Ndibassa

Forum Replies Created

Viewing 15 posts - 736 through 750 (of 779 total)
  • Author
    Posts
  • in reply to: OPPOSITION SHOPS FOR OTHER CANDIDATES #20865
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Kibi nnyo okusooka okutta abalala oluvannyuma nokizuula nti abantu bo bokka bosobola okutulamu nokkalira , era nomanya nti tosobola kubakoleramu ffujjo kuba gyebigweera nga nababo balugendeddemu , kati kirungi buli omu asigale ewaabwe ffenna tufune obuwerero.

    in reply to: AFRICAN CAPTURED IN SLAVERY STUPID SAYS MUSEVENI #20857
    NdibassaNdibassa
    Participant

    At least They were taken against there will , they behaved well
    unlike M7 and his people who came by there free will , they were well treated and their thank you is evil behavior, killing and looting the country
    Now who is the stupid……… stupid

    in reply to: AFTERNOON SCRABBLE – AKAZANNYO IV #20855
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Grin

    grid

    arid

    acid

    in reply to: AFTERNOON SCRABBLE – AKAZANNYO IV #20852
    NdibassaNdibassa
    Participant

    brat

    in reply to: OPPOSITION SHOPS FOR OTHER CANDIDATES #20843
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Okujjako nga bantu bamaze okutuula wansi buli gwanga nerisalawo ku nfuga gyelyagala gino emivuyo tegijja kugwaawo kuba kati gufuuse muze oli alinnya kumigongo gyabantu abamwesize ne baguliridde nayitamu nadda mu office ye naalya kyokka nga bamulonda talina nekimu kyabakolera.
    Singa balekeraawo okutagaza abantu, kino kiringa akuba ekyenyanja ekiduze akawoowo , tewakyaliwo kikyatasibwa .

    in reply to: OKUSADAAKA ABAANA MU BUGANDA #20842
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Okusaddaaka abaana

    Namukadde Babirye agamba nti okusaddaaka kuzze mulembe guno.

    Bya Semei Wessaali ne Edward Kalumba

    POLIISI bweyakutte omugagga Godfrey Kato Kajubi n’emwanika eri ensi nti alabika ye yagula omutwe gw’omwana, omusamize w’e Masaka gwe yatta, buli omu yayanaamiridde.

    Kino kyaddiridde omusawo w’ekinnansi Umar Kateregga ng’ayambibwako kabiite we Omutanzania, okuvumbagira Joseph Kasirye (12) ku nkomerero ya October ne bamusalako omutwe nti, ne baguguza Kajubi atere ayongere okugaggawala.

    Ekikangabwa kino kizuukusizza ebirala bingi ebibadde bikolebwa ng’abantu bakwata abaana ne babasaddaaka olw’ensonga ezitali zimu.

    Twala ekyokulabirako ky’omwana Edwin Muguluma eyali asomera mu Step by Step e Nateere eyattibwa mu July wa 2006. Bw’osemberako mu mwaka gwa 2007, abaana okuli: James Wansolo (12) yasaddaakibwa ku kyalo Nansyono e Kaliro nga July 16 2007, June 6, 2007, Ismael Sekajja (9) eyali asoma mu Mahad P/S mu ggombolola ya Kisekka e Masaka yasaddaakibwa.

    Mu September 15, 2007, Joram Namayiira (12) yattibwa omukuumi Geoerge Wadonya nga yeekobaanye n’omukyala eyali alina okumulabirira Rose Nabwire . February 1, 2008, Jimmy Turyagenda (11) eyali abeera e Katabi e Ntebe asimattuka oluvannyuma lwa kitaawe Jackson Nzaine okumuguza omusamize ku bukaddebusatu naye omusamize ne yeekyuusa.

    Kuno ogattako Hassan Ondoga eyali abeera e Naggulu n’abula nga May 2 2008, oluvannyuma omulambo gwe ne gusangibwa nga gwokeddwa okumpi ne Golf Course e Kololo.

