Kulabako

Forum Replies Created

Viewing 15 posts - 31 through 45 (of 893 total)
  • Author
    Posts
  • in reply to: Malta turns back Gaddafi’s kin jet #27486
    KulabakoKulabako
    Participant

    Ngebyambalo bya baserikale bebasse bifanana ne byabewaffe ababadde bayiriddwa wonna mu gwanga era ndowooza kyekino kyebabadde balangira m7 nti ya tunzeeyo bana uganda okutta abantu ate nga nesente tebazisasula ngojeeko nti nabwebafa tebabakomyaawo eno saawa yakuzibuka maaso akya zibirzza totunuliranga ddala

    [video]http://http://www.youtube.com/watch?v=KyjzJ8P-cnc[/video]

    in reply to: NOW ITS EGYPT #27424
    KulabakoKulabako
    Participant

    [video]http://http://www.youtube.com/watch?v=40ws7mufC8w&feature=related[/video]

    in reply to: AKAZANNYO OKUWANGAAZA N’KUGGUMIZA #27302
    KulabakoKulabako
    Participant

    TTukooye

    tukooye

    in reply to: Yiga Olulimi Oluganda #27296
    KulabakoKulabako
    Participant

    Mwenge ki oguweebwayo ku kwanjula ng’abako tebannabasalira bintu?
    Ekyokuddamu: Njogeza.

    Ekita ky’omwenge kino kiweebwayo ng’omukolo gw’okwanjula gugenda mu maaso nga bagamba nti taata anyweko emimiro egibadde gikaze gisumulukuke olwo abako balyoke babasalire ebintu. Kyokka n’abantu abalala bagunywako.

    Jjukira edda okwanjula tekwabangako nti ono bamupangisizza okwogera. Omu ku booluganda omukulu era amanyi eby’amaka ago ye yayogeranga. Yayinzanga okuba jjajja w’omuwala oba mwannyina w’omuwala.

    Kyokka ‘ekiggulaluggi’
    kye kita ky’omwenge ekisooka okuweebwayo ng’abako baakatuuka. Bakiteeka mu kisasi nga baakatuuka. Noolwekyo, abazzeemu nti ‘Kiggulaluggi’ ekibuuzo kyabamezze.
    Published on: Saturday, 26th March, 2011

    in reply to: Jomayi Yaani #27295
    KulabakoKulabako
    Participant

    [attachment=2423]1290884557jomayi.jpg[/attachment]
    Jomayi abamuwambye bamubbyeko ebyapa by’ettaka n’endagaano

    Omugagga Jomayi eyawambiddwa n’abbibwa.

    Bya Anthony Ssempereza, Robert Mutebi ne Joseph Mutebi

    POLIISI eyongedde omugagga Joseph Yiga Magandaazi obukuumi obwamaanyi oluvannyuma lw’okusiibulwa mu ddwaaliro lya Kampala Hospital e Kololo n’adda mu maka age.

    Kyokka abasawo bamulagidde awummule aleme kutawaanyizibwa bantu kimuyambe okussuuka obulungi. Ebyo bibadde bikyali bityo, poliisi ezudde mmotoka ye ey’ekika kya Toyota Prado UAH 018C mwe yabadde atambulira, abazigu gye baamubbyeko eno yabadde evugibwa edda Congo.

    Magandaazi nnannyini kkampuni ya JOMAYI egu1a n’okutunda ettaka apangisizza kkampuni enoonyereza ku buzzi bw’emisango emuyambe okuzuula abantu abaamuwambye ne bamunyagako ebiwandiiko bye ebikwata ku ttaka.

    Abazigu baamuwambye ku Lwokuna ekiro ng’ava mu kifo ekisanyukirwamu ekiyitibwa Nyondo Pub e Namasuba ne bamusuula e Nalumunye gye yasangiddwa nga takyategeera oluvannyuma lw’okukubwa kalifoomu omungi.

    Yiga yasangiddwa ng’ali mu kawale ka munda kokka kyokka nga buli kintu kye yabadde nakyo bakimututteko okuli n’emmotoka ye.

