Ndibassa

Forum Replies Created

Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 779 total)
  • Author
    Posts
  • in reply to: Empandiika y’Oluganda #28096
    NdibassaNdibassa
    Participant

    ENSIGALIRA
    =====================================
    Nga tetunatandika ssomo lyaffe erikwata ku linnya n’embu zaalyo, ka tusooke tuggyeyo obutonotono obwasigalira mu mpandiika y’olulimi Oluganda entongole.

    ENNUKUTA NY – Soma nnya.

    Eno y’ennukuta esembayo mu walifu y’olulimi Oluganda ng’era ya njawulo nnyo ku nnukuta endala zonna.
    • Etwalibwa okuba ennukuta emu wadde ng’ekolebwa ennukuta bbiri n ne y.
    • Teggumira nga zinnaazo dd, gg,jj,…nyny. Bw’eggumira oyongerako n yokka – nny.
    • Egwa mu kiti kya nakinnyidwa olw’okuba teyatuka ng’okutte ennyindo!
    • Tefugibwa mateeka gafuga nakinnyindwa oba nampawengwa.

    Ekyokulabirako;
    • Okunyiiga – etteeka ligamba nti nakinnyindwa bwe yeegatta n’ensirifu ey’ekinywi tekulembera mpeerezi bbiri wabula ny ezikulembera.
    • Ennyaanya – etteeka ligamba nti nakinnyindwa bwe yeegatta n’ensirifu ey’ekinywi tekulemberwa mpeerezi bbiri wabula ny ezikulemberwa.
    Weetegereze; Buli lw’osanga ennukuta ny mu nyingo y’ekigambo kimanye nti nnukuta emu era ogoberere amateeka ago gokka agafuga okugiwandiika, okujjako ng’ogigasse n’ensirifu endala ey’ekinywi.
    Okug. Mu bigambo kunywanywagala n’okunyweza ennyingo eziwangaala zifugibwa etteeka erifuga

    Wu ne Yi
    Ennyingo zino bwe zigattibwako ensirifu endala ey’ekinywi zifa ne zivaamu ennukuta u ne i.
    Ekyokulabirako;

    Nkya Nkye NKI Nkyo Nkyu.

    Ndya Ndye NDI Ndyo Ndyu.

    Mbwa Mbwe Mbwi Mbwo MBU.

    Mwa Mwe Mwi Mwo MU.

    Ekyokukola;
    Funa olupapula n’ekkalaamu owandiike ennukuta zonna eziri mu walifu y’olulimi Oluganda ozigatteko wu ne yi otubuulire ky’olabye.
    Essomo lyaffe olwaleero awo we likomye.
    Katonda ne Buganda omwoyo gumu n’emmeeme emu,…
    Kalemakansinjo wangaala.

    in reply to: Empandiika y’Oluganda #28095
    NdibassaNdibassa
    Participant

    ENSIGALIRA
    =====================================
    Nga tetunatandika ssomo lyaffe erikwata ku linnya n’embu zaalyo, ka tusooke tuggyeyo obutonotono obwasigalira mu mpandiika y’olulimi Oluganda entongole.

    ENNUKUTA NY – Soma nnya.

    Eno y’ennukuta esembayo mu walifu y’olulimi Oluganda ng’era ya njawulo nnyo ku nnukuta endala zonna.
    • Etwalibwa okuba ennukuta emu wadde ng’ekolebwa ennukuta bbiri n ne y.
    • Teggumira nga zinnaazo dd, gg,jj,…nyny. Bw’eggumira oyongerako n yokka – nny.
    • Egwa mu kiti kya nakinnyidwa olw’okuba teyatuka ng’okutte ennyindo!
    • Tefugibwa mateeka gafuga nakinnyindwa oba nampawengwa.

    Ekyokulabirako;
    • Okunyiiga – etteeka ligamba nti nakinnyindwa bwe yeegatta n’ensirifu ey’ekinywi tekulembera mpeerezi bbiri wabula ny ezikulembera.
    • Ennyaanya – etteeka ligamba nti nakinnyindwa bwe yeegatta n’ensirifu ey’ekinywi tekulemberwa mpeerezi bbiri wabula ny ezikulemberwa.
    Weetegereze; Buli lw’osanga ennukuta ny mu nyingo y’ekigambo kimanye nti nnukuta emu era ogoberere amateeka ago gokka agafuga okugiwandiika, okujjako ng’ogigasse n’ensirifu endala ey’ekinywi.
    Okug. Mu bigambo kunywanywagala n’okunyweza ennyingo eziwangaala zifugibwa etteeka erifuga

    Wu ne Yi
    Ennyingo zino bwe zigattibwako ensirifu endala ey’ekinywi zifa ne zivaamu ennukuta u ne i.
    Ekyokulabirako;

    Nkya Nkye NKI Nkyo Nkyu.