    Ebyo byali bikyali awo, Poliisi n’ekwata abasawo b’ekinnansi basatu ku kyalo Bwondha mu ggombolola y’e Malongwe e Bugiri nga balina amagumba n’obuwanga bw’abantu.

    Ebyokulabirako toyinza kubimalayo naye ekyebuuzibwa nti ddala omuze guno ogw’okusaddaaka abaana gwavaawa wa?

    Guyingira gutya mu Buganda ne Uganda okutwalira awamu? mu mawanga amalala kiri kitya, ye lwaki basaddaaka?

    Bw’osookera mu Uganda, okulya abantu kwatandikira ku basajja basatu okuli Kawuulu, Leewo ne Luvaluka abaali babeera ku kyalo Malongwe kati ekyabbulwamu Kawuulu e Buikwe mu Kyaggwe.

    Omwana gwe baalya, yali Daliya mu 1927 era ne basalirwa gwa kufa.

    Naye ekyebuuzibwa nti n’edda mu Buganda embeera yali bwetyo? obuzibu buvudde wa? Mukazi mukulu Omulongo Babirye Aliziiki 90, omutuuze mu kibuga ky’e Wakiso agamba nti omuze gw’okusaddaaka abantu naddala abaana okuva edda teyali ya Buganda wabula abantu baagiwakula eyo ku bantu ab’amawanga amalala .

    “Nze gw’olaba nnnazaalibwa ku Ssekabaka Chwa II. Eky’okusaddaaka abantu ntandise kukukuwulira ku mulembe gwammwe guno. Okuva edda abantu baasalanga bisolo na binyonyi”.

    Ate Slyvia Namutebi amanyiddwa nga Maama Ffiina ng’ono y’akulira abasawo b’ekinnansi mu ggwanga agamba nti ku mulundi guno bayinza okuba ng’abasawo b’ekinnansi babalanga bwemage. “Kindabikira obwavu obususse mu ggwanga bwe buvuddeko kino. Omukazi w’e Kawempe eyatta abaana be teyali musawo. Omusajja eyasse omwana we Makindye naye teyabadde musawo. Omusajja eyayokya ffamire ye e Seeta Mukono ng’akaaba obwavu ssaako ne Kasoma bonna tekwali musawo wa kinnansi. N’olwekyo, kirabika abagagga beebanaawuzza emize gino okuva e Bunaayira ne bagireeta wano, olwo abavubuka baffe abafa obwavu ne babakozesa”.

    Ate Alhaji Abdul Nadduli agamba nti okuva Kawenkene Obote lwe yakuba Obwakabaka mu 1966, ebintu byonna byatabuka. “ Okuva mu kiseera ekyo, obuwangwa bwaffe bwakyuuka, twetabikiddwaamu amawanga amagatte mangi nnyo. Buli omu ky’asanga ky’akola. Abaganda edda bakyayira nga ddala omulogo era bwe bamuzuula bamwokya era eby’okusaddaaka edda tebyaliwo. Gavumenti bw’eba erowooza nti obuyeekera busuula gavumenti yokka, esaanye ezuukuke kuba kino ekiwendo ky’okusaddaaka abaana buyeekera bwennyini gavumenti bw’erina okusitukiramu”.

    Nadduli awa amagezi nti ng’oggyeeko okuwa abasawo b’ekinnansi amabaluwa n’okubalondoola mu bye bakola, ebasseemu bambega lwenazuula abaagala okugula emitwe gy’abaana!

    Abantu eby’okuwuliriza okuwabula lwa Babirye n’abalinga abo bakusudde muguluka ne batandika kukola byabwe. Wano ku miraano e Tanzania, ekiriyo kifumba mutuku. Okusaddaaka abantu kyafuuka kikolwa kya bulijjo.

    Bannamagoye baayo babasanjaze ennamusa n’etuuka ku nnyooge. Pulezidenti Jakaya Kikwete agenze okusitukiramu okulagira wassibwewo etteeka erikugira okusaddaaka bannamagoye nga babulako katono okubamalawo. Abasawo b’ekinnansi baagenda ne bayisa olugambo nti bw’oddira olusu lwa nnamagoye n’olutabulamu eddagala erimu, ensimbi zitandika okukuyitaba mu ngeri naawe gy’oyinza okwewuunya!

