Mulongo

Forum Replies Created

Viewing 15 posts - 31 through 45 (of 937 total)
  • Author
    Posts
  • in reply to: Abaganda Abatawaanya Ettaka Lya Buganda… #27788
    MulongoMulongo
    Participant

    Ettaka ly’amasiro ga Kanyange libatabuddeFeb 13, 2012

    [attachment]C:fakepathuntitled 21.bmp[/attachment]

    Amasiro ga Kanyange

    Kampala
    Bya Dickson Kulumba ne Kevin Nambawubye

    EKITONGOLE kya Buganda Land Board kiri mu kunoonyereza ku butuufu bw’abantu abeesenzezza ku mayiro y’amasiro ga Namasole Kanyange e Kagoma mu disitulikiti y’e Wakiso ng’era ensonga zino zaatwaliddwa dda mu kkooti.

    Kino kiddiridde abantu abatannategeerekeka okutunda n’okwesenza ku ttaka ly’amasiro gano.

    Akulira ekitonggole ky’ebyettaka e Mmengo ekya Buganda Land Board (BLB), Kyewalabye Male yagambye nti ensonga zino bazirondoola n’obwegendereza oluvannyuma lw’abantu bannakigwanyizi okwenyigira mu kutunda ettaka lino abamu ne balisibako n’envumbo.

    “ Tugezezzaako okutuukirira abantu bano tubannyonnyole ebikwata ku ttaka lino nti baliriko mu bukyamu ne beerema. Noolwekyo tuzikwasizza bannamateeka baffe bazongereyo mu kkooti,” Male bwe yategeezeezza.

    Katikkiro wa Nnamasole Kanyange, Samuel Kiwombojjo yategeezezza nti olw’obutabanguko obwagwa mu Buganda mu gy’e 1960, bw’aleetera ettaka lino okusigala mu Basigire era bano be baamanyanga engeri gye balirabiriramu, abalala kyokka ne basalanga olukujjukujju ne batunda ku ttaka lino.

    Yagasseeko nti mu kiseera kino ab’ekitongole kya Buganda Land Board beefuze ettaka lino nga be bagaba liizi wamu n’okufuna emisolo egiva mu bintu ebiri ku masiro gano.

    [attachment]C:fakepathuntitled 23.bmp[/attachment]

    Amasiro ga Kanyanga

    “Kino kituleetedde okusooba mu nkola y’emirimu gyaffe kubanga tewali nsimbi yonna abakulu bano gye batuddizza eno wansi nga ffe abalabirira ekifo kino,” Kiwombojjo bwe yagambye.

    Enkaayana ku ttaka

    Ekitundu ky’ettaka lino okwazimbibwa kalina nakwo kuliko kalumanywera. Ku nsonga eno, Kiwombojjo agamba nti ensonga za poloti eno mpanvu era yategeezebwa aba Buganda Land Board ne Namasole nti baziveeko.

    Wabula Kalemba omuwandiisi w’ekyama owa Namasole aliko kati Mary Nakaggwe, yategeezezza nti omugenzi Namasole Nambogo II ye yawa ekitundu ky’ettaka lino eri Fred Kiwanuka-eyali yeeyama okumukimiranga amazzi bwatyo n’akkiriza abeere awo. Ebbanga bwe lyayitawo, Kiwanuka yafuna obuzibu mu byensimbi n’aguza Steven Kalyango oluvannyuma naye eyaguza omuserikale Moses Abbasa, aliriko kati.

    “ Abbasa yatoola ekkanzu n’agitwalira Namasole aliwo kati era n’agenda n’e Mmengo ne bamukkiriza. Mu byobuwangwa, wano Namasole abeera avunaanyizibwa butereevu ku ttaka, alina obuyinza okukolako ekintu kyonna. Era nze mu kulaba okwange lino lye tusigazzaawo singa lirabirirwa bulungi litumala. Gwe bw’ogendako ku mbuga ya Natoolo e Lukuli-Makindye, kumpi tekyaliwo naye ffe tukyalinawo awalabika! ” Kalema bwe yannyonnyodde.

    [attachment]C:fakepathuntitled 22.bmp[/attachment]

    Kalina eri ku ttaka

    Mu kwongerako ne Bukedde, Namasole Mary Nakaggwe yategeezezza nti talina muntu gwe yali aguzizza kitundu ku ttaka ly’amasiro gano. Yayongedde n’ategeeza nti okujjako empapula ze yasanga nga ziraga nga ssengawe Nambogo II bwe yagaba.

    “Ebintu bino tebirina kye binkwatako kubanga byonna nasanga byaggwa dda. Era nsaba buli omu akimanye nti wakati wange ne Namboggo II ate waliwo mukulu wange Christine Nankya ono ye yasala ku ttaka lino n’azimbirako abaana baffe. Naye okuggyako ebyo, tewali walala we mmanyi,”bwe yategeezezza.

