki? Mawokota.

    26. Olulagala oluteekebwa mu ntamu omuli amazzi galeme kuyiika ng’ogeetisse, luyitibwa lutya? Olubuzo/ Oluwuzo

    .
    7.“Okusereekerera ku kitaggumira” kisoko. Kitegeeza ki? Kulya.

    8.Engabo eyitibwa ey’Ensinga y’eba etya?. Erukiddwako n’ebibo.

    9.Okukaaba kw’ejjenje kuwe erinnya. Kulanga.

    0.Malayo olugero luno; Atazze mbwa ye kumpi………… Nti eyange eyigga n’ekiro.

    31.Bwe baba balima ebiggya bigambo ki bye boogera nga babitegeeza omugenzi? Munnaffe totululumiranga, tumaze okukulima, abazzukulu obakkirizanga ne bakuzannyirako.

    32.Musisi yawuliddwa nga yeebuuza nti, “Ani aleese wano olwegeeya?”. Olwegeeya kye ki? Embaata ennyingi.

    3.Abambowa abaakuumanga emmanju wa Kabaka baaweebwanga linnya ki? Batete.

    4.Mpa amannya g’omuwandiisi w’ekitabo, Ssempala Bba Mukyala Ssempala? Wycliff Kiyingi.

    35Batte tumulabye. Ennyingo- mu- eyitibwa etya mu ggulaama w’olulimi Oluganda? Nakasigirwa ekolebwako.

    36.Obusuulu n’envujjo bye bigatta nannyini ttaka n’omusenze.Etteeka eryassaawo busuulu n’envujjo lyakolebwa mwaka ki? 1928
    .
    37.Jjuza ekisoko mu mpungu erekeddwawo; Omukazi oyo atemya nga…………… Kikami.

    38.Waliwo ejjinja ly’Abeempeewo eriyitibwa Kkungu erigambibwa nti edda lyali lyogera. Lisangibwa mu ssaza ki? Kyaddondo

    Engabo etali nduke eyitibwa etya? Mpaala.

    1.“Omuzadde omusajja okusala ekisasi”, kisoko. Kitegeeza ki? Okutuula n’abaana be ku lujjuliro

    2.Ejjenje essajja liyitibwa litya? Ekkaabi

    3.Olulagala olusibwa mu ntamu esaaniikiddwa luyitibwa luyina. Mpaayo erinnya lyalwo eddala. Olukubiro

    4. Malayo olugero luno; Embwa yange tebba………….. Ng’eyise ku lwa taba

    5.Abakondeere bakwanya kimu, Kye kiri wa? Mikka.

    #22283
    KulabakoKulabako
    Participant

    Buli kika kyawanga Kabaka omukazi

    Bya Dr. Michael Nsimbi, Keefa Ssentoogo ne Polof. Livingstone Walusimbi

    OKUWASA kwa Bassekabaka kwabeeranga bwe kuti: Abakungu bonna n’abaami abataka abafuga ebika baakung’aananga mu nkiiko z’ebika byabwe ne bateesa ne balondamu abawala ab’emyaka 12 okutuuka ku 17 ne babaleeta nga babaggya ku bakitaabwe ne balondako abasinga obulungi nga tebalabanga ku basajja. Abo be baasingiranga Kabaka.

    Olulala Kabaka yawasanga bw’ati: Abaana b’abaami bwe bajjanga okumulaba n’alabako gw’ayagala, oyo yawasanga muwase n’awaayo ebintu eby’obuko eri kitaawe.

    Ate abawala abo abaawasibwanga n’abataawasibwanga bwe kwabangako aganjizza ewa Kabaka yalooperanga Kabaka nti, “Ewaffe eriyo omwanawattu gundi anzirako, tomanyi bw’ali mulungi, Naye kirungi omuwase.” Era n’oyo baamugobereranga ne bamuleetera Kabaka n’amuwasa.

    Era mu abo bwe yalondangamu gw’ayagala n’amuwa obukyala, bakitaawe yabawanga ebintu bingi eby’obuko ng’ente, embuzi, abakazi, abaddu, embugo n’obwami.

    Abawala abaasiigirwanga Kabaka, be yabeeranga tannawa bwami baayitibwanga abasebeyi, buli eyabavangamu n’aweebwa obwami ng’olwo ayitibwa omukyala.

    Kabaka bwe yabeeranga ayagala abazaana yalondanga omwami n’amutuma mu Buganda n’asolooza abawala abato abalungi, abo be baayitibwanga abazaana. Era n’abakazi abaanyagibwanga mu mawanga amalala bwe baaleetebwanga mu Lubiri nga bayitibwa bazaana.

    Ku abo abakyala ba Kabaka n’abasebeyi kwe baafuganga kubanga buli gwe baaleetanga nga Kabaka agabirako buli mukyala, omuganzi yamuwanga bangi ate atali muganzi ng’amuwa batono. Abakyala abo bwe baamalanga okugabana abazaana, nga nabo bagabirako abasebeyi abayingira omwabwe.

    Naye empisa y’endobolo yabbula Obuganda. Buli oweekitiibwa omumbejja oba omulangira oba omwami bwe yawanga musajja we omukazi, be baayitanga abawumirize n’azaala omwana, era omwana oyo yamutwalanga n’amufuga obuddu oba obuzaana.

    Naye okuwasa kwa Bassekabaka abaasooka tekwali kwa bakazi bangi, baawasanga omukazi omu Kaddulubaale era ye yafuganga olubiri lwonna. Oluvannyuma baayongerangako Kabejja ne Nassaza. Kabejja Olubiri yalufugangako oluuyi olwa kkono. Nassaza ye yamwanga Kabaka enviiri n’okumusalako enjala.

    Okuwasa abakyala abangi kwayala luvannyuma.

    Awatali bika, tewali Bwakabaka. Nnyonnyola.