    Ndya Ndye NDI Ndyo Ndyu.

    Mbwa Mbwe Mbwi Mbwo MBU.

    Mwa Mwe Mwi Mwo MU.

    Ekyokukola;
    Funa olupapula n’ekkalaamu owandiike ennukuta zonna eziri mu walifu y’olulimi Oluganda ozigatteko wu ne yi otubuulire ky’olabye.
    Essomo lyaffe olwaleero awo we likomye.
    Katonda ne Buganda omwoyo gumu n’emmeeme emu,…
    Kalemakansinjo wangaala.

    in reply to: HEALTHY TIP #28066
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Try these before resorting to Pills :

    Watermelon is rich with Citrulline, an amino acid that helps improve blood flow to the heart and genitalia and actually produces an effect similar to drugs like Viagra.

    Cheese is a good source of mineral Zinc which is essential for Testosterone production. Testosterone levels control both male and female libido and sex drive.

    Nutmeg has been used since ancient times in Indian medicine to boost libido and is known to have the same effect as Viagra. Nutmeg helps the brain relax and helps males respond better to sexual stimuli.

    A steak is packed with Protein, Iron, Magnesium, and Zinc or nutrients that boost testosterone levels. Protein foods are a good source of dopamine and norepinephrine which help heighten sensitivity during sex.

    Consuming ordinary drinking water by the right method purifies human body. It renders the colon more effective by forming new fresh blood, known in medical terms as “Haematopoiesis”. That the mucosal folds of the colon and intestines are activated by this method, is an undisputed fact, just as the theory that new fresh blood is produced by the mucosal fold.

    If the colon is cleansed then the nutrients of the food taken several times a day will be absorbed and by the action of the mucosal folds they are turned into fresh blood. The blood is all important in curing ailments and restoring health and for this water should be consumed as suggested.
    The way bathing cleans the external body parts, same way water therapy cleans the internal body parts.
    Some Naturopaths advise to use edible castor oil in the initial stage of water therapy, to clean colon even better. Drink 20 ml of edible castor oil, around 4am in the morning at following frequency.
    Every day in the first week.
    Alternate days in the second week.
    Twice a week in the third week.
    Once a week from the fourth week on wards.

    in reply to: Bayimbi ba kyeejo naye basanyusa #28065
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Tukungubage by Ssebabi

    [video]http://http://www.youtube.com/watch?v=O2Q8Ez6jIlk[/video]

    in reply to: Bayimbi ba kyeejo naye basanyusa #28064
    NdibassaNdibassa
    Participant

    [video]http://http://www.youtube.com/watch?v=Ndv___8di8w[/video]

    Singa Abantu Basooka nebebuuza Abaganda ekyabalesaawo entobazzi obutazizimbamu kwaali kuwa mazzi wakukunganira.
    Ago agatigomya abantu gattako nokuddamu okugogola emyaala so si kuyiwa ttaka mu ntobazzi oli nalowooza nti ye azimbye amazzi gesalire amagezi gyeganalaga

    in reply to: Bayimbi ba kyeejo naye basanyusa #28063
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Ndeka Mpakase by Mulindwa Vumbi NE Madinah Nakiwala

    [video]http://http://www.youtube.com/watch?v=KNXwEkRc9OU[/video]

    in reply to: The Greatest Sermon Ever Preached? (Luke 4:21) #28030
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Bwosoma ebintu ebiri mu Bible biringa oli eyamala okujja mu Buganda nagiwandiika
    Mukama Katonda sasira abenda ya Nakalaama abatanategeera nti esuubi riri mu mikono gyo gyokka kasita banakuyingiza mumitima gyaabwe atenga sikumala kusasula sente bafune omuntu owokusatu okutusaayo okukowoola ne miranga gyaabwe, tebajja kukutula njegere buli muntu ssekinoomu alina kwegayirira kululwe nga bweyatondebwa nokusaba okusonyiyibwa noluvannyuma eddoboozi eryobwetowaze neliryooka lyegatta wamu kubanga amalala amangi agayingiddewo nokuvulubanira ebyensi kungi ddala. Buli kubonabona okuli mu Bible kulinga okulabula Buganda bweeri.