    Bw’otandulula ebigere mu mawanga amalala, okusaddaaka kubaddeyo okumala emyaka n’ebisiibo. Abantu abamanyiddwa nga Aztec nga bano baaberanga mu ggwanga lya Mexico emyaka 50,000 egiyise beebatandikiriza omuze gw’okusaddaaka abaana.

    Mu China ne Buyindi nayo ekikolwa ky’okusaddaaka abaana kizze kibalondoola okumalira ddala ebbanga okutuusa lwe bakivuddeko nga tuyingira mu kyasa kino.

    Waliwo olufumo olugamba nti enkola y’okusaddaaka abaana n’okubassa mu bizimbe yatandikira mu China. Okusinziira ku bitabo nga Human Sacrifice in Ancient Greece aka Dennis D. Hugues, akalala ka Culture and Sacrifice aka Derek Hughes ne The City of Sacrifice : The Aztec Empire and Role of Violence in Civillization, byonna byogera ku ngeri abaazimba ekisenge kya China ggaggadde ekya The Great Wall of China, nti abaakizimba baasuulamu Abachina abalamu abasukka mu kakadde ku musingi gwakyo olwo kisobole okunywera obulungi.

    Ng’oggyeeko ekyo, obutabo bwe bumu bwongera okulambika nti mu Mexico, abantu aba Aztec beeyogerako nti waliwo lwe basaddaaka abasibe 80,400 mu bbanga lya nnaku nnya zokka nga bagenderera okufuna obugagga n’okusanyusa balubaale baabwe.

    Mu Japan ne Korea zombi ey’obukiikakkono n’obukiikaddyo yadde mu kusooka nga zaali wamu, basaddaaka nga abantu ne bayiwa omusaayi n’emitwe mu ntindo n’enguudo ze baazibanga.

    Ebikolwa byebimu ebyokusaddaaka abaana n’ebitabo ebitukuvu bibyogerako ekiraga nti ekikolwa kino kimaze ebbanga ku nsi kuno.

    Okugeza, bw’obikkula Bayibuli, mu kitabo sa eky’Olubereberye mu ndagaano enkadde, essuula 22, Katonda alagira Jjajja w’abakkiriza Abraham okuwaayo omwana we omu yekka Isaac nga ssaddaaka. Oluvannyuma lw’okufuna obubaka buno, Abraham teyasibamu, n’akwata omutabani n’awalampa olusozi lw’e Moriah.

    Ebyawandiikibwa bigamba nti amazima gaali nti Katonda yali tayagala Abraham kutta mwana we naye yali amugezesa alabe obukkiriza bwe gy’ali we bukoma. Nti oluvannyuma lw’okukizuula nti okukkiriza kwa Abraham eri Katonda we tekubuusibwabuusibwa, Katonda amangu ago yasindika malayika ku lusozi n’esisinkana mangu Abaraham nga tannaba kusaddaaka mwana era amangu ago n’emuwa akaliga k’aba asaddaaka.

    Ekikolwa ekyo okusinziira ku biwandiiko kiraga nti Katonda yali alangirira nti omuntu talina kusaddaakibwa wabula mu kifo kye, ensolo n’ennyonyi zinaasaddaakibwanga. Kyokka ng’oggyeeko ekitabo ekyo, era mu Bayibuli waliwo ekitabo ekirala, we boogerera ku kusaddaaka. Kisangibwa mu kitabo ky’Abalamuzi, essuula 11. Boogera ku musajja ayitibwa Jephthah. Omukulu ono yali ava kulwana ntalo ze n’abaana b’e Ammon. Yajja ayogera ebigambo bino ebisangibwa mu ky’Abalamuzi (11:31) nti: Ku buwanguzi buno, bwe ntuuka awaka , omuntu yenna asooka okunzigulirawo oluggi ng’enda kumusaddaakira Katonda wange.

