Mulongo

Forum Replies Created

Viewing 15 posts - 916 through 930 (of 937 total)
 • Author
  Posts
 • in reply to: Ebyaali Ebyokusaaga Nga Bifuuse Ebyomukwano. #19448
  MulongoMulongo
  Participant

  Okugwa mu mukwano kunyuma era kulungi naye nga toguddemu wekka. Notandika okusaaga nga emboozi ogizza eno gyogwiridde nga eya munno eri eri waggulu gyeyasigadde. Kati nno awo notandika okwekulula nga weseesetula nga owalampa ebisenge okusitukayo. Nga munno bwayimiridde wali akutunirira nga ekyonziira ki fala. Nze amagezi gempa bakasaaga, bwolaba otandikiriza okumwesunga lwanajja ne kyanayogera, bwotandika okumala okwawukana naye ate nodda mu byonna byemwayogedde muli mu mmeeme yo, wetaase mangu. Ddukirawo ekibambulira.

  in reply to: Adwadwalikanye lw’abatuliisa embwa, #19447
  MulongoMulongo
  Participant

  Ekyo kivudde mu kintabuli kya namungi womufuutifuuti Omuyeye kalonda wa bantu abava e bule ne bweeya abatalina atangira yadde akuba ku mukono abakola buli omu kyayagala wano mu Buganda yattu. Kubanga e Saudi Arabia toyinza kuwujjirayo mbizzi, mu Buyindi toriraayo nte na mmese naddala enjeru. Luno lwonna lumanyiro lwa bano ba serwajja okwoota. Mu Buganda embwa mukwano gwa muntu, tetugirya, naye oli kyaava agiwujja nagibaliisa lwa mpaka nga bwasekera ne mu kikondoolo, nga n’okuvuma kwatadde nga bwebamanyiira. Ffe ewaffe twagulanga enyama ku bantu babiri basatu abo betwaalinga tumanyi, oba nga waliwo omulala gwebatulaze. Abaganda musaanye mulekerawo okugula ebintu ku buli gwemulabye. Muteeke abantu bammwe bemumanyi mu bifo bya business mugule, kwaabo. Kitwetaagisa okwekunga mu buli ngeri yonna. It’s a matter of life and death. Kubanga ezo embwa bazijjawa? Embwa zokumakubo zitera okubeera ne kalusu azisuula eddalu erikwata nabantu! Omukyomo guyinza okukuviiramu okuyita mu kkubo nga weyambudde, olwo oba obadde semaka, namaka ,munnamateeka, musawo, Yinginiya, bwobeera owonye(Anti tewali na malagala,) ozzemu otya okuzimba erinnya lyo mu Society? Obulabe buli wonna.

  in reply to: Ekkobe litutte engabo y’ebika #19446
  MulongoMulongo
  Participant

  Oli mukwerarikiirira abe Ndiga ababadde abokubiri? Abo lulyo Olulangira baviiramu wwa? Hahahahahah, simanyi nabo bazannya? Tonzisa nseko!! Nze njogera bintono tono.

  Bannaffe abe Kkobe muyogeyoge.
  Sabasajja Wangaale.

  in reply to: life presidency is about survival #19445
  MulongoMulongo
  Participant

  Survival struggle, nga ebeera wakati wa parasite ne host, akawuka ka slim nomulwadde. Host terina bya kulondako bingi mu lutalo luno. Naye ate ku byombi wadde parasite tekimanyi yesinga okubeera nobulamu obumpi, obwebizibu ate obutalina gyebugenda. Kubanga the parasite’s side of the struggle is a loose loose. Host bwawangula parasite efa. Host bwa loosinga afa ne parasite nefa. Kati awo Host erina kulaba nga wakiri yewonya yyo yenyini, kubanga oli parasite yye goner, in one way or another.

  in reply to: Katikkiro Walusimbi Embraces Bukedde FM Radio #19444
  MulongoMulongo
  Participant

  Nze ekyammalamu amanyi kwekusoma mu mawulire wakati mu biseera ebizibu nga ababaka ba Sabasajja bawambiddwa, nti katikkiro yagamba nti yaali mu kiseera ekyo yejjusa lwaki yakkiriza okubeera katikkiro. Mpozzi nga bamuwayira. Kubanga omuntu yenna asubira nti ensi tebeere a kazibu konna, nga ojjeko eyaffe ebitubiddemu, nti oba yye bwenebiibamu nga awanika abeera ayinza okumalamu abatuuze abala amaanyi. Abo babayita ba All Good Weather, Oba Sunshine Citizens.

  in reply to: Eng’oma erina ebitundu nga eby’omuntu #19421
  MulongoMulongo
  Participant

