Ndibassa

Forum Replies Created

Viewing 15 posts - 16 through 30 (of 779 total)
  • Author
    Posts
  • in reply to: Waliwo Entiisa – Balaba Taliiwo Nebatubunzabunza #27923
    NdibassaNdibassa
    Participant


      OBUGANDA NGA BUYI BUBA BUSUBIRA NTI BAGANDA BANAFFE BEBANATUJUNA
      Bazzukulu ba Buganda International tebalutumidde mwaana nate okusobola okukuza omukolo guno nga bwebabadde bazze bakola ebbanga lyonna , naye si kugamba nti Mengo ebadde temanyi naye nga Kabaka yakibagamba dda era buli mwaaka abadde abagamba okugukola ne bagaana era nga neku masiro ebbanga lino lyonna buli lwalabikira Obuganda agamba amasiro gaddewo gazimbibwe mu bika kubulungi bwansi era Katikkiro na Be Mengo bagaanyi okukikola kubanga mu kubonabona nobwaavu bo mwebajja ekyokulya bwebakola omulabe m7 kyayagala ngoolwo bu Pajero buyingirawo nga bo baliisa amaka gaabwe nga babaawo bulungi okutuusa ngo Buganda bwonna buyimuse ne bujja omusota mu ntamu bebaganda abatuliira munda Obuganda bujja kufa akayirigombe , Bajjajja ffe balina obukambwe kubantu abaali bajolonga , abalya munsi yaabwe olukwe wamu nabatayagala kulwanirira nsi yaabwe.

      Bannaddiini n’abantu ab’enjawulo bavuddeyo ne bakolokota abakulembeze abakozesa obuyinza bwabwe okusaanyaawo Obwakabaka. Bannaddiini n’abantu abaabadde bakungaanide mu kusaba okwabadde mu lubiri olwokujjukira nga bwe giweze emyaka 46 kasookedde Milton Obote asindika magye ne galulumba, ekyaviirako ne Ssekabaka okuwangangukira mu Bungereza ne basaba Katonda okubonereza abakulembeze abeewangamya ku bukulembeze ne bagezaako okusaanyaawo Obwakabaka.

      Ku mukolo guno Abataka abakulu b’obusolya kwe baasinzidde ne bakolokota Abaganda abeewaddeyo okukozesebwa okusaanyaawo Obwakabaka.

      “Nga tusonga olunwe mu bakola ebikolobero ku Buganda, tetusaanye kubuusa maaso bazzukulu ba Nambi abayitwamu okulumbagana Obwakabaka. Teri asobola kutuuka kukola bulumbaganyi ku Buganda ne Kabaka okuggyako ng’ayise mu ffe Abaganda,” Nakirembeka Allan Waliggo.

      Ye Katikkiro wa Buganda mu kwogera kwe yalaze obwennyamivu olwabazzukulu ba Buganda abamu abagaanye okugondera ebiragiro bya Katikkiro ebyokujjukira olunaku luno awamu n’Obwakabaka bwa Buganda.

      “Kabaka ateekawo Katikkiro amufugireko Obuganda naye kyewuunyisa Katikkiro bw’avaayo n’abalagira ate ggwe n’okiwakanya era kino kiraga nti oba ojeemedde Kabaka.”

      Yayongeddeko nti wagenda kuteekebwawo ekijjukizo okugenda okuteekebwa amannya g’abazira abaalwana n’amagye ga Obote okusobola okutaasa obulamu bwa Ssekabaka.

      BUSUULWA ASUMAN
      [attachment=2550]1337885010.jpg[/attachment]

      in reply to: ABAGANDA TEMWEJJAKO BIKA BYA MUWOGO BYAMMWE BYADDA #27843
      NdibassaNdibassa
      Participant

