Ndibassa

Forum Replies Created

Viewing 15 posts - 31 through 45 (of 779 total)
 • Author
  Posts
 • in reply to: Hima clan And Tutsi Master Conspiracy Plan #27685
  NdibassaNdibassa
  Participant

  Byonna nga bwebabitesaako bwebabikoze , kati katulinde Okusalawo Kwa Katonda

  in reply to: Kino Obadde Okimanyi? #27675
  NdibassaNdibassa
  Participant

  [attachment=2511]1308402512musota.jpg[/attachment]

  EBISAANYI bibeera mu bifo eby’enjawulo mu ttale kubanga gye biggya ebyokulya. Birya bikoola n’ebibala. Waliwo ekika ky’obusaanyi obutono obulya ennyo.

  Obw’ekika kino nga bwagudde ku muti, mu nnaku mbale buyinza okulya obukoola bwakwo okubumalawo. Ebiseera bingi, obusaanyi obw’ekika kino buba mu langi y’emu n’ey’ebikoola bwe birya.

  Bwe bulya obukoola bw’omutuba, gwonooneka ne guba nga tegukyasobola kuvaako lubu go lulungi.

  Waliwo n’obuyinza okugwa mu musiri gwa lumonde akawungeezi kyokka obudde bugenda okukya ng’amalagala gonna tekukyali

  Ebisaanyi birimu ebika bingi omuli; ssekkeesa, ekyonga, Nnaalongo, kalerabaana, ttulikiramunnyindo, sulensaamu n’ebirala. Omubiri gw’ekisaanyi gukolebwa ebitundu mwenda era kyonna awamu kiriko amagulu mwenda.

  Ekisaanyi kirina amagimbi ag’obusagwa. Nga kyayokezza omuntu, afuna okusiiyibwa era n’abutuka. Omuntu gwe kyokezza ayinza n’okulwala entunuka singa aba tayanguye kweggyako magimbi ge kiba kimuleseemu.

  Okweggyako amagimbi gano, amangu ddala nga kyakakwokya, funa evvu weekuute we kikwokezza. Mu ngeri yeemu, funa n’amafuta ogateeke ku kagoye oyiseewo mu bwangu.

  Waliwo ebika by’ebisaanyi ebyeyubula emirundi egisukka mu ena okutuusa lwe kikula. Ebisolo bingi biyigganya ebisaanyi nga bibirya olw’okuba birimu ekiriisa kya puloteni kingi.
  Published on: Saturday, 18th June, 2011

  in reply to: NRM ROBBERY AND THUGGERY #27674
  NdibassaNdibassa
  Participant

  .Muzuukuke abasajja bamalawo ensi yaffe

  Written by Administrator
  Monday, 20 June 2011 15:49
  SSEMUJJU IBRAHIM NGANDA

  Kye mmanyi era nga bulijjo abamu ku mmwe mugamba nti ebyo ebya UBC (Uganda Broadcasting Corporation), nze tebinkwatako.
  Omanyi omuze omubi ogusensedde ensi yaffe, be bantu okulowooza nti ebya gavumenti, bya Museveni oba omukulembeze yenna ali mu buyinza. Bw’alonda kabinenti ne tumugambako nga mugamba nti ye bamwagaza ki, bamuleke wa kabinenti ye.

  Enguudo, amasomero ssaako n’amalwaliro okugabazimbira mulaba ng’ababagemudde, ssebo mukuba n’embuutu ne muzina.
  Naye mmwe temukimanyi nti ensimbi ezikola ebintu bino, zisolozebwa mu mmwe. Buli lw’ogula ssukaali oba amafuta, manya nti gavumenti ekuwoozaako omusolo.
  Era kati okuwulira nti ssukaali bamusazeeko omusolo newankubadde ebbeeyi teyasse.
  Ogwo omusolo buli omu aguwa kasita oba ng’onywa ssukaali oba kale ng’okozesa amafuta.
  N’olwekyo ebintu gavumenti by’ekola si birabo wabula buvunaanyizibwa era obugiweebwa bannansi. Museveni oba Ssemujju Nganda akiikirira ab’e Kyaddondo si be boosi, nedda, mwe abalonzi mwe bannannyini nsi, ffe tuli bapakasi.
  Munsonyiwe, njagadde nsooke nandagge nsobole bulungi okubalaga, nti gino emivuyo gye muwulira mu UBC, ekitongole kya gavumenti ekyebiweerezebwa ku mpewo bibakwatako era musaana okubigoberera n’eriiso ejjogi.
  Ŋŋamba kino ekitongole kya Radio Uganda ne UTV ng’edda bwe mwabiyitanga.