    #23182
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Abawuulu tebaawanga musolo mu Buganda

    Omusolo ogwasoloozebwanga mu Buganda mwalimu
    ogw’empeke n’ensinda ezaawundanga abalongo ba Bassekabaka era mu kifo kyagwo mwe mwadda ogw’ensimbi, n’ogw’ente n’embuzi ogwayitibwanga kikungo. Ku nte 20 nga baggyako emu era ne ku mbuzi 20 nga baggyako emu.

    Baasoloozanga omusolo gw’embugo, ng’atazirina awaayo ensimbi 250, omusolo gwa bakitatta atabaala nga wabaddewo olutabaalo. Buli muntu ataatabaalanga ng’awa ensimbi 250 oba olubugo lumu n’ensimbi ttaano ez’enkata.

    Omusolo gw’enswa gwasoloozebwanga mu masaza gye zibuuka nga mu buli nnyumba muvaamu ekibya. Baasoloozanga omusolo gw’omunnyo n’enkumbi empya ku mabbali g’amasaza agaliraanye Bunyoro. E Ssese baasoloozangayo omusolo gw’enkejje. Baasoloozanga omusolo gw’amagi n’entungo era nga mu buli nnyumba muvaamu ekibya.

    Era baasoloozanga omusolo gw’enkumbi ezisiridde, ogwayitibwanga omusolo gw’ensimu nga gwaweebwanga bakopi n’abatongole abalina ebyalo ebitonotono. Baasoloozanga omusolo gw’abakazi abayimbi ne babatwalira Kabaka okumuyimbiranga. N’abaami baatwalangako ku bakazi abo ne baabayimbiranga mu bisaakaate byabwe. Era baasoloozanga omusolo gw’ebibbo, n’emiyini ne babitwalira Kabaka.

    Baasoloozanga omusolo gw’ababumbi b’entamu ne babatwala okuzibumbira Kabaka. Era baasoloozanga basajja b’abakungu nga mukama waabwe afudde, anyagiddwa oba ng’agobeddwa mu bwami ne batwalibwa mu kitongole Kabaka mwe yabaagalizanga.

    Era baasoloozanga abasajja abakadde ne babatwala emmanju wa Kabaka, abo be baayitibwanga abatete abaakuumanga abakyala mu byalo byabwe. Naye Namasole, Katikkiro, Kimbugwe ow’omulongo ne Kibaale ku byalo byabwe teyatumangayo mubaka we okusolooza omusolo wabula baagwesoloozangako bokka ne bawaako Kabaka.

    Naye abaami tebaawanga musolo wabula obugenyi bw’omubaka bwokka, ng’Owessaza awa ente bbiri ate abakungu abaddirira nga bawa ente emu. Abasigire n’abaami tebaawanga musolo ko ne bannakazadde b’abaami. Abawuulu nabo tebaawanga musolo.

    Omwami alya ekitongole, ekitongole kye bwe baasoloozangamu emigugu gy’embugo 15 yalobolangako emigugu mukaaga n’agabana n’abatongole be, emigugu egisigaddewo n’agiwa omubaka n’agitwala eri omwami afuga ekitundu.

    Omwami oyo yalindanga omusolo ogusoloozeddwa mu kitundu kye ne guggwaayo. Emigugu bwe gyabeeranga 130 ng’alobolako 40, egisigaddewo ng’agitwalira owessaza. Owessaza bwe yasoloozanga emigugu 432 ng’alobolako 150, egisigaddewo omubaka n’agitwalira Katikkiro. Awo nga Katikkiro alobolako 60, n’aggyako egya Kimbugwe ow’omulongo 7, n’egya Kibaale omusigire wa Kabaka 5.

    Waasigalangawo egya Kabaka 210, omubaka n’agitwala eri Kabaka. Awo nga Kabaka agabirako omubaka we emigugu 84, ate Ssaabakaaki ne Mulamba ng’abawaako 7. Kabaka ng’asigazaawo emigugu egigye ku bubwe 119.

    Laga olujegere lw’obufuzi bwa Buganda nga bwe bwalinga.

    Published on: Saturday, 25th April, 2009
    From Bukedde

    #23268
    KulabakoKulabako
    Participant

    1241282005zulu.jpg

    Basajja ba Kabaka b’agabidde ebyobugagga be bokka abaayitabanga ‘Wampa ssebo’

    Basajja ba Kabaka nga beeyaze mu maaso ge. Baabadde baaniriza Kabaka ng’agenze mu ssaza lye ery’e Busujju.

    Yiga Oluganda

    OKUVA edda okutuusa ku mulembe gwa Kabaka Ssuuna II, omusolo gwa Kabaka gwawanikibwanga wa Katikkiro. Naye Katikkiro Kayiira ow’Embogo bwe yanywa ennyo omwenge, n’atoolanga ku bintu bya Kabaka n’abigabanga, eggwanika lya Kabaka kye lyava liggyibwa omwa Katikkiro ne lizzibwa mu Lubiri.

    Katikkiro yabeeranga n’ebingu mu ggwanika ly’ebitereke kwe yaggyanga okugabira abo Kabaka be yamulagiranga okuwa, era n’okufumbira abagenyi ba Kabaka.

    Kabaka bwe yayagalanga okugaggawaza omuntu, yalagiranga bulagizi nti, ‘Oyo mmuwadde abakazi bwe bati, ente bwe ziti, era ku buli kintu gundi mmuwaddeko omuwendo bwe guti.’ Omuntu oyo yafulumanga n’ekitiibwa okuva mu Lubiri olw’okugenda mu maaso ga Kabaka. Kabaka bwe yabeeranga ayita abantu be, abakungu baayitabanga nti, ‘Wampa ssebo’, ‘Wekka baze’, ‘Nakulaba’, oba ‘Wampira’. Omwami yayitabanga nga yeekola Kabaka eyamugaggawaza nti, ‘Kabaka Ssuuna!” oba nti, ‘Muteesa namulaba!’

    Ate abakyala n’abaddu abagalagala baayitabanga nti, ‘Wangi ssebo’. Naye omugalagala nga tayinza kuyitaba nga mwami nti,’ Wampa ssebo’ olwo ng’aba akoze bubi kubanga Kabaka tannamugaggawaza.

