Mulongo

Forum Replies Created

Viewing 15 posts - 901 through 915 (of 937 total)
  • Author
    Posts
  • in reply to: Abaganda mwerwaneko #19619
    MulongoMulongo
    Participant

    Njagadde okubanyumiza ku Mukyala akulira ekibiina kya ba African Women’s Association wano. Omukyala ono ava mu West Africa naye ennaku zino mulwadde ate obulwadde obumuluma bulemye abasawo okutegeera. Kale jjo yankubidde essimu nga ayagala nnyambeko mukutambuza emirimu gya Association. Naye kwekungamba nti abasawo bamugamba nti ebimuluma biva ku stress. Naye nga abantu bensi ye bagamba nti oyo juju. Kweekyo yye yangambye bwaati, “…nebatamnya nti Aba Africa mubutelwanako balumya banaabwe ababagala. Bbo benyini ye juju annuma nze.”

    Nange kanzire mu bya Mwami Sendaula, Abaganda mwelwaneko. Agali awamu gegaluma enyama. Kyakwewunya nokuba nga engoma za GwangaMujje teziddizibwangawo!!!!

    in reply to: The Republic isn’t working. #19618
    MulongoMulongo
    Participant

    Bweebaba nga Republic yali nsolo era nga bagiyigga nebagitta nebagirya emyeezi egiyise, ekitegeeza eteekwa okuba nga yadda dda emmanju negwa mu kinnya. Wemwogerera bino nga republic envunyu zagirya dda!!! Kati mweyongereyo nebirala ebyo bulamu, ebirina obuwangaazi.

    in reply to: PROBLEM WITH SHARING THE LOOT #19617
    MulongoMulongo
    Participant

    It’s always the same problem with sharing the loot. You all know deep down you don’t have the right, and your own conscious goes to war with your subconscious. This makes your poor unsettled self very irritable. And this is just the beginning of your problems. Call Him God, call it Nature who wrote these rules.

    in reply to: Ebyobulambuzi mu Buganda #19581
    MulongoMulongo
    Participant

    Anaalongoosa Amasiro

    Bya Ahmed Kateregga

    OMUMBEJJA Diana Kigga, mwannyina Kabaka Mutebi ll era muwala wa Ssekabaka Edward Muteesa ll alangiridde nga bw’alina enteekateeka y’okufuula Amasiro g’e Kibulala mu Singo ekifo eky’obulambuzi.

    Mu bubaka bwe eri Abalangira n’Abambejja abaakung’anidde mu masiro gano wiiki ewedde, obwamusomeddwa Omulangira Haruna Mawanda, Omumbejja Kigga, yagambye nti, ga byafaayo nnyo agasaanidde okubeerako ekigango eky’omulembe n’okukuuma ebifo byakyo ebirala eby’ennono bisikirize abalambuzi. Omumbejja Kigga ye Nnaalinnya wa Ssekabaka Winyi, nnyini masiro omwakulira Omulangira Kimera asibukamu olulyo olulamula Obuganda.

    Bukedde
    Published on: Monday, 8th September, 2008

    Kino ffenna kyetutweeka okukolerera, okwekulakulanya ffe ffekka, ffe ffenyini. Kati tukyaali mu migozobano gya bantu kugaanira ku ttaka lyaffe nakwagala kulibba mbu lwakuba balinanko akazimbe kamu bubiri bu gonna mayumba, nga ate muleeta ba nnamawanga balala? Tweyanzizza nnyo ssebo omumbejja, okusingira ddala olwokulaga ekyokulabirako ekye kkubo ettuufu eritekwa okukwatibwa.