  Mwawulira nti abakulira ekitongole kino baakwatibwa era ne bavunaanibwa. Ekyokubakwata n’okubavunaana ekyo nno kirungi. Naye ekyebuuzibwa, mivuyo ki emikulu egiri mu kitongole kino era omuntu wa bulijjo, gimukwatirako wa?

  Omanyi ebya TV ne leediyo bizibu, omuntu bw’aba agiraba oba ng’agiwulira, tamanya nti munda eyo eriyo obuzibu.

  Naye olwaleero njagala nkunokolereyo obumu ku buzibu obuli mu UBC.
  Ettaka ly’ekitongole lino ddene era abanene ba NRM baalyegabanya.
  Mu abo mwe muli kati ne minisita omupya ow’ebyamawulire, Mukyala Maria Busingye Karooro Okurut, akiikirira abakyala ba Bushenyi ne munywanyiwe, Margaret Muhanga abadde akiikirira abakyala b’e Kabarole (Fort Portal).
  Mbu olunaku lumu, aba UBC nga bakulemberwa minisita eyali abatwala, Al hajji Kirunda Kivejinja, baasisinkana Mw. Museveni ne bamusaba okutunda ku by’obugagga by’ekitongole kino, basobole okukigulira ebyuma ebipya ebyomulembe.
  Mw. Museveni ya basaba bamuleetere olukalala lw’ebyobugagga by’ekitongole kya UBC, awo ne badduka za mbwa.
  Mw. Museveni bwe yalaba nga UBC erina ke yeekoledde, kwe kubakkiriza batundeko basobole okugigulira ebyuma ebyomulembe.
  Naye nga bw’eri enkola ya gavumenti eno, okutunda ebyobugagga bya UBC okugigulira ebyuma, gwafuuka mugano olwo abanene ne basimba ennyiriri mu butuufu kutandika kunyaga bunyazi bya bugagga.
  Ebimu ku by’obugagga bya UBC, lyali ttaka. Ekitongole kino kibadde kirina ettaka; e Nakasero, Ntinda, Bugolobi, Kololo n’ebitundu ebirala.
  Nategeezeddwako nti, Mukyala Maria Karooro eyali alemereddwa okusasula ebbanja, yeegatta ne Muhanga ne bakyalira Museveni ne bamusaba abawe ku ttaka lya UBC.
  Mbu baamugamba nti baali bagenda kukolerako bigatto bino bimagetesi naye mbu n’ayitika. Era omuwandiise wa Museveni, ow’ekyama era kati nga minisita, Amelia Kyambadde n’akoloboza ebbaluwa ng’alagira abakyala bano baweebwe ettaka bakolereko bimagetesi.
  Naye bano baali bafere bennyini. Ettaka baali tebalyagala kulikozesa, wabula kulisammula bafunemu ensimbi era kye baakola. Olwalibawa nga baliguza Bachaina, nga buli omu yeefunira obukadde 200.
  Ekyo si kye kikuli, ekikulu kiri nti ettaka lya UBC lyanyagibwa abantu Mw. Museveni be yawa olukusa. Bwe batyo abasajja bano, bwe bamazeewo ebyobugagga by’ensi yaffe. Mmwe mumanyi nti, ettaka lya Uganda Railways, nalyo kati baalimalawo dda?

