Kulabako

Forum Replies Created

Viewing 8 posts - 886 through 893 (of 893 total)
 • Author
  Posts
 • in reply to: ABAGANDA MUSSE KIMU #19228
  KulabakoKulabako
  Participant

  a_section.jpg

  Agali awamu ge galuma ennyama

  in reply to: ABAGANDA MUSSE KIMU #19227
  KulabakoKulabako
  Participant

  lubega1.jpg

  abazira baffe nga baterebbwa

  Omuntu gwotolumbye wuwe lwaaki aba ejja ewuwo okukutulugunya ?
  bi ojja kunjagala lwa kabi ne mu nsolo tebikola era ne mu jungle tebiriiyo

  in reply to: ABAGANDA MUSSE KIMU #19226
  KulabakoKulabako
  Participant

  buganda2.jpg
  buno obumu bwetwetaga okuwangula omulabe waffe yenna

  in reply to: BUGANDA Esaanye Yekutuleko #19225
  KulabakoKulabako
  Participant

  ABAGANDA BASUSSE OKUTULUGUNYIZIBWA amakomera.jpg

  GANO GEMAKOMERA
  Nambooze alojja ennaku 7 mu kkomera

  Betty Nambooze mu ddwaaliro e Lubaga

  BETTY Nambooze attottodde akawonvu n’akagga ennaku omusanvu z’amaze mu kkomera ne baminisita Medard Ssegona ne Charles Peter Mayiga bwati.

  Bansika mu mmotoka yange ne bankansuka mu yaabwe omwali abasajja basatu n’omukazi. Ku sipiidi eya kaasa mmeeme banneetolooza mu Ntinda ne tusibira ku poliisi ya Jinja Road gye nasula ku Lwokutaano.

  Ku Lwomukaaga ku ssaawa 12:00 akawungeezi abasajja n’omukazi abankwata bantegeza nti abakulu basazeewo nnyimbulwe. Bakubira looya wange Erias Lukwago essimu ansanga e Kibuli ku kitebe ky’abambega. Kyokka bwe twasimbula ku Jinja Road, twakwata ly’e Nateete.

  Bwe tutuuka ku Caltex y’e Wakaliga baagula amafuta mu bidomola ne nzigyayo omutwe okuwoggana nga njagala abantu bannyambe omusajja eyeeyita Kagame (ye Mugisha) n’annyoola ensingo nneme kuleekaana.
  Twayolekera Mityana Road ne tutuuka e Mubende ku poliisi ne bannyingiza akaduukulu mwe nnamala akaseera katono ne bantwala e Kyenjojo ku poliisi gye nasula.

  Ku Mmande bandagira okubatwala eri gwe nkolagana naye era gwe nagulidde emmundu okuyeekera nzigyeko gavumenti naye mu kitundu kino sirina gwe mmanyi.

  Banvuga okutuuka mu kkuumiro ly’ebisolo ly’e Semiliki e Bundibugyo ne bansiibya eno olunaku lwonna ne bantegeeza nti, Pulezidenti y’abalagidde nsiibe nga ndaba ku bisolo.

  Bwe tuva wano bantwala e Ntoroko ku nnyanja Muttanzige ne baddamu okumbuza ku by’obuyekera n’emmundu, wa Kabaka gy’agya ensimbi ne lwaki nvuma Pulezidenti. Ku bya Kabaka, nabagamba nti Abaganda n’emikwano gyabwe be bamuyamba.

  Ebyobuyeekera sibimanyi ate okuvuma Pulezidenti sikikolangako ate sigenda kukikola. Baayomba mmotoka ne bagisembeza ku nnyanja ne bandeka omwo nti baali bagenda kugisindika nfiire mu nnyanja. Nasiiba wano okutuusa olw’eggulo olwo ne bantwala e Bundibugyo.

  Nasula mu kasenge ka ffuuti bbiri nga sisobola kwegolola. Enkeera baaleeta abakazi munaana ne bang’amba nti be nkolagana nabo okuyeekera era nga baagala ng’ende n’abo ku paleedi ne ng’aana kwe kunteeka ku mudumu gw’emmundu ne mbagamba bankube amasasi lugwe. DPC bwe yalaba nga biri biti, kwe kubakomako nti ddembe lyange okugaana okugenda ku paleedi nga looya wange taliiwo.