    Kabaka nga bw’akuwa obwami oba ekintu kyonna nga weebaza nti, ‘Nneeyanze ssebo, ompadde Ssaalongo wange, ompadde Ssemanda agamenya embazzi n’okugiyunga!’ Era ng’ogalamira wansi n’okuuta ekirevu ku ttaka, n’ofukamira n’ogatta emikono gyombi ne weeyanza n’essanyu.

    Omukungu wa Kabaka bwe yabeeranga omugayaavu mu mirimu egimulagiddwa ng’omubaka wa Kabaka amutanza omuwendo gw’ebintu n’aguwaayo awatali kwebuuza.

    Omubaka bwe yatuukanga mu maaso ga Kabaka nga yeeyanza nti, ‘Omukulu gundi namutanza olwa kino era namutanza omuwendo gw’ebintu bwe guti nabyo biibino mbireese.’ Ebintu ebyo byagabanibwanga Kabaka, Katikkiro n’omubaka eyatumibwa.

    Laga ebyobuwangwa by’Abaganda ebyoleka Abaganda bwe baalinga abakozi.

    #23463
    KulabakoKulabako
    Participant

    Kabaka w’atuula wayitibwa Busiro

    Bya Keefa Ssentoogo, Polof. l. walusimbi ne Dr. Michael Nsimbi

    SSEKABAKA Muteesa yalagira abaweesi ne baweesa entebe ez’ebyuma n’Abasese ne babajja entebe n’atuuzangako abaami be mu Bulange.

    Ate Ssekabaka Ssemakookiro ku kiwu yayongerako eddiba ly’empologoma n’ery’empisi ne gabikkanga ku Nnamulondo era n’okutuusa leero gakyaliko.

    Entebe eyo Kabaka yagituulangako nga wabaddewo ekigambo ekikulu ng’embaga, okugaba olutabaalo, n’okulamusa olutabaalo nga lubadde lwa kitiibwa nnyo.

    Ate ku ddiba ly’engo kwe kwavanga enkoba ezaateekebwanga mu ngatto za Bassekabaka ze baanaanikanga mu bigere byabwe era ne mu z’abambejja abakulu abaafuganga bannaabwe. Era ne Namasole nnyina Kabaka yanaanikanga za ngo. Naye omulangira, abaami abaamasaza, n’abakungu nga kya muzizo okunaanika engatto ezirimu enkoba z’engo.

    Ekifo Kabaka w’atuula kyayitibwanga Busiro kubanga Ttembo bwe yalya Obwakabaka yakuba ekibuga ku lusozi Busiro era nga Kabaka kw’alabikira buli lunaku.

    Buli abaalinga bava ewa Kabaka ne basanga abantu mu kkubo ne bababuuza nti, ‘Kabaka mumulabye?’, nga babaddamu nti, ‘Yee, tumulabye era alabikidde wali ku lusozi Busiro.’ Okwo kwe kwava ekifo Kabaka mw’atuula okuyitibwa ‘Obusiro’.

    Essaza Bassekabaka mwe baaziikibwa liyitibwa Busiro ate nga n’awabeera obutuulo bwa Bassekabaka wayitibwa Masiro. Omuntu bw’aba agenda okukiika ewa Kabaka agamba nti, ‘Ng’enda Busiro kukiika’ era n’ava eri Kabaka agamba nti, ‘Nva Busiro kukiika.

    Ate ebintu bya Kabaka byonna ng’emmere, omwenge, ebyambalo, n’ebirala biyitibwa ‘Makula’. Kabaka bw’abeera ng’alya bagamba nti, ‘Embuga eriyo amakula’. Ekigambo ekyo ‘Amakula’ kyawula ebintu bya Kabaka ku by’abakungu.

    from bukedde

    #25462
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Thursday, 22 October 2009 09:12

    Maanyi ga kifuba abuukira n’asotta, ate ow’embalaasi akola ki?
    Agyebagala.

    Bamaama bazaala, ate ekitooke kikola ki?
    Kikkulira.

    Ddamu kituufu oba si kituufu.
    Embwa nti nakyo kyamugaso mu kukomaga!
    Kituufu

    Omulenganda nakyo kika kya mukyala.
    Kituufu

    Omubumbi naye tateng’ana na mukaaku.
    Si kituufu.

    Abeddira endiga bayitibwa bazzukulu ba Lwomwa.
    Kituufu

    Abeddira akasimba bayitibwa bazzukulu ba Ggunju.
    Si kituufu

    Abeddira engo baba bazzukulu ba Namuguzi.
    Si kituufu.

    Okuyita Ttembo kitegeeza kugwa ddalu era kyava ku Kabaka wa Buganda eyagwa ddalu.Yali waakumeka?
    Waakuna.

    Bw’oba waakusiima ekimu ku Bika bya Buganda olw’okuyiiya entebe Namulondo,osiima kika ki?
    Kya Butiko.

    Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II wa 36, Mutebi I yali wa kumeka?
    Wa 15.

    Wango abuukira walungi…….
    Buli lw’abuuka nti abadde andidde.

    Tufudde tuweddewo…..
    Akiina baafa

    Twabuna musaasaano……
    Nga eyabazaala yafa.

    Nambaalaala ky’ekimu ku bika by’amabeere,waayo ebika ebirala bibiri.
    Ag’ebiteeko n’ag’ensama.

    Obutagali nakyo kika kya magulu,mpaayo ebika ebirala bibiri.
    Ag’ebitege n’ag’enkobogo.

    Masadde kimu ku bika b’enviiri, mpaayo ebika ebirala bibiri.
    Kakuneme ne Munyerere.

    Eggaali ku ggaali kye kiriwa?
    Obuuma okuteekwa ebbomba.

    Waliyo ekikolwa ‘Nsanyuse’ ne ‘Nsanyuse’ erinnya,erinnya lino liweebwa ki?
    Nva za binyeebwa.