    Awo nebwemuvaamu sente ezamagoba mu bulambuzi, nga zisooka okuddako eri Omuganda oba Abaganda abetabye mu kulongoosa. Obwo bwebayita obwetwaaze, nokwetongola, ebyannamaddala ebitali bikolwa bukolwa.

    in reply to: Can we defy culture and marry? #19542
    MulongoMulongo
    Participant

    Kale kiri Buganda wano! Naye ddala okola otya nga ogudde mu mukwano nomwana bwemweddira ogumu? Anti oyinza okumulabira ewala nomusiima nomwesaanyiza. Kyoova otandika okumuzimbako obuyumba, nomala okumukuba obufaananyi nga bwobworezaawo nobu framing nobuwanika mu mwooyo gwo. Kyokka agenda okusembera oyogereko naye nga mweddira gumu. Awo nolyooka…omuluma?

    Mulabe mwannyinaze annumye lwa kugaana kumuganza!
    ssozi.jpg
    Mulabe we yalumye: Ssozi

    Bya Judith Nalugwa

    CHRITOPHER Ssozi ayokya enkoko n’embuzi e Nsambya mu Kamwanyi, aloopye Teddy Naggujja ku poliisi e Kabalagala okumuluma ku bbeere oluvannyuma lw’okumusaba amuganze n’agaana. Ensonga azisengese bwati.

    “Naggujja atunda buugi ne caayi era nkolagana naye bulungi kuba tweddira omuziro gumu, njovu.

    Anfaako mu ngeri ey’enjawulo ng’anfumbira caayi n’emmere nga byange nzekka era buli lw’annyuka atuula ku mudaala gwange emboozi n’egwa amakerenda.

    Abantu baatuyisaamu emimwa nti tuli basiru okwagalana ng’ate tweddira gumu ne mmugamba akomye okumpa caayi n’emmere n’okutuulanga ku mudaala gwange. Yanziramu nti, “Nkuswaza tosobola kubeera muganzi wange? Lwaki onneggyako?

    Bwe yalabye omuwala eyanguzeeko ekifi ky’enkoko, yazze n’ekikopo ky’obuugi n’akimuyiira nga bw’amulangira nti, “Mmwe musigula Ssozi n’ambadala.”

    Mu kubataasa, Naggujja yannumye ku bbeere ate abadde ampeereza obubaka obunsaba omukwano ku ssimu era mbulina.”

    Ye Naggujja agamba nti olutalo luva ku ssente 46,000/- ze yawola Ssozi n’agaana okuzimusasula. Agguddwaako omusango ku SD 33/26/8/2008 era akuumirwa ku poliisi e Kabalagala.

    Bukedde
    Published on: Saturday, 6th September, 2008

    in reply to: Kabaka Teyandigobye Baganda Ku Ttaka Kati #19541
    MulongoMulongo
    Participant

    Soma bino ombulire enjawulo weeri. Abamanyi mujje mutunyonyole, twekunge nga tutegeera kyetukola. Oba olyaawo singa ebintu byonna abikwata ku ttaka Abaganda bakungibwa okubiyimiriza, netumala okutereeza ensonga zino?

    Ettaka Mbabazi lye yatunze lya mayiro ya bazzukulu ba Mugema
    ttemangalo.jpg
    Eddwaaliro ly’e Ttemangalo eryazimbibwa okuyamba abakyala n’abalina siriimu ku ttaka lya Nzeyi lye yatunze.

    MINISITA w’ebyokwerinda Amama Mbabazi n’omusuubuzi Amos Nzeyi bali mu kattu olw’okuguza ekitongole ekitereka ssente z’abakozi ekya NSSF yiika 462 e Ttemangalo ku bukadde 24 buli yiika ne bafuna obuwumbi 11. Anthony Ssempeereza agenze e Ttemangalo okumanya eby’ettaka lino we biyimiridde n’azuula bino:

    Minisita Mbabazi afuna atya yiika e Ttemangalo?