  Sirowooza nti emboozi ya namunjoloba ekwaata ku nze, kubanga siri yadde mutono yadde wa kajanja. Mu ngoma mpozzi oyinza kumpita mpuunyi – sogera bingi, ndi muggumivu ate ndi mukwata mpola. Mumbejja oyo mpozzi ye namunjoloba.

  in reply to: Okutirimbula Abaganda mu Ankole nga Amin avaako #19420
  MulongoMulongo
  Participant

  Kyeekyo kyennyini Mumbejja. Ne mu North nga Amin avaako batta Abaganda abaliyo. Abawomawo bavaayo nga badduka nga bayita mu nsiko, okwo nga kwekuli nabaana bamasomero. Naddala essomero lya Sir Samuel Baker, lyendowooza nti liri mu Lango eyo. Abo bennawulira nti baweera ddala obujulizi ku ttemu lino.

  Mu Sir Samuel Baker bawerezangayo abaana okuva eno e Buganda edda. Okuva olwo abasinga kati tebakyakikola. Omwana wa kizibwe wange yayita okugendayo nebamugaana nga bagamba nti ebintu nebimala bikyuka bamanyi okuttirayo Abaganda.

  in reply to: Emmeere Engaanda ewooma!!! #19395
  MulongoMulongo
  Participant

  Nze nyinza okulya mawogo awooma ne bijanjalo ebibisi omuli obutiko okumala emyeezi ebiri. Ebiseera ebyo mbadde ndyanga kawunga nebijanjaalo ebibisi okumala ebbanga ddene ddala. Naye wewaawo nga ntabika mu oluusi naye kitono ddala.

  in reply to: Eng’oma erina ebitundu nga eby’omuntu #19394
  MulongoMulongo
  Participant

  Jona wrote:

  Quote:
  yea, waliwo engoma ensajja nenkazi. Engalabi yensajja. Kwolabira nti engalabi yensajja, kuba buli agikuba anyukawo namukazi (omu kubazinyi). Ate engoma empuunyi yenkazi, oluusi bagiyita Nalongo. Ate bu namunjoloba, bwebugoma “obulongo”.

  Obulongo butya? Namunjoloba zibeera bbiri? Tongamba nti zikubisibwa emiggo ebiri kubanga ne ngalabi ne mpuunyi zikubisibwa ne mikono ebiri!

  in reply to: Kiki Kyosinga Okwagala Ku Bantu B’ensi Mwoobera? #19393
  MulongoMulongo
  Participant

  Abantu wano bagala nnyo ensi yaabwe, mu bigambo ne mu bikolwa. Osanga bayitiriza mu bimu nebaffuka basosoze. Nzikiriza yokka yekwogezesa ekyo. Naye wano bwokwata ku nsi, waliwo abantu bangi abetegese okufiirawo. Wano abantu tebagamba nti kino bwekirikyuuka, oba oli bwebalimujjako, oba abagwiira bwebalibagoba. Buli omu akyogerako akimanyi buvunanyizibwa bwe. Bagamba nti, “Bwetunakyuusa ebintu, bwetunajjako abafuzi bano, bwetunagoba abagwiira..” Luli nnatwaala omwana wa mukwano gwange okumugema mu ddwaliiro, nensanga yo abagwiira line nneene. Omusawo kyeyava avaayo nayita abe ggwanga lye be baaba basooka. Era wano abagwiira bakiimanyiira era tebakaayana. Bamanyi bagenyi, tebasulira kubawa balye ne meere ya baana.

  Ennaku ezo bakola empaka za bazinyi abasammula ku trash program emu. Waliwo abaana bawala aba Africa maama nga basammula nebegoyeza ku mitayimbwa naawe nogamba nti kyemukola ssi kifuufu naye mukikola bulungi! Bwebamala waliwo omuwala wawano eyali talina art yenna mu kusammula,nga tamaanyi kwesuuba nakumutayimbwa, nebamuwa ekikopo. Naye judge yayogera amazima, nti musamudde bulungi bannaffe mmwe, naye owa wano yalina okusinga. Ekyo ne mumasomero nga bakugamba, wawandiise bulungi nnyo mu bibuuzo, naye toyinza kusinga nyinimu kutannama.

  Wano abantu bakola ebintu byaabwe newebuuza bategeraganye batya bonna nga nze abasula wano sitegedde? Tewayise birango, yadde ku radio yadde ku TV naye ogenda okulaba nga bakkungaanye mitwaalo mu kifo. Genda oggulewo edduka wano omugwiira, tewali gwebajjukiza butakugulako. Tewali nno ajja yadde okukubuuzako, mpozzi nanyini kifo nga azze okukujjako sente.