    Ku kye tuyita ekkanzu kubeerako ekkanzu, ekkanzu y’eriwa?
    Akawaayiro ke bakookera ku nkwawa z’ekkanzu.

    Guno gwe muti ogusulako enkoko mu kiyumba…
    Luwe

    Ebijanjaalo mu butassa bikola ki?
    Bittuludde

    Kano akabwa akato kalina erinnya eryako eryenjawulo, kawe erinnya.
    Kabwagu

    Omuntu azaala,ate embwa n’ekola ki?
    Ebagula

    Ente oba embuzi tugyogerako nti esaze ate embwa?
    Erundugga.

    Omulimi w’obulo tugamba nti akesa,ate ow’ebinyeebwa?
    Asola.

    Kyajja na mukoka ne kiryoka kimera eng’unda
    Kiryo

    Akanatta tekabula muga
    Akatiko

    Obunaanyuma obulabira ku nnyaniriza
    Obugenyi.

    Tutuuse mu lyaffe eddemeezi….
    Abulwako w’anywa otuzzi

    Weekiina ng’ow’ettulu akiika embuga…
    Nti bakira omwami ayogera nga mmusimbye abiri!

    Ow’ekitiibwa n’ekikye…
    Mu nnyindo temugenda nnwe bbiri.

    Ddamu yee oba nedda
    Omutaka Kabazzi y’akulira Ekika ky’Akasimba.
    Yee

    Abeddira Empeewo bayitibwa bazzukulu ba Kyesimba
    Nedda

    Abeddira Omusu babeera bazzukulu ba Mugalula
    Nedda

    Kabaka Kintu yatandikawo Ebika bimeka mu Buganda?
    Yatandika 13.

    Ddamu kituufu oba si kituufu.
    Kawumpuli bulwadde, si Lubaale
    Si kituufu

    Embuzi nayo eyinza okuba n’obulegete
    Kituufu

    Ejjembe Namuyinda n’enjuki kizibu okubyawula
    Kituufu

    Omutaka Mirimu atuula mu Ssaza ki?
    Busiro

    Ono ye Mutaka w’e Mbuule
    Ssezinnyo

    Ono omukyala bw’afumba by’afumba tebiva mu ffumbiro,ow’engeri eno bayinza okumuyita luku lutokota oba?

    Banaagenda ddi
    Ekikukulu nakyo kye kimu ku bintu omujoona kye yeenyumirizaamu.Kye ki?
    Emmindi eteri mu luseke

    Ekisiwo kye ki?
    Omuti ogweyambisibwa mu lyato okutabula mu mwenge.

    Wano omwana waakubirwa ekiyina.
    Mu Ssanya.

    Owana wa jjajjaawo omuwala osobola okumuyita?
    Maama oba Ssenga

    Mwanamuwala oyo mu kweyagala obw’enkoko budda ku bbali,obuki?
    Obulago bw’enkoko obutasibwamu muguwa.

    Bali mu kwagalana emikono gidda ku bbali. Emikono gyolesa gitya okwagalana?

    Emikono mu kunaaba ogumu gunaaza gunnaagwo!

    Obudde bwe bubadde bumenye n’afa.Kino kitegeeza mbeera ki?
    Okuwungeera.

    Woowe bwe yameze ku mimwa ne tujja.Kiki ekyatabudde abantu?
    Miranga.

    Oluseke omulezi lw’akozesa ng’alutemye ku mupaapaali luwe erinnya.
    Kikambirizi

    Oluntuntu olubeera ku mwenge nga guakatuuse luwe erinnya.
    Amalule.

    Mu Lungereza ‘zero’ kitegeeza watali,ate mu Luswayiri kiyitibwa kitya?
    Sufuuli.

    Omugenyi omusulize…
    Yagoba Ssebwana ku ntebe.

    Ebiggwa ze zibeera ennyumba za Lubaale, bwe kiba kimu kiyitibwa kitya?
    Ssabo.

    Kabaka abeera mu bibbo,ate gwe owabulijjo obeera ku ki?
    Ndya mmere.

    Enkoko ebeera ya kitulazi,ate ente?
    Ebeera ya mugongo.

    Kabaka akuba nkanamu,olwo omuntu wa bulijjo?
    Awasa.

    Kabaka abeera akooye,mmwe mubeera ku ki?
    Mutamidde

    Omusajja oyo lujuujju era nze simulabanga alina oyo.Abeera ki?
    Mutamiivu.

    Ebigambo Bule ne Bweya mubikozesa ntakera.Biri mu Ssaza ki?
    Butambala.

    #25538
    KulabakoKulabako
    Participant

    Wa katakketakke.
    Ajja bikuta ku lumonde.
    Asalaasala.

    Alina eriiso limu.
    Wa ttulu.

    Guno mukolo gwa kutta kyama
    Kwanjula

    Omuntu ayita Ttembo aba akoze ki?
    Agudde eddalu.

    Ente evuddemu eggwako.
    Esowose.

    Omuggo oguweebwa Katikkiro
    Ddamula.

    Omugondoli bwe kutaba kyaayi ekyeyambisibwa mu kuseruza kiba ki?
    Mmere y’amatooke era etera kuliibwa mu ffumbiro.

    Ennyama mawewule efaanana etya?
    Ennyama gye batema ne bassa ku minzaani n’ewererawo nga tebongeddeeko.

    Omuntu alumbiddwa omuzimu omubi n’agaana okwogera abasawo bamujjanjaba batya?
    Bamunyokeza obwoya bw’embwa ku nnyindo.

    Omutezi eyettanira ensonzi yeeyambisa ki mu kutega?
    Yeeyambisa mugomo.

    Weebale kunyaama, bw’oba nga wanyaamye kiki kyewakoze?
    Nadduse.

    Butikkiro ge maka amatongole aga Katikkiro wa Buganda, ate Busaka?
    Lubiri lwa Namasole.

    Kabaka abeera n’omuzaana nga n’abalangira bwe babeera…
    N’abazaana.
    Eng’oma ey’okusatu mu ng’oma za Mujaguzo bagiyita batya?
    Kanabba.