    Mw. Fred Egesa akulira kkampuni y’obwannannyini ekola ku by’okunoonyereza mu buzzi bw’emisango, Jomayi gye yapangisizza okunoonyereza ku musango guno, yategeezezza nti yatandise dda omulimu ogwamuweereddwa nti kyokka ateebereza nti okuwambibwa kwa Jomayi kwekuusa ku bya mirimu gy’akola egy’okutunda ettaka.

    Egesa agamba nti olukwe lw’okuwamba Jomayi lwabadde lunene kubanga abaamuwambye baasoose kumukubira ssimu ekitegeeza nti abamanyi n’ayogera nabo okumala ekiseera kinene ekyamuwalirizza okusiba mmotoka ku lw’e Ntebe amale okwogera era bwe yayimiridde, omuntu kwe kuva eri n’amufuuyira kalifoomu mungi era wano we yakomye okutegeera.

    Abawambi balabika nga baabadde bamugoberera era bwe baalabye ng’agonze kwe kuvuga mmotoka ye okutuuka gye baamusudde kyokka nga baalese ebintu byonna babimubbyeeko bye yabadde nabyo mu mmotoka.

    Egesa yawakanyizza ebyabadde bigambibwa nti okuwambibwa kwa Jomayi kwekuusa ku bya mukazi n’agamba nti kino si kituufu kuba omukazi tayinza kutwaza mmotoka ya muntu oba okumubbako ebyapa by’ettaka nga bano bwe baakoze.

    Abaasoose okumuzuula baamusanze alimu akategeera katono n’asobola okubawa ennamba ya ssimu ya mukaziwe ne bamukubira n’ajja mangu era ne bakubira ne poliisi eyatuuse mu bwangu ne bamuyoolayoola okumutwala mu ddwaaliro.

    Yayongeddeko nti waliwo abantu abazze beesimba mu Jomayi nga gye buvuddeko baamuteegako ng’adda ewuwe ne bamusuulira emisanvu mu kkubo kyokka kw’olwo n’abayitako era ng’ensonga zino zibadde zikyabuulirizibwako.

    Avunaanyizibwa ku by’okutunda mu kifo ekisanyukirwamu ekya Club Silk, Andrew Kafuko agamba nti babeera n’ekidduluza buli Lwakuna ekiyitibwa Unplugged Jomayi ky’atagwa era ne ku luno baamuwadde kaadi emuyita n’ajja kyokka teyategedde budde we yaviiriwo kuddayo ka.

    Abasawo b’omu ddwaaliro lya Kampala Hospital e Kololo, Jomayi gy’ajjanjabirwa baategeezezza nti embeera ye etandise okutereera era n’asiibulwa adde eka.

    Published on: Saturday, 27th November, 2010

    in reply to: Ebisoko Mu Kugereesa ( Akola Kino Nga..) #27294
    KulabakoKulabako
    Participant

    Omukazi aseka ng’ayagala ne bba aseke bamwogerako batya?

    Bya Medadi Ssentanda

    1. Namubiru yakula butaluma nga ………
    2. Omwana atunula bakiwanikizza nga ………
    3. Mwana ggwe oli nnaaluwali nga ……..
    4. Omusajja yenna akendedde nga omulima ……
    5. Omuwala oyo alasana nga …
    6. Lekera awo okwekuteera nga ……….
    7. Omulaba yenna bwe yeetiiruula nga nnakyeyombekedde ……
    8. Omulaba bwe yeedibonkola nga ow’amalibu ….
    9. Yatuuse ewaka nga yenna avulubanye ettaka nga ……
    10. Okwo si kwe kukinagguka nga abika atali wuwe nti, …………
    11. Oli mulimba nga ejjembe ……
    12. Vva mu kubyangatana nga….
    13. Awo nze ndaba nga eyeeyinudde nga ……
    14. Atunula kalindokola nga……………..
    15. Atunula gankanuse nga……
    16. Bambi atunula kibijjigiri nga………….
    17. Otunula biriroliro nga ………………….
    18. Vva mu kutunula balindokola nga ……
    19. Okwo si kwe bayita okwewanika nga ….
    20. Ennyindo ze zaaleeruuka nga …………….
    21. Ekifuba kye kyamwebamba nga …………
    22. Omulaba omwana oyo bwe yeebwalabwala nga ……
    23. Oyo nnabyewanga nga ……
    24. Vva mu kukanula amaaso nga…….
    25. Omwana oyo yeebaka lunsindika nga ……
    26. Agiginaza amannyo nga …………
    27. Aseka bbuniza nga ……
    28. Yeewombeese nga
    29. Alondobereza nga Omunyoro ……
    30. Okwo kwebambalika nga ……
    31. Okwe kwe bayita okwekakaba nga ……
    32. Agabattukana nga ……
    33. Asugaasugana nga ………

