Kulabako

Forum Replies Created

Viewing 15 posts - 856 through 870 (of 893 total)
  • Author
    Posts
  • in reply to: “You think you have family problems? #19389
    KulabakoKulabako
    Participant

    Temutussa ku bunkeenke mubivvunule kati ffe abalabi tusalewo ekirabo ekija mu anabivvunula obulungi Jona eggulu oyagala limu oba balikuweere mu kiganda

    in reply to: Eng’oma erina ebitundu nga eby’omuntu #19388
    KulabakoKulabako
    Participant

    Jona kuno okunonyereza wakumalamu banga ki era daala ki lyolina ku bumanyirivu bwolina , ku zonna ngoma ki gye babwatula , ate gyebasesebbula

    in reply to: Kiki Kyosinga Okwagala Ku Bantu B’ensi Mwoobera? #19387
    KulabakoKulabako
    Participant

    Jona ebintu byoyogerako nange mbisemba bwooba okyalina amaanyi okozesa akakisa ako okusinga okwewummuza nogenda mu office ku saawa nnya nonovaayo nogenda ku kyemisana ku mukaaga ate no nnyuka ku kkumi.

    Ekisooka oli bwafuuka boss abufuula bumbula ngatandika okutumya ebitwe, nga ava ku kigendererwa ngebadde office efuukamu ekirala , kati nomuntu gwaleese okukola emirimu nga naye atandika okukola gadibe ngalye kuba aba manyi nti boss takyanyeze kintu kyonna.

    Nekirala kyamagezi okussa mu mirimu abantu abagirinako obumanyirivu mukifo kyokujjuzaamu aboluganda abako n’abemikwaano .

    kuba kizibu okusanga abantu bano nga bonna bassa kimu nga bwolaba aba mawanga amalala , ewaffe tukyalinamu nti nange bandabe, osanga batono abagala okujjayo erinnya eddungi erya wamu.

    Kirungi okuyisa buli muntu obulungi kaabe nti ayera bweezi office nomulaga nti omulimu gwakola gusimibwa so si kwewanikira ku buli omu,bakulengerere eri bonna bagwe ku ttaka bakuvunamire kuba oli boss.

    Gyokoma okuyisa omuntu obulungi naye gyakoma okwagala okukola ekisingayo obulungi, wamu nokweewa obuvunanyizibwa okulaba nti buli kimu kiggwa mu saawa entuufu.

    Ate guno omutwe gunzijukizza ekiseera kyeyaliko omukulembeze Mwami Lule
    Omuntu bwomuyisa obulungi naye ,kimubanja okweyisa ngomuntu mulamu
    Ekyo kyekikyalemye abangi okutegeera

    in reply to: Do You Spy On Your Spouse? #19386
    KulabakoKulabako
    Participant

    Musajjalumbwa batuuse okukyaala ewuwo ne briefcase nga kuliko ne secret code,
    tulabe bwenekutuma akambe okujimenya oba okutandika okuteeba birthdays ogiyingize olabe oba eggula

    in reply to: Top Radio; Ku luno tewali alitoloka Mengo #19385
    KulabakoKulabako
    Participant

    Waliwo kyesitegeera lwaaki buli alina ekigugu kye kyeyetisse kumutima ekiruyi ayagala kukimalira ku Baganda na Bwakabaka bwaabwe? nga buli omu yaweebwa eddembe okulondawo mu buwanga bwe nga bwayagala okutambuza obulamu bwe. Bogeramu bibiri nti “ha! Abaganda bandyegenderezza singa bagala okusigaza obwakabaka bwaabwe” .

    Banage ka nkabateme Obwakabaka tubulina munnono zaffe butuli mu musaayi nga bwetulina ebika bwobiva wansi wotukira waggulu ye Kabaka waffe okujjako ngooli ayagala kutunaazaamu nnono zaffe nabulombo lombo tukooyesebwa, bwemulowooza nti tunazinira ku ntoli zammwe kubanga tutya nti mujja kutujjako Obwakabaka bwaffe.

    Kati mwogere kubirala ekyo mukite kuba tekirina gyekiraga

    in reply to: Emmeere Engaanda ewooma!!! #19367
    KulabakoKulabako
    Participant

    Nze TONTO Nja kufa kisiiri naye sijja ku kubuuza mmere eyo

    in reply to: Kabaka alagidde Nambooze azzibwe ku leediyo ya CBS #19366
    KulabakoKulabako
    Participant