        Ekisinga okwennyamiza kwekuba nti abantu abazze obuzzi mu nsi gyebasanze nga yegombesa buli omu bagezaako okwonoona nokusanyaawo kyonna kyebasangawo baseewo ebyaabwe byebamanyi ebyennaku ebbiri, ebibala ebitalina nsigo ngo
        lukikungula ngo kyerabira, lwaaki bino byonna bigweera mu Buganda bo ababireeta lwaaki tebasooka nebabigezesa waabwe ngaate enjala teri mu Buganda wokka , ate nga nokuba nti Buganda yali yemalirira nga bantu baayo basobola bulungi okwerimira nokweriisa kale nno twajjirwa , ate ekyewunyisa bwebamala okuleeta buli kyabufuusa kyonna nga bagenda ekiro no bunyonyi bwaabwe nga bakifukirira obutwa Mukama agya kubabonereza okumwononera obutonde mwesanga nga noibute bwammwe tebusigazza wakulya asoose nabalaga nti temusobola kujja mu Buganda bitooke nemubisimba gyebitatondebwa kwekwesanga nga bivuddeyo nenkota ezikaluba nga muwogo . Byonna ebisangibwa mu Buganda byetaaga kukwaata namukwaano , nakukaanya nabuguminkiriza nga mwozingidde obuntu bulamu nokusaamu ekitiibwa ebintu byosanzeemu, ebyo kasita bikulema okutegeera era nobissa mu nkola Buganda ogivaamu nga bwogiyingidde

        in reply to: KONY IS DEAD! #27805
        NdibassaNdibassa
        Participant

          If they are singing about Kony who left long time ago is M7 and his goons getting an Album of his Murdering regime too?

          in reply to: KONY IS DEAD! #27804
          NdibassaNdibassa
          Participant

            If they are singing for Kony who left long time ago is M7 and his goons getting an Album of his Murdering regime too?

            in reply to: Emirambo 19 bagiziise misu mu nkukutu e Wakiso #27799
            NdibassaNdibassa
            Participant

              Naye mukibuga gyebuvuddeko wabaddewo oluvuvuumo nga abakoemisana ttukula mu makomera bagamba nti ekyo sikipya bulijjo babadde bakikola oluusi babasuula mu nyanja oba mu bibira era nti kyekimu kyebakola abavubuka abaganda bebattira mu North nga babatikka kuloore tebamanyiddwa gyebabasuula oba okubaziika obwo obuwanga okubutimba ku butandaalo M7 yeyakireeta mu Buganda tetutimba bafu obwo obusezi bwadaala lyawaggulu obwetimbisa essanja

              in reply to: Ogwabaakwatibwa mu kwekalakaasa teguwuliddwa #27798
              NdibassaNdibassa
              Participant

                Ekyo kyaali kigumaaza kukkanya bantu buno obuzannyo bwaabwe bulijjo babuzannya mwe ddi lwemwaali muwulidde nti abayokya kino oba kiri tubakutte , oba abasse abantu mu ngeri etali emu kubanga ababatta bennyini ate bebabali mu gavumenti , bano ababbye eggwanga okulireka nga bantu beyaguza lujjo bo tebamanyi nawa Luzira gyasangibwa kyokka oli atambudde mu kkubo nga talina kyakoze muntu oba ateberezebwa nebamunona ne munyumba nebasiba nebatta bebasse nebekasukira yonna mu nyanja mu nsiko oba okubaziika ekirindi mu manimiro gabantu
                Byonna babikola mu nzikiza naye waliwo abateseeko eriiso eryoogi agenda okubaggirawo entobo bebuuze nekyabazaaza.
                Nabo mu North bwebaali mu buyinza tebalowooza nti nabo bayinza okufuna ebizibu nga bijja biwekaganye kati tulinda lwa m7 nebanne

                in reply to: Theft is usually hereditary… #27768
                NdibassaNdibassa
                Participant

                  Okwo okunyagulula amawanga agamu mu baddugavu kya bulijjo nga kubuuza kati bwebagwa mu buyinza ekitambo kyobubbi nekibakwaata kyoova olaba nti bwebagudde mu Buganda nebagamba nti ndaba kuki , kyebatasobla kubba olaba bwebakisanyaawo, naye Buganda yo ekusasuza nebwebuliba ddi kAbabe bazzukulu