    Published on: Saturday, 27th November, 2010

    in reply to: Enjogera eyinza okukunnyika oba okukubbula #27293
    KulabakoKulabako
    Participant

    [attachment=2422]1290890924caesar.jpg[/attachment]
    Mutabani, oyitiddeko ku Nantaweta ng’ojja?
    Mw. Ceasar Mukasa (wakati) yayanjuddwa wiiki ewedde. Wano ng’ali ne Cyrus Mukasa ne Challote Nakimuli nga balaga Satifikeeti.

    JC Kiyingi Kayigwa

    GGWE aludde okugendako ku mukolo gw’okwanjula, osubwa okulaba omukwano abantu gwe balina eri Kabaka waabwe nga bakozesa olulimi olukusike.

    Ng’ovudde ku bigambo aboogezi bye bafumba n’ebisoko bye bakozesa ne binyumisa omukolo, ebimu biba bizito era engeri ey’amantankane gye babiddamu ereka ng’abalala bafa nseko.

    Jjuuzi nabuuzizza abako oba baayitiddeko ku ‘nantaweta nga bajja?’. Ekibuuzo kyakalubye era ne beegaanira ddala nti, tebasanze nkulungo yonna nga bajja awaka.

    Omwogezi yayongedde okuggumiza nti, “Taata tetuyinza kugamba nti okutuuka mu maka wano tufunye obuzibu bwonna, kubanga Katonda yatukulembedde era tutuuse bulungi”. Baalowooza nti mbuuza oba balina obuzibu bwe basanze mu kkubo nga bajja. Abaali ku mukolo gwabanyumira omwogezi bwe yagenda mu maaso n’okuwaana omubaka w’ekitundu gye baali bakyadde nga bw’akoze enguudo era n’asaba abantu bamwongere ekisanja ekirala.

    Kyokka ekyokuddamu kyali kyangu kubanga ‘nantaweta kitegeeza enkulungo egenda ewa Kabaka’. Era mu kiseera kino abantu abagenda okwanjulwa, kizibu okusimbula nga tebalina satifikeeti ya Buganda ate nga satifikeeti zino zigulibwa Mmengo.

    Wadde waliwo ebifo mu Kampala ebitongole ebyassibwawo Obwakabaka okuzigulamu, bw’otuuka ku mukolo bakugamba nti leeta ekiraga nti wayiseeko embuga ekitegeeza e Mmengo.

    Published on: Saturday, 27th November, 2010

    in reply to: Kino Obadde Okimanyi? #27292
    KulabakoKulabako
    Participant

    [attachment=2421]1290891509enkobe.jpg[/attachment]
    Enkobe bwe zirya, tewali kye zitaliza

    ENKOBE nsolo ezibeera mu bibira era mwe zizaalira. Muno mwe ziva ng’obudde bukedde okunoonya ekyokulya.

    Tezitambula kiro kyokka emisana ziba mu kwetala mu nnimiro z’abantu nga zirya buli kye zisanga. Nsolo ngezi nnyo nga zinoonya ekyokulya mu nnimiro.

    Emu y’esooka okuziga oba nga nnyini mmere tali kumpi. Bw’emala okukasa nga tewali aziraba olwo n’eboggola omulundi gumu endala ne ziryoka zeeyiwa mu nnimiro.

    Zirya okuva ku mmere ey’omu ttaka omuli lumonde, muwogo, kasooli, ennaanansi, ebijanjaalo, ebinyeebwa, emiyembe n’emmere endala yonna. Bwe zimala okukkuta zimanyi n’okwetikka ne zitwalira ku zzadde lyazo.