    Nakaggwe yagambye nti ensonga z’ettaka lino ziri mu mikono gya Buganda Land Board kubanga be basolooza buli kimu.

    Ensonga endala egambibwa nti evuddeko ettaka lino okutundwa kwe kuba nti abalabirira amasiro gano tebalina kkubo ddala lyonna mwe bayingiriza nsimbi za kwebezaaawo.

    Kiwombojjo yennyamidde okukitegeera nti amaanyi agasinga Mmengo egenda kugateeka ku masiro g’e Wamala so nga na ga nnyina Ssekabaka Ssuuna gandibadde gafiibwako.

    in reply to: Abaganda Abatawaanya Ettaka Lya Buganda… #27787
    MulongoMulongo
    Participant

    Ettaka ly’amasiro ga Kanyange libatabuddeFeb 13, 2012

    [attachment]C:fakepathuntitled 21.bmp[/attachment]

    Amasiro ga Kanyange

    Kampala
    Bya Dickson Kulumba ne Kevin Nambawubye

    EKITONGOLE kya Buganda Land Board kiri mu kunoonyereza ku butuufu bw’abantu abeesenzezza ku mayiro y’amasiro ga Namasole Kanyange e Kagoma mu disitulikiti y’e Wakiso ng’era ensonga zino zaatwaliddwa dda mu kkooti.

    Kino kiddiridde abantu abatannategeerekeka okutunda n’okwesenza ku ttaka ly’amasiro gano.

    Akulira ekitonggole ky’ebyettaka e Mmengo ekya Buganda Land Board (BLB), Kyewalabye Male yagambye nti ensonga zino bazirondoola n’obwegendereza oluvannyuma lw’abantu bannakigwanyizi okwenyigira mu kutunda ettaka lino abamu ne balisibako n’envumbo.

    “ Tugezezzaako okutuukirira abantu bano tubannyonnyole ebikwata ku ttaka lino nti baliriko mu bukyamu ne beerema. Noolwekyo tuzikwasizza bannamateeka baffe bazongereyo mu kkooti,” Male bwe yategeezeezza.

    Katikkiro wa Nnamasole Kanyange, Samuel Kiwombojjo yategeezezza nti olw’obutabanguko obwagwa mu Buganda mu gy’e 1960, bw’aleetera ettaka lino okusigala mu Basigire era bano be baamanyanga engeri gye balirabiriramu, abalala kyokka ne basalanga olukujjukujju ne batunda ku ttaka lino.

    Yagasseeko nti mu kiseera kino ab’ekitongole kya Buganda Land Board beefuze ettaka lino nga be bagaba liizi wamu n’okufuna emisolo egiva mu bintu ebiri ku masiro gano.

    [attachment]C:fakepathuntitled 23.bmp[/attachment]

    Amasiro ga Kanyanga

    “Kino kituleetedde okusooba mu nkola y’emirimu gyaffe kubanga tewali nsimbi yonna abakulu bano gye batuddizza eno wansi nga ffe abalabirira ekifo kino,” Kiwombojjo bwe yagambye.

    Enkaayana ku ttaka

    Ekitundu ky’ettaka lino okwazimbibwa kalina nakwo kuliko kalumanywera. Ku nsonga eno, Kiwombojjo agamba nti ensonga za poloti eno mpanvu era yategeezebwa aba Buganda Land Board ne Namasole nti baziveeko.

    Wabula Kalemba omuwandiisi w’ekyama owa Namasole aliko kati Mary Nakaggwe, yategeezezza nti omugenzi Namasole Nambogo II ye yawa ekitundu ky’ettaka lino eri Fred Kiwanuka-eyali yeeyama okumukimiranga amazzi bwatyo n’akkiriza abeere awo. Ebbanga bwe lyayitawo, Kiwanuka yafuna obuzibu mu byensimbi n’aguza Steven Kalyango oluvannyuma naye eyaguza omuserikale Moses Abbasa, aliriko kati.

    “ Abbasa yatoola ekkanzu n’agitwalira Namasole aliwo kati era n’agenda n’e Mmengo ne bamukkiriza. Mu byobuwangwa, wano Namasole abeera avunaanyizibwa butereevu ku ttaka, alina obuyinza okukolako ekintu kyonna. Era nze mu kulaba okwange lino lye tusigazzaawo singa lirabirirwa bulungi litumala. Gwe bw’ogendako ku mbuga ya Natoolo e Lukuli-Makindye, kumpi tekyaliwo naye ffe tukyalinawo awalabika! ” Kalema bwe yannyonnyodde.

    [attachment:3]C:fakepathuntitled 22.bmp[/attachment]

    Kalina eri ku ttaka

    Mu kwongerako ne Bukedde, Namasole Mary Nakaggwe yategeezezza nti talina muntu gwe yali aguzizza kitundu ku ttaka ly’amasiro gano. Yayongedde n’ategeeza nti okujjako empapula ze yasanga nga ziraga nga ssengawe Nambogo II bwe yagaba.