                  ATE AGAVA MUKASONDA GAGAMBA NTI M7 KUNO YASAAKO MALAAYA ZE ZEZIJJA NEZIWANDIIKA BINO BYETULABA EBITAGGWA NGA ZIKOZESA EBINNYA NE ZIJJUZA SITE NOSENSE ZAABWE GAZIREMYE OKUNONYEZA BBA WAAZO AWOKULAGA NGE ENSI EMUFUNZIZZA ZINO ZE ZI AMAZONE ZE NGE ZE LIBYA ERA BULI LWOZIRABA ZIZZE OKUWANDIIKA WANO NGOMANYA NTI ZIMAZE KUJJULA NEBAZISINDIKA ZIJJE ZONOONE

                  in reply to: Happy New Year Mumbejja,Tonto, Mirembe, Efulansi.. #27767
                  NdibassaNdibassa
                  Participant

                    Naffe tukwagalizza omwaaka ogwebibala

                    in reply to: Kabaka Yasimbudde mmotoka mu mpaka mu Lubiri #27750
                    NdibassaNdibassa
                    Participant

                      Mwaali mukyetegerezza nti Bukedde wam7 awandiika ebintu ebitagenda kuberawo naye olwokuba talina bya kuwandiika kubulira bantu bigenda mu maaso ngokubba okuviira ddala waggulu nga omuwi womusolo yeyaguza lujjo enguudo zijjudde agannya nga amsanyalaze agAali gakola nga m7 tanajja na mu buganda kati gabbula . Kubintu byawandiika waliwo lwebalanga nti Kabaka agenda kukyaala eKooki nga Kabaka tali namu Buganda , nebamala nti agenda kusimbuliza emmotoka era Kabaka teyalinnyayo nebalanga mbu agenda kusisinkana balangira nabambejja bulijjo bwaaba agenda okubasisinkana bamala kukirangirira mu mawulire ? nga tetuwulirangako nga m7 bamulanga mu mawulire nti agenda kusisinkana banganda ze ? amawulire nga Monitor , AllAfrica -Uganda mwebawandiika ebigenda mumaaso mu gwanga lwaaki tebategeeza abantu nti bajjawo amawulire nga Munno Musizi namalala gonna agawandiika mu luganda ebyamagezi ,okujjako okutekerawo abaganda ebiwulire ebijjudde obulimba nebyobukaba , bwebabulwa byebawandiika nga bawereza ba accident squad nga batta abantu mu makubo basobole okuliisa ebiteega byaabwe emisaayi gyabantu baffe bebattidde mumakubo nga bo abomuwest tebattibwa nga baganda ye bo abam7 bayita mumakubo ki abatagwibwaako bubenje bwebatuusa kubanaabwe oba bwo obutayimbwa bwebukuba kumitwe gyaabwe gyo tegyatika .Mukama talyazamaanya kyemusize kyemujja okukungula mulekeraawo okulowooza nti bwemunakozesa erinnya lya Kabaka lwemunatunda amawulire gammwe abantu temubaleka kukola mirimu mulowooza banalekawo okugula emmere nebagula ebyo ebiwulire byammwe ebijjudde obuseegu lwaaki temugawandiika munnimi zammwe oluganda silwammwe era abantu baffe basobola okuberawo nga tebasomye byabuseegu bwammwe twakoowa
                      mulangirire mu bukedde ebintu byemubbye sente nawa gyemuzikukulidde awo tunamanya nti mulinako kyemuwandiika

                      in reply to: eyaali Vice President Prof.Bukenya yasuuze Luzira #27744
                      NdibassaNdibassa
                      Participant

                        Eyo e Luzira gyebalaze abantu baffe abasinga gyebafiira nokuvundira kati olwo bwebagenda balowooza nti Bukenya yeyekka omusibe? Obuganda bubasizza akasiiso nga mulondobamu ani atateekwa kukwatibwaako naani atagasa,Bagamba nti kyosiga kyokungula abo bemuyisaako amaaso tomanya oba gyebujja bemulyetaaga okubaako nabo byebabakolera oba abenganda zaabwe , ebbanga lino lyonna nga baganda batulugunyizibwa , nga Masiro gokebwa obutale , amasomero ,nabaana baffa abe Buddo ba MP bano nga tebekunganyanga kubaako doboozi lya mwanguka , oba bagala kugamba nti nabo bwekubangako gwebakutte banne bamuddukirire
                        Kigasaaki okukuba enduulu nti babano ababbi ate bwebabakwaata nemugenda mubawooyawooya
                        Obuganda bujja kwenunula naye buli ava ku mugendo ajja kufuuka kaasa eryo ekkomera nobuganda bulinze abajja okuliyingira , omugezi atandikirawo okulirongoosa kuba tomanya ddi lwonoliyingira emirembe ngalo , ate bwebukya si bwebuziba.