    Teziwakula ntalo kyokka mu kwerwanako zifuuka nkambwe. Zikozesa enjala okuyuzaayuza oyo ayagala okuzituusaako obulabe. Zitta nnyo n’embwa.
    Mu bitundu gye ziri, bannanyini nnimiro basiiba bazikuuma.

    Published on: Saturday, 27th November, 2010

    in reply to: ‘ZINUNULA OMUNAKU’BY E. K .N .KAWERE #27291
    KulabakoKulabako
    Participant

    Mirembe mulebevu naye muka

    Kkye nzijukira, kye kino nti omugenyi ng’amaze okutuula, Meeya ne Mikolo nga bamaze okumulamusa, Nze Meeya n’ang’amba nti, “Ggwe munnaffe abagenyi abakyala ewammwe tobalamusa?” Ne nva kyenkana mu kirooto mwe nali ne nzisa ekikkowe ekyansimattuka ne nnamusa Mirembe.

    Yali wa kitema, mutono nga wa katakketakke. Omubiri gwe gwali mulebevu ate munyirivu nnyo, omutwe gwe gwalina akakoona, enviiri zaali za kaweke nga za luwe.

    Amatu ge gaali mawanvuwanvumu nga galina embuga nnene. Ekyenyi nga kya masega, akayindo ke kaali katono. Amaaso ge gaali manene ga ndege nga mu kiwanga tegatuulamu wabula okuligita obuligisi gati gati.

    Obukowekoowe bwe bwali busoonoofu ddala, ebisige bye nga bya musoke. Obumwa bwe butono ng’obwensumbi nga bulimu amannyo ga kasenge, nga mu lubu olw’engulu mwetondeseemu akazigo.

    Emba zaali mpanvumu era bwe yamwenyanga oba okuseka nga ku matama kujjako obunnya. Ensingo ye yali mpanvu ate ng’esibaganye ebiseera. Engalo ze zaali za mbidde nga zijjudde kisunje.

    Ebigere bye byonna nga bituukiridde.
    Amabeere ge gaali ga biteeko ga mpummumpu yenna nga mutereevu mu kikula kye. Amagulu ge gaalinamu ebitege bitono era ng’atambuza ssimbo nga yeesiira.

    Eddoboozi yalina ttono era ng’ayogera mpola. Ate nga lwa kuba mukekkeze era nga mutono bw’atyo, naye ng’alina ekitiibwa kimulabikako era ng’alabikira ddala nga wa magezi.

    Mu magezi ne munne Meeya ng’amwasimula n’ekisa kye nga kingi mu mwoyo.
    Nga tumaze okumulamusa era nga nze nkyamuwagise amaaso, ye bwe yakyusa amaaso ge mangu okugaggya ku Mikolo, n’asisinkana n’agange n’amwenyaamu n’alyoka abuuza Meeya nti, “Lwaki ono mwannyoko antunuulira ati! Nedda, nedda, nze mba kumanya nga ndi wa kutunuulirwa ntyo sandizze!”
    Ko Meeya nti, “Mwanawattu ndaba wazze kumulaba , ka naye akulabe akwetegereze tebalikumuyisaako. Ye oba akwagala!”

    Mirembe: Oba nze simwagala?
    Meeya: Lekayo!
    Nga beesekera! Bwe waayitawo akabanga, Meeya n’afuluma; bwe yatuuka mu luggya, n’ayita Mikolo nti, “Jjangu bakuyita.”

    Awo nga tusigala ne Birungi tebikka Mirembe mu nnyumba siyinza n’akatono kunnyonnyola obuzibu bwe nalimu mu kaseera kano.

    Nze nali simanyidde kwogera na bawala , anti ng’abo be ndaba bulijjo be b’oku muliraano, ate nga ntera kubasanga ku mugga ate ng’okuggyako okubatikka ensuwa zaabwe era n’oluusi okufuma nabo enfumo awo mu luggya akawungeezi nga tuli bangi wamu, nga sidda nabo awo mu mboozi.