  Bajjajjamwe ne bakitamwe tebaakola nsobi kuwa oba kugulira bitongole bino ttaka. Kati mpulira basamwasamwa nti bagenda kukulaakulanya ggaali ya mukka. Banaagikulaakulanya batya ng’ettaka lyayo lyonna baalitunda? Kale mwe musigale nga musirise, abaana bammwe balizimba ku ntaana zammwe ne bakolerako n’embaga?

  in reply to: ‘ZINUNULA OMUNAKU’BY E. K .N .KAWERE #27669
  NdibassaNdibassa
  Participant

  Mbego mmufumita n’ava mu buddeEbitabo byaffe

  KYAZIRA kutereera, n’asindika amafumu mukaaga nga ga kumukumu gonna ne ngakuba, gonna nno nga gajjira mu kifuba wakati! N’awulugumya limu ng’ayagala linkwante obwenyi, ne mpanika engabo ate ne nfukamira.

  Effumu kwe kuyita mu kakundi k’akagabo kange ne ligenda nga lyesooza nti, “Omponye nno!” Amafumu ne gatandika okujjira okumukumu mangi ne ngakuba amalala ne gankwata emikono amalala magulu ne mmanya nga “Kamaanya” asunguwadde anti nga takyagera bulungi.

  Kino ne kimpa buggya amaanyi era mbu mu kaseera kano Muyodi we yayogerera nti “Entamu ebadde efumba eya Mbego bavuunike!”

  Ebyo nno Mirembe ye yabimbuulira. Effumu erimu lyankwata ekisambi ne ntalanguka naye ne nfukamira bufukamizi ne sigwa. Ne nnwana bwezingirire buli ffumu lye nasindikanga abEemikwano ne baamira nti, “Bwotyo ssebo, bwotyo gendera awo ggwe, toggya okwo mpolampola ayiisa obusera.”

  Mbego yalaba mmufuukidde lukokobe, n’asindika effumu lye eryali ery’okunzisa era eryali effumu lye, lye yakanyuga omulundi ogw’enkomerero mu nsi. Bwe lyajja ne ndyekangira kumpi, ne ndikuba mawanvuwanvu ne limpita ku mutwe ne litumbiira mu bbanga mbu ne lyetonnya emabega wange.

  Bwatyo Mbego olw’eryanyi lye yakozesa ng’akasuka effumu, n’atagala era nange bwe nalikuba ne ntagala naye nze ne mmusooka okutereera, kye nava nnuma n’ogwengulu ne nkoowoola n’agomu buto gonna; ne mmusindikira effumu ne likwata ekkundi ly’engabo ye ne ndaba nga kuvaako ensasi ne ligiyitamu ng’akambe bwe kayita mu muzigo ne limugatta ebisambi byombi awo kumpi ne bbunwe; n’alyoka yeerindiggula ennume y’ekigwo ng’ente gye basibye amagulu gonna be ddu-u-u!

  Bwe yagwa, n’agwa ku gutundutundu gw’effumu erimu ku mafumu agaali gamenyese mu lutalo nga gwesimbye mu ttaka , obwogi nga bwe butunudde waggulu ne gumuyitamu mu mbiriizi ne gukomekkereza omulimu gwe natandika!

  Nali wa mukisa bukisa nze obutasooka kukasuka ffumu n’amaanyi gange gonna kubanga ddala mba kusooka Mbego kwemalamu, nkakasa nga nze sandirutonze. Ebyaddirira sibijjukira, wabula nzijukira kino kyokka nti, Mbego bwe yagwa ne ndaba ng’ensi yonna yeetooloola ne mpulira ng’agwa awo nno we nakoma okutegeera.