                        in reply to: Emipiira Gy’ebika By’A baganda #27726
                        NdibassaNdibassa
                        Participant

                          [attachment=2518]Magulunyondo.jpg[/attachment]
                          Ssaabasajja enkya lwaggalawo egyebika
                          Thursday, 22 September 2011 14:15
                          Enkya

                          Mbogo V Mmamba Gabunga ssaawa 10 ez’olweggulo.
                          Okuyingira 3000 eza Uganda.

                          KAYINGO ANDREW

                          Olunaku lw’enkya kyakutokota nga sikisaanikire mu kisaawe e Nakivubo, Ssaabasajja Kabaka Ronald Mutebi II bw’anaaboneka eri Obuganda okuggalawo empaka z’omupiira ez’ebika by’Abaganda ez’omwaka guno.

                          Bazzukulu ba Kayiira ab’e Mbogo be bagenda okugwisa obwenyi ne bazzukulu ba Gabunga abeddira emmamba ku luzannya olwakamalirizo mu mupiira ogusuubirwaokusigula enkonge.

                          Omutendesi w’emmamba Gabunga, Cyrus Nsubuga yeerayiridde nga bw’agenda okusitukira mu ngabo y’omwaka guno era ng’essuubi ly’obuwanguzi limuli mu muzannyi we Eric Ssebuguzi.

                          Wabula ne Frank Video Anyau atendeka eb’ekika ky’embogo naye agamba nti bw’ogoba musajja munno olekamu aganadda n’olwekyo ab’emmamba tebasaanye kweyibaala, engabo yandibayita mu myagaanya gy’engalo.

                          Ekika ky’emmamba Gabunga okutuuka ku luzannya luno, kyasooka kuwandulamu ebika omuli; engabi ennyunga, enkima, engabi ensamba n’ennyonyi Nakinsige.

                          Yo embogo yawandulamu ebika omuli; embwa, endiga n’effumbe.

                          Okuva empaka z’omwaka guno lwe zaggulwawo ng’ennaku z’omwezi 23 omwezi gwomusavu, ekika ky’embogo kye kikyasinze okutimpula ekika kinnaakyo ggoolo ennyingi, nga kyakuba ekika ky’embwa, ggoolo 7-0 nga 13 omwezi oguwedde.

                          Emiryango ginaggulwawo ku ssaawa 4 ez’okumakya.

                          Ebika ebizze biwangula engabo okuva mu 1990.

                          1990-LUGAVE

                          1991-NGEYE

                          1992-NGEYE

                          1993-NKIMA

                          1994-MMAMBA

                          1995-LUGAVE

                          1996-MPINDI

                          1997-NNYONYI NYANGE

                          1998-LUGAVE

                          1999-LUGAVE

                          2000-NGO

                          2001-LUGAVE

                          2002-MPOLOGOMA

                          2003-MMAMBA

                          2004-LUGAVE

                          2005-FFUMBE

                          2006-MPINDI

                          2007-NGABIMPINDI

                          2008-KKOBE

                          2009-FFUMBE

                          2010-ENTE

                          2011-?

                          in reply to: Uganda’s oil contracts leaked #27725
                          NdibassaNdibassa
                          Participant

                            [attachment=2517]oil-deals-released.jpg[/attachment]
                            Lwaki endagaano z’amafuta entuufu bazikukulidde?

                            Thursday, 22 September 2011 14:37

                            DEO WALUSIMBI

                            Ssaabawolereza wa gavumenti, Peter Nyombi akombye kw’erima nti tagenda kwanja mu lujjudde ndagaano ezikwata ku mafuta ga Uganda, nga kati essuubi lisigadde eri Sipiika wa palamenti, Rebecca Kadaga okutuukiriza ekyasaliddwawo ababaka okuyita palamenti okuva mu luwummula esalewo ku nsonga eno.

