‘ZINUNULA OMUNAKU’BY E. K .N .KAWERE

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Ebitabo / Books ‘ZINUNULA OMUNAKU’BY E. K .N .KAWERE

This topic contains 25 replies, has 6 voices, and was last updated by Ndibassa Ndibassa 9 years, 5 months ago.

Viewing 11 posts - 16 through 26 (of 26 total)
  • Author
    Posts
  • #27386
    Ndibassa
    Ndibassa
    Participant

    Natta ‘embogo’ eyali eremye abangi’

    NGA bannunudde okuva mu kibira, namalira ddala ennaku nga sitegeera bulungi bya ku nsi. Naye bwe nazuukuka nalaba Mikolo ayimiridde awo, omanyi bankuumanga mu mpalo ne Meeya.

    Olweggulo Meeya n’aleeta Mirembe andabeko era yasanyuka nnyo okulaba nga mbategeera naye nga nkyali munafu nnyo.

    Mirembe olwannambula ne nzisuuka mangu. Bwe nassuuka era nga mmaze okuwulira Omwami bwe yakinaggukanga ng’awulidde bwe mbuze, ne mpaggirira okuyiga okulwanyisa amafumu era ne nneeyongera okumwekeka.

    Waliwo ekyekango ekyatutuukako nga kyenje nzisuuke, naye ate kyanfunyisa emikwano mu bavubuka abamu n’abawala b’omu kisaakaate. Omwami yalina ebiraalo by’ente bingi nga mwe bamuggyira ente ez’okutta. Lumu baaleeta ente ennume nga yaakutta.

    Ente eyo teyali nte, leero ng’amba nga mbogo bubogo. Baba bagiserengesa mu bbaagiro, ne yeesimattula ku babaazi n’ebalaga enkoggo, n’etandika okutomera buli muntu gwe yagwikirizanga.

    Oluvannyuma ng’emaze okutta abantu basatu nga n’abeebiwundu ewezezza, Omwami n’alagira bagiyiggise amafumu n’ebitimba. Obuzibu obwaliwo, nga tezigika anti nga terina nfo ya nkalakkalira w’ebeera, wabula okusamaala obusamaazi mu byalo byonna ebyali okumpi.

    Kale nno mba ndaaladaalako olweggulo okumpi n’embuga y’Omwami, ne nnengera abawala b’omu kisaakaate nga bagenda okuyunja, batambula nnyini beerinnyako. Okugenda okutebuka nga ndaba ente empitako emasuka butego.

    Munnange, atemya alwawo. Okugenda okwezimuukiriza ng’egudde mu bawala b’embuga ebagoya. Ne njagala nziruke, naye bwe nalaba nga tewaliiwo musajja kumpi wa kubajuna, ne ng’enda mmale gawadaawadako, ggwe ate eyali eremye abangi! Olwo nno nga yaakatomera abawala basatu.

    Omu emumenye embiriizi bbiri, omulala emuwumuggudde ekisambi, omusaayi gutiiriika ate omundi emumenye omukono bali awo bavuya, nayo endusu zigiwandagala.

    Bwe nagituukako ne ngikuba omuggo, bw’eba ekyuka eti ekangalala ejje entomere ne ngikuba ogwokubiri mu nkwakwa ya kkono, okugwa wali nga nkalu ya jjo. Abantu bangi abaawulira. ‘Olwali ku njovu e Kavumba’ lwali lutono, ne beesomba.

    Nali nneeseebulula nziruke, abawala n’abantu abaasookawo ne bantaayiza era mu kaseera katono nga sikyalina we mpisa kigere, abantu ne banzengerera.
    Waaliwo omusajja omu n’asibako banne bonna, n’abategeeza ng’ente eyo bw’ebadde ebamaze obwoya ku ntumbwe era nga bwe yanyaamizzanyaamizza gundi ne gundi ate omu nga bwe yamwekwesezza e buziizi, omundi n’emuwalampya ejjirikiti ate omulala n’emwekukumya mu luwonko.

    N’amenya amannya nkumu nga n’agamu ku g’abaana b’Omwami mwegali, n’amaliriza nti, ‘Singa tabadde muvubuka ono, ndaba n’olwaleero twandigubiddegubidde bwereere!’

    Sso nno mu butuufu nze okugitta, yali ekooye nga n’enjala egiriko. Abantu nagezangako okubannyonnyola ebituufu nga tebang’anya, bawowoggana buwowogganyi n’okunneebaza. Kino kyanyiiza nnyo abaana b’Omwami.

    Akawungeezi ako Mirembe yajjako ewaffe okunneebaza n’ambuuza nti, ‘Ggwe omutono ate omuto bw’otyo, amaanyi agakuwala gatyo ogaggya wa agalikuwalanyisa ne bakututtira?

    Yalaba nsirise n’agamba nti, ‘Owange Meeya, ekyana kyo kino lwaki kirina ensonyi kiti? Singa si maanyi ago ge kirina, ggwe wandisaanidde obe omusajja kyo kibe ekikazi, sso ekirina ensonyi kiti!’

    Nze saamwanukula, nga simanyi kye nnyinza kupaatiikawo, anti nga n’amaanyi g’agamba nze sigeewuliramu.

    Ekibuuzo:
    1. Kawere alina engeri gy’atuzizika atukkirizise nti ddala kisoboka Zinunula okuba nga yakola ebyamagero bino byonna. Ng’owa ebyokulabirako, laga engeri gy’akolamu kino.

    Published on: Saturday, 8th January, 2011

    #27473
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Abampembe bannumba ekiro bammize omusu’
    Ebitabo byaffe

    NAJJA yatugamba nti amawulire g’olukwe lw’okunzita yagategeeza Mirembe naye n’amutegeeza bw’akuumibwa ennyo era taasobole kujja kutulabula. Yatutegeeza nti Mirembe ye yamusalidde amagezi ag’okwebuzaabuza.

    Najja yatutegeeza nti Mirembe atwegayiridde tuleme kusula mu nju yaffe, nti tetunaanyiza mu kabi kano era nti “bwe tuva ku bibye tugenda ku wa ngatto.” Nti era yatya nnyo n’alowooza nti oluyombo lwe ne Kagulukankwale lwandiba nga lwe luzadde ebyo byonna!

    Nze ne mmudamu nti, “Omugamba nti, ekikye kyasangiriza ku lukulu nti ggambo bbi….! Lwo ne bwe lutandibaddewo, kalusambulira yali yakoleera dda ng’alindirira mpewo kutumbuka.”

    Najja n’amaliriza ebibye nti, “Era Mirembe yabasabye mumukakase nga temujja kusula mu nju omwo.” Nze nali omwangu ne mmusaba amutegeeze nga bwe tutajja kumusuubiza nti tetuusulemu, naye era nga bwe twali tetujja kweteeka mu kabi konna. Najja n’assa ekikkowe ng’omuntu abadde yeetisse eggugu eddene, n’atusiibula. Okutemya n’okuzibula ng’ebitooke byamumize dda.

    Najja bwe yagenda, era nga tumaze akabanga nga twewunise, Meeya n’atubuuza kye tuteesa okukola. Nze ne mmunnyonnyola nga bwe tuteekwa okusula mu nju omwo. Bombi, ye ne Mikolo ne bajuukira wamu nti, “Ki! Kusula mu nju omwo? Ng’omulalu? Oyinza okussa omukono gwo mu kamwa k’empologoma ng’olaba?”

    Ne mbannyonnyola nti bwe katutanda ne tusula mu nju endala bajja kutuketta batulumbeyo, ate nti tujja kuba tutwalidde ab’omu nju eyo olwa nnabamba era nga kyangu okuwubwa ffe ne bafumita omuntu omulala. Bwe namala okubannyonnyola entegeka gye nali ndowooza okutuyamba ne bakkiriza, naye nno ng’enkalu zimaze kwenyoola.

    Mu ttuntu wakati, we twamanya nti abantu tebatera kutambulirawo, we twasombera emiteteme ne tubugiriza akayu kaffe konna munda. Awali obuliri bwaffe twebunguluzaawo ebbugirizo ly’emiteteme emigigi esatu ne tuwoola ku ttaka obuliri bwaffe bubeereko wansinsi omwo mwe tuba tweyalira.