    Kabaka mu Buganda taweebwa mulimu, bw’aba alambula mu Buganda akola bino….
    Alamula, asiima ate akubiriza abantu.

    Mbagambira mu Buganda kitegeeza ki?
    Omuggo oguweebwa Katikkiro.

    Ddamula ye mbagambira ate Ssegulira ennume?
    Omuggo oguweebwa Ssabalangira.

    Ekikolwa kya Lubaale okulinnya ku mutwe gw’omuteeni ate n’avaako n’akwata omulala kyetuyita…?
    Okukuba ekiwenge.

    Ensenda kye ki?
    Empewo ekunta ng’edda gy’olaga ng’oli ku nnyanja.

    Essabo ligeraageranye ne yeekaalu, ekyoto eky’edda kyo okigeraageranya na ki?
    Na kibiina mwe basomera.

    Tadaata zivuga, kitegeeza ki?
    Omuntu okusiba engugu n’agenda.

    Muka Mukasa wa Kiwamma, ate owa Kawuma wa Kiwekete, yawula ebigambo bino.

    Ow’ekiwamma y’atalina maziga oba amabeere ate ow’ekiwekete y’atalina nviiri e Nalubabwe.

    Omusajja ayonsa bubogo……
    Omusajja okulabirira abantu be alina kukola nnyo n’okulafuubana.

    Buli kika kirina omulimu ewa Kabaka, ab’ente ewa Kabaka bakola ki?
    Baweesi.

    Mu kika ky’ente mwe batuuma erinnya Ssempijja, empijja kye ki?
    Ekyuma omuweesi kw’akubira kinaakyo.

    Kyengera kabuga ku luguudo lwe Masaka, Kyengera kiva mu lugero ki…?
    Ekyengera amangu kivunda mangu.

    Ennaku Omuganda agigeraageranya ku musana, lwaki?
    Musana tegwokya omu.

    Ekiyi kye ki?
    Embatu ebbiri z’oyoola okugeza ez’omuwemba.

    Oyo obwa Ssekimpanika bwe bwamulemesezza okubeera ku mukolo. Nnyonnyola Ssekimpanika…
    Abeera awo nga buli kimu akyeyagaliza.

    Bino bisengeke nga bwe biddiring’ana mu bunene. Ekikanda, olutala n’oluti.

    Buyungu kye ki?
    Akayigo akazimbiddwa mu bisanja.

    Omuzannyo gw’okufuma obubengo ne muzannya muzannyo ki?
    Gwakubonga nje.

    #25654
    KulabakoKulabako
    Participant

    Enkofu ekulabula ku babbi abakuzinze

    Bya Bulaimu Kanyima

    ENKOFU kinyonyi omuntu ky’ayigganya ennyo olw’obuwoomi bwakyo. Wabula okumala ebbanga ddene, omuntu abadde enkofu ayigga njigge okutuusa lw’atandise okuzirunda ng’enkoko mu maka.

    Enkofu ebiika mu biteete ne mu bubira obuziyivu. Ebiika amagi agali wakati wa 8 ne 12 n’egamaamira okumala ennaku 21 okufaananira ddala n’enkoko. Mu biseera by’okumaamira yeekengera nnyo omuntu era omulabe yenna emumanyira ku magi gaayo.

    Enkofu kye kimu ku binyonyi ebigezigezi. Singa wabaawo akwata ku limu ku ggi lyayo oba okuliseeseetula n’aliggya we lyabadde n’alizza awalala, tegaddako. Ekirala singa omutego gukwata emu ku zo, zimala ebbanga ddene nga tezikomyewo mu kifo ekyo.

    Kyokka okuzitega n’ozikwasa si kyangu era bangi kye bava bazittisa emmundu. Wabula waliwo n’emitego mutasubwa egizikwatira we ziriira naddala muwogo gwe basimyeko, obulo, omuwemba ne kasooli. Emitego omuli ekigu nga guno guba gwa mmuli, akakunizo n’emmanduso gye gitera okugikwasa.

    Zitera kutambulira mu kibinja wakati w’ebbiri n’ennya.Mu zino mubaamu empanga emu era y’ekulembera.

    Enkofu mu kuwulira terina kinyonyi kigyekana. Ewulira nnyo naddala eddoboozi lya zinnaazo mu kulabulwa kw’omuntu gwe ziba zirabye.

    Ziwulira nnyo n’eddoboozi ly’endala eziri mu nsiko zisobole okuzeeyungako. Ky’ova olaba ezirundibwa awaka mu matu gaazo muteekebwamu obuyinja zireme kuwulira ddoboozi lyonna okuva ebweru.

    Esooka okulaba omulabe erabula mangu zinnaazo ng’ekaaba nti ‘ccuu’ olwo zonna ne zifubutuka okwesogga ensiko. Mu mbeera eno tezibuuka wabula zidduka buddusi ate ku misinde emiyitirivu. Obukofu ne bwe buba buto, nga bwateredde wansi tosobola kubugoba n’obukwata.

    Ne mu mbeera eza bulijjo, zirya zeekengera omuntu era abawanuuza bagamba nti mu kukaaba kwazo zikaaba zijjukiza zinnaazo ku muntu ow’ekiwalaata eky’emabega ku nkoona nti, ‘Kikekenke, simanyi agenda? Simanyi akomawo? Kikekenke.’ Bwe batyo Abaganda bwe beetegerezanga ebinyonyi n’ebisolo ebibeetoolodde.

    Abantu baagala nnyo okulunda enkofu kubanga bw’ozissa mu nkoko, ziremesa kamunye okuzir-umba azirye ate bwe zibeera awaka zikulabula ku babbi kubanga zirina okutu okwogi ennyo era bwe ziwulira eddoboozi lyonna eritali lya bulijjo oba omuntu gwe zitamanyi nga zikaaba mu ddoboozi ery’omwanguka bwe zityo ne zikulabula ku babbi.