    “Ebintu bino tebirina kye binkwatako kubanga byonna nasanga byaggwa dda. Era nsaba buli omu akimanye nti wakati wange ne Namboggo II ate waliwo mukulu wange Christine Nankya ono ye yasala ku ttaka lino n’azimbirako abaana baffe. Naye okuggyako ebyo, tewali walala we mmanyi,”bwe yategeezezza.

    Nakaggwe yagambye nti ensonga z’ettaka lino ziri mu mikono gya Buganda Land Board kubanga be basolooza buli kimu.

    Ensonga endala egambibwa nti evuddeko ettaka lino okutundwa kwe kuba nti abalabirira amasiro gano tebalina kkubo ddala lyonna mwe bayingiriza nsimbi za kwebezaaawo.

    Kiwombojjo yennyamidde okukitegeera nti amaanyi agasinga Mmengo egenda kugateeka ku masiro g’e Wamala so nga na ga nnyina Ssekabaka Ssuuna gandibadde gafiibwako.

    in reply to: Abaganda Abatawaanya Ettaka Lya Buganda… #27786
    MulongoMulongo
    Participant

    Abatuuze b’e Buikwe bookezza ennyumba y’omwami wa Kabaka
    Feb 24, 2012 |

    Ennyumba eyayokeddwa. Mu katono ye Mumbejja Namirembe.

    Kampala
    Bya Tonny Nsoona

    POLIISI eyigga abaayokezza ennyumba z’abaami ba Kabaka.

    Entabwe yavudde ku nkaayana z’ettaka ly’Obwakabaka eriri mu Ggombolola y’e Wakisi mu Disitulikiti y’e Buikwe, ekitongole ky’ebibira mu ggwanga (NFA) kye ligamba nti lyaakyo kyokka nga n’Obwakabaka bwa Buganda bulina ebiwandiiko byalyo.

    Bino byabaddewo ku nkomerero ya wiiki ewedde, ku byalo Naluvule, Kyambogo ne Kalagala ebisangibwa mu Ggombolola y’e Wakisi mu Buikwe, abantu abatannategeereka bwe baatekedde amaka g’Omwami wa Kabaka ow’omuluka John Wasswa Ssekabembe.

    Ate ennyumba y’omwami wa Kabaka Omutongole, Muhammad Kibirige yakoonedwa n’egwa ku ttaka ebintu abatuuze ne babigabana nga kat aliira ku nsiko olw’abantu okumutiisa okumutta.

    Kibirige yannyonnyodde nti ettaka liriko olubiri lwa Ssekabaka Edward Walugembe Muteesa II olw’e Mirembe n’Amasiro ga Namirembe.

    Omumbejja Namirembe Bwanga bwa Mirembe 6, eyasikira ekifo kino, gwe nnasisinkanye n’andaga ebiwandiiko omuli n’ebya Kkooti ebiraga nga ddala ettaka lya Bwakabaka. Omumbejja Namirembe agamba nti aba NFA babadde beekobaana n’abatuuze ne batema emiti mu kibira ky’Obwakabaka.

    in reply to: Museveni Bamututte Buyindi Nga Biwala Ttaka #27736
    MulongoMulongo
    Participant

    Kati abasinga bagamba mazima omukulu ali mu ddwaliro e India. Wabula amawulire agavaayo ga njawulo. abamu bagamba prostate cancer, abalala nti stroke, abalala nti kidney transplant, abalala nti bamuwadde obutwa.

    Ensi tekungulwa.

    in reply to: Green Police Burn Ugandan Homes, Watch Video: #27732
    MulongoMulongo
    Participant

    Abalina amatu bawulire. Abalala bebabbbako ensi zabwe, tebaali basiru. Abaganda mwegatte, muve ku bya Uganda. Ffe twe sortinge. Abalala bwebanababbako etaka lyaabwe nga tusobodde, tulibasenza, nga tusobodde. Tewali buzira mu kufuuka ba looser kubanga twagala okubeera politically correct, ebintu ebitali na byaffe bya kiganda.

    in reply to: Who And What Exactly Killed Sir Edward Mutesa 11? #27677
    MulongoMulongo
    Participant

    Eyo gyebayita slave mentality ennekusifu: Bulijjo Abaganda bakyoogera kaati nti bakimanyi Ssekabaka Muteesa II teyafa myenge, batta mutte. Ba nna Uganda balinda bazungu bababulire.Oboite, Amin Museveni bonna bamanyi bulungi engeri gyebattamu Muteesa II. Uganda kyeyava yatutama, nsi ntemu nnyo ate nzibi nga ne Kibaki we Kenya bweyajulira.

    in reply to: UGANDA RISING #27559
    MulongoMulongo
    Participant

    [attachment=2475]183488_109725932441361_100002118650928_94530_4406608_n.jpg[/attachment]