    Naye bwe gwatuuka ku anaasulamu ne bugayaggaya, Mikolo nga y’ayagala asulemu nze nsuze ba Meeya kubanga omukulu nnyinimu Kirimuttu yali amaze ennaku nga taliiwo, ye Mikolo nga y’abasuza. Ne tukaayana nnyo ku kino nga nze muli munda saagala musajja wa bandi afe lumbe luno lukwatire. Nga nze bwe nfa, era nno kale kubanga eyali ayagala Mirembe ye nze so si Mikolo. Empaka bwe zaali ziremaganye ne nsaba Mikolo tugende ewa Muyodi atusalirewo. Tuba tusituka tuti nga ne Muyodi ono!

    Mikolo bwe yamala okumunnyonnyola nange ne mmunnyonnyola nga bali tubasuza mu mpalo nti oluwalo olwange lwali luwedde nga Mikolo y’ali mu luwalo; nti nno nze bwe nzikiriza Mikolo okujja okusula mu nju yaffe nze nsule eri n’amala abaako akabi ng’ate oluwalo terubadde lulwe abalikiwulira bonna bagenda kunsekerera bannyoome nti yassa munne!

    Era ne nnyongera nti “Mikolo sijja kumugulamu byayanga, kubanga mmanyi nti nga bamusse, olunaavumbula ensobi yaabwe, ng’amaanyi gaabwe gonna bamalira ku nze ate sirowooza nga n’embooge eneebuguma nga tebannankwasa; anti nammwe mumanyi nti ekibadde kikyabalwisa ffe kuba babiri, munnange Mikolo kasita anaavaawo, n’obudde tebuliziba nga tebannankuba ku ssekalootera. Olwo abantu nga boogera ku linnya lyange nti kalyose ne kafa kassa munne waako ng’ate ne Mirembe bamutwalirako olw’okwagala akaziribongo!” Ne mmaliriza nga mbasaba oba nfa nfe bwomu, nti bwe balimanya nga nfudde mpozzi baliweera ne bawa Mikolo akaagaanya okuwoolera eggwanga.

    Bino nno byonna nabyogezanga luggumuggumu era Mikolo byamunyiikaaza nnyo ate Meeya nga naawe bw’omumanyi omukazi ye yadda mu kukaaba bukaabi. Nga mmaze okunnyonnyola ntyo, Muyodi n’akkiriza Mikolo andeke nsule mu kayu kaffe.

    Eky’ekiro munnange nno kyakaawa! Nze nalyako ekitole kimu, Mikolo simanyi bisatu oba bina ye yatusinga obugumu. Meeya teyalya era n’abalala bwe batyo baalya ekitole kimu bibiri. Bwe twamala okulya, bannaffe be twali tulagaanyizza okujja okunyumya ne batuuka ne tufumaafumamu naye nga n’enfumo tezitereera; era waayitawo akaseera katono ne twabuka.

    Bwe twali tuwerekera abagenyi Meeya eyandi ku lusegere n’ambuuza nti, “Ekyemuludde engulu wali mu lusuku okirabye?” Ko nze, “Nkirabye.” So nali ndowooza nga nze nkirabye nzekka. Ye kwe kuwa ekirowoozo tukome nga tetunnatuuka we twakirengera. Nga nkomyewo nnyingira, Mikolo ne Meeya ne bansiibula ne bagenda mu nju yaabwe. Olwayingira nga nneesuula ku buliri bwange naye akaseera akaddirira buli lwe nkajjukira neesisiwala. Natuuyana emigigi gy’entuuyo ena nga gikala ate nga n’akanyeenyenkule okungwako nga kamala okunkunkumula.

    Nga wayiseewo ekiseera kye nalowooza okuba ekinene, nga ndi mu kutya ne ndowooza nti tebakyazze. Kazzi “njoza ntamu ng’abagenze okuyigga tebannadda” kubanga mba ng’enderera bwe nti okwebaka ne mpulira akasekeeterera mu kisenge ng’ogeraageranyizza mu mbiriizi zange. Nasooka kulowooza nti mmese, naye bwe nalwawo nga mpulira okusekeeterera kusiriikirira ate ne kutandika era nga mpulira ng’omuntu eyeeseguunya ebweru (anti bw’oba otya towulira osuula matu) ne ndyoka ntegeera nti ab’omukago bagobye.

    Omusiru nze! Nali ndowooza nti banaayita mu mulyango nga ng’amba muli nti bwe bayita eyo bananzita nange nneerwanyeeko anti atakulekera….” Naye bwe badda mu kukuba empungu mu bisenge, eby’okwerwanako ne mbiziika n’effumu lye nali nsembezza nga ndisindika eri. Olwo ne nnindirira ekinaddirira.

    Ebibuuzo:
    1. Zinunula ddala musajja atatya biduduma. Laga obutuufu bwa kino nga weesigama ku kitundu ky’osomye.
    2. Omukwano omungi Mirembe gw’alina eri Zinunula gweyolekera wa mu kitundu ky’osomye?
    Published on: Saturday, 19th February, 2011

    #27563
    Ndibassa
    Ndibassa
    Participant

    Tutta omukago ne Mirembe’
    Ebitabo byaffe

    EBYEWUUNYISA nga bwe bitaggwa mu nsi, na kino kyanneewuunyisa nnyo. Olwali olwo nga tugenda wa Muyodi olwegguloggulo tuwayeemu era tweyongere n’okulwana.

    Tuba tuli eyo nga Meeya, Mirembe ne Najja bagobye. Twabalabira eri nga tubaaniriza nga tubalamusa naye ekyasinga okunneewuunyisa kwe kulaba nga Mirembe ne Meeya baali bamanyiddwa nnyo mu maka ago kye nali sisuubira kubanga twali tetubasangangayo wadde omulundi ogumu ate nga ne Muyodi taboogerangako, okuggyako luli lwe namunyumiza oluyombo lwa Mirenbe ne Kagulukankwale era ne lwe yannyingizaamu ekirowoozo ky’okuyiga okulwanyisa amafumu n’engabo.

    Emboozi eba egudde amakerenda, Mirembe kwe kumbuuza gye nali mbulidde era nange okwandibadde ng’okumwanukula, ne mmubuuza ekibuuzo kye kimu. Ng’asiriikiridde okumala akabanga n’anziramu nti,

    ‘Nali gyendi. Ye ombuuliza ki? Manyanga wagamba nti nkwesibako so nga ggwe tonjagala.’ Kino kyanzigya enviiri ku mutwe era kyansuula wala kubanga nali sikyogerangako. Nayagala mmubuuze eyamubuulira ekyo naye teyang’anya n’ankwata nakyo amavumbavumba nti, ‘Nedda teweegaana. Bw’onoova awo nga weegaana nti tolina na muwala mukwano gwo ludda eyo,’ n’asongayo olunwe nga bw’abiina ensige.

    Ne mmunnyonnyola nti
    omuwala taliiyo era ebigambo biri nze sibyogeranga. Ye kwe kuddamu nti, ‘Kale kale, kiwedde tunyumye birala. Ddala kino kyankeeta nnyo. Kye nava njagala nnyongere okumunnyonnyola naye annyinyonnyole tutegeeragane ku nsonga eyo.

    Mba nnaakoogerayo ekigambo
    kimu n’ang’amba nti, ‘Ssebo
    nno amalusu go gagendera ki? Nze ebyo nabimaze sikyabiddamu, leka n’okukusegulira nkusegulire,’ n’asituka n’afuluma.

    Kino kyannema
    okugumiikiriza. Aba atuuka mu luggya ne mmulumba ne mmukwata emikono mu biseke ne mmunyeenya, ye nno ng’olwo atunudde ku ttaka. Ne mmusaba antunuulire naye n’asitula mpola amaaso ge okutuusa lwe gaasisinkana agange n’ayogera mu ddoboozi erisinga obukambwe nti, ‘Mwana wattu nno nta ojja kummenya emikono era laba giigino girungudde, genda eri mu mikwano gyo nze nvaako. Naye abasajja temuli bantu era temulina mwoyo!’