    NNAALONGO Mulima ye Nnamwandu wa Ssaalongo, Mulima eyali omutuuze w’e Ttemangalo. Alina ekibanja ku ttaka lya Minista Mbabazi lye yaguzizza ekitongole kya NSSF. Akeera kulima mmere era tannaba kumanya nti, ettaka kw’alimira lyagulwa dda. Mulima agamba nti, “Nafumbirwa omugezi Ssaalongo Mulima mu 1964 era namusanga yagula ekibanja wano mu 1950. Okuva 1964 nnimira wano sivangawo. Yakigula ku Yekoyada Kibuuka era twamuwanga obusuulu. Kibuuka ettaka lye yaliguza Mohammed Bbaale n’atandika okutuggyako obusuulu mpozzi naye n’aguza Mbabazi kubanga abadde talina ky’atuggyako.”

    Abasenze bangi bafudde naye bannamwandu n’abaana bakyaliwo. Kuliko abataka bataano be nasanga ku kyalo kino nga nfumbirwa Simon Kibirige, John Ssekayonjo, Paul Mpagi, Bumali Sserunjogi ne baze Mulima.

    NSSF okutugula mbiwulira mu mawulire sinnaba kulaba muntu ajja kututegeeza ng’abatuuze, abaasenga ku ttaka lino.

    Minisita Mbabazi, ensonga z’ettaka azimanyi nga bwe zitambula bw’aba nga ye nnannyini omutuufu, yandibadde atutuukirira n’atuwa omukisa ogusooka nga nnyini ttaka twegule naye takikolanga era tewali n’omu gwe yali atuukiridde. Aba NSSF bwe baleeta ekifuba, tugenda kubaddamu na muliro.”

    Ssentebe wa LC1 e Ttemangalo Mw. Edward Mukasa agamba nti, “Ettaka lya Minisita Mbabazi kuliko abasenze bataano bokka naye tebalina kye bamanyi nti baagulibwa NSSF. Ku ttaka lya Mbabazi e Ttemangalo alundirako nte naye mu kiseera kino kuliko ente nga kkumi endala yazitwala ku faamu ya Amos Nzeyi era e Ttemangalo.

    Mw. Kasugga Timothy 70, nga y’akulira eddwaaliro erisangibwa ku ttaka lya Amos Nzeyi,e Ttemangalo agamba nti, Mw. Nzeyi yatuwa ekitundu ku ttaka ly’ e Ttemangalo kya yiika 2 ne tuzimbako eddwaaliro lya ‘Wakiso Women Epicentre’ erijjanjaba abakyala n’abalina siriimu. Mu kifo awazimbwa eddwaaliro waali wa Mulangira Kimera naye twesondamu ssente ne tumusasula n’agenda asenga awalala. Ekyapa ky’ettaka mu kifo we twazimba eddwaaliro lyaffe Mw. Nzeyi takituwanga, wadde ng’ekifo twakiteekamu ssente zaffe nnyingi ng’abatuuze tufune obujjanjabi ku kyalo. Bwe kiba nti lyonna baaligasse ne batutunda mu NSSF tugenda kwegugunga.

    Mw. Amos Nzeyi afuna atya e Ttemangalo?

    Mw. Sam Mukalazi mutuuze w’e Ttemangalo era ettaka lye lisalagana n’erya Nzeyi lye yaguzizza NSSF. Agamba nti, “Kamulegeya (Mugema) alina mayiro munaana okuva e Bbira ku lw’e Mityana okudda e Ttemangalo. Ettaka lino lya kika kya Nkima era abazzukulu lwe baliribanja simanyi Mugema ky’agenda kubagamba.

    Enkyukakyuka ku ttaka lino zaatandika na kugaba liizi eri abayindi ya myaka 49. Baalimirako amapaapaali ge baggyangako amasanda naye liizi yaabwe yaggwaako ne baliddiza Kamulegeya era n’omusiri gw’amapaapaali ne guzika.