    Enkofu ng’ogirunze eba nkuumi ya waka kumpi kwenkana mbwa kubanga eddoboozi lyonna ly’etemanyi oba omuntu kakibe ekisolo bw’ekiraba ekaaba mu ddoboozi ery’omwanguka naawe nnyiniyo n’omanya nti waliwo ekirumbye amaka go.

    Published on: Saturday, 12th December, 2009

    #25705
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Ejjenje ekkazi Omuganda aliyita atya?

    Ejjenje ekkazi Omuganda aliyita atya?
    Sunday, 20 December 2009 12:32

    SEMEI WESSAALI akuleetedde ebimu ku bibuuzo ebibuuzibwa:

    1. Mu lulimi lw’abavubi, ekigambo omugonjo kitegeeza ki? Amalobo agasibiddwa awamu.

    2. Koyi koyi: Tekirina maaso naye kitemya. Enju (Enju ennungi eba etemya butemya)
    .
    3. Ekika ky’ebitooke ekya nkago kye kiba kitya. Eky’emmere.

    4. Ejjenje ekkazi, liyitibwa litya? Ssaabi.

    5. Ekisoko kino kitegeeza ki: Okugwa obutaka? Kufiirwa.

    6. Maliriza olugero luno: Gwe watumanga n’agenda embiro bw’olaba yeekaanya………………. Ng’agenda kusenguka.

    7. Eng’oma y’ow’essaza Mawokota evuga bigambo ki? Amawokota gakunsa/ Mawokota gakunsa.

    8. Olubiri lwa Nnamasole luyitibwa Lusaka. Mpa erinnya eddala eriyitibwa olubiri lwa Nnamasole. Busolesole.

    9. Omuti ogumanyiddwa nga bba w’emiti gyonna gumpe. Nzirugaze.

    10. Mpa obutoffaali obukola ekigambo kino: Mwetuulako.. Mu- ee- tuula- ko.

    11. Mu lugero Bwali Butamanya olwawandiikibwa M.B Nsimbi, mulimu omwami abuulirira Kasolo n’atuuka n’okumulesaayo emize gy’abadde yeegumbulidde. Mpa erinnya lye.
    Teefe.

    12. Kabaka Ssuuna II yali mumegganyi kkungwa naye lumu yakubwa omusibe ekigwo. Wano wavaawo n’olugero. Lumpe. Serwali lundi, omusibe tayita Ggimbo.

    13. Mpa omuwendo gw’ennyingo ogukoze ebigambo bino: Okumenya akawonvu n’akagga. O- ku- me- nya – a- ka-wo-nvun’a- ka- gga = 11.

    14. Amaka Omulangira Muteesa Edward mwe yazaalirwa gali ku kimu ku byalo ebisangibwa mu ssaza ly’e Kyaddondo. Mpa erinnya ly’ekyalo ekyo.
    Makindye.

    15. Mpaayo ekisoko ekitegeeza nti bye mwagenderedde temwabifunye. Zaagobye ntulege.

    16. Mu lulimi lw’abavubi, mulimu ekigambo mwoko. Kitegeeza ki? Omuti gwe beeyambisa okugolomola eryato.

    17. Mu bitooke mulimu ekitooke kye bayita omujjwa. Kimpe. Gonja.

    18. Koyi koyi: Olubiri n’eggulu bifaanana ki? Wankaaki.

    19. Ejjenje essajja liyitibwa litya? Ddanzi.

    20. Maliriza olugero luno: Guzzibwa omuganzi…………… Omukyawe y’aliwa.

    21. Ekisoko kino kitegeeza ki: Okwesuula amangazamba? Butaba na nsonyi.

    22. Kayima ye w’essaza Mawokota. Mulembe ki ogwagunjaawo Obwakayima? Kimbugwe (Ssekabaka).

    23. Ennono y’erinnya Namasole erina akakwate n’omuti. Mpa erinnya ly’omuti ogwo. Kiggamansole.

    24. Waliwo omusota Abaganda gwe balowooza nti gwe gu bba gw’emisota gyonna. Gumpe. Kkalwekkalwe.

    25. Mpa obutoffaali obukoze ekigambo kino: Tunaabiwoomerwa. Tu- naa- bi – wooma- era- wa.

    26. Mu lugero Bwali Butamanya olwa M.B Nsimbi, mulimu omuwala afa ng’agezaako okuggyamu olubuto. Mpa erinnya lye. Flo.

    27. Kabaka Jjuuko yalina omuzaana nga ye Nalunga. Baayagalana nnyo ne bavaako n’enjogera etegeeza okwagalana okwo. Gimpe. Ontuuse,
    Nalunga yatuuka Jjuuko.

    28. Mpa omuwendo gw’ennyingo ogukoze ebigambo bino: Okuliisa ebijanjaalo empiso. O – ku – lii- sa – e- bi- ja- njaa- lolo- e- mpi- so = 12.

    29. Omulangira Muteesa bwe yali e Buddo yasuzibwanga wa muminsane Omuzungu.
    Mpa amannya ge. Rev. H. M. Grace.

    30. Mpa ekisoko ekitegeeza nti mwagenze okutuuka mwasanze bamaliriza bwe bati okulya.
    Mwasanze galinnya olunnyo.

    31. Mu lulimi lw’abavubi mulimu ekigambo olutiba. Kitegeeza ki? Ekibajje/ ekintu kye beeyambisa okusena amazzi mu lyato.

    32. Mu bitooke mulimu ekitooke ekiyitibwa ngumba. Kuba kya ngeri ki? Mbidde.

    33. Okukaaba kw’ejjenje kuwe erinnya.
    Kulanga.

    34. Koyi koyi: Ddi entamu lw’eba n’amatu?
    Nga baakagikumamu.

    35. Maliriza olugero luno: Afuna ebingi………
    N’okuleekaana gy’okomya.

    36. Ekisoko kino kitegeeza ki: Okwetema engalike?
    Kukyusa ebyo by’obadde osazeewo okukola.

    37. Kayima ye w’essaza Mawokota. Erinnya eryo lyava ku Mulangira. Mpa amannya ge
    . Kayima Mpadwa.

    38. Alabirira ebyalo bya Nnamasole aweebwa linnya ki?
    Katikkiro w’ebyalo bya Nnamasole.

    39. Abaganda bakkiriza nti n’ebiwuka birina bba waabyo.
    Mpa bba w’ebiwuka byonna.
    Nnabeefunye.

    40. Mpa obutoffaali obukoze ekigambo kino: Eddiba.
    E – li- liba .

    41. Mu lugero Bwali Butamanya olwa M.B. Nsimbi, mulimu omukazi awasa Kasolo.
    Mpa erinnya lye. Ndibassa.

    42. Kabaka Kayemba yasibukako enjogera ekozesebwa ku muntu atayagala kulabulwa. Gimpe.

    Kayemba nnantabuulirirwa alisaabala obw’ebbumba.