  Bino byannyumirizibwa Mikolo: bwe nagwa, Mikolo, Muyodi n’abantu abalala Muyodi be yali alagaanyizza ne bansibako akasaakaate k’abantu era mu kawuniikiriro akaddirira, ne banneebagajja nga batya nti sikulwa nga mikwano gya Mbego mu busungu bwabwe bankolako akabi. Abantu bonna okugenda okuwawamuka n’okutegeera ddala ekibaddewo bajje bantunuleko, nga tebakyandaba. Banne ba Mbego tebaagoberera era Mikolo yang’amba nti singa baagoberera, yabuusabuusa oba nga waaliwo ku bo eyandizzeeyo. Nti kubanga Muyodi yagendanga ‘ataliza’ emabega waffe, obubinja bw’abasajja be abaagayiga obulungi nga nze banneetisse nti nno obubinja obwo bwasigalanga bukwebedde balyoke babwetonnyemu nga tebamanyi! Ate bakung’unsa tebeeramba kkubo baagendanga basalinkiriza mu nsuku era n’ewaffe tebandazaayo wabula bantwala wa Muyodi gye natuusibwa ng’obudde buzimeera.

  Abasajja ne bambugumiza amazzi ne bannyiga ebiwundu era ne bannaazaako omusaayi. Muka Muyodi n’asiiga eddagala eryo ate nga teribembulwa kunyiga kiwundu wabula buli awabembuka nga nkovu. Bannnyumiza nti eddagala eryo okusooka baatya okulimmetta olw’okuluma kwalyo nti naye eyabagumya ye Muyodi ne mukaziwe Kulwawo abaategeeza abasajja abaali balitidde nti mu mbeera gye nalimu nali sisobola kuwulira bulumi.

  EKIBUUZO: Obuwanguzi Zinunula bw’atuukako, abutuukako lwa mukisa si maanyi ge. Kubaganya ebirowoozo.
  Published on: Saturday, 28th May, 2011

  in reply to: Omanyi yo ku ddagala erija omuntu ku mwenge? #27668
  NdibassaNdibassa
  Participant

  Ku kye nawulirako nti oyokya obwooya bwembuzi evvu nolimansula mu mwenge gwooyo agweyalira nokugwebikka, naye ndowooza otekamu obuvu butono nti nosamu nettondo lya mata ge mbuzi kati agunya ekigumugobako kyekisu kyembuzi era buli lwaaba agenda okugunywa kyekimujjira nagukyaawa naye kiba kirungi oli neyebuzaako osanga waliwo kyoyongeramu oba kyotosaamu ,

  in reply to: Kino Obadde Okimanyi? #27647
  NdibassaNdibassa
  Participant

  [attachment=2507]1305397867Kalolix.jpg[/attachment]
  Kalooli ensajja n’enka zi zimaamira mu mpalo

  KALOOLI kinyonyi kya ku ttale era kibeera okumpi n’emigga ne ku mbalama z’ennyanja. Mu bifo bino mwe bivuba ebyennyanja bye kisinga okulya.

  Kalooli era zibeera nnyo ne mu bifo ebirala eby’oku lukalu awabeera ebyokulya naddala ennyama era eno y’ensonga lwaki bisenga nnyo mu bibuga abantu mwe basuula ebyokulya ku kasasiro. Bisenga nnyo ne mu bifo ebiriraanye lufula z’ebisolo mwe zisanga ennyama.Birya nnyo n’enkuyege, enswa, amayanzi n’ebisaanyi.

  Zisula ku miti emiwanvu okusobola okulengera awali akaliibwa. Ku muti guno era enkazi kwe ziibiika amagi agali wakati wa 2 oba 3.Wabula mu kumaamirira ekikazi n’ekiwanga biyambagana era omulimu guno gubikola mu mpalo okumala ebbanga lya nnaku eziri wakati wa 29 ne 31. Bwe zimala okwalula, mu ngeri y’emu ziyambagana mu kusombera obwana emmere mu bbanga lya wiiki ntono ezisooka okutuusa obwana lwe bukula ne buba nga busobola okwetuukira.