    Kwe kumubuuza oba mu mazima yalowooleza ddala nga simwagala. Okwandibadde okunziramu, yansaba nneme kumuteganya kubanga yali amanyi byonna anti ng’asirika naye amanya’. Eyannimirira, enkumbi yalina njogi era n’ebigambo eyabirunga omunnyo yagunoza.

    Mba nsigadde kumira mangota, Meeya kwe kujja n’annyamba nga bw’ajuukamu akatono nti, ‘Bannange, ggwe lwaki mwannyinaze omuwaayiriza nti takwagala? Nze mmanyi akwagala nnyo mpozzi ggwe tomwagala. Ko Meeya, ‘Nze! Ye nno ggwe wandigambye otya? Enkima esala ogw’ekibira? Ddala mwannyoko ono tanjagala.

    Meeya: Bannange, akwagala oyagala akwagale atya, akukolere ki era akuwe ki?

    Wano ne Mikolo we yayingirira mu mpaka kubanga naye yali yazze dda ng’ayimiridde awo ku bbali n’agamba Meeya nti, ‘Nedda, oli tomuzibiikiriza buzibiikiriza, ndowooza era waliwo ensonga emwogezezza ekyo.

    Mirembe: Ggwe wamma ssebo weeri.

    Zinunula: Nsaba ekintu kyonna ky’oyagala olabe oba nnaakikuwa olyoke otegeerere okwo oba nkwagala oba sikwagala.

    Ye nga tannaba na kukisaba, nze olw’okwagala okumukakasa nga bwe mmwagala, saalowooza na ku ky’anansaba wabula nakkiriza bukkiriza nga bwe nja okukimuwa.

    So nno kiba kiseera kirala, ndowooza sandikkirizza kigambo kya buzibe bw’amaaso kityo, naye mu kiseera kino saalina kirala kya kumponya.

    Mirembe kwe kutegeeza nga bw’atajja kweteganyiza bwereere kusaba kantu konna era nga nange bwe sisaanidde kwemalamu ng’ate mmanyi nti sisobola kumuwa ky’anansaba. Nze ne nnyongera okuggumiza obweyamo bwange.

    Yalaba nnyongedde okukikakasa n’ang’amba nti, ‘Jjangu tugende wali awali abakulu nkikusabe nga nabo balaba, naye onooswala bwe kinaakulema.’ Bwe twatuuka awali Muyodi ne Kulwawo, Mikolo n’annyonnyola empaka nga bwe ziri era nga bwe baali balindirira okuwulira ekisabibwa.

    Mirembe kwe kugamba nti; ‘Kale oba anjagalira ddala, tutte naye omukago.’
    Kino kyanneesisiwaza era kyagejja nnyo okusinga kye nali mmusuubira okunsaba.

    Bonna nga bakyasiriikiridde, Meeya n’annyonnyola nga kino bwe kiri ekizibu ennyo era nga bw’asaba Mirembe asabeyo ekirala nti kubanga kino singa kituuka mu matu g’Omwami, obwange bunaaba bukomye.

    Mikolo ng’amaze okwogera ebigambo bye ebyali bigudde olubege ku ludda lwa Mirembe, ne Muyodi n’ayogera ebibye era nabyo nga kibuyaga abiraza ludda olwo nga basembera ddala nze nkole ekyansabibwa kubanga nasuubizza obweyamo obwo nteekwa kubutuukiriza.

    Nagenda okulaba nga Meeya akyukira mu kiti nga mbazzi ng’adda ku ludda lwa bali nga bakka ku nze nga bafukuutirira ebigambo nga bakamala.

    Mirembe yalaba ngugubye n’agamba nti, ‘Bannange saabagambye nti ono anguyaaguya. Nze sirina kirala kye nja kumusaba wabula bulijjo njanga kukijjukira nga bw’andaze abaagala bwe bayisa bannaabwe.”

    Awo n’asituka n’agamba Najja nti, ‘Gira tugende mwana wa ssebo.’ Olwo nno ng’ebiyengeyenge bimubunye emmunye zonna. Mu kaseera ako emmeeme yange we yagisindulira ne nzikiriza ne tutta ne Mirembe omukago wakati w’abatono naye abatanjabulira mu buzibu bwonna.

    Nga wayiseewo emyaka nkumu ddala, Mirembe n’ambuulira ekyamuwaliriza okutta nange omukago era nkakasiza ddala nga ye yalengera wala nnyo okunsinga!

    EBIBUUZO
    1. Okutta omukago kye ki?
    Laga engeri omukago gye guttibwamu mu Buganda.
    2. Ebintu bingi Mirembe bye yandisabye Zinunula.
    Olowooza lwaki yasalawo kumusaba batte omukago?

    #27543
    Ndibassa
    Ndibassa
    Participant

    Bya Mariam Kyabangi

    NAMASOLE lye linnya eriweebwa omukyala azaala Kabaka. Erinnya lino lyatandika ku mulembe gwa Ssekabaka Kimera era nnyina eyali ayitibwa Wannyana ye yasooka okuyitibwa Namasole.

    Omulangira Kimera bwe yali ajja okulya Obuganda, yajja n’abantu bangi nga ne nnyina Wannyana tamuleseeyo. Wabula olw’obuwanvu bw’olugendo, Wannyana yakoowa tebannatuuka. Bwe baasemberera olusozi Gguluddene mu Busiro, eriggwa lyafumita Wannyana, bonna ne bakkaanya asigale awo.

    Wannyana bw’atyo yasigala n’omutaka ‘Nkumbinkalu’ Owembwa nga y’amukuuma. Mu balala abaaliko ye Wavvuuvuumira Owembogo eyasamba ekisaka Wannyana mwe yasigala ng’awummudde. Bw’atyo Wavvuuvuumira n’afuna erinnya erya Kasamba. Ye Nkumbinkalu yaweta emiti gy’ekisaka, Wannyana aleme kwokebwa musana. Okuva olwo Nkumbinkalu n’afuuka ow’omuzizo atalirwako enju ya Namasole ng’ezimbibwa.

    Wannyana ng’asigadde mu kisaka ebikoola by’ekiti ekyeggamasole bye byayalirirwanga wansi okumuteerako ebyanzi by’amata n’ebintu bye ebirala. Awo we yafunira erinnya Namasole nga liggyibwa ku bikoola by’ekyeggamasole. Okuva olwo na kaakano, nnyina wa Kabaka ayitibwa Namasole.

    Ekifo awabeera Namasole nakyo kiyitibwa ‘Lusaka’ ng’erinnya eryo liggyibwa ku kisaka Wannyana we yawummulira ng’ajja ne Kimera okulya Obuganda.

    Ku Ssekabaka Kimera era kwe kwava akalombolombo ka Bakabaka obutaddayo kulaba ku bannyaabwe. Namasole yakomanga Bukeerere ewa Nankere okulaba ku Kabaka mu nju eyitibwa Namiryango . Okuva ku Namasole Wannnyaa owa Ssekabaka Kimera okutuuka ku Namasole Ndwaddeewazibwa owa Ssekabaka Kamaanya, Bakabaka tebaalabanga ku bannyaabwe.

    Empisa eyo yadibizibwa Ssekabaka Ssuuna II eyayagala ennyo nnyina, Kannyange. Mu biseera nga Namasole talaba ku Kabaka, mwannyina ayitibwa Masimbi wamu ne Nakalyana be baamukiikiriranga ewa Kabaka. Amannya amalala agayitibwa Namasole; ‘Kanywabibumbwa’ ne ‘Nnabijjano.’
    Published on: Saturday, 5th February, 2011

    Mirembe antonera ebimuli

    OLWATIKKA Mirembe ne banne ensuwa zaabwe, nalowooza nti omuzannyo guwedde. Naye buli omu yagaana okukulembera nti anaalumirirwa y’anaggulawo. Nalaba obudde buyise nnyo ate nga bo balabika tebabufaako, nze ne nkulembera.