    [attachment=2474]200303_112457155501572_100002118650928_113659_1531680_n.jpg[/attachment]

    Ebyo byaali mu Uganda, okumanya ensi eyo ejjudde abantu abalina ekko ku mitima nemyooyo emikyaafu!

    in reply to: Abikuddiramu Tabinyumisa (Kazannyo) #27546
    MulongoMulongo
    Participant

    Omudaaki yasimba emikono mu nyanja Musisi

    in reply to: Comment of The Week #27434
    MulongoMulongo
    Participant

    Akalowoozo k’omukunngaanya
    Musasi Waffe

    Abaganda tuli mu kulya naye Katonga ajjula.

    Buli omu asitukiremu tulwanyise obuseegu, era ndowooza nti essaawa y’eno abantu ba Ssaabasajja ffenna tusitukiremu tulwanyise obuseegu.

    Abalondoola omutindo gw’e byamawulire gye buvuddeko baavaayo ne babaako emikutu gya leediyo gye baggalawo, nga bagamba nti gyali tegituukiriza bisaanyizo bisookerwako. Ffe abatali Bannamateeka twalemwa okumanya amakulu g’ebisaanyizo ebisookerwako, naye tulowooza nti waliwo n’emikutu gy’amawulire emirala egyetaaga okukolwako n’amaanyi.

    Abo mbavuddeko, naye abantu ba Ssaabasajja mbasaba muveeyo bukuukuubira okulwanyisa agayisa agavundu ge tulowooza nti abagaleese wano era abafuba okugatumbula bawendule era ekigendererwa kyabwe kya kusaanyawo Buganda mu by’empisa.

    Kye njogerako ze mpapula z’amawulire enngwenyufu, ezifulumya ebifaananyi ebiwunya ng’ebyawongo ebyesittaza buli muntu abikubako ekimunye. Ebifaananyi bino babiwereekereza ebigambo eby’obuwemu ennyo ebitakkirizibwa mu nnono zaffe kwasanguzibwa mu lujjudde.

    Bannannyini n’abafulumya empapula zino simanyi mawanga gaabwe, yadde obuwangwa bwabwe, naye ekinnuma kwe kudibaga olulimi lwaffe Oluganda, era oboolyawo sanditidde nnyo singa bawandiika mu nnimi ndala, naye ekinduguda, kwe kulinnyirira empisa zaffe bo ne balowooza nti mu kuwemula n’okwesittaza abantu baffe, nga mw’otwalidde n’amabujje, mwe bagenda okuyoola omudidi gw’ensimbi.

    Mbuusabuusa nti Omuganda omugunjufu asobola okunaaba ensonyi mu maaso n’asalawo okusiiwuukira ddala empisa, okugenda nga amansa entungo awatali kukwatibwa yadde akafansonyi.

    Mu kitundu omuli amawulire agafulumya ebintu eby’obuwemu nga bino, n’agayisa agavundu agalala, ng’ekimansulo, abasajja abakwata abaana, bamalaaya abeetunda ku nguudo n’ebirala ebigwa mu kkowe eryo temubyebalaabala.

    Abantu ba Kabaka musaana okukimanya nti luno lutalo lwennyini olwaggulwa ku buwangwa bwaffe n’empisa, era ye ssaawa muzuukuke twerwaneko. Okuggyako nga terwanyeeko kati naye omulembe ogugenda okutuddirira gugenda kubeera muwemufu nnyo, kati olwo Buganda efuuke ekivume olw’olulimi okuseeguwazibwa ate nga mukimanyi mwenna nti olulimi lye ggwanga.

    in reply to: Awasizza munyankole #27402
    MulongoMulongo
    Participant

    “Gano amaka matooro, wano temwogererawo Luganda.” “Muli mu Kyaddondo mu ssaza lya Kabaka we Buganda”

    Basajja ba Kabaka n’aba Omukama bambalaganye
    [attachment]C:fakepathmuganda mutooro.bmp[/attachment]

    Abagole; Mboowa ne Sharon Kajumba nga bamema mu kwanjula okwabadde okwa kaweereege.

    Bya Robert Mutebi

    KYAYITIRIDDE ng’omumizi n’omuwuwuttanyi basisinkanye ku kwanjulwa kwa Juma Mboowa e Namungoona ku Luyinja mu ggombolola ya Lubaga. Juma Mboowa musajja Muganda ddala ayagala ennyo ennono n’obulombololmbo bwe so nga n’omuwala Sharon Kajumba amaka mw’ava Matoro ddala ng’era empisa n’obulombololmbo bw’Abatoro bye bakulembeza.

    Kati nno Mboowa bwe yagenze okwanjulwa mu maka gano Amatoro ne nkulabira ensiitaano.