    in reply to: Omuganda n’Olubugo #28029
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Abaganda okuva edda nga bassa mu butonde bwaabwe ekitiibwa kwekubulabirira kubanga nabwo bwabanga bubalabirira

    in reply to: Omuganda n’Olubugo #28028
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Gellard Kabuye omusiizi we bifananyi ku mbugo

    in reply to: Emipiira Gy’ebika By’A baganda #28023
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Nakivubo waakuwuuma Enkya ku lwomukaaga

    [attachment=2583]1342730897.jpg[/attachment]

    MENGOka
    Ekisaawe kya Nakivubo War Memorial kyakuwuuma enkya ku lwomukaaga,
    Nnamuswa Fredrick Ronald Muwenda Mutebi II, bw’anaaba aggulawo emipiira gy’ebika by’Abaganda egyomulundi ogwa 39.
    Empaka zino zaatandikibwawo mu 1950 ng’ekika ky’embogo kye kyasooka okuwangula engabo eno.
    Olunaku lw’enkya bazzukulu ba Mugema ab’Enkima abaakawangula engabo eno emirundi ebiri, bagenda kuba bakwekwetuka ne bazzukulu ba Kasujja ab’Engeye abaakawangula engabo eno emirundi esatu mu mupiira ogusuubirwa okuyumirwa abaagazi b’endiba mu Uganda.
    Ku ludda lw’ekika ky’Enkima, agitendeka Shafik Bisaso ategeezezza nti newankubadde enkya tagenda kubeera na muyizzitasubwa we, Robert Ssentongo ali ne URA mu mpaka za CECAFA Kagame Club Championship e Tanzania, mugumu nti abazannyi abaliwo bajja kusobola okumufunira obuwanguzi mu maaso ga Beene.
    Ebika 42 bye byamaze okukakasa nga bwe bigenda okwetaba mu mpaka z’omulundi guno. Engabo eno, ekika ky’Emmamba Gabunga kye kigirina ng’omwaka oguwedde ku luzannya olwakamalirizo kyawangula ekika ky’Embogo, ggoolo 11-10 mu kakodyo k’okusimula obunnya nga mu ddakiika 90 gwaggweera mu maliri nga teri alengedde katimba ka munne.

    Enkima Vs Engeye
    Omupiira gutandika ssaawa 10 ez’olwegguulo.
    Okuyingira 3,000/= eza Uganda.
    KAYINGO ANDREW

    Ebika ebizze biwangula engabo eno okuva empaka zino lwe zaatandikibwawo;
    1950 Mbogo
    1951 Ngabi
    1952 Mmamba
    1955 Kkobe
    1956 Mmamba
    1957 Nnyonyi
    1958 Ngeye
    1959 Mmamba
    1960 Ffumbe
    1961 Balangira ne Kkobe (baagigabana)
    1962 Nkima
    1963 Tezaaliwo
    1964 Mmamba
    1965 Mmamba
    1966-86 Tegyaliwo
    1987 Ngabi
    1988 Lugave
    1989 Mmamba
    1990 Lugave
    1991 Ngeye
    1992 Ngeye
    1993 Nkima
    1994 Mmamba
    1995 Lugave
    1996 Mpindi
    1997 Nnyange
    1998 Lugave
    1999 Lugave
    2000 Lugave
    2001 Ngo
    2002 Mpologoma
    2003 Mmamba
    2004 Lugave
    2005 Ffumbe
    2006 Mpindi
    2007 Mpindi
    2008 Kkobe
    2009 Ffumbe
    2010 Ente
    2011 Mmamba Gabunga
    2012?

    in reply to: Ate Kati Batandise Kutemula Abasubuzi Abaganda? #28022
    NdibassaNdibassa
    Participant