    Era nkyakyewuunya, kale lwaki saabaleka nga mmaze okubatikka ne nneddirayo. Naye anti olunaakutta….! Era akabi nga kanajja, ekikere kidduka nga mpewo. Bwe mba ntambuddeko akabanga, Meeya n’ampita nti,

    ‘Mwana wattu jjangu ompeereze akakomo kange kagudde sisobola kukalonda ng’ensuwa eri ku mutwe. Nga ng’enda nkamuwe. Bwe namutuukako n’ang’amba nti akake si ke kagudde wabula aka Mirembe. Nga mmuyitako nga ng’enda Mirembe we yali.

    Okutunula wansi nga nkalaba ku bigere bye nga nkalonda nga nkamuwa. Bwe namala okukamuwa n’ampa ekisaaganda ky’ebimuli nga bw’amwenya. Yasooka kusikamu kamuli kamu n’akawunyako n’akasuula eri. Bwe namwebaza n’aseka nti “Hmmm! Nnyabo olina ageebaza, weebaza n’ebyoya by’enswa!

    Mu kaseera ako omwana w’omwami Pyati Sololo omukulu, we yawamatukira mu kasaka akaali engulu okumpi ne Meeya we yali ayimiridde.

    Mirembe bwe yamulaba ng’ajja n’ang’amba nti, “Munno wuuyo ajja.” Simanyi kye yasinziirako okugamba atyo naye kyandiba nti mu lulimi lwe mwe mwateekebwa okundagula olutalo lwe nali nja okuyingirira wakati wa Kagulukankwale (lino lye linnya ly’omwana w’omwami oyo).

    Nali ntandulula ebigere, Mirembe n’ang’amba nti, “Tondeka wano nzekka,” nange ne nnyimirira. Mu kasiriikiriro ako, Kagulukankwale yajja ng’atusimbye eriiso ery’obukambwe nga lyetabuddemu n’obukyayi ku ludda lwange. Sso nno nange okuva lwe nasooka okumukubako agange yagaanirwa ddala emmeeme yange okumuyingiza mu birowoozo newankubadde tewaali nsonga emunkyayisa.

    Bwe yatutuukirako ddala n’abuuza Mirembe enkangu nti “Oyo y’ani gw’oyogera naye?”

    Ko Mirembe nti, “Anti naye wuuyo waali, ggwe mwebuulize. Ye bannange, ggwe bakubuuza buli gw’oyogera naye?”

    Ko Kagulukankwale nti, “Toyinza kunnyanukula bw’otyo.” Luno nno yabwatuka nga ggulu anti n’obugulu bwateruka. N’agattako na kino nti, “Tomanyi bwe ndi musajja?”

    Mirembe: Bw’otoyogera
    tebamanya bw’oli musajja? Ndowooza waliwo abasajja abalala nga ggwe. Ate sikulwa nno nga be bakusinga!

    Kagulukankwale: Ono amuwadde ebimuli bino ani, si ggwe?
    Mirembe: Nedda, si nze.
    Kagulukankwale: Kale oba si ggwe obimuwadde, mbuulira abimuwadde. Onnimba ompise musiru? Sikulengedde ng’obimutonera? Kale era weegaane nti si ggwe obimutonedde!”

    Mirembe n’ayongera okwegaana naye Kagulukankwale ng’ayongera okumulumiriza. Wano Mirembe we yamugambira amusale alabe ky’anoonya. Kagulunkwale: Ntegedde akalenzi kano okaagala era ndowooza bulijjo gy’ogenda, simanyi n’okusulayo?”

    Sso nno lwa kunnyoomoola yali tansinza kiwago. Kino nze kyankosa nnyo mu mmeeme yange kubanga nawulira muli nga kissa ku linnya lyange obuzigamu.

    Mirembe: Ye omalira ki amalusu go, mbadde ogambye nti otegedde, genda eka oloope nga bulijjo. Simanyi oyagala tugwe wansi tukube amavi nandiki tuteme emivuuma egitannafuukamu tukugerekereko.”

    Kagulukankwale yalaba talina ky’anaakola kwessa busungu, n’abuuza akawala kali ka Najja kamubuulire bye tubadde tunyumya, ne kamutegeeza nga bwe kabadde katawulira kigambo na kimu. Yakasokaasoka ebigambo bingi naye ne kagaana. Kye yava akawujjamu empi bbiri n’ensumbi gye kaali keetisse n’egwa n’eyatika.

    Nandiyinzizza okugumiikiriza ebirala bingi naye si kino eky’okuyiikiriza ebbujje, leero ‘kiiso kya mbuzi!’ Nabuuka ekigere kimu nga mmukutte ne mmunyoolera mu bulago olubugo lwe yali asumise, naye mba ngalula ekikonde nkimutomeze, Mirembe n’ankwata omukono nti, ‘Ku lwange nedda, nkwegayiridde muleke.’ Ne mmusindika eri mu bicuucu ne ng’amba Mirembe ne Najja batambule tugende, era nabo bwe baakola.

    Bwe nakyuka ne kansongamu olunwe nga bwe kalangiriza nti, ‘Ggwe ggwe, ky’onkoze olikisasulira. Lwe tulisisinkana awalungi, tulirya amatereke.’

    Bwe twatuuka ku Meeya, Mirembe n’amugamba nti nkabasombedde! Waliwo n’ebirala bye baayogera naye sikyabijjukira.

    Akabi nga bwe katabula musombi, nze nasuubira nti mu bawala abaatuyitako mwe mwali eyabbirako Kagulukankwale gye twali tusigadde.

    Kagulu olwatuuka mu kisaakaate ng’akoleeza nga bwe mmukubye era nga bwe njagala Mirembe ng’abiteekako omutwe n’amagulu nti nvugula ne bakaabasajja. Kyokka bwe twali twawukana, Mirembe yankuutira okwekuuma buli we ndaga nti sikulwa nga ntuukibwako akabi, nze ne mmusekerera olw’okutya awatali nsonga.

    Ebibuuzo:
    1. Zinunula alina eriiso ejjogi eryetegereza buli kimu. Laga obutuufu bwa kino ng’osinziira ku kitundu ky’osomye.

    2. Abakazi y’ensibuko y’ebizibu byonna ebituuka ku basajja. Kubaganya ebirowoozo ku kino nga weeyambisa Zinunula Omunaku.
    Published on: Saturday, 5th February, 2011

    #27548
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    ‘Mirembe antegeeza Omwami bw’amwagaliza mutabaniwe’

    Ebitabo byaffe

    WABA wayise ennaku bbriri nga tumaze okutta omukago, Mirembe n’ambuulira ekyama ekyammala akatuuyo mu mubiri.

    Yasooka kunsaba mmusinyiwe olw’obutambuulirirawo kyama kino, mbu yali tayinza kumbikkulira bya lulyo lwe nga tanninaako luwenda ate ng’okumbuulira ekyama kino yali ateekwa buteekwa okulusiinyaako. Awo teyalwa n’agends ku ngeri gye yagendamu mu kisaakaate.

    Bwe yali ng’akyali muto nnyina n’afa, ate nga wayise ebiro bitono ne kitaawe n’agoberera n’aleka ng’alaamidde Pyati Sololo okuba omukuza we kubanga baali banywanyi ba mukago. N’ayongera okumbuulira nga kitaawe bwe yamulekera obutitimbe bw’ebintu ebyakwasibwa omwami Pyati oyo omukuza we nti kubanga kitaawe yatya okubikwasa bagandabe ng’alowooza nti bagenda kubyekomya bamudoobye oluvannyuma. Nti nno ebintu ebyokitaawe yabifuna ng’omugabo gwe ogw’omunyago lwe baatabaala bwe yakwasiba ebintu bye ne yeeyongera nnyo obugagga n’amaanyi, anti nga leero buli ky’ayagala akyetuuseeko; nti era abaddu bangi n’abazaana abaali aba kitaawe, mu kisaakaate kya Pyati bakyalimu.