  Nga bwengambye, ndowooza bayitiriza. Bwekityo ekiyitiridde kingi nnyo ewaffe Mu Baganda ba Katonda. Naye nebwetuuti nga bwetuli tuyitiridde ate ku ludda olulala, nakyo nekibeera kibi nnyo.Twemanyiiza nnyo, kino tekikola. Abantu mubamanyidde ddala nti babi, naye mukyabekulubeesako. Mubasembezeeyo, mubejjeeko. Buli omu nga atandikira ku abo abamuli okumpi. Ne Katonda taasima kwessa ku bantu ba mpisa mbi nga abagwiira abali omwaffe!! Tekimala butabba, akkiririza mu butuufu olina nobutawagira oba okutambula, okuwa abaana bammwe okuwasa nokufumbirwa ababbi nabe mize emirala egikyaayibwa Katonda waffe.

  in reply to: Top Radio; Ku luno tewali alitoloka Mengo #19392
  MulongoMulongo
  Participant

  Awo wolabira obujama, obukyaafu bwemyooyo mu kintu kino ekitukakibwako. Omwo muyinza kuvaamu kalungi ki? tuli bawambe, bya kabi. Ekiriwo kati oba kukkiriza buwambe buno, oba kwetakkuluza. Tujja kubeera baddu ba Katonda yekka. Top Radio nebweneyogerera ki ku ttaka lyaffe, bamanye nti batwepaatiikako kati nga tetunne sorting-a. Buli Muganda mu butuufu kati ateekwa okwebuuza kiki yye kyakola ku lwokusumulula ensi yaffe mu njegere za Sitani nabawereza be abatambulira mu bantu baffe ebbanga lino lyonna!!

  in reply to: Philly Bongoley Lutaaya #19373
  MulongoMulongo
  Participant

  Yoono bwiino omulala gwennafunye ku mukwano gwaffe Philly;

  Philly Lutaaya was born Philly Misuserah Bakidaawo Kivumbi Kifomusana Bongoley Lutaaya October 19, 1951, in Mengo Hospital, Namirembe, Kampala to Tito Kisalita Lutaaya, who died in 1979, and Justine Eleanor Marjorie Namusoke Lutaaya, both residents of Gomba county, Gombolola Sabawaaii Kisasira Village, West Buganda District (now Mpigi District).
  Both parents were primary school masters in a little known village of Kasaka not very far from Kampala, but remote and inaccessible.
  Philly was the second born in a family of four children, three boys and one girl.
  Lutaaya was survived by 4 children.

  in reply to: Wereza Abaganda Akayimba #19368
  MulongoMulongo
  Participant

  Naye Katonda ayamba beyamba. Kubanga bweweyamba oba olaga okukkiriza nti Amazima ye Katonda era lye kkubo. Kale tweyambe atuyambe.

  …look inside you and be strong, then you’ll finally see the truth, that a hero lies in you.

  in reply to: LINNYA KI LYE TUBA TUTUUMA RADIO YAFFE ENGANDA #19315
  MulongoMulongo
  Participant

  Kigongo wrote:

  Quote:
  Radio Buganda — linnya ddungi. Naye tebalitwaalanga?

  Kyeekyo kyenyini, ate kyansonyi nti tubadde tetukimanyi. CBS era yeyitibwa Radio yobujajja ate nga ye Radio Buganda. Naye nze mpulira nga CBS, naye mbadde sifunanga ndowooza mukisa guwulira nga bagiyita erinnya lino. Okwo kwekwewolereza kwange. Ate naagamba ki?

  Link yeno eye site okuli erinnya lino;

  http://gandaspace.com/modules/radioadverts/submitadvert/index.php

  Kati mpozzi kyetusobola okukola kwekutuuma eno Baganda Radio[/b, nga mu lwaffe kyetuyita Rediyo ya Baganda. Era tulabika mpola mpola tuzzeyo ku Ababaka radio mu bimpimpi.

  in reply to: ABAGULA ennyama n’enkoko enjokye #19329
  MulongoMulongo
  Participant

  Omululu engeri gyeguli mu nobubbi nabuli bbala lya bubi bwonna, tewakyali ngeri gyoyinza kumanya mu kyonna, kyoolya, kyoonywa, omukka gwossa, abakuliranye nebirala. Ensonga eri nti ekifo kino temuli mukwano, temuli Katonda, temuli kwesigangana, temuli buntu, temuli bulamu. Kyetaaga buli omu kati kugenda kwekuma waabwe nebibye, anoonye Katonda we, omukwano gwe, eddembe lye, nobulamu bwe. Tewakyali ngeri ndala yonna.

Viewing 15 posts - 916 through 930 (of 937 total)