    Okugoba Mukyaala Nambooze ku Radio mbu ate eyo Bujjajja buba butasiima nakwelowozaako singa bakola okunonyereza bajja kukizuula nti program Mukyaala Nambooze zayogerelako kwekujja okusinga okubaako abantu abawuliriza kuba ayogera kweebyo ebiruma abantu ,
    Kati aba ayagala okukola ssente awo wafunira ekifo ekirara natwaala zi Radio ze naziwa nelinnya eddala kuba kati Omuganda afukidde ddala wakkozesa kagenderere. osanga singa yali eyitibwa ya bujjajja bwa balirwaana .
    Teri Muganda yandimaze manda ge wadde Omukulu Nambooze teyandiyise mu kubonanbona kwayiseemu.
    Wano wosalirawo oba oli naffe oba oli na bali nokola emmali yo noolwo neluggwa.

    in reply to: Eby’okugoba Nambooze Ku CBS Bisattiza Mengo #19365
    KulabakoKulabako
    Participant

    Banange teli yali asanyusiza Baganda nabantu babaliisa kakanja olondako omu.
    Ate bagamba nti eva kumugendo ye fuuka kaasa.
    Oyinza okwagala okusanyusa gwe gwolowooza nti yakusingira okubezaawo emirimu gyo, naye mu buli ngeri tolina bwolimba bannyini kifo nti ku radio yammwe omuntu wammwe twamuwumuzizza olwensonga emu oba endala, nga omuntu yoomu ye yawaayo obulamu bwe nabonyabonyezebwa, nga obulumi bwonna abutadde ku mpagi alwanirira nsi ye ate gwe noova eri nomugamba nti agira avaawo kuba akuttira emirimu gyo .

    in reply to: HEALTHY TIP #19347
    KulabakoKulabako
    Participant

    bya EVERISTI MUBUUKE

    WALIWO obulwadde obwa bulijjo, gamba ng’omutwe, ssennyiga, olusujjasujja oba obunafu mu mubiri.

    Tekitegeeza nti bwe bukukwata mira amakerenda. Waliwo emmere gy’osobola okukozesa okuziyinza endwadde ng’eno wammanga:

    Omubisi gw’enjuki:
    Gulimu ebiriisa bingi era gukola nnyo ku ssennyiga n’amabwa mu kamwa oba mu bulago.

    Gugumya omubiri ne guggwaamu obukoowu n’obunafu. Ekirala guziyiza okweralikirira n’okutya. Bw’ogusiiga ku kiwundu oba ku muliro gutta obuwuka era kikala mangu.

    Enniimu:
    Erimu ekiriisa ekya Vitamin C ekirwanyisa ssennyiga n’amabwa mu mubiri. Singa omuntu yeesala ku mubiri oba alumibwa ekiwuka oba okwekoona n’azimba bwayisaawo amazzi g’enniimu aterera mangu.

    Kaamulali
    :
    Aziyiza ebisujjasujja n’e ssennyiga kuba mulimu Vitamini C.

    Aziyiza ebika bya kookolo ebimu n’endwadde z’omutima.

    Katunguluccumu:
    Bw’omusekula n’onywera mu mazzi agabuguma asumulula olubuto n’okulutereeza nga lubadde lugulumba.

    Amenyaamenya amasavu mu mubiri. Bw’oba oyisaayisa omukka agumala mu lubuto. Atereeza emmeeme esiikuuse ng’oyo ayagala okusesema. Amalamu n’entengereze.

    Ekigaji:
    Amazzi gaakyo bw’ogayisa ku mubiri oguzimbye gutoowolokoka. Kirimu eddagala erinaaza, eritta obuwuka era erikkakkanya .Kirongoosa olususu ate kiziyiza n’okuwonya omusujja.

    Ennyaanya:
    Mulimu ebiriisa omubiri gwe byetaaga nga Potassium, Vitamin A ne C. Mulimu n’eddagala erimala obutalavvu mu mubiri naddala mu nnyingo ssaako okuziyiza amagumba okwemeketa.

    Obutungulu obubisi:
    Omuntu aziyidde bw’anywa amazzi g’obutungulu ennyindo zita n’assa bulungi. Butereeza olubuto olugulumba.

    Yogati:
    Mulungi nnyo ng’omazze okulya emmere kuba ayamba okugitambuza n’okugimenyaamenya amangu. Atta n’okuziyiza obuwuka mu lubuto.

    Mubuuke mukugu mu kujjanjaba endwadde ng’akozesa emmere.

    Published on: Thursday, 14th February, 2008

    in reply to: Banaayamba abavubuka okufuna emirimu #19346
    KulabakoKulabako
    Participant

    Bawaddeyo ettaka

    Bya Richard Kayiira

    BAZZUKULU ba Kawalya Kaggwa bawaddeyo ettaka e Lungujja likolerweko emirimu gy’ekijjukizo ky’abantu abakoleredde ennyo Buganda okuli Ssekabaka Muteesa I. Sir Apollo Kaggwa ne jjajjaabwe Kawalya Kaggwa.