    Kyatutte essaawa bbiri omukolo gw’okwanjula okudda mu nteeko oluvannyuma lw’abako ne bazadde b’omuwala Kajumba okulemwa okukkaanya ku nsonga z’obuwangwa ttaano enkulu ze baagambye nti ziteekeddwa okugobererwa.

    Ensonga zino kwabaddeko; oluyimba olulina okuyimbibwa mu luggya lw’Abatoro, olulimi olulina okukozesebwa ku mukolo, Satifikeeti erina okuweebwayo mu, ebintu ebirina okutwalibwa n’omwenge ogulina okutwalibwa.

    Ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo lwa Ssande, abako abaavudde e Kazo baabadde batuuse era nga bakulembeddwaamu omwogezi waabwe, Suudi Kaweesa.

    Emikolo gy’okubayingiza awaabadde wategekeddwa omukolo gyawedde bulungi era ne bakkirizibwa okuyingira babeegatteko oluvanyuma lw’okubategeeza nti baabadde bagenyi baabwe.

    Abako okukkirizibwa okutuula, ensonga ettaano zaabadde zirina kumala kugonjoolwa kyokka Kaweesa omwogezi w’abako n’ateesa nti ezisinga obukulu nga oluyimba ne satifikeeti ze ziba zisooka okugonjoolwa.

    Wadde oludda lw’omukyala si Basiraamu, eyakulembedde okusaba yabadde Musiraamu era olwamalirizza, oluyimba ‘Nagutamba’ (luyite ekitiibwa kya Toro) ne luyimbibwa. Bwe lwawedde, omwogezi w’abako n’asaba ab’oludda lw’omuwala batereere bayimbe Ekitiibwa kya Buganda.

    “Ssebo wano ozze Toro, amaka mw’oli Matoro n’omuwala gw’otwala Mutoro….,” Omwogezi ku ludda lw’omuwala bwe yategeezezza abako.

    “Taata ssebo, nze mmanyi nti wano tuli mu Buganda mu ssaza lya Ssaabasajja Kabaka ery’e Kyaddondo. Kuva ddi nga Namungoona ekiri mu Lubaga kiri Toro taata wange omulungi?”

    Yabadde akyayongera okulambika ensonga, omwogezi w’oludda lw’omuwala obwedda akkakkanye mu ntebe n’asituka n’amubakira, “Ozze okimanyi nti wano w’oli olina kwogera mu Lutooro si Luganda…”

    Kaweesa yasituse mu bukkakkamu n’amugamba nti, “Olw’okuyamba bannaffe abatategeera Lutooro, nzikiriza mbavvuunulire era njogere mu Luganda lwe bategeera obulungi.”

    Bwe batyo, beezoobye okumala eddakiika nga 30 n’omusobyo oluvannyuma Kaweesa kwe kusituka n’ategeeza abako abaabadde bazze okwanjulwa nti tasobola kugenda mu maaso na mukolo nga babagaanyi okuyimba Ekitiibwa kya Buganda.

    “Bannange okwanjula kulabika kugaanyi, musituke tuddeyo gye tuvudde bwe baneetereeza ne bamanya nti wano Buganda tulidda.” Olwo abako ne basaakaanya n’okukuba engalo kyokka ng’abooludda lw’omuwala beesooza.

    Eddakiika endala ezaasobye mu 90 baazimaze mu ddiiro gye bazze okwezooba.

    Ebyavudde mu kuteesa:
    Bakkiriziganyizza Ekitiibwa kya Buganda kiyimbibwe.
    Bakkaanyizza nti wadde abako baabadde baleese satifikeeti ya Buganda, bagule eya Toro kubanga ab’oludda lw’omuwala gye baabadde baagala.

    Olw’okuba abako Basiraamu, bakkaanyizza sooda y’aba akozesebwa so si mwenge.
    Bakkirizza okwogera mu nnimi zombi.

    Omuko (eyagabye omuwala), Agaba Kajumba yasabye ente Enzungu 20 ne bakkaanya nti ebimu ku bintu biweebweyo mu nsimbi nkalu.
    Oluvannyuma lw’essaawa nga bbiri, okwanjula kwazzeemu n’abagole ne babawoowa, Sharon n’aweebwa erinnya lya Fairuzi.

    Ggwe olowooza mu kwanjula nga kuno, ku bulombolombo bw’eggwanga ly’omusajja n’ery’omukazi buliwa obulina okugobererwa? Weereza SMS. Sooka owandiike ekigambo FAMIRE, ozzeeko endowooza yo oweereze ku 8338 tujja kufulumya endowooza zammwe.

    Published on: Saturday, 15th January, 2011

    in reply to: Tunisia President Toppled After 23 Years In Power #27401
    MulongoMulongo
    Participant

    Bannansi ba Tunisia beekalakaasizza Pulezidenti n’adduka
    TUNISIA

    PULEZIDENTI wa Tunisia awaliriziddwa okudduka mu ggwanga n’asuulawo entebe y’obukulembeze oluvannyuma lwa bannansi okweyiwa ku nguudo ne beekalakaasa nga bawakanya ebbula ly’emirimu, okulinnya kw’ebbeeyi y’emmere, obwavu n’enguzi.