  Kalooli enkazi etandika okubiika ku myaka ena kyokka bwe ziba tezifunye bulwadde buzitta, ziwangaala emyaka 25.
  Published on: Saturday, 14th May, 2011

  in reply to: Enjogera eyinza okukunnyika oba okukubbula #27646
  NdibassaNdibassa
  Participant

  Bya Joseph Balikuddembe

  WALIWO gwe nagamba nti, “Owange omutambuze, ndaba otandise okutema ‘amagembe’ n’okukuba ‘enkondwe’ mu maaso.” Ekyokuddamu kyamulema n’asiriikirira ng’alinga alowooza ennyo kyokka nga bimusobedde.

  Okutema ‘amagembe’ n’okukuba ‘enkondwe mu maaso’ byombiriri bitegeeza okulimba nnyo.

  Ate akaseera ak’okuwaayo ebirabo by’abakulu bwe kaatuuka omwana omulenzi bwe yatuuka ne ku ngoye ne mmubuuza nti, “ewammwe eriyo ku ‘mitubagizansonga’ n’addamu nti, nedda. Amangu ago ng’enda okuwulira ng’ayanjula nti, “twakomaze embugo omuli olwa maama, ssenga n’abalala ne ntegeera nti kye namugambye teyakitegedde. Emitubagizansonga kitegeeza emituba era mwe bakomaga embugo.
  Published on: Saturday, 14th May, 2011

  in reply to: ‘ZINUNULA OMUNAKU’BY E. K .N .KAWERE #27645
  NdibassaNdibassa
  Participant

  Nnejjusa obufumita kutta Mbego

  Ebitabo byaffe

  OLUSAMBAGGERE luno lwanyiiza nnyo Mbego era nze kata ndugulemu obulamu, kubanga bwe namusamba ne nzungamu nga sinnatereera bulungi ye n’asindika effumu n’obuswandi obw’ekitalo ne lijja nga linyooka liriko n’obujja bwegaaya.

  Nalyekangira kumpi nnyo ne likwata ekkundi ly’engabo yange ne liyitamu ne linsusa olususu lw’olubuto ne ligenda nalwo! Naye singa engabo nali sigikwatidde bbali nga mmusamba, awo bandiggyeewo kugenda kumalirako ttaka.

  Mbego n’agamba nti, “obwedda nkutaatira kazzi nneeyolera mpiri mu bunnya!” Ne ndaba ng’asunguwalidde ddala era ne mmanya nti kaakano “Nze oba ye!”

  Ebyaddirira mmanyiiko bitono, anti twayokyagana mafumu gokka, oluusi nga nze mmukwasa oluusi nga ye era mu kiseera kino olutalo ne luba lwa kabi nnyo nga tewali kutemya wadde okumira eddusu. Omulundi gumu, engabo ya Mbego yagwa nga ngikubye naye oba lwaki saamuzisa mu kiseera kino ne kaakano simanyi era ndowooza sirimanya.

  Ddaaki, omulangirizi n’afuuwa ekkondeere tumire ku ddusu, naye nze nga sifaayo oba nga tuwummula oba tetuwummulamu mmaze okuguba era nga ntaamye; nga kye njagala kwe kulwana oba banzita banzite olutalo luggwe. Anti nga nzenna njebye era nzenna ng’omusaayi gumbunye.

  Waaliwo ddala mu kaseera akamu we nayagalira okuleka Mbego anfumite era nali ddala ku njegooyego ya kukikola naye ate awo we baafuuyira ekkondeere tuwummule. Nga tuwummuddeko, Mikolo n’agezaako okunvubiriza ng’addira ekiwero n’annyika mu mazzi n’ampisaako.

  Eng’ombe teyalwa n’etokota tudding’ane ne mpulira ng’Omwami yeesooza era nga bw’akontola. Abasajja abajja ne Mbego ne boogera ebigambo bye saategeera naye oluvannyuma Muyodi bye yanjogereramu ne mbimanya. Bye bino, “Andu akiti amoga! Adudu amale pyo! Ekinyobba jje lakatu ddu!”