    Kamulegeya yafuna Omuyindi Partel n’amuwa liizo okulima amajaani ng’essamba ye bagiyita Ttemangalo Tea Estate. Kigambibwa nti erinnya lino ‘Ttemangalo’ lyava ku mupakasi eyeetema engalo ng’ali mu majaani Omuyindi n’amuvujjirira ensimbi aleme kuloopa ekyaddako nga buli mupakasi ayagala yeeteme engalo afune ku ssente. Amin bwe yagoba Abayindi essamba y’amajaani n’efuuka ekibira.

    NRM bw’ezze mu buyinza ettaka lino eriweza yiika nga 360 Dr. Samson Kisekka yatuukirira Kamulegeya ng’amuwa emitwalo 17 buli yiika n’agaana okulitunda.

    Amos Nzeyi yajja n’aligula ng’amuwa ssente eziwerako Kisekka n’agenda ng’atolotooma nti, “Kamulegeya atalina wadde akamotoka mu luggya annyimye ettaka…” n’ebirala olw’obusungu.Wano ettaka we lyafuukira erya Amos Nzeyi. Kyokka n’erya Mbabazi nalyo liri ku butaka bwa Nkima lye baagasse ne baliguza NSSF ku 24,000,000/- buli yiika.

    Kyokka nange nnina ettaka ayagala ajje mmuguze ku bukadde kkumi bwokka ntegekere abaana bange nga nkyali mulamu.

    Bukedde
    Published on: Saturday, 6th September, 2008

    in reply to: Kabaka Teyandigobye Baganda Ku Ttaka Kati #19540
    MulongoMulongo
    Participant

    Bannange kino kibuzabuza abantu. Banalwanirira batya ettaka lyebatalina? Banawagira batya entegeka ezibalese ku makubo? Yye ku ludda lwabakola ku ttaka lya Kabaka, okulakulanya otya kyotalina? Eno ettaka lya Buganda liri mu lusuubo, eno mbu Mengo ayagala kulikulakulanya. Owulira abagala okutematema mu masiro, abaatematema edda ebiggwa, nabagoba Abaganda mu bifo byaabwe. Lwaki tetusookako kimu? Kubanga bwetuba twetegese abantu bateekebwateekebwa nobwegendereza nebasengulibwa Obuganda nebulyooka bukoleera webwagala emirimu. Naye kino ekikolebwa kati kyongera kukutula kutula mu Baganda. Ensonga eno eyagala kwegendereza, bagira baleka okwagala enyo okukulakulanya, wasooke wabeewo obwegaffu, abantu bamanye omukyaamu natali. Ggwe ate abatali Baganda bagoba Abaganda ku ttaka, ne Kabaka agoba Abaganda ku ttaka. Abantu besige ani? Baddukire wa? Oba nze nabatuuze nga bano waggulu nga ffe abatategedde bulungi wabeewo atuwabula mbegayiridde!!!

    in reply to: Amakula Ga Kulabako #19517
    MulongoMulongo
    Participant

    Eeh bannange Tonto tweyanzege okutuddira mu plot yomuzannyo guno. Sisomangako ku katabo ka Kawadwa konna, nga yaali muwandiisi mulungi!!! Nze ekinnakuwaza mu Buganda be bantu ba pooteri abatalina kya magezi kibavaamu okujja neboonoona, nebajja mu bulamu abantu abo mugaso eri eggwanga. Awo wotegereera nti ddala tuli mu matigga ga Sitani. Mukama atusaasire.

    in reply to: Ebyobulambuzi mu Buganda #19516
    MulongoMulongo
    Participant

    Nja kudda okwongera okuteesa ku nsonga eno. Naye esaawa eno nnebuuza, nga obukadde 900 tetunnabufuna, tetuyinza kufuna ssubi na mmuli nga obwedda, netujira nga tutereeza tereeza okusinga ekiggwa kyaffe bwekitunula bwekiti?

    in reply to: Nze John Mubiru #19515
    MulongoMulongo
    Participant

    Mubiru ssebo tusanyuse okuba maawe wano mu lukiiko lwa Baganda abali ku kirombe ne wonna munsi gyeeva negyegenda.
    Awangale Seggwanga Musota.

    in reply to: Nzaaba owe myaaka 20 yasse Kisitu #19506
    MulongoMulongo
    Participant

    Confessed hubby killer faces murder charges
    Tuesday, 2nd September
    New Vision

    By Herbert Ssempogo

    A WOMAN who allegedly killed her husband by slitting his throat during a domestic brawl at their home in Kampala is to be charged with murder.