    Wano we yatuukira ku kigambo ekyankunkumula ng’ayogeza eddoboozi erijjudde okutya n’ennaku n’ang’amba nti, ‘Omwami ayagala nfumbirwe omu ku batabani be.’ Nali njasama mbeeko kye njogera n’ansirisa nti, ‘Ogira ogumiikiriza mmaleyo bye nkubuulira.’

    N’ayongera nti, ‘Ye anjagaliza mutabani we omuggulanda gwe mba nfumbirwa, kubanga amanyi nti bwe nfumbirwa oyo kiba kisalidde mu ntamu anti ebintu ebyo byonna nga bya kufunda ku ye, naye bwe nfumbirwa omulala, olwo nga batema kubyawuzaamu okutuwaako ekitundu. Naye mutabaniwe omuggulanda Kimojo Kagulukankwale anneesibyeko ng’ayagala y’aba antwala. Ye Omwami amanyi nga siyinza kumwagala ate era naye amuyita mulalu mpozzi lwa butamwagala nnyo kubanga mu ddalu ndaba nga bombi n’omwana waabo bakaliira ku njala naye anti ‘omuganzi…’ Kyokka tayagala kunyiiza Kagulu, ky’ava ayagala ekigambo ky’okumugaana kive mu nze. Olumu yampita n’ampikiriza era n’annweenweka obugambo bungi obwalaga nti ayagala omulenzi oyo mmwesammuleko, ye alyoke afune ebbanga okunfumbiza oli gw’ayagala. Eddako yambuuza oba nga nali sinnatuuka kufumbirwa era mmubuulire n’omusajja gwe njagala oba simulina ye andabire owuwe.

    Nze ne mmutegeeza nga bwe sinnatuuka kufumbirwa ate ng’atya okunkaka olw’empaka. Alina abantu abaali mikwano gya kitange b’atya era nange antyamu okumulaamira omukago.

    Ate ennaku zaakayita ntono kasookedde addamu okumbuuza lwe ndifumbirwa era n’ang’amba nti omusajja gwe njagala nzije mmumutwalire yeenywere ku mwenge.

    Bwe namuddamu nti simulinna n’ang’amba nti, ‘Mwana wange omutwe guno ogulabye envi bwe zitandise okutobeka?

    Mmanyi nno bingi by’otonsuubira kumanya anti ‘eriiso ly’omukulu…’ era ‘bukadde magezi…’ Kino ne kintegeeza nti kyandiba ng’olujeejeemo olukuliko nti onjagala, Kagulukankwale yalumutuusaako dda, sso ate nga talema anti omumwa ogugwe tegutuulira awo!

    Mirembe n’ayongera okunogaanya nti, ‘Ekisinga okuntiisa kwe kulaba nga buli muvubuka gwe nsekera oba antunuulira obulungi, tewayita bbanga nga tannatibwa oba okubula n’abulirako ddala amayitire.’

    Zinunula: Lwaki tofumbirwa mwana wa Mwami!

    Mirembe: Mu mazima simwagala! Naye nga bwe saagala kumazaawo baana b’abakazi, ndirwa ddaaki ne mpalirizibwa okumufumbirwa.

    Zinunula: ye abatta atya?

    Mirembe: Abatta mu ngeri nnyingi ate oluusi mu kyama. Ayinza okukusindikira abantu ne bakuteega ne bakutta oba bayinza okukuwendula ne bakutwala eyo mu bibira ne bakugang’alamiza eyo.

    Emitego egyo gyonna bwe gikulemwa, alinayo gumu ogw’enkomerero nnantavvuunukwa mulamu. Omwami bw’alaba b’ayagala okutta baweze ng’ate bamulemye okukwasa mu ngeri endala yonna, olwo ng’assaawo muzannyo gw’amafumu ng’agenda agulirira agasajja ga nnakinku mu kulwanyisa amafumu. gabamuttire.

    Y’amanyi gy’agawakankula. Awa amateeka nti mu muzannyo abalwanyi bafumitigana mikono gyokka n’amagulu sso ng’akuusa bukuusa kubanga abalagira bafumite mu kifuba abo b’abalaga n’obubonero babatte ate oluvannyuma ne yeekangabiriza.”

    EBIBUUZO
    1. Geraageranya enneeyisa y’abaagalana Zinunula ne Mirembe n’ey’abaagalana ku mulembe guno.
    2. Ddala omukwano tegugulwa. Wagira endowooza eno nga weesigama ku kitundu ky’osomye.
    Published on: Saturday, 12th March, 2011

    #27526
    Kulabako
    Kulabako
    Participant

    Omwana w’omwami ampangira abatemu kyokka ne battamu ye
    Ebitabo byaffe

    NG’OMUYIGGO guwedde, tuba tukkirira ekibira, omwana w’Omwami omu n’ayimirira n’atubuuza nti, ‘Kazzi mmwe temwazze na mafumu?’

    Ko ffe: Nedda anti naawe walabye bwe mwatusanze mu kkubo nga tuva kunyumyamu.

    Ko ye: Ye bannange, mundabidde ku muggo gwange?

    Ko ffe:  Tetunnagulabako.

    Ko ye: Owa kale, si nsonga ogwo gunfudde ndifuna mulala. (N’ankyukira) Ggwe nno wabadde ogaana, gy’ofunye si nnyingi okusinga ey’abalina emiguwa ey’endola nnyini, nze nno n’okumpaako! Awo ffenna nga tuseka, naye nze nga mmanyi nti mbadde ngiguzeemu obulamu.

    N’ayongera nti; ‘Ye sso mmwe nga muli ba kyewuunyo. Muddira alina ennyama y’ava emabega ate atalina n’akulembera! Yiino nno mugisibye kisaazisaazi egenda ewenena ate n’obudde buzibye. Olwo bw’egwa mutegeerera ku ki? Alina ennyama bw’akulemberamu, bw’egwa, ava emabega ayinza okugiraba oba okugirinnyako ne mugironda. Ffenna ne tuseka nga tulowooza tuseka na munnaffe.

    Mikolo eyali yeetisse ennyama olwakulemberamu, mutabani w’Omwami n’agamba nti, ‘Ye nga bannaffe sikyabawulira. Batulese simanyi! Mwanguweeko tubatuuke.

    N’adduka akapempenu, naffe tuba tusaayirira, ennyama yaffe n’esowottoka n’egwa, ne tussa ekitereke ne tukinyuunyuula. Tuba tusirikka mu kakubo, ne tusisinkana abasajja babiri ne tubeegattako ne tugenda nga tulojja. Naye tuba tumalako tuti ekitundu eky’ekitosi, ne tuwulira ng’omuntu akaaba nti, ‘Nfudde nnyabo!

    Ne tuyimirira akakuukuulu ne tubuuzaganya nti, ‘Kibadde ki ekyo? Nze nawulira ng’ekinyonyi ekikaaba era n’omusajja omulala bw’atyo, ate omusajja omundi ne Mikolo bo baawulira ng’omuntu. Twalabula Mikolo agende mpola nga yeekengera sikulwa ng’agwa ku nsolo. Tuba tutambuddeko akabanga nga n’omwala tugusomose, Mikolo n’abuuka era n’ettu ly’ennyama ne ligwa. N’atugamba nti, ‘Bannange nninnye ku muntu, nninye ku kugulu kw’omuntu!’

    Omusajja n’agenda ng’awammansa emikono n’ebigere. Twagenda okuwulira ng’agamba nti, ‘Wuuno muntu ddala n’okwokya akyayokya naye temukyali kakuba! Awo nga tudduka, bwe tukuba n’enduulu. Bwe twatuuka ku kyalo, ng’eng’oma zirawa, anti tezirawa ng’umba, ng’abantu beesomba, ng’emimuli baleeta nga tuddayo mu kibira.

    Twagenda okulaba ng’omulambo gugudumadde awo ku mabbali g’ekkubo. Effumu lyamufumitirwa ku kkono ne limuyita mu mutima ne ligguka ku ddyo era yagwa nga yeevuunise. Okugenda okumugalanjula, nga ye mwana w’Omwami eyabadde atukuba oluboozi!