    Ben Ali Zine al-Abidine 74, yadduse ne famire ye ne bawang’angukira mu Saudi Arabia. Abadde Katikkiro we, Mohammed Ghannouchi yeddizza obuyinza era n’alangirira nti ye Pulezidenti ow’ekiseera ng’ajuliza Ssemateeka wa Tunisia.

    Ben Ali abadde amaze mu buyinza emyaka 23 era nga ne mu kalulu akaakubwa mu 2009 yawangulira waggulu n’ebitundu 89 ku 100. Kyokka bannansi bamwefuulidde ne balumba ebitebe bya gavumenti byonna nga mw’otwalidde n’amaka g’Obwapulezidenti nga baleekaanira waggulu nga baagala alekulire olw’okulemwa okukola ku nsonga z’ebyenfuna by’eggwanga.

    Okwekalakaasa kwavudde ku muvubuka abadde yaakatikkirwa diguli eyeekyaye ne yeekumako omuliro n’afa ng’awakanya ekya poliisi okumuziyiza okutundira enva endiirwa ku mabbali g’oluguudo mu kibuga Tunis, ate nga yabadde amaze ekiseera ng’anoonya omulimu kyokka ne gubula!

    Embeera yatabuse, abavubuka abaasoose okwekalakaasa wiiki ewedde bwe beegattiddwaako bannaddiini, bannabyabufuzi n’abakozi ba gavumenti, bonna ne beeyiwa ku nguudo okuwakanya obukulembeze bwa Ben Ali. Gavumenti ya Saudi Arabia efulumizza ekiwandiiko ng’etegeeza nti yakkirizza okubudamya Ben Ali ku lw’okuzza emirembe mu Tunisia.

    Ben Ali yalangiridde kafiyu ekugira abantu okutambulira mu bibinja wamu n’okulagira abeebyokwerinda okukuba abeekalakaasi ku nnyama, wabula tekyamutaasizza kubanga wadde abaserikale basse abeekalakaasi abasukka mu 60, obwegugungo bwagenze mu maaso, abantu ne batuuka n’okuwamba ebitebe bya gavumenti ne balinnya waggulu ku bizimbe.

    Bungereza, Amerika, Bufaransa n’amawanga amalala gatandise okukima abantu baago naddala ababadde baagenda e Tunisia okulambula beetegule ekibabu badde ku butaka kubanga wakyaliwo abawakanya Pulezidenti omuggya, Ghannouchi abalaze nti beetegefu okugenda mu maaso n’okwekalakaasa.

    Published on: Saturday, 15th January, 2011

    in reply to: Comment of The Week #27400
    MulongoMulongo
    Participant

    Abeesimbawo tekyetaagisa kuba bayigirize – Muliika
    Bya Godfrey Lukanga

    KATIKKIRO wa Buganda eyawummula Daniel Muliika agambye nti Ssemateeka w’eggwanga asaana kukyusibwa muggyibwemu akawaayiro k’obuyigirize ku bannabyabufuzi abeesimbawo okuvuganya ku bifo eby’enjawulo.

    “Bwe kibeera kyetaagisa gavumenti eteekewo abataputa mu Palamenti n’ebifo ebirala ebyetaagisa ebbaluwa z’obuyigirize. Okuteeseza eggwanga tekyetaagisa bbaluwa za buyigirize wabula kyetaaga bantu abalumirirwa eggwanga abamanyi n’ebyetaago bya Bannayuganda” Muliika bwe yategeezezza.

    Bino Muliika yabyogeredde mu musomo gw’okukubaganya ebirowoozo mu ngeri y’okutumbula demokolasiya ow’ekimmemmette mu ggwanga ku yunivasite e Makerere ogwategekeddwa ebibiina ebirwanirira eddembe ly’obuntu ebyakulembeddwa ekibiina kya ‘Human Rights and Peace Centre’ ku Lwokuna.

    Published on: Saturday, 15th January, 2011

    in reply to: Buganda Erwaana Olutalo Lwe Tteka Ku Kabaka #27371
    MulongoMulongo
    Participant

    Government withdraws cultural leaders Bill
    By Yasiin Mugerwa
    Tuesday, January 4 2011 at 00:00

    The government yesterday bowed to pressure and agreed to consult further on the proposed cultural leaders Bill even as Prime Minister Apolo Nsibambi insisted that “the Bill is not stayed”.

    The decision was reached at a closed-door meeting with the Speaker of Parliament, Edward Ssekandi, where it was agreed that Gender Minister Gabriel Opio, under whose docket the Bill was introduced, consults all the stakeholders, including the President before re-tabling the amendments in Parliament.