  Luno lwali lunaku lwakusatu kyokka nga sinaabangako. Eno ab’akakiiko k’eddembe ly’obuntu gye basanga. Bwe baasooka okubuuza oba waliwo omusibe eyaggyiddwa e Kampala, baasooka kwegaana kwe kuwoggana nti, ‘Nze Nambooze wendi, munnyambe.’
  Nasangibwa ndi mulwadde nga nsesema ng’enjala ennuma okukamala.

  Natuma omuserikale amagi ana era buli lunaku mbadde ndyako limu n’amazzi.
  Nagana okulya emmere gye bampanga era ne ngaana okugiwa abasibe abalala kubanga nali sigyekakasa.

  Bantwaala e Kagadi mu Kibaale ate n’eyo saabugumyayo mbooge ne bankomyawo e Kyenjojo kwe kusanga Ssegona ne tunyumyamu. Kabaka yali atusindikidde ababaka abakulemberwa Bagunya Nkalubo.

  Yangulira engoye kyokka abaserikale ne bamugaana okuzimpa okuggyako amazzi. Mukyala Mayiga, naye yangulira empale n’akafulaano (bye yabaddemu) kyokka nabifunira Fort Portal omuserikale ow’ekisa bwe yannyamba n’abikukusa.
  Ku Lwokuna, lwe batuyimbula bannange nabategeeza nti bagenda kuddamu okutukwata era twamala ebweru eddakiika ssatu ne batuyoola. Baatuvuga batuzza Kasese ate ne batuzza e Fortportal gye twasula.

  Wadde nayise mu mbeera eno tewali muserikale n’omu yankubye naye natulugunyiziddwa mu bwongo n’ebirala.
  Ku Lwokuna ku ssaawa nga nnya ekiro omusajja yajja ku kadukuulu nakasamba nga bw’awoganira waggulu nti ‘kwata engugu zo essaawa ey’okusimbula etuuse. Zaali ssaawa nga 10:00 ne tulinnya mmotoka endala bbiri ne zigoberera.

  Bwe twatuuse e Mityana, twasanze abaabadde bateeze mu kkubo amasasi ne gavuga omu ne bamutta. Omulambo baagutadde ku kabangali n’egutwala e Mityana mu ddwaaliro ffe ne twolekera Kampala. Nze ne Mayiga twatuukidde ku Jinja Road, ate Ssegona ku CPS.

  Published on: Saturday, 26th July, 2008

  Gaagano amakomera omubadde ab’e Mengo

  Ekkomera ly’abakazi omubadde musibiddwa Betty Nambooze. Ku kkono, lye ly’abasajja omubadde musibiddwa Medard Sseggona.

  ABAKUNGU ba Mmengo, Medard Ssegona ne Betty Nambooze oluvannyuma lw’okukwatibwa baatambuziddwa mu makomera ag’enjawulo okumala ennaku 7. Bukedde ku Ssande yasobodde okutuukako mu kkomera Bundibugyo gye babadde bakuumibwa:

  Abasibe abasajja n’abakazi basibibwa mu budduukulu bwa njawulo.
  Ekkomera lya bakyala omwabadde Nambooze kayumba ‘ka maama yingiya pole’ ate ery’abasajja kizimbe ekyesudde ery’abakyala nga wakati we wali obuyumba bw’abaserikale ababakuuma.
  Abaserikale bwe batabeera kumpi awo, okuggulirawo omusibe aba ayagala okufulumako okweteewuluza, aba alina kwekuniza nga ffumbe.

  Mu kaduukulu k’aba-kyala, atalina kigoye kya kwebikka agwa ku sseminti. Abaserikale bwe batabaawo kufulumya basibe kugenda mu kaabuyonjo, bakozesa bidoli ebissibwa munda.
  Mu budde bw’omusana akadduukulu kano akaakolebwa mu ma bbaati kookya nga ttanulu ate obw’ekiro empewo enkunta abasibe ebaggweerako era kaba kannyogogga.