    Enkeera Omwami yatuyita tumunnyonnyole enfa y’omwanawe kubanga yagamba nti ffe twasigala naye era ng’alabika ng’ayagalira ddala omusango okugussa ku ffe. Kyokka olwokuba si ffe twaziga ensolo ate nga tetwalina mafumu mu kuyigga nga baatugwikiriza mu kkubo, ebyo bye byatuwonya. Era abasajja bali ababiri be twali nabo, baatuwolereza nnyo. Ebigambo ebituufu ndowooza byali bwe biti: Omwana w’Omwami omu ye yaziga engabi, mpozzi n’ateesa n’omwami oli agambe nti y’agizize tuleme kwekengera. Anti oluvannyuma Meeya yatutegeeza nti omusajja oyo mu ttuntu ku olwo yatutumira omuntu tugende naye wamu n’amafumu gaffe tugende naye mu kuyigga. Naye omuntu gwe yatuma n’asanga nga tetuliiwo. Ogwo gwali mukisa gwaffe kubanga tetwandiremye kugenda naye kubanga bulijjo twayigganga naye. Kyokka yakola bubi okutulyamu olukwe era yasaanira okufa obubi.

    Twagenda okutuuka ku kizigo nga baategese dda engeri gye bananzitamu, kye baava bansaba nsaggule ku kizigo banneewubize okwo banfumite. Era nga babadde balemeddwa okunzitira ku kizigo ne bateekateeka okunzita nga tuddayo. Baddira abaali ab’okundasa ne babakweka mu kibira ne babategeeza nga bwe banaabatemyako nga bayitawo, bano abateeze balyoke banzite. Ndowooza baabagamba nti nze nali nja okukomererayo, omufu kye yava anjagattajagatta nsigale emabega. Mpozzi nno abassi bwe baalaba omwana w’Omwami ng’agenda atinattina ate ng’emabega tebawulirayo ajja mulala, ne balowooza nti ate banaamulinda kutuuka mitala? Nga bagamuyiira ng’afa, anti gy’otega amaggwa, bwe bakugoba gye bakulaza.’

    Ebibuuzo:
    1. Ebizibu ebimu bye tusanga mu bulamu ffe tubyereetera. Lambulula ng’osinziira ku Zinunula Omunaku.
    2. Laga obukodyo Kawere bw’akozesa okutuukiriza omutwe gwe yawa akatabo.
    Published on: Saturday, 26th March, 2011

    #27645
    Ndibassa
    Ndibassa
    Participant

    Nnejjusa obufumita kutta Mbego

    Ebitabo byaffe

    OLUSAMBAGGERE luno lwanyiiza nnyo Mbego era nze kata ndugulemu obulamu, kubanga bwe namusamba ne nzungamu nga sinnatereera bulungi ye n’asindika effumu n’obuswandi obw’ekitalo ne lijja nga linyooka liriko n’obujja bwegaaya.

    Nalyekangira kumpi nnyo ne likwata ekkundi ly’engabo yange ne liyitamu ne linsusa olususu lw’olubuto ne ligenda nalwo! Naye singa engabo nali sigikwatidde bbali nga mmusamba, awo bandiggyeewo kugenda kumalirako ttaka.

    Mbego n’agamba nti, “obwedda nkutaatira kazzi nneeyolera mpiri mu bunnya!” Ne ndaba ng’asunguwalidde ddala era ne mmanya nti kaakano “Nze oba ye!”

    Ebyaddirira mmanyiiko bitono, anti twayokyagana mafumu gokka, oluusi nga nze mmukwasa oluusi nga ye era mu kiseera kino olutalo ne luba lwa kabi nnyo nga tewali kutemya wadde okumira eddusu. Omulundi gumu, engabo ya Mbego yagwa nga ngikubye naye oba lwaki saamuzisa mu kiseera kino ne kaakano simanyi era ndowooza sirimanya.

    Ddaaki, omulangirizi n’afuuwa ekkondeere tumire ku ddusu, naye nze nga sifaayo oba nga tuwummula oba tetuwummulamu mmaze okuguba era nga ntaamye; nga kye njagala kwe kulwana oba banzita banzite olutalo luggwe. Anti nga nzenna njebye era nzenna ng’omusaayi gumbunye.

    Waaliwo ddala mu kaseera akamu we nayagalira okuleka Mbego anfumite era nali ddala ku njegooyego ya kukikola naye ate awo we baafuuyira ekkondeere tuwummule. Nga tuwummuddeko, Mikolo n’agezaako okunvubiriza ng’addira ekiwero n’annyika mu mazzi n’ampisaako.

    Eng’ombe teyalwa n’etokota tudding’ane ne mpulira ng’Omwami yeesooza era nga bw’akontola. Abasajja abajja ne Mbego ne boogera ebigambo bye saategeera naye oluvannyuma Muyodi bye yanjogereramu ne mbimanya. Bye bino, “Andu akiti amoga! Adudu amale pyo! Ekinyobba jje lakatu ddu!”

    Mba nsituka akaana ne kajja n’olwendo ne kang’amba nti, “Muyodi akukuutidde weekuume nnyo era Mbego tomuggyaako maaso, anti era mu lulwana luno malira amagezi gonna mu kwewoma amafumu ga Mbego.” Bw’atyo n’amaliriza ne bino nti, “Banne bamuvumye nti, oli muntu ki ggwe! Okulemwa akaana ako akato! Ye Omwami onoddayo n’omutunula mu maaso! Nti nno bw’akulema luno nga tokyatukulembera.”

    Bwe namala okubiwuliriza ne ng’amba akaana nti, “Ddayo omugambe Muyodi, nti awandigudde oluwanga lwange we waneerindiggula olwa Muyodi.” Naye mba nsituka ne ngwa, Mbego kwe kwogera mu ddoboozi ekkangufu nti, “Situkawo eri ne nkumaliriza, ensega nange zinneeyanzeeko nga bannange bwe zibeeyanzizza.

    Nange muli ne mpulira ng’obwange busigazza kaseera buseera anti ng’engabo sikyagiyinza ezitowa nga luyijja, omukono gwange ogwa ddyo guzingaladdemu ate nno gattako ebiwundu n’omusaayi gwe nali njoobaanye wamma ggwe nga tewali njawulo na kiyoyo ate nga nnyenja buyenzi.

    Mu kaseera kano omusajja omu we yasitukira n’asaba Omwami omuzannyo guggwe, ng’awa ensonga ze nti, emirundi egya bulijjo esatu egizannyibwa giweddeyo era n’ekyokubiri engabo yange yali ewumugguddwa nnyo nga tekyewomekamu. Omwami okwandibadde okwanukula yanyeenya mutwe era n’alaga olunwe ku ngabo ezaali awo ku bbali.

    Omusajja ono Nkuyegetetyassabo yali muzira nnyo yali yaakalwana mu ntalo kkumi ng’akomawo newankubadde mu lumu eriiso teryalutonda

    Wa ebikolwa ebiri mu mboozi eno, ebiraga ng’omuzannyo guno kaali akatego ak’okumutemula.
    Published on: Saturday, 14th May, 2011

    #27663
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Akamegga enjovu kenkana wa!
    Ebitabo byaffe

    MPOZZI nno Omwami kye yava tamuyita kujja kulwana mu kifo kyange nga bwe yandikoze singa eyayogera yali mulala gw’anyoomerera.

    Tebaalwa ne bandeetera emu ku ngabo ezaali awo, naye bwe nagikwatamu ng’ezitowa bulala, kwe kusaba eyange entono. Bwe baagireeta, abantu bangi abaali ku ludda lwange essuubi lye baali banninamu ne libakendeeramu. Abamu ne baleekaana nti, “Kozesa eri ennene, eyo bajja kugifumita omulundi gumu nga yawumugguse dda.”

    Ate baagenda okulaba ga nkutte akafumu kange akatono, wamma ggwe ne baterebukira ddala mu nze
    era bangi ne bampeerayo mu birowoozo byabwe eri Mbego nti, “ako akafumu katono nnyo tekayinza kuyita mu ngabo ya musajja oli.”