    Olunyiriri olwa (39) lugamba nti aba yeetikkula emigugu kawala ke akakyali embeerera ke kasooka okubandualwo oluggi ne kamugwa mu kifuba nga bwe kamukulisaayo.Yali takyalina kya kukola wabula n’agenda mu maaso n’atuukiriza obweyamo bwe n’amusaddaaka.

    Ebyo byaliwo mu kiseera ekyo naye ne bikoma. Ekyebuuzibwa nti kati bino ate bivudde wa? Bwavu oba bugwi bwa ddalu?

    Ebibuuzo ebyo ggwe nange nkakasa bikyatuuza omutwe

    in reply to: CBS has finally given in #20841
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Wano walabika ngo muzungu kyagamba nti if you cant beat them join them, naye nga kuludda olulala kiba ngooli akugabula ekikajjo ekyanamujinga nga kungulu kinyirira bulungi naye ogenda okukirumamu namujinga omuluma mu kibuto wakati mu kuwomerwa ekikajjo.
    Wojjukirira owande nga kyotulisizza kyo kiwedde.
    Kati oddayo otya mu Baganda abatulugunyizibwa n’obannyonnyola nti munammwe abadde abalwanirira ebyettaka tumujeewo naye musigale nga mukya tuwuliriza ebisigaddeyo bisoboka okuba ebirungi
    Ate olwo Radio embutikire M7 gyeyaggulawo teyabutikira mazima kimala kyavudde ajjawo

    Omukyaala heavy weight akubisa ebigambo nga laddu

    in reply to: WAITING FOR DELIVERY? #20840
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Palamenti ekkirizza Gavt. yeewole buwumbi

    Bya Muwanga Kakooza ne Ahmed Mukiibi

    PALAMENTI ekkirizza Gavumenti okwewola ensimbi obuwumbi 400 okuva mu bbanka y’ensi yonna ziyambe mu kulwanyisa obwavu.

    Ekiteeso kino kyayanjuddwa minisita w’ebyensimbi, Ezra Suruma mu palamenti eyakubiriziddwa sipiika Edward Ssekandi ku Mmande.

    Suruma yagambye nti ensimbi zino zassibwa mu bajeti y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi guno.
    Yagambye nti ensimbi zigenda kussibwa mu bintu omuli okukola enguudo, eby’obulamu, amazzi, eby’obulimi, obulunzi okusomesa abaana n’ebirala.

    Omubaka John Arumadri (Madi Okoro) yagambye nti okwewola ssi kibi naye eggwanga okwewola olw’okuba lyagala kusomesa baana baalyo kiswaza nnyo.

    Christopher Kibazanga (Busongora South) yagambye nti ensimbi ezo ntono nnyo nga bwe zinaagabanyizibwa mu bintu ebingi ng’ebimenyeddwa, eggwanga terijja kuganyulwamu.
    Omubaka Margaret Kiboijana (Ibanda) naye yakkiriziganyizza ne Kibazanga nti ensimbi ezisinga zaayisiddwa mu kutumbula byabulamu.

    Yagambye nti amalwaliro gali mu mbeera mbi ng’agamu tegalina na ggwanika ng’abalamu basula wamu n’abafu ekintu ekimalamu abalwadde amaanyi. “E Mulago bayinza n’okutuuka okusaba ab’eng’anda z’omulwadde giraavu,’’ bwe yewuunyizza.

    Omubaka Kasaija Kagwera (Buryaha) yagambye nti singa ssi buli bwa nguzi obweyongedde mu ggwanga, ensimbi Uganda z’efuna okulwanyisa obwavu zandibadde zigimala okukola omulimu guno.

    Published on: Thursday, 4th December, 2008

    Zino zonna ssente ezisabibwa ebweeru ate nga tezituuka namumirimu wadde kubantu bebawaayo nti bebagenda okuziganyulwaamu ani agenda okuzisasula, ?