                            Peter Nyombi yagambye nti, “Nneewuunya ababaka okusaba endagaano z’amafuta ate nga nabategeeza nti sisobola kuzibawa mu lujjudde kubanga za kyama. Bwe nkikola mba mmenye endagaano ezinkakatako okukuuma ebyakkaanyizibwako. Buli ekisoba mu ndagaano kiyinza okuggweera mu kkooti,” Bw’atyo bwe yakkaatirizza eggulo.

                            Ebigambo bya Nyombi tebirina kye byakyusizza ku gavumenti w’ebadde esibidde, ekyavuddeko ababaka; Abdul Katuntu ne Theodore Ssekikubo okukuŋŋaanya emikono 166 ne bagiwaayo ewa Sipiika Kadaga ayite palamenti ey’enjawulo okuteesa ku mafuta.

                            ENKAAYANA ZIVA KU KI?
                            Mu 2007 gavumenti lwe yakola endagaano zino oluvannyuma lwa Pulezidenti Museveni okutegeeza mu 2006 nti, “Uganda yavumbudde amafuta egenda kugakozesa okwekulaakulanya gamba nga tuzimba amabibiro g’amasannyalaze okusobola okukendeeza ku buseere bw’amasannyalaze bwe tulimu kati. Okutandika okugasima okusooka kwa 2009, nga tujja kutandikira ku bigalani 6000-10,000 buli lunaku.”

                            Ekyavaamu palamenti yagenda okulaba nga gavumenti esaba obuwumbi obusoba mu 11 okusasula bannamateeka abagwira okugiwolereza mu musango nga gy’ewadde omulimu okugasima eya Heritage egiwaabidde e Bungereza olwokukkiriza ekitongole ky’emisolo okubaggyako omusolo ogusoba mu kawumbi kalamba gwe batakkaanyaako mu ndagaano gye baakola ng’omulimu gubaweebwa.

                            Bannabyabufuzi abavuganya gavumenti baatandika okwekengera engeri ensonga y’amafuta gy’ekwatiddwamu ate nga waliwo n’okwemulugunya okwaliwo mu babaka abava e Bunyoro nti waliwo ebimotoka ebigasomba mu matumbi budde, ne basaba endagaano ziteekebwe mu lujjudde eggwanga limanye ekigenda mu maaso.

                            ANI ALINA ENDAGAANO?
                            Waliwo endagaano eziri ku mikutu gya yintaneeti ezikubibwa mu mawulire naye nga tewali amanyi butuufu na bukyamu bwazo kubanga Ssaabawolereza wa gavumenti, Peter Nyombi amanyi ekituufu tayogera.

                            Endagaano zigamba nti byonna ebyamafuta birina kuba bya kyama. Emisango gy’amafuta gya kuggweera mu kkooti za Bungereza, kampuni z’amafuta ze zivunaanyizibwa ku kutambuza amafuta mu ttaka ate nga gavumenti y’erina okusasula singa wabaawo engeri yonna ey’okuzifiiriza.

                            Endagaano eno ereetedde abantu bangi okulowooza nti ntuufu ate abamu ne batandika okugibuusabuusa. Erimu obuwaayiro bubiri obwekuusa ku bigambo bya minisita Nyombi by’ayogera ate nga n’eyali minisita w’obugagga bw’ensibo eyateeka omukono ku ndagaano ya gavumenti ne kampuni ya Heritage abukakasa.

                            Omubaka Medard Sseggona ategeezezza nti, “Ssaabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi endagaano z’amafuta tazirina era alabika naye tazirabangako, alemeddwa kuguma kutubuulira kituufu nti amusinga obuyinza y’azirina.”

                            Mathias Mpuuga alumiriza nti, “Ssaagala kulowooza nti Nyombi talina ndagaano z’amafuta ntuufu kubanga ye ssaabawolereza wa gavumenti naye bw’aba tazirina yandibadde alekulira.”

                            Omwogezi wa gavumenti, minisita Mary Karooro Okurut ku ssimu okutangaaza ku nsonga zino yagambye nti, “Mpandiikira obubaka nina abantu” kyokka obubaka bwe yabulabye yazzeemu n’obubaka n’agamba nti, “Sirina ddembe kubyogerako mu kiseera kino, nja kwogera ku lwokutaano ssaawa munaana.”