    M7 EYABALETERA OTULO NOBUTEMU ABWABULI NGERI BWAJJIRA WAMU NOKWEYOREKA GYEBWAALI
    BWEKWEESE

    Gavumenti yeeri emabega wo butemu kino kyeraga mu lwaatu lwaaki abali mugavumenti bo tebabattira bantu baabwe oba bo kenyini okukubwa obutayimbwa oba enganda zaabwe wano bwewabaawo gavumenti kyeyagala ekikolerawo ngokukuba abantu amasasi babe nga bali mukukungubaga nga kyebakola e Kasubi.
    singa abaali batta abantu gavumenti siyebatuma bandibadde basitukiramu dda okubakwaata naye buli lweyagala okwongera okujjuza amakomera nga betutteyo abasooka bajjudde nge yoola omuntu wabulijjo anoonya emirimu kubanga munsi ye ye talina mukisa kufuna mulimu nga banakunkunyedda tebanagyegabanya babeere nga nokugisobola tebagisobola
    buno obutemu tebwakatandika kati kuba ababukola babadde babukola mu gavumenti zobote 1 ,2ne mu ya amin ekyobutakendeeza kutemula kubanga abaganda tebasitukanga kwerwanano era abatemu bagukola kubanga tebatta baabwe era tebatemulira waabwe .
    Mirundi emeka nga bakwaata abatemu nebabawereza mubifo ebirala bongere omulimu gwaabwe nga bavuddewo mukitundu webabadde nga Alinaitwe , nooyo eyattanga abantu nabanyagako emotoka zaabwe ate nga bakugamba nti nabeyita abanene mu gavumenti mwebali Mukama lwalibikkuka ekisanikira muliraba ekivundu , okujjako wabeewo okuwonga singa abaganda banazibuka amaaso nebadda e wa Mukama nokusobola okwerwananko.
    Lwaaki obutemu buli mu Buganda wokka lwaaki tebuli mu west nti mbadde bebabbye ssente zonna nga namayumba gaabwe bagazimbamu obusenge mwebazitereka atali omu naye nebabajjayo kinoomu kyokka bebabbako sente beerya nkuta , kale mubbe naye mubalekere eddembe bekolere naye nabulikalimu ne mukookya kemutatutte Mukama ajja kubakuba ebbalayi mulyevuma ekyabaleeta eBuganda

    Ani ali emabega w‘ettemu

    Okuva ku nkomerero y’omwaka oguwedde, kigambibwa nti abantu abasoba mu 40 be baakatemulwa mu ngeri etategeerekeka, ng’abasinga ku bano basuubuzi b’omu Kampala, ekitadde ennyo abantu ku bunkenke era nga beemulugunya nti ensonga eno poliisi egikutte mu ngeri yaakubalaata.

    Ani mutemu?

    Abantu abamu bagamba nti ebibinja by’ebyokwerinda ebizze bisaanyizibwawo ng’ekya Rapid Response Unit (RRU) n’abantu abagobwa mu magye ne poliisi be bali emabega w’ebikolwa bino olwensonga nti abamu tebaggyibwako mmundu ate nga baba tebakyalina mirimu gye bakola.

    Wabula omwogezi wa poliisi, Asuman Mugyenyi agamba nti, “Ebyo byabulimba, RRU bwe yaliiwo abantu baali tebatemulwa? Abantu kye balina okumanya nti kati amakubo mangi abatemula mwe basobola okuggya emmundu. Bafuna emmundu okuva mu Rwanda, Congo, Sudan ey’amaserengeta, Somalia ne mu Karamoja kubanga ebitundu ebyo mubaddemu entalo,” Mugyenyi bwe yagambye.

    Frank Baine, omwogezi w’amakomera yategeezezza Eddoboozi nti obwavu obuli mu ggwanga bwe businze okuleetawo okutemulwa kw’abantu. Yagambye nti akaseera kano abantu bangi tebalina mirimu era ng’engeri yonna gye balina okufunamu ensimbi kwe kubba n’okutta okusobola okubeezaawo obulamu.

    Ettemu likyase nnyo omwaka guno, nga gye buvuddeko abasiraamu abawerako bazze batemulwa nga ne poliisi tennabaako kirambulukufu kye yaazudde ku batemu.

    Kino kyaleeseewo endowooza mu basiraamu abamu nti wandibaawo ababalinako ekkonda sinakindi babalemesa okusaasaanya eddiini yaabwe kyokka tekyakoma ku bo bokka, n’abantu ab’eddiini endala ne batandika okuttibwa.

    Waliwo abasonze olunwe mu bantu abaali baasibibwa mu makomera ku misango gy’obutemu ate ne bayimbulwa.