    Ensonga endala nze nkiraba nga obutekakasa eno gavument bweyajja nabwo, nebuliisa abantu mpola- mpola ebakkirizise nti yo yokka yesobola okubayamba nabo mu return magisinze nga Katonda, mukkola kino ebazibe amaaso abantu baleme kulaba nsobi zekola yo efuge okutuusa lweritondoka ne gweeri neefa

    in reply to: Twejjukanye Ku Bizira #20839
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Kizira okukuba Kabaka omugongo

    kizira okulaga Ssezalawo entumbwe

    in reply to: Radio Katwe: To read or not to read? #20813
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Naye kati nga bwebafunye abantu abawera abagenda nebasoma wamu nokubulira enjiri nga Obote ne Amin bwebaali abatukuvu singa erinnya kati balikyuusa kuba teri atakimanyi nti ababadde bagala okutunda ebintu byaabwe basalawo okukyuusa amanya gaabwe nebetuuma Amaganda oba nebatuuma amaduka gaabwe amannya Amaganda kati nga bwebatali Buganda lwaaki tebakozesa amannya gaabwe ago mu North nekyanguyiriza agendayo obutalowooza nti Site ewereza nabalala bonna songa ya be North
    nyongera okubuuza lwaaki bakyagiyita Katwe? wakiri bandi giyise Radio Akokolo

    in reply to: AFTERNOON SCRABBLE – AKAZANNYO IV #20812
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Spit

    in reply to: AFTERNOON SCRABBLE – AKAZANNYO IV #20778
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Plan

    in reply to: Omukago gwa East Africa gulina amakulu? #20777
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Oli ayagala okumanya nti ebintu byabantu tebizannyirwaako ate nga tetunayogera ku ttaka yesaaze e Kennya abagala East african Federation Batandikire Kenya , sirowooza nti obusaale bwaabwe bwebasongola nebasaako obutwa bwagwaawo

    Waliwo ayinza okugatta abalalu mubufumbo e Butabika

    in reply to: Yiga Olulimi Oluganda #20773
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Olukiiko lulina obulombolombo obukuuma ekitiibwa kya Kabaka

    1228046016zulu.jpg

    Olukiiko lwa Buganda nga lutudde mu Bulange e Mmengo.

    Bya Polof. Livingstone Walusimbi, Keefa Ssentoogo, Dr. Michael Nsimbi

    OLUNAKU lw’olukiiko bwe lwatuukanga Katikkiro ng’ayambala n’agenda ewa Kabaka okukiika. Bwe yafulumanga mu kisaakaate kye ne bakuba eng’oma ye n’egenda ng’evuga okutuusa lw’ayingira mu Lubiri. Awo n’atuula mu kigango Masengeregansaze n’abaami bonna.

    Awali Kabaka waabeerangawo abantu ab’amagezi era abaayiga okuweereza era Kabaka be yatumanga okujja mu kigango, Masengeregansaze oba mu Ndogobukaba, n’asanga omwo Katikkiro ng’atudde n’Abaamasaza, n’abaalya ebitongole ebinene era n’olukiiko lwonna.

    Awo omubaka n’agamba Katikkiro nti, ‘Kabaka antumye okukulaba.’ Katikkiro n’addamu nti, ‘Asinze?’ Omwanjuzi n’addamu nti, ‘Asinze.’

    Era oyo atumiddwa n’agamba Katikkiro nti, ‘Nzize okubuuza olukiiko.’ Katikkiro n’addamu nti, ‘Yee baabo bonna.’ Awo Abaami ne beeyanjula nga boogera amannya gaabwe, ne kuddako abaamasaza, abamyuka baabwe, abaalya ebitongole ebikulu, abamyuka baabwe, Bassaabaddu, n’abalala ne balyoka beemenya amannya gaabwe eri omwanjuzi. Buli Mwami yayogeranga amannya abiri, ery’omwami n’erirye, olwo omwanjuzi ng’amuddamu nti, ‘Nkulabye’.

