Mulongo

Forum Replies Created

Viewing 7 posts - 931 through 937 (of 937 total)
  • Author
    Posts
  • in reply to: SUMBUSA #19253
    MulongoMulongo
    Participant

    Hahahah, ebitogi!! Ebitogi ssi nsonga kasita tekuba lace. Kyokka bannange!

    in reply to: Winter or summer? #19252
    MulongoMulongo
    Participant

    Nze tompa nnyo muzira naye mpa obunyogovu tompa kino kisiriiro. Bannange nze ebbugumu kkoyi. Omuntu notomanya oba oli mulwadde oba bbugumu! Ahaa, nze ebbugumu sagala, ssi ka lunaku luwanvu! Kaasita nfunawo essawa omwenda ogwe misana ate nesiberanga abe Norway bempulira abafuna essaawa ebbiri mu winter ezemisana. Eyo nayo bwekiba bwekiri bali ku santiri.

    in reply to: Six Dating Behaviors That Scare Single Men Away #19251
    MulongoMulongo
    Participant

    Wewaawo waliwo abasajja nga mu butonde basikiriza nnyo abakazi, nabakazi abasikiriza abasajja ekitali kya bulijjo. Abaamu ku bano kino kibatuukako nga bavudde mu bantu abomutindo gwaabwe. Nebagenda mu bantu gyebabalibwa nga kalulu. Wano ku mutindo ntegeeza nga omuntu omuyigirize, owensimbi, owa family ennungi, abe myaaka gyaabwe nebirala nga genze katugambe eteri kyokka. Ekyennaku kiri bwekiti, nti omuntu bwaava ku bomutindo gwe, oluusi kiyinza okubeera ekizibu okusanga amwagala yye nga omuntu. Ate wandigambye nti kale oli amwagaleko sente, ebitiibwa nebirala, kasita wakiri bbyo anabyagala nabikuuma bulungi. Naye sibwekibeera. Oli bwakwagalako obuyigirize ate abeera ayagala kukunyoomola, nakulaga nga anabasoma bwebatalina kyebaliko, bwakwagalako sente abeera ate ayagala kukwavuwaza oluusi bwamala agende ate nga nokuseka aseka. Bwakagalako family ennungi ennegaffu ate ayagala kubaawula, bwakwagala olwo buto aba anoonya kugagambulako innocence yo wensange enkera nga oli mu bintu ebyekikulu byotetegekedde.

    Nze nnafunako kumukisa nendaba omukazi ow’ekika kino n’omusajja owekika kino nga basisinkanye. Omusajja yaali ava mu America, mweeru nga omukazi waffe Muganda(sinze, don’t be getting any funny ideas). Nze kyennabala ku bombi nga bantu bamanyi olulimi olusanyusa abantu, bantu balamu, bagabi, kale katugambe nti nga bombi balina ebintu nga ebikola Ekitiibwa Kya Buganda. Kale bombi nga bagalwa. Ate omusajja yali muwandiisi mugagga. Baali bombi bamanyi nti bamanyi okwagala naye nga tebagala kulowozesa nsi nti okwagala kwaabwe kweguya. Era nga tebaagala kusumulula mitima gyaabwe mu bantu bazibu. Bwebasisinka, buli omu nawulira munne nga ayogera ebintu ebirungi, nadda emabega. Omukazi kyaava asembera nababuusa amadala nga kkumi, neyefuula ono eyamumanya edda. Attack. Omusajja nadda emabega. Defence. Awo nebatandika, omu bwasembera omulala nga adda emabega. Ekyo bakibeerako myaaka. Lumu nga omusajja afuna attack, nga bamutwaala mu ddwaliiro. Olwo bombi nebasembera. Olwawona buli omu naddayo gyeyali. Omusajja afuna attack endala. Kati omu bweyagwangako ekintu nga omulala amanya bumanya. Abasawo bagamba nti leero talutonda. Wabula yye omulwadde yali nga ayogera. Bwebaba banyumya omusajja abuuza omukazi kiki kyanakola nga bamusibudde. Omukazi addamu, “Nja kujja eka tukumagane, leero tewali kigenda kungaana. Yadde ggwe wenyini.” Ebiseera ebyaddirira byaali bitono naye nga byakutegeragana, Nga tannagwa mu coma omukazi amubuuza nga bulijjo, “Oli wange?” Bulijjo yalinga gaana. Nga nomukazi bweyagananga nga omusajja abuzizza ebibye ebye njawulo. Era omusajja neku luno yasooka kugaana, oluvanyuma naanyenya nnyo omutwe nga akkiriza, najja namaziga nga namaaso galaga kyagamba. Mu nnaku ntono omusajja naafa. Omukazi lumu amuloota omusajja nga akaaba, namubuuza nti “Lwaaki okaaba? Sagala kukulaba nga okaaba.” Kko yye, “Ate oba naawe obeera okaaba buli kiseera.” Kko omukazi, “Naye tokaaba,onnelarikiriza.” Kko omusajja, “Naawe nno lekerawo okukaba. Wendi wano wooli.”

    in reply to: ABAGANDA MUSSE KIMU #19235
    MulongoMulongo
    Participant

    Kubanga agali awamu gegaluma enyama. Kyoova olaba nga ne Mike Tyson okutu kwa munne yagenda nakwo. Kale watya nga kyoluma nokuba kikyo?

    in reply to: OLULIMI OLUGANDA AMAKULA #19234
    MulongoMulongo
    Participant

    Omuwandiisi ono mbadde simuwulirangako yadde okusoma ku butabo bwe. Buli mu print? Mu bookshops e Kampala mwebuli? Kubanga waliwo ndowoza nabalala abandiyagadde okubusomako. Ate alabika mumanyirivu bulungi. Mumbejja ssebo webale kutuyiggira byakuyiga nga bino. Oyinza okwongera okutunyumiza ko mu bufunze ku katabo ke ako ako Luganda naddala?

    in reply to: Eng’oma erina ebitundu nga eby’omuntu #19233
    MulongoMulongo
    Participant

    Bintu binyuma nnyo bino okubisomako. Wabula sirowooza nti engoma erina ebintundu BYONNA nga eby’omuntu. Ndowooza twandigambye nti engoma erina ebitundu ebimu nga ebirina omuntu. Mpoozi nga waliwo engoma enkazi ne nsajja. Mpozzi awo.

    in reply to: Mwebale, mwebale, mwebale, mwebale nnyo #19205
    MulongoMulongo
    Participant

    Kale nze ndeese ekyenkya. Musooke yo kano muleke kusiibira ku lubuto lukalu.Kangire ne ku bulangi buno ndabe bwebukola! Maama bya Kiganda bulala!!: :)

    Ekyenkya kikyagaanye, mugira munywa ku mpeewo.

Viewing 7 posts - 931 through 937 (of 937 total)