    Wabula Baine akiwakanya bw’annyonnyola nti, “Ekyo sisobola kukkiriziganya nakyo kubanga ne poliisi tennafulumya alipoota ku kunoonyereza kw’obutemu obukolebwa mu Kampala. Singa poliisi evaayo n’eraga ng’abantu abateebwa bwe beenyigira mu butemu buno, awo nja kukikkiriza era tunoonye ekyokukola,” Baine bwe yategeezezza.

    Poliisi ky’egamba

    Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu ggwanga, Asuman Mugyenyi, balina webatuuse mu kunoonyereza ku butemu buno era nga bakizudde nti obutemu obusinga buzze oluvannyuma lw’abasuubuzi okufuna obutakkaanya ne bannaabwe mu ngeri y’okufunamu ensimbi.

    “Tukutte emmundu eziwerako abatemu bano ze bakozesa okutemula n’okubbako abasuubuzi ensimbi zaabwe era okunoonyereza bwe kunaggwa byonna tujja kubitegeeza bannansi.”

    Yagasseeko nti okunoonyereza ku nsonga eno si kwangu kubanga abakozi b’ebikolobero bano tebabeera mu kifo kimu era akaseera kano bali mu kutalaaga mu bitundu ebyesudde Kampala okulemesa enteekateeka zaabwe.

    Obutemu bukyase nnyo mu Kampala n’ebitundu ebigyetoolodde omuli; Kawempe, Masajja, Nateete, oluguudo lw’e Gayaza n’e Jinja, Nakawa, Kyanja n’ebitundu ebirala.

    Abakulembeze boogedde

    Ameria Kyambadde, minisita w’ebyobusuubuzi ategeezezza nti, “Nina ennyiike ku mutima olwengeri abasuubuzi gye battibwamu naye sijja kwogera biwanvu kubanga ensonga ezo zivunaanyizibwa ku minisitule y’omunda mu ggwanga.”

    Ibrahim Ssemujju Nganda, omubaka wa Kyaddondo East agamba nti, “Nneewuunya okulaba nga wayise akaseera katono ng’ebikolwa by’okuttisa abantu obutayimbwa bikendedde, kati waleeteddwawo obutemu obupya nga bakozesa mmundu. Gavumenti erina okuvaayo okutubuulira ebiri emabega w’ettemu lino,” Ssemuju bwe yagambye n’agattako obwavu obweyongedde olwebbula ly’emirimu nti nabwo tebusaana kubuusibwa maaso.

    Wabula James Kakooza, omubaka wa Kabula mu palamenti ensonga eno agitunuulizza bantu abalemeddwa okubuulira poliisi amawulire amatuufu agakwata ku beenyigira mu bikolwa by’obutemu.

    “Ekikwekweto ekya Wembley ekyali kikulirwa Afande Kayanja okulwanyisa obufere kyasaanyaawo abaali bakola omulimu guno olwomuntu wa wansi okumuwanga amawulire agakwata ku nfo z’abazigu bano. Ne ku nsonga eno, abantu bandifubye nnyo okulaba nga bakwatagana ne poliisi okulaba nga balwanyisa ettemu eriri mu kibuga Kampala,” Kakooza bwe yagambye.

    Abantu abazze batemulwa

    – 10, July 2012. Peter Badokwaya omuvuzi wa sipensulo e Mengo yabuziibwawo n’attibwa mu bukambwe era omulabo gwe ne guzuulwa mu kibira.

    – 3,July,2012. William Lubega Musisi yakubbwa amasasi ng’ayigira ku geeti ye na menyeka amagulu nakati akyali mu Mulago.

    – 25,June,2012. Maj. Charles Ddamulira akola mu kitongole kya ISO yaalumbibwa mu maka ge n’abibbwako pasitoola ye wabula teyatusiibwako bulabe.

    – 22,June,2012. Haji Kiweewa Kigejjogejjo, nnyini wa Prime Shoppers e Kyanja yakubwa amasasi agaamutta.

    – Ku lunnaku lwe lumu omuwala Gimuminyiri Anatrida yakubwa amasasi e Ddundu- Nakasajja oluvannyuma lw’abajambula okutayiza takisi mweyali.

    – 23,May,2012. Sulaiman Wabbi naye yagwa ku kyokya kye kimu.

    – Mu Gatonnya, Noah Wamala owe Mutungo naye yattibwa

    – 5,July,2011. Omubazi w’ensimbi mu kitongole ky’ebyokulonda Ben Mawanda yatemulwa mu maka ge e Kyengera.

    – Ntenvu,2011. Munnamawulire omunyarwanda, Charles Ngabire yattibwa wakati mu kibuga.