    Era olukiiko bwe lwabeerangamu Abaamasaza bonna n’Abaami abawera nga 500 oba okusingawo, omwanjuzi yategeeranga amannya gaabwe gonna awatali kugatamattama. Awo omwanjuzi n’agamba abaami bonna nti, ‘Nze Kabaka gw’atumye ng’enze’. Ne baddamu nti, ‘Osinza.’ Awo n’agenda. Omwanjuzi bwe yatuukanga awali Kabaka n’afukamira bulungi ng’abwamye ku ttaka n’amugamba nti, ‘Katikkiro antumye okukulaba n’olukiiko lwonna.’ Kabaka n’akkiriza nti, ‘Yee.’ Omwanjuzi n’ayanjula amannya gaabwe n’obwami bwabwe. Abanjuzi baabeeranga bagezi kubanga oluusi ku mannya 500 bwe yayogerangako 200 oba 300 n’alyoka ayogerera wamu abo b’atamenye mannya nti, “N’Obuganda bwonna weebuli”

    Kabaka bwe yabeeranga ayagala okujja mu lukiiko olwo n’ayambala n’ajja mu Bulange oba mu Masengere-gansaze n’alabika. Era bwe yabeeranga alabise ng’asooka kuyita Katikkiro n’owOmulongo Kimbugwe, Abaamasaza n’Abaami abaganzi. Yabeeranga nabo ekiseera kitono, abaami ne bajja ku luggi ne beeyanjula buli omu nti “Nze Omutabuuza nzize okulaba ku mufumbo”. Omu ku baami abo abasoose okujja eri Kabaka n’amuddamu nti, “Awulidde Ssemanda agamenya embazzi n’okuyunga.” Oba nti, “Akuwulidde Magulunnyondo Nnantalinnya mu ku kateebe.”

    Bwe yalabanga abeeyanjudde baweze nga kkumi n’alagira okubaggulirawo. Ne bajja ne bafukamira mu maaso ga Kabaka walako ng’ebigere 30 ne bagamba nti, ‘Businze?’ Bakungu bannaabwe ne babaddamu nti, ‘Businze Obusiro.” Awo ne batuula mu bifo wabbali ate nga tewali kwogera nnyo. Kyalinga kizibu atali musajja wa Kabaka okumutuu-kako nga talina bw’ayinza kweyanjula.

    Wabula ku lukiiko olunene, oluusi abaami tebeeyanjulanga. Omwanjuzi bwe yatuukanga mu maaso ga Katikkiro ng’amugamba nti, ‘Ssebo nkuddukidde’ Awo ng’omwami n’abantu bonna abalala bayimuka ng’omwanjuzi abakulembera. Katikkiro bwe yatuukanga mu maaso ga Kabaka n’afukamira okumubuuza nti, ‘Osinze?’ N’addamu nti, ‘Yee’, olwo Abaami bonna ne babuuza bwe batyo, ne baddayo mu bifo byabwe.

    Naye Kabaka Muteesa I bwe yayiga okusoma n’adibya okusinzibwa n’alagira abakungu be abakulu okumulamusa nti, ‘Sibwakeri’ (Saba heeri) eky’Oluwalabu ekitegeeza nti, ‘Bulumgi.’ Bwe yalwala n’akikyusa mu Luganda nti, ‘Bulungi?’ Naye n’addamu bw’atyo nti, ‘Bulungi’ Era n’empisa y’okumenya amannya g’abakungu n’ekendeera kubanga yali takyayagala kukooyesebwa. Ng’awo ayita Abaami abakulu bokka ne bamulabako katono.

    Ekibuuzo
    Wandiika ku mpisa y’okulanya nga bwe yalinga mu Buganda.

    Published on: Saturday, 29th November, 2008

    in reply to: ERI ABAGAMBA NTI ABAGANDA BASOSOLA MU MAWANGA #20768
    NdibassaNdibassa
    Participant

    “neewuunya abalangira Abaganda okusosola mu mawanga kyokka ate abeemulugunya ssiraba bwe basenguka kugenda walala gye batabasosola olwo ekituufu kye kiriwa?

    Nange ninze okulaba abasibye obugugu kumbukuuli zaabwe nga bagenda bayomba nti tugenze gyebatatusosole

Viewing 15 posts - 736 through 750 (of 779 total)