    Ensonga endala, Mirembe ono, guno gwe gwali omulundi gwange omuberebyerye okumusemberera ate nno gattako ye okuba omwana w’Omwami.

    Ate era mu kaseera kano namulowooza okuba omukuumiize newankubadde ng’oluvannyuma nategeera nga kwali kumutya kwe kwandowoozesa kutyo. Naye ebyo byonna awamu byambuza kye nnaanyumya naye.

    Bwe nabanga ng’enda okumugamba kino ne kinnema ate ne ndowooza kirala. Ebbanga ne liyitira ddala nga mmeggana n’ebirowoozo byange era ndowooza ye Mirembe enseko nga zimuttira muli kimugunyu. Naye ajja okunsala ku muguwa ye Mirembe yennyini.

    Nali ntunudde nti wansi, bwe nagenda okubbulula amaaso nga ndaba anjegese amaaso gombi.
    N’amwenyaamu n’ang’amba nti, “Bannange abajja okubakyalira osiriikirira basiriikirire? Ye obwedda oyagala kung’amba ki?”

    Era ye n’annyamba ng’aleetereza emboozi ng’abuuzabuuza ebintu bingi ku bulamu bwange nange ne munnyonnyola ebimu ku byo nga saagala kumumalirayo byonna naye ye ng’alabika amanyi bingi ku nze okusinga bwe nayagala.

    Ekyo kye kyantegeeza ng’omukwano gwabwe ne Meeya gwali gugenze wala nnyo ku nze.
    Nze bwe namubuuzanga ebimufaako nga yeddiramu kimu kyokka nti, “Ekyo ndikikubuulira olulala.” Nalwa ddaaki ne mmugamba nti, “Obanga ggwe totera kulabikalabika, kale ndikusanga wa okubimbuulira. Ate sikulwa nga siriddayo na kukusemberera!” Ko ye, “Oba nno olowooza obutaddayo kundaba lulala, ate olwo bye nnaakubuulira binaakugasa ki?”

    Sso nno oba oyagala, siraba kinaakuziyiza kundaba. Anzudde kati era y’alinzuula ndaba baalugera dda nti, “teguzibirwa kkubo.”

    ‘Omukwano teguzibirwa kkubo.’ Kubaganya ebirowoozo nga weesigama ku katabo Zinunula Omunaku

    Published on: Saturday, 27th November, 2010

    in reply to: Olabula Otya Munno Nga Avaamu Akasu? #27251
    KulabakoKulabako
    Participant

    Akasu kayinza okuba akatono naye waliwo essu ate bwelituuka kubano bankola mirimu gisitula mikono awo negujabaggira ntegeeza nga basolooza sente mu ma taxi eka nalyooka asitula enkwaawa nga zonna zigegedde nemufaako ensonyi singa wabaawo atunda ebbombo nga nokulyogerera alyogerera nti lino lyammwe mukuute enkwaawa oba nemizingoonyo gyebafumbisizza eyo eba deal yamaanyi
    Ate olaba ne majangwa batugamba nga nti ya geranga ekiseera nagamba ku mukaziiwe Nakirijja nti kati genda onabeko , naye ne Nakirijja ya ndimugambye nti tunaaba babiri nengoye netuzooza.

    in reply to: Uganda Eyagala Buganda Lwa Byanfuna Kyokka!! #27250
    KulabakoKulabako
    Participant

    Kino abatanakinnyonnyoka bebakyatikiza mbu Uganda buli omu yefaako yekka singa bonna bassa kimu nti ddala tetulina bufuzi okujjako okutunyunyunta nga ffe bannyini nsi tuviramu awo singa bonna begatta abeyita ba na uganda nebakolawo enjawulo .
    Abamawanga amalal disaster emmala kugwa mu kitundu kyaabwe nolyooka owulira nga bavaamu omwaasi naye mu buganda awakuganidde buli kabira yonna teri anyega kubanga ebintu ebyaabwe sibyebayonoona oba okubba oba abaantu abaabwe si bebatta .