    43. Mpa omuwendo gw’ennyingo ogukoze ebigambo bino: Ekyekango tekimanya muzira.
    E – kye- ka- ngo – te- ki-ma- nyamu- zi -ra =11.

    44. Muteesa bwe yali asoma e Buddo, yaweebwa omusomesa ow’enjawulo. Mpa erinnya ly’omusomesa ono.
    Mr. Crittendon.

    45. Mpa ekisoko ekitegeeza nti mwagenze okudda nga mukooye nnyo nga n’enjala ebaluma.
    Ng’ow’embwa babalaga mulage.

    #25781
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Wednesday, 02 December 2009 13:29

    Wano omwana we bamukubira ekiyina

    Kyajja na mukoka ne kiryoka kimera e Ngunda
    Kiryo

    Akanatta tekabula muga
    Akatiko

    Obunaanyuma obulabira ku nyaniriza
    Obugenyi

    Tutuuse mu lyaffe e Demeezi.
    Abulwako w’anywa otuzzi

    Weekiina nga ow’ettulu akiika embuga
    Nti bakira omwami ayogera nga musimbye abiri

    Ow’ekitiibwa n’ekikye
    Mu nnyindo temugenda nnwe bbiri

    Ddamu yee oba nedda
    Omutaka kabazzi y’akulira ekika ky’akasimba.
    Yee

    Abeddira empeewo bayitibwa bazzukulu ba Kyesimba
    Nedda

    Abeddira Omusu babeera bazzukulu ba Mugalula
    Nedda

    DDAMU EKIBUUZO

    Kabaka Kintu yatandikawo ebika bimeka mu Buganda?
    Yatandika 13.

    Mu Ssemateeka wa 1962 waliwo ebitundu bya Uganda ebyakkirizibwa okuba n’enfuga eya Federo,mpaayo bisatu.
    Buganda,Bunyoro ne Tooro.

    Ddamu kituufu oba si kituufu

    Kawumpuli bulwadde si Lubaale
    Si kituufu

    Embuzi nayo eyinza okuba n’obulegete
    Kituufu

    Ejjembe Namuyinda n’enjuki kizibu okubyawula
    Kituufu

    Omutaka Mirimu atuula mu ssaza ki
    Busiro

    Ono ye mutaka we Mbuule
    Ssezinnyo

    Ono omukyala bw’afumba by’afumba tebiva mu ffumbiro,ow’engeri eno bayinza okumuyita luku lutokota oba….
    Banaagenda ddi

    Ekikukulu nakyo kyekimu ku bintu omujoona kyeyeenyumirizaamu.Kye ki?
    Emmindi eteri mu luseke

    Ekisiwo kye ki?
    Omuti ogweyambisibwa mu lyaato okutabula mu mwenge

    Wano omwana waakubirwa ekiyina.
    Mu Ssanya.

    Omwana wa Jjajjaawo omuwala osobola okumuyita
    Maama oba Ssenga

    Mwana muwala oyo mu kweyagala obw’enkoko budda ku bbali,obuki?
    Obulago bw’enkoko obutasibwamu muguwa

    Bali mu kwagalana emikono gidda ku bbali,emikono gyolesa gitya okwagalana?
    Emikono mu kunaaba ogumu gunaaza gunnaagwo.

    Nkutadde… (lumaleeyo)
    Omuti guta makoola

    Wayinga nnyo okubeera omutaka w’e Ssumbwe. Bw’oba omutaka ono omumanyi, kiki kye weevumwako

    Kweyingiza mu bitali bibyo oba ebitakukwatako

    Mwattu senga ennyama eyo tugende, olwo bw’obeera okolaki
    Kutema ng’ova ku nsikya n’okiikirira ku lukizi okutuuka ku mukira.

    Nakato anaaza mwana kyogero, emboozi eyo ntuufu oba nkyamu, bw’eba nkyamu gitereeze

    Nakato anyiga mwana kyogero

    Abawanuuza obulungi bagamba nti omwana omuwere bw’aba anaazibwa si kirungi kusookera ku mutwe, olw’okutya nti kino kiyinza okubeerawo, ekiki

    Omwana ayinza okuba ow’omutwe omunene

    Ente erina kyatiiti ate olwo ye omulyammere;
    Kawondoliro

    Kikolwa kya kussa nva ku mmere ng’eyisizza akakka, kikolwa ki ekyo
    Okuseruza

    Nkusalidde ga nkolwa; enkolwa kye ki?
    Ge mazzi okugatabikamu omunnyo.

    #25782
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Monday, 07 December 2009 15:11

    Mpa amakulu ga bino mu lulimi olukozesebwa abalunnyanja; Entweetwe, Ensenda, Amabibi.

    -Enteetwe y’empewo eva eryato mu maaso, Ensenda y’empewo eriva emabega gye liva ate
    Amabibi ge mayengo agakuba eryato mu bukiikakiika.

    Nabukalu genda ong’ambire omukyala oli nti atudde mu menvu. Yabadde amugamba ki?
    -Nti atudde bubi akunamye.

    . Empuliiru ggyako ennukuta ssatu (3) ku nsanda yaakyo okiwe amakulu.