    Abaali bakyanninamu akasuubi baalaba ng’ate n’akafumu nkakwasizza kkono, n’eryabwe ne liseebengerera, okuggyako Muyodi ne Mirembe abaatabagana mu birowoozo wamu nange, era abaamanya ekyankozesa ekyo.

    Bwe nalaba omukono ogwa ddyo gusannyaladde ne mmanya nga tegujja kusobola ngabo nnene kugizunza mangu ate nga nail nneetaaga okuzunza effumu amangu nkooyese omulabe wange. Sso nno ate nga kkono wange bantu butamanya nga y’asinga ddyo amaanyi.

    Omuzannyo ne gutojjera, ng’abaali ku ludda lwange bazirise, ab’oku ludda olulala bo nga beesunga obuwanguzi kazzi nno nga bagaya kyezinze.

    Nga twakatandika, Mbego n’anfumita nnyo ekibegabega era abantu bangi ne bagamba nti, “Ekyo si kye twakugambye?” Naye mu kaseera akaddirira, Mbego n’asigala kwewoma bwewomi. Bwe nagiranga ne mba ng’amufumita omukono ogwa ddyo ate amangu ennyo ne mmusokya amagulu, ng’engabo akyagissa etangire effumu ne mba ng’amufumita omutwe oba omukono ogwa ddyo.

    Yabanga akyewoma ne mmudda emabega, bwatyo n’abeera mu kwewoma n’okwebulungulula buli kaseera. Yalaba atandika okukoowa n’aleeta n’agomu buto gonna ammalirize nga tegannamwabulira; kye yava agezaako okunsamba, naye bwe namwewoma n’atagala, anti, amazina amayigirire’.
    Saalwa ne mmusindikira akajogolo nga kanyooka n’okunyooka. Bwe yakakuba n’atagala ne mmutega n’asinzittuka ng’adda ekyennyumannyuma eyo gye yalinnyira mu kitembejja ky’omusaayi n’aseerera n’agwa bugazi.

    Saalwa ne mmusemberera era abantu bonna ne balowooza nti nzija kumukazakkaliza awo anti nga Luwanga amungabudde. Baalaba nnyimiridde mmutunuulira okulaba bwe yeeriga ng’asituka addawo, ne bannyamira nti “Oli musiru? Mufumitire awo ng’akyali wansi. Bw’anaasituka n’amala akutta gunaaba gukusinze!”

    Abamu ne beesooza nti, “Mukaleke bakatte anti kawuttufu! Ko keesiga ki? Sso nga nze bwe nalaba Mbego ali wansi avuya, nga nja kulabika ng’omutemu okutta omuntu atakyeyinza. Mmanyi ng’ekikolwa kino kyali ddala kya busiru era kata nkisasulire obulamu bwange; naye ku nkomerero kyangulira ekitiibwa ate ne kibumba obuti mu mitima gy’abalabe bange. Abalala ne boogera na lwatu nti, “Oyo omwana si muntu era tali yekka!”

    Nga bwe gwali, abantu bwe baayogera ebyo nze ne mmwenya bumwenya, Mbego bw’aba asituka n’andaba, kwe kumbuuza nti, “Nze ssebo nze gw’osekerera? Ka nno nzikukalize ku mumwa.”

    Ne ndabira ddala ng’omusaayi gumutisse ku mutwe era ng’olutalo alutamidde bwenge. Nalaba biri bityo nange kwe kugaddako ne nkwata effumu lyange eddene ne bukalambira.

    EKIBUUZO: 1. Totta kibe nga tonnakikenenya ndusu. Laga omuwandiisi wa Zinunula Omunaku bw’aggyayo amakulu g’olugero luno mu kitundu ky’emboozi ekikuweereddwa.

    2. Kawere anafuya nnyo omuntu we nga tannamutuusa ku buwanguzi. Laga bw’akikoze mu kitundu ky’osomye era olage akakodyo kano bwe kamuyamba nga omuwandiisi.
    Published on: Saturday, 21st May, 2011

    #27669
    Ndibassa
    Ndibassa
    Participant

    Mbego mmufumita n’ava mu buddeEbitabo byaffe

    KYAZIRA kutereera, n’asindika amafumu mukaaga nga ga kumukumu gonna ne ngakuba, gonna nno nga gajjira mu kifuba wakati! N’awulugumya limu ng’ayagala linkwante obwenyi, ne mpanika engabo ate ne nfukamira.

    Effumu kwe kuyita mu kakundi k’akagabo kange ne ligenda nga lyesooza nti, “Omponye nno!” Amafumu ne gatandika okujjira okumukumu mangi ne ngakuba amalala ne gankwata emikono amalala magulu ne mmanya nga “Kamaanya” asunguwadde anti nga takyagera bulungi.

    Kino ne kimpa buggya amaanyi era mbu mu kaseera kano Muyodi we yayogerera nti “Entamu ebadde efumba eya Mbego bavuunike!”

    Ebyo nno Mirembe ye yabimbuulira. Effumu erimu lyankwata ekisambi ne ntalanguka naye ne nfukamira bufukamizi ne sigwa. Ne nnwana bwezingirire buli ffumu lye nasindikanga abEemikwano ne baamira nti, “Bwotyo ssebo, bwotyo gendera awo ggwe, toggya okwo mpolampola ayiisa obusera.”

    Mbego yalaba mmufuukidde lukokobe, n’asindika effumu lye eryali ery’okunzisa era eryali effumu lye, lye yakanyuga omulundi ogw’enkomerero mu nsi. Bwe lyajja ne ndyekangira kumpi, ne ndikuba mawanvuwanvu ne limpita ku mutwe ne litumbiira mu bbanga mbu ne lyetonnya emabega wange.

    Bwatyo Mbego olw’eryanyi lye yakozesa ng’akasuka effumu, n’atagala era nange bwe nalikuba ne ntagala naye nze ne mmusooka okutereera, kye nava nnuma n’ogwengulu ne nkoowoola n’agomu buto gonna; ne mmusindikira effumu ne likwata ekkundi ly’engabo ye ne ndaba nga kuvaako ensasi ne ligiyitamu ng’akambe bwe kayita mu muzigo ne limugatta ebisambi byombi awo kumpi ne bbunwe; n’alyoka yeerindiggula ennume y’ekigwo ng’ente gye basibye amagulu gonna be ddu-u-u!

    Bwe yagwa, n’agwa ku gutundutundu gw’effumu erimu ku mafumu agaali gamenyese mu lutalo nga gwesimbye mu ttaka , obwogi nga bwe butunudde waggulu ne gumuyitamu mu mbiriizi ne gukomekkereza omulimu gwe natandika!

    Nali wa mukisa bukisa nze obutasooka kukasuka ffumu n’amaanyi gange gonna kubanga ddala mba kusooka Mbego kwemalamu, nkakasa nga nze sandirutonze. Ebyaddirira sibijjukira, wabula nzijukira kino kyokka nti, Mbego bwe yagwa ne ndaba ng’ensi yonna yeetooloola ne mpulira ng’agwa awo nno we nakoma okutegeera.

    Bino byannyumirizibwa Mikolo: bwe nagwa, Mikolo, Muyodi n’abantu abalala Muyodi be yali alagaanyizza ne bansibako akasaakaate k’abantu era mu kawuniikiriro akaddirira, ne banneebagajja nga batya nti sikulwa nga mikwano gya Mbego mu busungu bwabwe bankolako akabi. Abantu bonna okugenda okuwawamuka n’okutegeera ddala ekibaddewo bajje bantunuleko, nga tebakyandaba. Banne ba Mbego tebaagoberera era Mikolo yang’amba nti singa baagoberera, yabuusabuusa oba nga waaliwo ku bo eyandizzeeyo. Nti kubanga Muyodi yagendanga ‘ataliza’ emabega waffe, obubinja bw’abasajja be abaagayiga obulungi nga nze banneetisse nti nno obubinja obwo bwasigalanga bukwebedde balyoke babwetonnyemu nga tebamanyi! Ate bakung’unsa tebeeramba kkubo baagendanga basalinkiriza mu nsuku era n’ewaffe tebandazaayo wabula bantwala wa Muyodi gye natuusibwa ng’obudde buzimeera.