    Abaganda olubagambako nti banaffe kati tukooye okutulugunyizibwa ewaffe, ngoolwo balyooka baasama nga baganda bwebasosola nti bagundi nga tetuwuliranga gwanga livaayo nerigamba nti naye ddala abaganda bayisa bulungi abantu ababalumba mu kitundu kyaabwe kuba mujjukire tetuyitanga muntu yenna.
    Ebyo byebawoza nti buli omu asobola okubeera wonna wayagala bya bwewussa bwogenda ewaabwe bagobayo na biso, bwewesisiggiriza bakulumba kiro .
    Amawanga gonna munsi gemulaba gakulakulanye gamala kutuula nabantu baabwe bebafananya obuwangwa ne ndowooza ,okukola ensi nokwekolera amateeka, era kyemuva mulaba nti waliwo nensi entono ddala okusinga ne Buganda nga befuga era bekulakulanya
    buli ggwanga lirina kusooka kwe sortinga then gakomewo ku meeza agagala okwegatta gagende mu maaso naye yo Buganda kulwaayo yeyongera kusanyizibwaawo mpozzi ako kekakodyo akekusifu kyebava na bamawanga amalala tebefirayo kukulakulanya waabwe nga nabo bajja mu Buganda kwefunira ku munyago naye bagamba nti kyotonnalya tokyesunga , kati Abaganda bazukuse.

    in reply to: Abaazirwanako bagaanye okuwagira Museveni #27249
    KulabakoKulabako
    Participant

    Abazirwanako okujjako nga babadde ba nrm nga balwanyakitala nga m7 simanyi lwaaki muluddewo okukitegeera nti mwaliwo nga madaala kugobawo obote m7 weyali talina wamuyita ku mujjako nasalawo okuyita mu Baganda beyasanga berwanako okwejjako kawenkene nga tebamanyi nti kawenkene omulala alinnyawo , ayinza okuba nga sse abbye era nga koze buli kikolobero kyonna naye anti eno Buganda Nkonge ya mu mulyango bwetosinantuka ngo yingira amafuluma togiwona Ate erina nekekusindikiriza otere osimbe amannyo kuttaka nga bukyaali.

    in reply to: Okulonda kwa 2010 #27248
    KulabakoKulabako
    Participant

    Katonda bwagamba nti kimala nebwosomba amagye agajjuza eggulu nensi tewabaawo njawulo, singa kati Hitler yakyafuga naye buli kintu kiriko ekkomo baddidde sente za NSSF nebazigyayo okukozesa mu kunoonya obululu katyi mwebe basalako sente ezo kyandibadde kirungi nebababulira nti zigenda kuyamba M7 kwekumira ku ntebe . kuba era byonna kyekimu kati ssente zammwe ziri mu bali mu buyinza waggulu akabondo kabakirimululu kekezibikidde sente ze gwanga kuba kati tebikyaali byangu okuzitwaala okuzikweeka ebweeru nolweekyo mujjukire enkondo za beyita abanenen mu gavumenti yeeri sente zammwe kye muva muwulira nti zino zabadde za muwala wa salim sale simanyi ye chocochocco oba nti oli yabadde azezizise ate nga mu State House yo batwalayo nga zi kabangali zijjudde cash .
    byeebyo ebikutiya bya mabaasa byebayita nabyo nga bajja okubasikiriza okuddamu okubalonda basigale nga bakyababba

    in reply to: Favourite Bible Verse #27247
    KulabakoKulabako
    Participant

    Nze njagala kunoonya gye basomera Oyite ojok eya tulisa obote nakaaba obwewussa obusa eyo gyenoonya bwenagizuula ngileeta

    in reply to: Tyson Praises Bogere, A young Muganda Boxer #27246
    KulabakoKulabako
    Participant

    Yoga yoga mukulu Bogere abaganda tulina ebintu bingi byetusobola okukola tubulamu mirembe era kyoova olaba nga batumanyi ekyo kyennyini kyebagala okusooka okutugyako , naye Mukama kyatakuwa ngo buyinza kubantu be nebwebuliba ddi bagenda kwenu una era bakole ebyo byebaali bateekwa okukola
    Abenda ya Nakalaama LET THE SKY BE THE LIMIT twajja kumalako

Viewing 15 posts - 31 through 45 (of 893 total)