    Abazzukulu ba Kawalya Kaggwa eyasaba abazungu okuleeta amasannyalaze aba-avudde mu Amerika baakule-mbeddwa Mary Nandawula ne Nakimera Kawalya baawad-deyo ekyapa ky’ettaka ly’e Kikandwa – Lungujja eriwerako decimolo 50 ne bakikwasa Edmond Bunkeddeko Nkalubo omu ku baddukanya Muteesa I/Sir Apollo Kaggwa/Kawalya Kaggwa Foundation.

    Omuzungu John Hunuwich, nnannyini Backpackers Hostel e Lungujja yawaddeyo ofiisi ku kizimbe kye, ab’ekibiina kino mwe bagenda okusooka okukolera.

    Published on: Wednesday, 13th August, 2008

    in reply to: Endabirwaamu ezivuma #19341
    KulabakoKulabako
    Participant

    Endabirwaamu bweziti zijjudde yonna gyebatunda engatto, bwoyingira mu duuka nga olondayo akagatto akasingayo obulungi, anti nabengatto balinga abakola kampeyini okunanuula ezaaabo abalina ebigere ebiwanvu kale naawe notoyagala kugenda mu ziri enanuufu.
    Nokwaata gwe kolowooza nti kanakunyumira bwokasulamu ,newekwaata kukatebe nogenda ngo tambula mpola otuuke awali endabirwaamu .Ekulengerera eri n’ekutema akakule n’ekutegeeza nga bwogenda okukambala akagatto ko akalungi okajje emirannamiro otuuke emitweetwe obugere bwekubire enduulu nti otutta okututuga.

    Bwoguguba engatto nogigula kwekugenda nge kuwerekeza ebigambo nti obwo obugere obutakula ettaka webunatukira gyolaga, nga butonnya musaayi
    Kwekumaliriza nge kulangira nti gwe tolaba kubuli mukolo kuliko omuntu afanana nga gwe olutuuka ku mukolo nge ngatto aziwakulamu nga zimunyweddemu omusaayi.

    in reply to: LINNYA KI LYE TUBA TUTUUMA RADIO YAFFE ENGANDA #19337
    KulabakoKulabako
    Participant

    Baganda radio nange nkiwagidde netugyeyitira nti redio ya Baganda

    in reply to: Emmeere Engaanda ewooma!!! #19336
    KulabakoKulabako
    Participant

    Lwaaki Kalibattanya oleeta ekibonerezo ku kintu ekiwooma gwetomanyi nti ekiwomereze ekingi kizaala enkeeku ? Nange banange sirowooza nti sobola okulya lumonde oba muwogo ne muddingana ne bwooba otaddeko enva zitya naye lyo etooke nsobola okugezaako okujjako obuzibu bujja kunva zensobola okulya ebbanga elyo lyonna mpozzi luwombo olwakanyama akookyeeko enva endala simanyi oba nsobola okuziddamu.

    in reply to: Soul Legend Isaac Lee Hayes Died #19335
    KulabakoKulabako
    Participant

    Kitalo nnyo mwattu okufiirwa abantu baffe bonna abomugaso Mukama amuwummuze mirembe

    in reply to: Otulo Twaali Tukumazeko Entegeka? #19334
    KulabakoKulabako
    Participant

    Bwaali budde bwa butiti nga nkyasoma, naye nga nina okukola ekiro , eggulo limu twafuna emirimu mingi ekiro bwentyo nenzira eka nga nninga zombi mu kkubo era nga bwombuuza byendabye mukkubo nga nkomawo, nga nnyinza nange okubuuza nti kkubo ki? kuba nnali nkooye nga kintu kimu kyokka kyenjoya buliri era olwabutukamu mubimpimpi tuyinza okukiyita okugenda mu kkoma kuba singa satega saawa kugenda kusoma olweggulo sandizukuse .
    Kati tebereza omuntu omukube omubiri, ate nga n’empewo nayo entaddeko agattimba ku mbwa kwe kutukira mu kubiina, kwoolwo omusomesa lweyasalawo okusomeseza ku slides nazikiza ettala nga ndi mukooti yange, nga mbuguma bulungi ate navaawo natugamba tuwandiike ne byatugamba konze mukazikiza akalungi bwekati lwaaki ayonoona akadakiika akawoomu kano.
    Simanyi oba yayagala kunnemesa naye nakyuusa nedoboozi oba nze nnali omukoowu ennyo nga mpulira linsisitira . Naye olwobutayagala kutenguwa musomesa nakwaata ekkalamu naye nga nange kennyini sisobola kusoma byempandiise , nali nkyebaza eya yiiya lesson eyo, eyo mukazikiza nebasaako ettala nensisimuka era ne nekazakaza anti omukalu tajja busera , naye oluvannyuma nannyonnyola omusomesa wange embeera zensomeramu , aleme kulowooza nti njanga kujja kusasula ssomero na hotel.

Viewing 15 posts - 856 through 870 (of 893 total)