  Omusibe okunaabako asooka kusaba ne bamuwerekera ebweru. Ekizimbe omusibwa abasajja, kya kiteeteeyi omusibe aba tasobola kulaba biri bweru n’akatono olw’okuba obudirisa obuliko butono era nga buli waggulu nnyo.

  Ekidoli abasibe kye bakozesa kiri ku mulyango. Muno mwe bafuluma bwe baba tebasobodde kufulumizibwako wabweru okweteewuluzaako. Bwe baba baakufulumizibwa okweyamba batwalibwa mu kirindi omulundi gumu.

  Ekizimbe kino kisobola kubaamu abasibe 30 era bonna bagwa ku sementi.
  Abasinga tebannaba. Ate n’empewo munda si nnungi.

  Published on: Saturday, 26th July, 2008

  in reply to: Embeera Kampala gy’alimu, #19201
  KulabakoKulabako
  Participant

  Kati kampala oba Buganda yafuuka ani anasinga okwonoona gwaate oli bwasalawo okugenda nagulirira abe bitongole ebikwaata ku ku zimba nasaawo goloofa mu mwaala, olwo gwo omwaala gulagewa?
  Batuyigiriza mu buto nti amazzi gakulukutira gye gatakulukutiranga nedda amazzi gakulukutira gyegaali gakulukutidde kati, theory yakyuuka omwaala ogusanga mu kibuga wakati, by the way nooyo aba azimbye mu ntobazzi ayagala okumujjawo bamale kuliyirira oba seekyo abawawabire mu kooti, awo wennyini ngosigadde kuwalampa kasozi ngo kawalampa kyennyuma nnyuma
  Edda walingawo ebifo mwotoleeta kifuba era nga mayumba mangi gesanga tegayingidwaamu oli nebamugamba nti toteekya kuzimbawo nawalaza empaka nga mother nature ya mutemyaako in a hush kind of way

  in reply to: Six Dating Behaviors That Scare Single Men Away #19200
  KulabakoKulabako
  Participant

  Mumbejja nange njakuwagira ennaku zino kiringa mulembe gwafuuka gwa Gugudde buli omu oliko gweyetisse oli bwabulwa omugugu katugambe ogulimu omukyaala oba abaana some where , aba nagwa byanfuna bwaaba amabanja teganatera musengula ku kyaalo nga bamubanja batandise okugenda ewa boss we amale okusala ku musala gwe sente zaabwe , kwe kumusanga nga liko endibota ya emotions bwaaba talulunkanira kyatasobola kufuna , abeera buli kiseera yekikkiranya, oba nge bbuba telimuganya kuba n’amuntu , oba nga jjudde emyewaano nze ndikino nakiri nolweekyo ebyennaku zino omuntu okudduka nakagugu nakakuba ewamunne gweyakalaba mu week emu omanya nti aba awewula kagugu ka bya nsula sosi mukwaano gweguba gumwetimbye

  Naye Jona bwaaba munno azze kumulyango nakagugu ke konna the least you can do nomugamba akagugu nakaleka ku mulyango nomu yingiza nomusosotola , manya nemusosotola embeera then nomusibula bulungi no mwetikkirako nakagugu ngomuwerekera ku next bus stop omugamba nti awo wazze taxi tezitukayo,natafuna idea ya kukomawo

  in reply to: Salmagundi? #19192
  KulabakoKulabako
  Participant

  Salmagundi kiwulikika nge mmere ensulemu nti obudde buyise sulamu awo salmagundi tulye tutere tweyune obudde

  in reply to: Mwebale, mwebale, mwebale, mwebale nnyo #19191
  KulabakoKulabako
  Participant

  Nsanyuse nange okubegattako wano, naye temumpa akaliba nja kutulira ku kakeeka
  ne mpaawo yo mubisi tejja kunkola bubi nnyo , Gusinze ,gusinze bba ffe
  Awangaale , ayi Ssabasajja anyiiga anyiige.

Viewing 8 posts - 886 through 893 (of 893 total)