  Mba nsituka akaana ne kajja n’olwendo ne kang’amba nti, “Muyodi akukuutidde weekuume nnyo era Mbego tomuggyaako maaso, anti era mu lulwana luno malira amagezi gonna mu kwewoma amafumu ga Mbego.” Bw’atyo n’amaliriza ne bino nti, “Banne bamuvumye nti, oli muntu ki ggwe! Okulemwa akaana ako akato! Ye Omwami onoddayo n’omutunula mu maaso! Nti nno bw’akulema luno nga tokyatukulembera.”

  Bwe namala okubiwuliriza ne ng’amba akaana nti, “Ddayo omugambe Muyodi, nti awandigudde oluwanga lwange we waneerindiggula olwa Muyodi.” Naye mba nsituka ne ngwa, Mbego kwe kwogera mu ddoboozi ekkangufu nti, “Situkawo eri ne nkumaliriza, ensega nange zinneeyanzeeko nga bannange bwe zibeeyanzizza.

  Nange muli ne mpulira ng’obwange busigazza kaseera buseera anti ng’engabo sikyagiyinza ezitowa nga luyijja, omukono gwange ogwa ddyo guzingaladdemu ate nno gattako ebiwundu n’omusaayi gwe nali njoobaanye wamma ggwe nga tewali njawulo na kiyoyo ate nga nnyenja buyenzi.

  Mu kaseera kano omusajja omu we yasitukira n’asaba Omwami omuzannyo guggwe, ng’awa ensonga ze nti, emirundi egya bulijjo esatu egizannyibwa giweddeyo era n’ekyokubiri engabo yange yali ewumugguddwa nnyo nga tekyewomekamu. Omwami okwandibadde okwanukula yanyeenya mutwe era n’alaga olunwe ku ngabo ezaali awo ku bbali.

  Omusajja ono Nkuyegetetyassabo yali muzira nnyo yali yaakalwana mu ntalo kkumi ng’akomawo newankubadde mu lumu eriiso teryalutonda

  Wa ebikolwa ebiri mu mboozi eno, ebiraga ng’omuzannyo guno kaali akatego ak’okumutemula.
  Published on: Saturday, 14th May, 2011

  in reply to: Ebyo buwangwa #27644
  NdibassaNdibassa
  Participant

  Nakku y’awa Kabaka effumu okutabaala

  Bya Mariam Kyabangi

  SSEKABAKA Kimera ye Kabaka wa Buganda owookusatu. Mutabani w’omulangira Kalemeera ne Wannyana Owenseenene. Oluvannyuma lwa Chwa Nabakka okubula,

  Obuganda bwamala emyaka 17 nga tebulina Kabaka nga Ssebwana y’akuuma Nnamulondo.

  Nnamulondo bwe yali tennaba kutandika kukuumibwa Ssebwana, omukyala ow’e Gganda mu Busiro, Nakku Oweffumbe yali mukyala muzira era nga mumalirivu. Kimera bwe yava e Bunyoro okujja okulya Obuganda, Nakku ye yamwaniriza era ye yasala n’amagezi agaagoba Ssebwana ku ntebe y’Obwakabaka gye yali alemeddeko.

  Nakku ne Najjuma baasala olukujjukujju nga buli gwe bafuna okuleetera Kimera obugenyi tadda. Bwe batyo mu kulaga obwetoowaze n’okweraliikirira, basaba Ssebwana agende alabe, sikulwa nga gye bagenda waaliyo obulabe, teyali mubi n’agenda.

  Mu kugenda, Nakku teyamulinda kudda nga batuuza omulangira Kimera ku ntebe y’Obwakabaka ng’atandika okulamula Obuganda nga n’eng’oma z’Obwakabaka zirawa. Ssebwana olwawulira eng’oma, ng’agwa mu lukwe era bwe yadduka teyadda.

  Awo we waava n’olugero, “Omugenyi omusulize yagoba Ssebwana ku ntebe.”

  Okuva ku kikolwa kya Nakku okugoba Ssebwana ku ntebe y’Obwakabaka yafuna ekitiibwa kinene mu Buganda ky’alina n’okutuusa kati. Obutaka bwa Nakku buli Ttanda mu Busiro.

