Alex Kigongo

Forum Replies Created

Viewing 15 posts - 31 through 45 (of 208 total)
  • Author
    Posts
  • in reply to: KONY IS DEAD! #27722
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Maybe we need an award giving program for the Kony songs? April the 20th would be a good day for the event.

    in reply to: museveni-left-squirming-in-hard-hitting-bbc-interv #27795
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Naye abo emmeere bagimumma balaba balimba. Kunyooma kwa kika kya waggulu!

    in reply to: amawulire #27774
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Omulangira erinnya ye Richard Semakookiro. Tumusanyukidde munnaffe.
    SSaabasajja awangaale.

    in reply to: UDFED Ku Rediyo Y’Abaganda Leero nga 3 Dec. 2011 #27765
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Ku Lwomukaaga nga December 17 2011, ku ssaawa 2 ezekiro eze Buganda, Rediyo Y’Abaganda ebaleetera nate mu Studio Ekikutte Obudde esangibwa e Dallas Texas abakungu ba Uganda Democratic Federation – UDFed. Bajja kwogera eri abawuliriza era baddemu nebibuuzo byaabwe.

    Program ejja kubeera neku shortwave ku mukutu gwaffe ogwa 15410 kilo-hartz ku metre band eye 19. Essaawa ziri 17:00 – 18:00 UTC/GMT ze bbiri eze kiro eze Buganda

    Mubereewo kulw’omukaaga nga December 17, 2011 ku ssaawa 2 ezekiro eze Buganda mubeere abanasooka okumanya ebipya ku kasambattuko akagoba effuga bbi mu Nyaffe Buganda ne Uganda yonna okutwalira awamu. Wano ku Rediyo Y’Abaganda ku http://www.Ababaka.com

    in reply to: Re: Re: neopia #27766
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    There comes a day, when we all pay for what we do. For every dog has it’s day, whatever dog it is. So we need to be careful.

    in reply to: GADAFI IS DEAD WHO IS NEXT #27752
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster
    in reply to: Ekiwandiiko kya Balangira Nabambejja 2011 #27693
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Okuddamu kwa Mengo

    Ekiwandiiko Ekyawamu Ekyenjawulo Ekirabula Obuganda ku Bantu Abasekeeterera Nnamulondo Nga Ekigendererwa kya Kusaanyaawo Bwakabaka bwa Buganda

    Ku lwokuna nga 21 July, 2011, Katikkiro wa Buganda Owekitiibwa Eng. J.B. Walusimbi yayise olukiiko olwawamu olw’enjawulo nga lulimu Ssaabalangira Moses Kayima, Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka Ababobusolya Omutaka Nakirembeka n’abamu ku Balangira, Abataka n’abakungu abavunaanyizibwa ku Byobuwangwa, Ennono, Embiri n’Amasiro mu Bwakabaka bwa Buganda.
    Olukiiko olwawamu olwenjawulo oluvannyuma lw’ebikolwa ebyomuddiringanwa ebyobujeemu, ebyobunyoomi, ebyejjogo, n’ebyokusekeetereraNnamulondo.

    Obuganda butegeezebwa nti ebikolwa ebyo ebyobulabe bivudde mabega muno mwe muli okuvvoola n’okuvuma Ssaabasajja Kabaka, okwegwanyiza obuyinza bwa Ssaabasajja Kabaka mu bwakabaka bwe, okugezaako okuwamba Amasiro, okwegwanyiza Olubiri lwa Bbaffe ol’eMengo, okukaayanira olusuku lwa Ssaabasajja Kabaka olwa mailo 350, okwegwanyiza obuyinza bwa Kabaka ku Masiro n’ebifo ebyennono nga kwe batadde n’okuwalampa Katikkiro wa Buganda, Ssaabalangira, Nnalinnya w’Amasiro g’e Kasubi, Abataka Abakulu Ab’Ebika Abakungu n’Abaweereza ba Ssaabasajja Kabaka.