                            Pulezidenti bwe yasisinkanye aba NRM e Ntebbe yategeezezza nti, “Aboogera ku mafuta baggya eggwanga ku mulamwa gw’okwekulaakulanya kubanga nze nneerabira n’okwerabira oba tulina amafuta.”

                            Okusinziira ku alipoota eyakolebwa aba Ernest & Young mu 2006, Uganda yafiirwa ensimbi ezisoba mu katabalika kalamba mu kupangisa kampuni ya Heritage. Yafiirwa obuwumbi obulala 4 kampuni ya Heritage bwe yagaana okusasula mu musolo, nga kino kyava ku kulagira gavumenti okubala ebitabo byayo omulundi gumu gwokka buli mwaka.

                            Omubaka Theodore Ssekikubo baakizuula nti Uganda yaakafiirwa akeesedde 1 n’obukadde obusoba mu 600 bukyanga amafuta gatandika okusimwa.

                            AMAFUTA KIKOLIMO OBA MUKISA?
                            Ababaka Mpuuga ne Sseggona baategeezezza nti, “Amafuta si kikolimo wabula mukisa eri eggwanga naye ekizibu be bakulembeze abaakolimirwa be tulina.”

                            Pulezidenti Museveni naye awakanya amafuta okubeera ekikolimo, n’awera nga bwe gajja okukozesebwa gavumenti okuleeta enkulaakulana nga bweguli mu mawanga amalala agalina amafuta.

                            Okuggyako Nigeria efunye mu mafuta, ensi za Africa ezisima amafuta zirimu entalo nga ziva ku ngeri abakulembeze abali mu buyinza gye baagala okubweremezaamu nga bwe beegabanya ensimbi ezigavaamu n’abantu baabwe ababeetoolodde nga Gaddafi bw’abadde akola e Libya.

                            EBIBUUZO EBYEBUUZIBWA
                            •Lwaki endagaano z’amafuta zaakolebwa mu kyama nga ssemateeka awa bannayuganda eddembe okufuna amawulire gonna okuggyako agataataaganya ebyokwerinda?
                            •Baani abali emabega w’amakampuni gano bw’ogeraageranya n’emivuyo gy’ensimbi egibadde mu ggwanga?
                            •Ani abadde atwala amafuta ga Uganda okuva mu 2009?
                            •Waliwo essuubi okuwangula omusango gwa Heritage ng’ogwa Congo gwe yatuwaabira mu 2002 gwatusinga?
                            •Bannayuganda baakafiirwa ssente mmeka era abakungu abali waggulu baakafunamu mmeka?
                            •Olutuula lwa palamenti olwenjawulo ku mafuta lunaatuula?

                            in reply to: Ebisoko Mu Kugereesa ( Akola Kino Nga..) #27724
                            NdibassaNdibassa
                            Participant

                              Enjogera zaffe

                              Bya Keefa Ssentoogo

                              MAZIRIBANO nga omubbi awonga nti ekibi kigwana wala nti bwe banaasooka ggwe?

                              Gaboggola nga ekkere ly’e Namugongo. (Kino kitera kukozesebwa ku muntu naddala abasajja aboogera nga baboggoka)

                              Atengeesa ebbuto nga omwami omukodo.

                              Atunula kyamuli ng’essalambwa ery’ensenke.

                              Nnakifanjagala nga omubi ateeyonja.

                              Weewombeese nga eggole eririba ejjombi.

                              Obyangatana nga anyiza ajjula.

                              Yeerigomba ng’omulungi akomba ekibya.

                              Oli wa mugoonyo nga atta enkoko n’ajjula kasooli.

                              Atunula biriroliro nga enkoko ebiika enkoto.

                              Kalunsambulira nga ekitooke kya Kibuuka.

                              Nabyewanga nga akaliga akaliira mu nte.

                              Weetemaggula nga omunafu alima awagonda.

                              Published on: Saturday, 17th September, 2011

                              in reply to: M7 NOT A UGANDAN #27687
                              NdibassaNdibassa
                              Participant

                                Bino bya mpuna nga nyinimu abba enva

                                in reply to: ENTUUYO ZAFFE ENO GYEZISANGIBWA #27686
                                NdibassaNdibassa
                                Participant

                                  Bino biriko Update

                                Viewing 15 posts - 16 through 30 (of 779 total)