  Ekitiibwa kya Nakku okumanya kinene, oluwanga lwe baaluzimbira ennyumba e Gganda.

  Nakku mu kwabya olumbe lwa Kabaka y’asooka okutema enkumbi mu mbuga, okwoleka Obuganda nti olumbe luwedde okwabya era abantu olwo ne badda ku mirimu gyabwe. Abamu bagamba nti ekitiibwa kino kyatandikira ku Kabaka Kintu. Kintu ng’atuuse mu Buganda, yasisinkana Walusimbi, gwe yakwasa omulimu gw’okukulira ebika wabula nti Kintu yali muwuulu. Walusimbi yasalawo okuwa Kintu omukazi.

  Yaweebwayo kyama bwatyo n’atandika okuba ow’omuzizo buli Kabaka gw’abeera naye. Tafumbirwa era asigala mbeerera.

  Ewa Nakku, Kabaka agendayo buli luboneka lwa mwezi ne mu nnaku ez’obwerende.

  Amalayo ennaku ssatu. Nakku y’akwasa Kabaka effumu ng’agenda okutabaala.

  Nakku wa kitiibwa mu Buganda era buli Kabaka ateekwa okuba ne Nakku.
  Published on: Saturday, 14th May, 2011

  in reply to: Ebisoko ebimu biriko ebyafaayo #27643
  NdibassaNdibassa
  Participant

  Bya Keefa Ssentoogo

  OKUYIMBYA endubaale:
  Kitegeeza kubonyaabonya.

  Okwanika ebikolwa:
  Okwatuukiriza ebikolwa ebikyamu omuntu by’akola.

  Okwesiwa amagengere: Kunywa mwenge.

  Okwekwata omusoobooza:
  Kitegeeza kwetya oba kutya kukola kintu so nga wandibadde osobola okukikola.

  Okwekuulira akabazzi ku ntumbwe:
  Kwereetera mitawaana.

  Okulindiggula ku ddimwa:
  Ekisoko kino kitegeeza kusuula kintu wansi ekirabika nga kibadde kizitowa.

  Okulindigguka
  kitegeeza kugwa.

  Ebintu eby’olubatu:
  Biba bitono nnyo.

  Okusuula omuguluka:
  Kugayaalirira kintu ekyandibadde eky’omugaso.

  Okuta akaka:
  Kwatulira muntu mize gye oba empisa ze.
  Published on: Saturday, 23rd April, 2011

  in reply to: Uganda: Torture, Extortion, Killings by Police #27638
  NdibassaNdibassa
  Participant

  [attachment=2505]227824_10150176027903379_649223378_6908464_4630772_n.jpg[/attachment]
  [video]http://http://www.youtube.com/watch?v=pcC00P7qDMk&NR=1[/video]

  in reply to: Uganda: Torture, Extortion, Killings by Police #27637
  NdibassaNdibassa
  Participant

  [attachment=2504]225870_10150176032248379_649223378_6908498_6811151_n.jpg[/attachment]

  [video]http://http://www.youtube.com/watch?v=iZpc_jwVWMQ&feature=share[/video]

  in reply to: Uganda: Torture, Extortion, Killings by Police #27614
  NdibassaNdibassa
  Participant

  [video]http://http://www.youtube.com/watch?v=8EB6-tfPBt8&feature=related[/video]

  in reply to: Uganda: Torture, Extortion, Killings by Police #27613
  NdibassaNdibassa
  Participant

  [video]http://http://www.youtube.com/watch?v=KQ-Go-rzDoI&feature=related[/video]

  in reply to: Uganda: Torture, Extortion, Killings by Police #27612
  NdibassaNdibassa
  Participant

  Riot Victims Flood Mulago

  [video]http://http://www.youtube.com/watch?v=B-kHShVJ6Qo&NR=1[/video]

Viewing 15 posts - 31 through 45 (of 779 total)