    Ebikolwa ebyo ebyobujjeemu, ebisasamaza era ebyesisiwaza, bikolebwa mu bigambo, mu buwandiike ne mu nkungaana, era nga mu babikola mwe muli

    1. Omulangira David Alexander Ssimbwa mutabani wa Ssekabaka Daudi Chwa II

    2. Omulangira Bamweyana Wa;ugembe mutabani w’Omulangira David Alexander Ssimbwa era muzzukulu wa Ssekabaka Daudi Chwa II

    3. Omulangira Mutebi Ssekamaanya mutabani w’Omulangira Hannington Mutebi Owoomutuba Ssematimba Kyobe ava mu Ssekabaka Kagulu Tebucwereke

    4. Omumbejja Gladys Nandawula muwala w’Omulangira John Lukanga era muzzukulu wa Ssekabaka Daudi Chwa II. Nabalala omuli Ndawula Edward Kimera, Lukenge Katoogo Paul, Kajumba Genza, Luwaga, Ndagire, Nakibinge, Bannaava, Bassaava, n’abalala.

    Obuganda busaana bukimanye nti abantu abamenyeddwa ne bannaabwe abalala TEBALI BOKKA. Ekigendererwa ky’ABASEESA kwe kusaanyaawo obwakabaka bwa Buganda. Noolwekyo, abantu b’Omutanda mubeere begendereza nnyo era abeetegefu.

    Tukubiriza abantu ba Ssabasajja Kabaka yonna gye muli, obutakkiriza kuwubisibwa, okulimbibwa wadde okusosonkerezebwa abantu ng’aabo Ssaabasajja Kabaka baatakwasizza buvunanyizibwa ku nsonga za Buganda ne Nnamulondo. Ssaabasajja Kabaka Ssaabataka ye Ntandikwa era ye Nkomerero.

    E NG J.B. WALUSIMBI
    Katikkiro wa Buganda.

    MOSES KAYIMA
    Ssaabalangira wa Buganda.

    OMUTAKA NAKIREMBEKA
    Omukubiriza w’ Olukiiko lw’Abataka Aboobusolya
    mu Buganda.
    Kasambula 21, 2011
    Bulange, Mengo.

    in reply to: How Bukenya got into trouble #27670
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Okalya dda kadda dda.

    in reply to: Comment of The Week #27229
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Mwambale bulungi ku mikolo okuli Kabaka
    Bukedde Thursday, 04 November 2010
    NNEEBAZA abantu okulaga okwagala eri Ssaabasajja. Mu bifo gy’anaakyala abantu bajjumbira okugendayo era abamu ne bayimirira ne mu makubo okumulinda bamulage ku ssanyu.

    Kino kizzaamu amaanyi era kijja kutuyamba nga Abaganda okugenda mu maaso. Abaana balabira ku bakulu bye balina okukolera Kabaka eggwanga lyaffe ne litafa.

    Wabula waliwo ennyambala etensanyusa ku mikolo okuba Kabaka. Abawala abamu bambala empale empavu ate ne beetala.

    Nsaba bw’oba onooba ku mukolo ofube okwambala busuuti n’amakanzu okuli ekkooti emikolo tugiweese ekitiibwa ate tuleme kukunamira Kabaka.
    Allen Nakyanja, Kawuku

    in reply to: Alex Jangu otukwatire ku Mujoozi ono Kammerjazz!! #27180
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Kammerjazz, you know you’ll have to stop your childish behaviour. No one has the time to clean after you. This is a place where people use their brains before pushing the keys on their keyboards, if that’s too much work for you, hit the road!

    in reply to: Amagezi Golina Okusala Okubeera Ng’Okukula Bulungi #26681
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Werwaanengako okwejja mu butyabaga. Naye ekisinga wewale abantu abajja okukutawaanya nga bakuteeka mu buvuyo. Bwebatakutta bakufutyanka nebakulemesa oba okukutamya obulamu.

    in reply to: Kabaka alambudde omwoleso gwa Buganda #26680
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Wangaala Ayi Ssaabasajja Empologoma ya Buganda.

    in reply to: HAPPY BIRTHDAY TO ALL BORN IN JUNE #26519
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Bannaffe abalina amazalibwa mu June muno, muyogeyoge. Ddunda abongere emikisa mu byonna.

    in reply to: Teekawo Ekigambo Kimu Ojjewo Ekigambo Kimu #26518
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Webale akazannyo Kalibattanya.
    Nze ngamba bwenti;

    Enkoko Empanga

    in reply to: Okubba Ettaka nokujingirira ebyapa #26517
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Abasiige kirabika tebafuna misaala, wano webajja sente ezibabeezaawo. Kiba kya kivve okubajjako ekifo olwabalala abagala okukola obukozi obusuubuzi.

Viewing 15 posts - 31 through 45 (of 208 total)