    Abantu bye bogera

    Richard Semujju. Abantu baavu tebalina mirimu kibi nnyo nti basazzewo kutta banabwe okusoboola okwebezawo.

    John Mulemi. Abantu tebakyalina mutima gwagaliza bannabwe alina gwebagala okusanyawo ate ne pOliisi ensonga zino ezibalatiddemu nnyo.

    Recheal Nansikombi. Poliisi yeevako obutemu olw’okulemwa okufulumya alipota ku butemu obubadde bugya nga bukolebwa.

    Margaret Kambugu. Abantu twewala okutambula ekiro ate poliisi nayo esitukiremu okwongera okutondawo obukuumi obwamanyi mu bitundu byaffe.

    SOLOMON KAWEESA NE IVANIE MUKASA MALE

    in reply to: Abakyaala Nga temukyafumba??!! #28021
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Ekyo ekinyeebwa ekijjudde buli kizaamu omusaayi kyewali olowozezza kiri awo kirinze kukiba ddigobe nakwebaza eyafumba
    [attachment=2582]DSCN0507.JPG[/attachment]

    in reply to: Abakyaala Nga temukyafumba??!! #28020
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Ani akugambye nti tetukyafumba nze nkuyise ku kyemisana ne kyeggulo enva zigya lwaazo
    [attachment=2581]Picture 006.jpg[/attachment]

    in reply to: UGANDA MONITOR’S YOGA ADHOLA IS BRAIN DEAD #27969
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Ekisinga okuleeta omutawaana buli avudde ebule ne bweeya mukifo kyokusooka okunonyereza kubikwaata mukitundu kye nabiwandikira abewaabwe nabato ne bayiga , bajja wano mu Buganda nebefuula ba kafulu mukumanya ebyfaayo byaayo kyoova olaba nti buli nsi tekkirza bagwiira kubawandikira mawulire wadde ebitabo ebikwaata kunsi yaabwe nga siwaayo era tulina ebitabo bingi ebyabuganda okuviiradda agent wa bazungu obote byebakwaata nebayokya neberabira nti abaganda basomesebwanga ebibakwatako okuva mumaka gaabwe , kati bwosaako ono kawenkene aliko kati m7 nalowooza nti bwanayokya buli kya buganda kyonna nga byonna bifuuka byabanyamulenge ojkwo kwerimba ekiseera kijja kutuuka banyi byo babyeddize kubanga Mukama teyakola nsobi buli omu okumuwa ekikye.
    Kyoova olaba nga ebifo byaffe ebyobuwangwa yonna babyokezza nebazimbawo obuyumba ngo
    bwa barracks

    in reply to: Mmengo eneddamu okulanga ttenda y’okuzimba Amasiro #27968
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Nga be Mengo tebanayongera kussa mikono giziika baganda nakujjibwaako buli kantu anti kati byeebyo ebya Buganda byebasimbayo okufuna sente nga era kyebakola abaganda abalal abagenda okwewola nebasimbayo ebibanja ne ttaka lyaabwe olumala okubalaba nga basizaawo bussiness nga bajja bo bennyini ababawoze ssente nebagyookya nebamusaba abasasule sente zebamuwola nebamukasuka e luzira nebatwaala nettaka lye ne byonna byasimbyeewo
    Gvumenti lwaaki tekwaata sente Buganda zegibanja yo Buganda nemanya kyeyagala okuzikolamu
    Katikkiro emirimu gyamasiro nebyobuwangwa byaffe yandibigyeemu engalo kuba talinaamu wadde ettondo lyomusaayi eryagala obuganda ne byaayo atubulire bweyali azimba state house ya munywaanyi we yamala myaka emeka guno omulimu gwokuzimba ebyobuwangwa byaffe gulina kuweebwa bagazimba mu gwasooka , mukifo kyokulufuula oluyimba olutaliiko kkomo bonna abao mu banonyerezeeko bo byebekoledde mubbanga lino lyonna ba Ssekabaka baffe nga bali mu nkuba nomusana ekirungi kasita Buganda ogiraga omukwaano notambulira ku mateeka gaayo obaamu mirembe naye bwogifuula olusuku lwo nakattiro amadaala era ogivaamu totutte kintu nakimu.
    abeere nga muganda yakikola ku guno omulundi ajja kugenda nebatemu babbi banne abantu baffe babonyebonye ekimala

Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 779 total)