    Edisa Azaba reportedly confessed to killing Kisitu Musezi, 40, on August 12 in Kawempe, a city suburb.

    Azaba, 20, who was on the run for sometime, was arrested and detained at Kawempe Police Station.

    The station chief, Simon Wafana, yesterday told The New Vision that Azaba had recorded a charge and caution statement.

    In her confession, she said a quarrel broke out between her and the deceased at about 11:00am at their home in Koona zone.

    It was not clear why the couple that has been together for over a year and had no children had disagreed.

    “She said her husband tried to hit her but she was swifter than him and slit his throat twice with a machete. She is a good suspect. She is not remorseful,” said Wafana.

    As Musezi breathed his last, Azaba ran away to a village in Mpigi district along the Kampala-Masaka highway. But she was trailed and arrested.

    Wafana said they recovered the killer machete.

    He was optimistic that Azaba would appear in court this week.

    Meanwhile, Margaret Kasande who strangled to death her four children inside her house in Kamwokya, a city suburb, is still at Butabika Hospital.

    The Police took her there to ascertain her mental status and see if she could be charged with murder.

    On July 30, Kasande allegedly used a nylon curtain and strangled her girls, including a set of twins, one by one, starting with the eldest, who was aged five.

    in reply to: Nzaaba owe myaaka 20 yasse Kisitu #19505
    MulongoMulongo
    Participant

    Woman cuts off husband’s penis
    Tuesday, 2nd September
    New Vision

    By Dismus Buregyeya
    and Ali Mambule

    A housewife is on the run after she allegedly cut off her husband’s penis after accusing him of marrying another woman.

    The woman identified as Hellen Maama Gift, 20, from Mbarara is suspected to have set the husband’s vehicle on fire two days before cutting off his penis on Tuesday.

    Godfrey Ssemanda, 26, of Nkunyu village, Lwengo sub-county in Masaka district was admitted in Masaka Hospital after being referred from Kitovu Hospital where he had been taken.

    Ssemanda, who sells matooke, is said to have married another woman in Mbarara town and put her in the house where he used to live with Hellen.

    Hellen, a mother of three, is said to have first attempted to poison Ssemanda.

    “When she brought the tea, I became suspicious and I advised her to share it with me but she refused. I later told her to give it to the children but she poured it away,” Ssemanda said.

    A member of the family said over sh2m was in the truck, which Hellen allegedly burnt.

    Hellen was further angered when Ssemanda stopped giving her the money he earned and instead kept it in the vehicle, she added.

    The district Police commander, Haruna Isabirye, said he had not received a report about the incident.

    The LC1 secretary of Nkunyu, Godfrey Ndugwa, said the matter had been reported to Nkunyu Police post when residents threatened to lynch Hellen.

    “Maybe the officers at the Police post are still making inquiries but the information has not yet reached my desk,” Isabirye told The New Vision on telephone.