    “We have agreed on some amendments in the Institution of Traditional or Cultural Leaders Bill, 2010 which Hon. Opio will announce after consulting stakeholders at an appropriate time,” Prof. Nsibambi said. “The stakeholders will include people like the Buganda Attorney General (Apollo Makubuya) who presented some proposals, religious leaders and all those people who are interested in making proposals.”

    Prof. Nsibambi said: “I don’t intend to disclose the amendments, the minister will make a statement after consultations. The minister is aware of the urgency of the matter and we shall not dictate to him what to do.”

    Responding to government’s climb-down, the chairperson of the Legal Affairs Committee, which is currently handling the Bill, Mr Steven Tashobya, however, said yesterday: “The Bill is a property of Parliament and we cannot stop the process until the Speaker advises us otherwise.”

    Under Parliament Rules of Procedure, the Speaker has the discretion to allow amendments delivered in writing that do not “substantially” or “materially alter the principle” of a motion tabled before the House. Buganda prime minister J.B. Walusimbi yesterday welcomed the government decision. “That’s the right thing to do. That Bill in its current form has a lot of things which shouldn’t have been there. It’s good they have seen the problem and we’re ready to give our views.”

    While a number of stakeholders particularly Buganda Kingdom have been pushing for the withdrawal of the Bill after President Museveni and some ministers claimed that its more controversial sections were smuggled in, Prof. Nsibambi said: “I don’t think it’s possible for someone to smuggle a clause in the Bill although human beings make mistakes.”

    in reply to: Nzaaba owe myaaka 20 yasse Kisitu #27370
    MulongoMulongo
    Participant

    Omujaasi akubye muganzi we amasasi
    Bya JUDITH NALUGWA
    Monday, 03 January 2011

    [attachment=2451]redcaps.jpg[/attachment]

    OMUJASI akuuma ofiisa wa UPDF omukulu akubye omukazi owolubuto amasasi agamuttiddewo ng’ava mu bbaala e Bbunga oluvannyuma lw’okumusanga n’omusajja omulala.

    Shamim Namakula ow’e Bbunga mu Trading Centre zooni yakubiddwa amasasi ku ssaawa 10 ez’oku makya bw’abadde ava mu bbaala emanyiddwa nga Ankoz esangibwa ku luguudo oludda e Kawuku. Namakula abadde akola wa Muzungu e Bbunga.
    Mukwano gwa Shamim gwe baabadde naye mu bbaala era nga basula bonna mu nju, Judith Nampijja anyumya bwati : Bwe twabadde mu bbaala ku ssaawa 10 ez’ekiro Shamim n’ang’amba nti muganzi we gw’amanyiiko erya James amukubidde essimu. Yafulumye ng’ayogera ng’akutte n’eccupa ye eya bbiya mu ngalo.

    Nnamulinze nga takomawo nze kwe kudda eka. Kyokka nnabadde nnaatera okutuuka we tusula ne nsanga muganzi wa Shamim omulala omujaasi wa UPDF Private Hakim Buniya era ng’akuuma maka ga Col. Sam Kavuma agazimbibwa mu kitundu kino n’ambuuza mu bukambwe nti, “Shamim omulese wa?” ne mmuddamu nti asigadde mu bbaala nze ne nzigulawo ne neebaka.

    Nampijja agamba nti kyokka ku makya Ssentebe w’ekyalo, James Luyimbaazi n’abaserikale baakedde kumukonkona ne bamubuuza munne era be baamubikidde nti afudde.

    Ate omutuuze Sheikh Abdullah Kawooya agamba nti omupangisa we eyabadde akedde okusiika capati ku ssaawa 10 abasajja babiri ne bajja nga beegoba oluvannyuma lw’okukuba essasi eryasoose ye n’alowooza nti bagoba mubbi kyokka nti waayiseewo akaseera katono n’essasi eryokubiri ne livuga.

    Abatuuze abalala baawulidde Shamim ng’akonkona ku geeti y’omutuuze ng’alaajana okumuyamba n’oluvannyuma ne bawulira essasi.
    Kiteeberezebwa nti Buniya yawondedde Shamim ne muganzi we James Henry Lumu mu bbaala era ng’alina ekigendererwa ky’okutta omusajja kyokka essasi bwe litaamukutte obusungu n’abumalira mu Shamim.

    Poliisi yakutte Lumu asangiddwa nga yekwese mu nju wansi w’ekitanda kye ng’ono ye yabadde ne Shamim we bamukubidde essasi. Lumu ategeezezza nti yakomye okulaba Shamim ku ssaawa bbiri ez’ekiro.
    Moses Talemwa omujaasi omulala bwe bakuuma ne Buniya agamba nti yayawukanye ne munne ku ssaawa emu n’ekitundu ey’akawungeezi buli omu n’agenda gy’asuula nti kyokka enkeera bwe yategedde nga Shamim gw’abadde amanyi nga muganzi wa Buniya bamusse n’agenda abikire Buniya gwe yasanze yeebase kyokka munne teyafuddeyo.