    -Mukudduulu ogweyambisibwa abasajja abalunyanja okukola bye bakola naye nga babikola ku bannaabwe.

    Muwala – Mulenzi, Waggulu-Wansi, Kitangaala-Kizikiza, Lejjalejja……….
    -Kolijja

    Mukoddomi wa mwannyina wa maama wo omuyita otya?
    -Taata

    Omusumikizi n’omusumisi mu kwabya olumbe bombi baliko emirimu gye bakola.
    Ye abaffe, omusumisi akola mulimu ki?
    -Gwa kulaga musika ng’amwambaza ekituttwa.

    Abawala babiri baabadde batambula ne balaba akapapula ka ssente ak’e 5,000/-, omu yasoose n’atya okukalonda kyokka munne n’amugamba nti bakatwale bakagezese mu magezi ga bajjajjaffe. Baabadde bazitwala kuzigezesa mu kimera ki?

    – Mu Luwoko.

    Yawula wakati w’okwayira n’okusibikira.

    -Okwayira kuleka nsolo waka n’ogisakirira at Okusibukira kwe kusimbuliza embuzi.

    Ku ssaawa 12:00 ez’akawu-ngeezi bagamba nti enjuba ekkiridde ewa Kiwalabye, bw’ataba Kiwalabye aba mukazi. Mukazi ki?
    -Nabiwata.

    Bwe bakugamba nti otunula mpwangali bakugeraageranya ku ki? Mpaayo bisatu.

    -Ng’embwa esudde ekyuma, ng’akaabira gw’atalabangako, ng’omukoleze amazeewo.

    Amalaalo oba ebiggya by’ateekebwangako amayinja. Omuganda agayita atya?

    -Amawewa.

    Akiika embuga amala kweteesa, Obusiro tebutuukibwako. Obusiro kye ki?

    -Okuwanama oba Nabunya.

    Mu nsawo temwaba-dde kintu, yabadde nkalu be ppe. Be ppe kikozese emirundi esatu.
    -Ppe, Ppe ppe ne ppe pperere.

    Omuceere n’obulo bwe busesema buba bubaze nnyo naye ate omuwemba tetugamba nti gusesemye tugamba tutya?

    -Guteese.

    Gatta amagulu.
    Zannyisa empandiika y’ekigambo gatta oddemu emboozi eyo naye nga ogikontanya.
    -Gaata amagulu.

    Zino ezitatwalibwa ku buko zirina amannya agawerako, mpaayo mukaaga.
    -Entula, entaligita, enjagi, munyogozangalo n’entagabwa.

    Emyezi gyonna 12 tugyawulira ku mannya wamu n’ennaku gye girina, egimu giweza ennaku 30, endala 29. Emyezi egiweza ennaku 28 ne 29 giri emeka.

    -12 kubanga emyezi gyonna mu mwaka giweza ennaku ezo.

    Tta tta tta tta ng’omwana w’omufu asaba ow’omulamu olubugo. Tandika olugero olwo.
    -Okussaawo kuzirinda……

    Mu Buganda tulina emiti mingi naye omuti gwe tuyita enkwekyembu gwe gufaanana gutya?

    -Omutuba ogumera mu lutobazzi.

    Luboggola Simba n’egamba nti Ffe mwe mwe ffe, ate engule ya Simba…?

    -Omutwe gwo gwe gukweyimirira.

    #25893
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Olulagala olusibwamu enkoko egenda ku buko luyitibwa lutya?

    Bya Medadi ssentanda

    1. Akakopo ako olwakataddemu caayi ne kaatika omulundi gumu be ………..

    2. Ebisagazi ebito biyitibwa bitya? …………

    3. Ekitongole ekyavunaanyizibwanga ku kugumbulula abakozi b’ebikolobero mu Buganda kyayitibwanga……….

    4. Olulagala olusibwamu enkoko egenda ku buko luyitibwa lutya? ……….

    5. Olulagala oluteekebwa mu ntamu omuli amazzi galeme kuyiika ng’ogeetisse, luyitibwa lutya? ……………

    6. Ekikolwa eky’okuddaabiriza ebita ebyatise kiyitibwa kitya? ……….

    7. Eddaala lye beeyambisa okuyimbula omutuba lissibwako enkata eyitibwa………

    8. Empandiika y’olulimi Oluganda entongole gye tugoberera kati yatongozebwa ddi? ………

    9. Ebisigo by’ekita Omuganda abiyita………

    10. Ekikolwa eky’okutwala ente mu kifo mwe zinywera amazzi, kiyitibwa kitya? ……………

    11. Erinnya eddala eriyitibwa “Nkokonkulu” lye liruwa? ………….

    12. Mu Buganda, kigambibwa nti kizira Mukamwana okukwasa Ssezaala we ekintu kyonna mu ngalo. Naye, kiki kyokka ky’akkirizibwa okumukwasa? …………….

    13. Essubi erisalibwa olw’okubikka olusuku, Omuganda aliyita atya? ………………

    14. Mu Buganda, kigambibwa okuba nga kizira okukwata mu kiseke kya kizibwe wo. Wabula nti bw’oba oyagala okumukwatamu, ofuna ekimu ku bintu ebibiri. Bye biruwa? ……………

    15. Endagala ze baaliirira mu nvubo y’ekiswa olw’okuttiramu enswa, ziyitibwa zitya? ……..….

    16. Erinnya eddala eriyitibwa ebikata bya lumonde ………….

    17. Mu Luganda olutuufu, embwa bw’eba olubuto eyogerwako nti ……..…. 18. Ekisinde ente mwe ziyita okugenda okunywa amazzi kiyitibwa kitya?………………

    19. Essubi eriserekebwa ku nju bwe likaddiwa liyitibwa litya?

    20. Olulagala bassenga lwe beesiba nga bafiiriddwa mwannyinaabwe luwe erinnya? ……….

    Published on: Saturday, 16th January, 2010

Viewing 15 posts - 46 through 60 (of 65 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.