    Abasajja ne bambugumiza amazzi ne bannyiga ebiwundu era ne bannaazaako omusaayi. Muka Muyodi n’asiiga eddagala eryo ate nga teribembulwa kunyiga kiwundu wabula buli awabembuka nga nkovu. Bannnyumiza nti eddagala eryo okusooka baatya okulimmetta olw’okuluma kwalyo nti naye eyabagumya ye Muyodi ne mukaziwe Kulwawo abaategeeza abasajja abaali balitidde nti mu mbeera gye nalimu nali sisobola kuwulira bulumi.

    EKIBUUZO: Obuwanguzi Zinunula bw’atuukako, abutuukako lwa mukisa si maanyi ge. Kubaganya ebirowoozo.
    Published on: Saturday, 28th May, 2011

    #27728
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Pyati ampa Mirembe mmuwase ng’akasiimo
    Ebitabo byaffe

    EBYO olwaggwa ne tunyegera nga tulaga ku mbuga era nga tukooka nnyo anti nga n’emigaabe gigenda gigwa.

    Okugenda okutuuka ku mbuga ng’omuntu ali awo! Nze bannange be baagenda bansitudde, baagaanira ddala omulabe okunkwatako.

    Nga tutuuse mu mbuga , Pyati n’awamatuka gye yali yeekukumye. Bwe yalaba ebintu ebikomezeddwaawo n’abantu, n’abuuza akoze ekyo.

    Munnaffe omu gwe twalonda okuwoza olutabaalo n’aluwoza era bwe yali asirisa n’ansongako olunwe nga bw’agamba nti, ‘Obuwanguzi bwaffe bwonna businzidde ku mugabe waffe ono, omuzira, omutegesi era omukkaanya.

    Singa tabadde ye, tetwandiwangudde.
    Awo abantu bonna ne bankubira emizira nga bwe bammimbijja, anti olwo bansitudde era ne Mirembe nga kwe ntadde omutwe nga ngalamidde naye bamusituliddeko bagenda beetooloola embuga nti, ‘Mumulabe omuzira ne munne.’

    Nakanda kubategeeza nga bwe sisaanidde kitiibwa ekyo kubanga waaliwo bangi abaakola eby’obuzira okunsinga nga tebawulira bongera kusaakaanya. Bwentyo nga mmala gasirika anti kasita bifuuyibwako empewo nga tebikyazzeeyo.

    Awo Omwami n’ayimirira ku katuuti wakati mu mbuga era ng’amaze okuwenya ku bantu bonna basirike, n’asitula eddoboozi lye n’agamba nti, ‘Ffenna abali wano kaakati , twegasse wamu okwebaza Bawankula.

    Ekikolwa eky’obuzira kino kye balaze leero, tekibangawo mu byafaayo byaffe era abajjwa ne bazzukulu baffe banaakijjukiranga, naffe ab’omulembe guno kirituweesanga ekitiibwa. Kantuuke ku Mugabe w’eggye lino.

    Mwenna mumanyi bw’atali muzaaliranwa wa mu nsi muno naye kasookedde ajja, byonna by’akoze bya buzira byereere era n’olugero lwaffe lutuukiridde bulungi ku ye nti, ‘Eteefe…’

    PYATI AMPA MUWALAWE
    Omuntu omuzira ono, asaana okwebazibwa era nze okwandibadde nga okwebaza kwange kaakano newankubadde nja kwongera okumwebaza oluvannyuma, mmuwa era mmukkiriza okuwasa muwala wange Mirembe gwe ndowooza nti ajja kumusanyusa.

    Embaga eribaawo ng’assuuse era Bawankula abalala bonna buli omu nja kumuwa omuwala era n’abo abafiiriddwa batabani baabwe buli omu nja kumuwa endobolo. Awo abantu bonna ne boogerera waggulu nti, ‘Oyogedde ssebo.’

    Ebibuuzo:
    1. Omuntu yenna okutuuka ku buwanguzi, ateekwa okuba omuzira, omutegesi era omukkaanyi. Laga bino bwe bituukirira mu katabo Zinunula Omunaku.
    2. Singa ggwe Pyati, bintu ki bye wandiyigidde ku Zinunula nga ggwe omukulembeze?

    Published on: Saturday, 24th September, 2011

    #27729
    Omumbejja
    Omumbejja
    Participant

    Komunaku atunyumiza engeri gye baabawambamu

    KOMUNAKU ng’amaze okwa Ndodooti ekiseera, yawuliranga bba ne banne nga bawera enkolokooto nga bwe bagenda okwekokoolera nnamunkukumbo w’ebintu lwe balirumba Pyati.

    Bba yali musajja muzira era nga banne bamwesiga nga buvune kyokka ng’atyoboola era ng’anaanuula nnyo eggye lya Buwankula buli lwe yalyogerangako anti ng’aliyita ggye lya bwacaaka oba emiyeeye era nti olulitukubamu effumu nga tunyaama. Nti nno newankubadde nga bino byonna yabiwuliranga naye teyalootako n’olumu nti ffe twenyigidde mu ggye lya Pyati. Ye ng’ayinza kusuubira atya nti n’eyo ku nkuzi y’ensi tutuukayo!

    Olunaku lwe yazaawukirako yalulombojja bw’ati: ‘Olweggulo tumale tunyagibwe enkeera, omusajja nnyinimu yalumala mu kafubo ne banne. Bwe yadda, n’atutegeeza nga yeekabye ng’enkya eggye lyabwe bwe lijja okwoleka mu maaso g’Omwami alabe oba nga lirifufuggaza amakunsu ga Pyati singa geekolera ne ganaawuuka ewaabo waago okumwekongolobojjako!

    Yayogeranga ebyo, ssempala nga tamanyi nti Walumbe ali ku luggi amuliimisa! Mu ttumbi nnyinimu yawamatuka mu nju n’agenda.

    Obudde olwakya nga tugenda kukunsa mmimbi. Akasana bwe kaakaza nga n’emmimbi ziweze, ne tugenda eri bannaffe tukkirire mu kibira okutyaba enku nga bwe twali tulagaanye, omanyi twagendanga guduula tuleme okutya ennyo. Luno oba yali kinaawuuzi ki eyatuwujja? Anti kumpi ffenna mu kyalo kata tuggweeyo! Munnange nga tuserengeta mu kibira nga tutyaba nku.

    Tuba tuli eyo tukolongola ensekese nga n’obulali buyita kuli, kwe kuwulira olwogoolo n’akavuvung’ano. Twetwabissaako nnyo mwoyo era nga tulowooza nti tuli wala n’ekkubo. Naye tugenda okuwulira nga waliwo abakuba akaayo okumpi ddala we twali. Twatandika okumaga n’okupapa era wano munnaffe omu we yayiiyiriza amagezi ag’okwekweka.

    Kyazira kukiggya mu kamwa, nga tusensera mu lukakaba lwa luzibaziba nga twekukuma, wamu kipooli. Tuba tuli awo, tulowooza nti nga bwe twekukumye awakwafu aweekusifu, ennyago n’engabo binaatutaliza kuba okusinziira ku kukaaba kw’abafumite, okugobongotana kw’engabo n’amafumu, twali tutegedde nga bwagayeggaye dda.

    Mu kiseera kino, bwakeddempulira kwe kwekomerera mu gga ly’omuwala eyali alwadde ensalika ng’agitaddeko eddagala, asibizzaawo enjoka z’ekyayi ajja apipira nnyini naye abundaale we tuli. Bwe yatema omulanga nti, ‘Nfudde nnyabo!’ Nagenda okulaba ng’olukakaba lwonna luyuuguuma, okutemya nti emirundi ebiri ng’abatabaazi abaali bajoobanye ensanke baatukukunuddeyo dda tuli banyage!

    Ekibuuzo:
    Olugero ‘Zinunula Omunaku…’ lutuukira lutya ku Komunaku?

    Published on: Saturday, 10th September, 2011

Viewing 11 posts - 16 through 26 (of 26 total)

You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.