    Medical officers in Masaka hospital said they had successfully rejoined Ssemanda’s penis and he was being treated with anti-biotics.

    in reply to: Ebyaali Ebyokusaaga Nga Bifuuse Ebyomukwano. #19471
    MulongoMulongo
    Participant

    Musajja munnange webale kunzizaamu maanyi. Naye wabula, ssiggwe nnalaba wali nga okubye akalango nti baakulekamu lock? Kati nze munnange ebyo nembitandika ntya? Sooka onoonye eyadduka nekisumuluzo ajje ayimbule omutima gwo nange ndyooke ndabe nti eeh ddala wooli osobola okwanganga ekipya. Nange awo wenafunira bwendaba ekigenda mu maaso ne lock eno gyendimu.

    in reply to: Buganda’s Indepence 8 October 1962 #19464
    MulongoMulongo
    Participant

    Ate era nga eno ye saawa eyokutandika okutegeka okukuza olunaku lwaffe luno. Naye mu butuufu, luno olunaku ssi lwa Buganda kufuna bwetwaaze. Luno lwe lunaku olwa fulumizibwako empapula eziwa Buganda obwetwaaze mu mateeka, ku mpapula. Emancipation Day. Kubanga bino bintu bibiri bya njawulo, era bwogenderera ebyadirira, nokutuusa kati engeri abagwiira gyeberembeka mu nsonga zaffe olabira ddala nga tukyalina olugendo yadde nga kati gyetulaga tulabayo bulungi ddala.

    Kati ekyokuddamu nze bwennetegese okulukuza;
    Wano waliwo African Women’s Festival ku nkomerero ya September. Festival eno ekungaanya nkumi nenkumi za bantu. Eriyo okufumba nokutunda ebyemikono nokuyimba nokuzina. Twagetese dda abawala abanazina nankasa. Twafuna dda emikeeka gyaffe nenkofiira nebirala ebyokutunda. Tugenda kufumba eddigobe erya buli kika kyetunasobola, okulaga enfumba ye Kiganda. Eriyo nokuwa speech. Ne Bendera ya Buganda tujja kugitimba, ne kifaananyi kya Sabasajja nebirala ebiraga ebifo ebye njawulo mu Buganda. Awo wenkyaali.

    in reply to: Amabaluwa ga bukedde #19460
    MulongoMulongo
    Participant

    Wano nze wendi buli bantu basoma amawulire agelanga nti ffe tuwagira kino oba kiri. Waliwo aga ba nnakalyako ani(communist), aga ba sita kange (Capitalist) aga government eliko, era gano buli lwekyuuka abagalimu bakyuuka, agaba kalikawo kadda, (traditionalists) etc… Kale buli mawulire gawandiikira audience yaago emanyiddwa. Ensonga teri ku lulimi ki lwegawandikiddwaamu, wabula biki byebakkiririzaamu abawandiika. Bano abantu ba Bukedde bawandiika mu Luganda naye nga bakkiriza mu kusaanyawo Buganda. Yye mmese ekuluma nga efuyirira. Laba bwewalinga awaliwo okujaguza buli lwewafa omuntu. Galinga amawulire ga ba Vampires abalina ennyonta ku musaayi gwa bantu. Buli lunaku bateekwa okubeera nomulambo wakiri gumu mu mawulire. Otandika nokutya nti bwewataba mulambo bbo bagwekolera basobole okutambuza omulimu gwaabwe. Nange nsaba Abaganda mu mazima mutunule ku mawulire ge bweeru naddala mmwe abali ku mawanga! Nebalyooka bakuba ebifaananyi bya abaana abasobezebbwako, oba mu kadaakika nga bosobezebwaako, ekyo tekirina mulala akikola mu nsi ya Katonda yonna. Obwo bubi bwennyini obwa banna mawulire nababatwaala, omutali kirungo kirala kyonna. Abafudde mu bubenje babakuleetera bakyayokya mu ntebe zaabwe!!! Abakazi abambuddwa, onogamba otya nti kibi nga banna mawulire bakikolamu sente? Buno obuyaaye bwava mu gwanga ki ddala? Abaganda tetuli bwetutyo, tetubangako bwetutyo. Abantu abali mu Buganda bwebalifuuka bwebatyo nga tebakyayitibwa Baganda ba Katonda!!! Abaganda mukyenoonye, mukyebuuze!!

Viewing 15 posts - 901 through 915 (of 937 total)