Yiga Olulimi Oluganda

This topic contains 64 replies, has 10 voices, and was last updated by Omumbejja Omumbejja 11 years, 2 months ago.

Viewing 5 posts - 61 through 65 (of 65 total)
  • Author
    Posts
  • #26360
    Ndibassa
    Ndibassa
    Participant

    Ekibe bwe kikaaba kiba kibika

    Bya Bulaimu Kanyima

    ‘GENDA olye nnyoko emmindi obulogo bwa nnyoko obwo’ Ebyo by’ebigambo Abaganda bye balangira ekibe nga kikaabye.
    Omuganda yakyawa nnyo ekibe era bw’akiwulira nga kikaaba akirangira obulogo anti kiwanuuzibwa nti buli lwe kikaaba, kiba kikungula era wabaawo omuntu afa! Kyokka ekyewuunyisa bwe bakirangira obulogo nga nakyo kisirika.

    Wabula okutangira amaziga ag’ekika kino, amangu ddala nga kyakakaaba, bakwata ejjambiya bbiri ne bazikuubaganya nga bwe bakigobaganya n’okukirangira ebigambo ebyo.

    Ekibe nsolo ya mu ttale era bw’otokyekkaanya nnyo, oyinza okukiyita embwa. Ekikyawula ku mbwa, kyo kirina omukira munene.

    Kisula mu binnya era mwe kizaalira. Kisinga kulya nnyama ya bisolo binnaakyo naddala ebito wamu n’ebinyonyi. Mu bino mulimu enkoko, embuzi, embwa n’ebisolo by’omu ttale. Era kirya ebinyeebwa, kasooli n’amenvu.

    Obudde bw’emisana obusinga kibumala kyebase kyokka obudde oluwungeera nga kifuluma okunoonya ekyokulya. Kyeyunira nnyo ennimiro era bwe kigwa mu musiri gwa kasooli kyegiriisa. Kisooka ne kirya ne kikkuta oluvannyuma ne kitwalira abaana.

    Tekirina nnyo mutawaana ku muntu okuggyako nga kigudde eddalu kubanga ebiseera ebisinga bwe kimulaba kimudduka. Kyokka singa omuntu akitaayiza okukituusaako obulabe, kikambuwala era kiyinza n’okumuluma n’aserengeta ew’omutaka Ssenkaaba kubanga kya busagwa.

    Wabula kiyigganyizibwa nnyo embwa. Tekikolagana na ngo era bw’ekisisinkana ekitta n’ekinuunamu omusaayi.

    #26406
    Namukaabya
    Namukaabya
    Participant

    Ennyindo
    Bya Kirwana Sozi

    Ebika by’ennyindo

    -Engganda – Eno nnene nga ngazi

    Olulimi olugendera ku nnyindo;

    -Ensowe (ensowerezi); bwe bwoya obubeera mu nnyindo, obusengejja empewo eyingiramu.

    -Empuliiru kye kituli ky’ennyindo.

    -Olukulukumbi ke kasenge akaawula ekituli ky’ennyindo ku kirala.

    -Akalindaminyira
    ke katundu awatandikira olukulukumbi.

    -Omuntu kwe kuva akalindaminyira we katandikira, okutuuka ku mumwa gwa waggulu

    #27270
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Amatama ntengo

    Keefa Ssentoogo

    Kugwa nkoto: Kino kitegeeza butakusanga. Okugeza, eby’okufa kwa mukwano gwe byamugwa nkoto

    Kubutika matama:
    Ekisoko kino kitegeeza butaddamu bikubuuziddwa mu ngeri y’okunyoomanyooma oba okutya ebiyinza okuddirira. Okugeza, Twakanda kumubuuza gye yaggya ssente nga yenna abutise matama

    Matama ntengo:
    Kino kitegeeza butayogera n’osirika nga bakubuuza ekiraga obutamanya kyakuddamu.

    Published on: Saturday, 20th November, 2010

    #27236
    Ndibassa
    Ndibassa
    Participant

    Ekiseera ekirijja kikozesebwa okulaga ekikolwa ekiribaawo
    Polof Livingstone Walusimbi

    EKISEERA ekirijja kikozesebwa ku kikolwa ekiribaawo. Akabonero akalaga ekiseera kino ke ka li.

    Ebyokulabirako:
    (i) N – di – genda jjo ( n- li -genda)
    (ii) Tu – li – genda luli
    (iii) O – li- genda luli?
    (iv) Mu – li – genda n’ani?
    (v) A – li- genda oluvannyuma
    (vi) Ba – li – genda nga nkomyewo
    (vii) Emmere e-ri-tumala?
    (viii) Amata o-li-gaguza ani?
    (ix) Obusera tuli bunywa?
    (x) Olubuto lwo lu – li- wona?
    Ekikolwa genda bwe kikozesebwa ng’akiyambi, kiyinza okukola mu kifo kya li nga wano:
    (i) Ng’enda kumulaba jjo
    (ii) Tugenda kumulaba luli
    (iii) Ogenda kujja jjo
    (iv) Mugenda kujja luli
    (v) Agenda kujja kwosa jjo
    (vi) Bagenda kujja Olwokubiri
    (vii) Tugenda kugendayo jjo
    (viii) Obusera tugenda kubunywa ng’okomyewo
    (ix) Emmere eyo tegenda kutumala jjo
    (x) Amata ogenda kugatunda mu katale
    (xi) Olubuto terugenda kuwona
    (xii) Ekitiibwa kya Buganda kigenda kuddawo ne bwe buliba ddi.

    Published on: Saturday, 27th November, 2010

    #27296
    Kulabako
    Kulabako
    Participant

    Mwenge ki oguweebwayo ku kwanjula ng’abako tebannabasalira bintu?
    Ekyokuddamu: Njogeza.

    Ekita ky’omwenge kino kiweebwayo ng’omukolo gw’okwanjula gugenda mu maaso nga bagamba nti taata anyweko emimiro egibadde gikaze gisumulukuke olwo abako balyoke babasalire ebintu. Kyokka n’abantu abalala bagunywako.

    Jjukira edda okwanjula tekwabangako nti ono bamupangisizza okwogera. Omu ku booluganda omukulu era amanyi eby’amaka ago ye yayogeranga. Yayinzanga okuba jjajja w’omuwala oba mwannyina w’omuwala.

    Kyokka ‘ekiggulaluggi’
    kye kita ky’omwenge ekisooka okuweebwayo ng’abako baakatuuka. Bakiteeka mu kisasi nga baakatuuka. Noolwekyo, abazzeemu nti ‘Kiggulaluggi’ ekibuuzo kyabamezze.
    Published on: Saturday, 26th March, 2011

Viewing 5 posts - 61 through 65 (of 65 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.