    Poliisi yegattiddwako abaserikale ba militale abaazinze amaka ga Col. Kavuma okunoonya Buniya kyokka yeemuludde n’adduka emmundu n’agireka mu nju.

    Poliisi yazudde ebisosonkole by’amasasi bibiri mu kifo awaabadde omulambo gwa Shamim nga bifaanana amasasi agakozesebwa mu mmundu Buniya gye yabadde nayo.

    Poliisi e Kabalagala eguddewo omusango ku namba SD:07/03/01/2010.

    Omwogezi wa UPDF, Lt Col. Felix Kulaigye agambye nti emmundu ya Buniya yasangiddwa ng’ebulamu amasasi abiri era bamunoonya nga bamuteebereza nti ye yasse Shamim.

    in reply to: Buganda Erwaana Olutalo Lwe Tteka Ku Kabaka #27369
    MulongoMulongo
    Participant

    Batereezezza mu bbago ku bafuzi ab’ensikirano
    Bya AHMED KATEREGGA NE MUWANGA KAKOOZA
    Monday, 03 January 2011

    [attachment=2450]apolo.jpg[/attachment]

    GAVUMENTI eya wakati ne Palamenti bakkiriziganyizza okugenda mu maaso n’ebbago ly’etteeka ery’okulung’amya obukulembeze obw’ensikirano n’ennono kyokka obutundu obumu bulekebwe ebweru.

    Bino bye byavudde mu kafubo ekibinja kya Gavu-menti eya wakati ekyakulembeddwaamu Katikkiro wa Uganda, Polof. Apolo Nsibambi gye kyabaddemu ne Sipiika wa Palamenti, Edward Ssekandi eggulo.
    Ekibinja kya Polof. Nsibambi kyabaddemu, Minisita w’obutebenkevu era nga y’akulira akakiiko ka baminisita akavunaanyizibwa ku bbago lino, Amama Mbabazi, Minisita avunaanyiizbwa ku kikula ky’abantu, embeera z’abakozi n’okusitula embeera z’abantu, Gabriel Opio ne Minisita omubeezi ow’ebyamateeka era nga ye mumyuka wa Ssaabalung’a-mya wa Gavumenti, Fred Ruhindi. Nampala wa Gavumenti mu Palamenti, Daudi Migereko naye yabaddewo.

    Oluvannyuma Polof. Nsibambi yategeezezza bannamawulire nti baminisita bakkaanyizza ne Sipiika ebbago ligende mu maaso n’okukubaganyizibwako ebirowoozo mu lujjudde nti kyokka mu kiseera ekitali ky’ewala, Minisita Opio ajja kulangirira obutundu mu lyo obusuuliddwa ebweru.

    Obumu ku butundu obusinze okubobbya abantu emitwe mwe muli aka 9 (2) akagamba nti mu kitundu omuli omukulembeze w’ennono asukka kw’omu, abakulembeze abo baakugabananga ebisanja by’okubeera omutwe gwa Gavumenti y’ekitundu mu mpalo nga buli omu afugako omwaka gumu.

    Mmengo n’Abaganda abamu bagamba nti olw’okuba Kamuswaga wa Kooki ne Ssaabaluuli be bamu ku bakulembeze b’ennono abali ku lukalala olutongole oluli mu bbago lino, nti nabo baaku-fuganga Buganda ne Kabaka mu mpalo.

    Ekirala ekibadde kisiikuudde emmeeme z’abantu ke katundu 4 (3) akagamba nti tewali bantu bajja kukakibwa kulanya mu maaso ga mufuzi wa nsikirano kyokka Mw. Opio n’agamba nti ekituufu kiri nti tewali muntu ajja kuwalirizibwa kuba musajja oba muzaana wa Kabaka oba omufuzi ow’ensikirano oba ennono yenna, omuli okweyala, okulanya n’okumuwa amakula.

    Abanaakikolanga bajja kukikolanga kyeyagalire. Okwo kw’ozza akatundu akakugira Kabaka n’abakulembeze b’ensikirano n’ennono abalala obutakolokota nkola ya Gavumenti oba ebbago lyonna nga terinnayisibwa Palamenti.

    Polof. Nsibambi yagambye nti obukiiko bwa Palamenti omuli ak’ebyamateeka n’ak’ebyobuwangwa, bugenda kuku-ng’aanya ebirowoozo ku bantu omuli Pulezidenti, Obwaka-baka bwa Buganda n’obukulembeze bw’ennono obulala, bannaddiini n’abalala n’oluvannyuma bukole lipoota Palamenti gy’enaasinziirako okuteesa n’okuyisa etteeka.

Viewing 15 posts - 31 through 45 (of 937 total)