Ndibassa

Forum Replies Created

Viewing 14 posts - 766 through 779 (of 779 total)
  • Author
    Posts
  • in reply to: BUGANDA NGA BWEYONONEBBWA KATI #20283
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Kano kebayita akatogo akaduze,twetaaga ekyeeyo ekya masanyalaze

    in reply to: Air Cars: A New Wind for America’s Roads? #20282
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Kano akamotoka kalungi oyinza nokukakuba mukikondoolo bwooba tolina za parking nogenda mu office nokola ebibyo

    in reply to: Obama McCain Dance Off #20281
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Tebereza abantu betutayitanga nokutandika okusimuulawo ebintu bajjajja ffe byebalwanirira nentuuyo zaabwe nebayiwa omusaayi gwaabwe kulwaffe naye ffe netwesulirayo gwanaggamba buli omu alinda mulala yaaba akikola

    in reply to: 25 FACTS YOU DIDN’T KNOW ABOUT BUGANDA #20280
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Kituufu kyogamba Jona Obama yagenda nga akunganya dollars $5, $10, $20 omuntu nga zaawa omweezi naye namala nakola campaign eri well organized era nasobola okuwangula kuba abantu babadde bamukiririzaamu endowooza ze nokwagala okuletawo enkyuuka kyuuka nga naye kiri nti buli muntu alina okukola part ye
    ekitali wano abantu bakyegayirirwa okulaba nti tubaako kyetukola okuyamba nyaffe Buganda.

    in reply to: HAPPY BIRTH DAY TO ALL BORN IN NOVEMBER. #20249
    NdibassaNdibassa
    Participant

    kambagalize nange bonna abalina amazalibwa gaabwe mu November

    http://www.youtube.com/watch?v=HrDfB94Njms&feature=related images-0eaa3391c331ebe5923714e6461a44ed.jpg

    in reply to: Tutonteze Ku Bigambo – Akazannyo #20244
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Buganda

    in reply to: Abaganda Ababulijjo Banajjawa Beekwate Wa? #20239
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Naye oba twandirinzeeko kuba yatugamba nti bwanatusunirako akatono bwetujja okukuuma omukwaano gwaffe wakatiwaffe naye ate wuuyo atera okutufuyilako kubukka obubalagala . Ate ngalabika ebintu byaffe yabitereka bulungi nga tabikozesa ate alina amaanyi mangi nnyo, ssebo olaba yalagiriranga Abaganda mulutalo nga basubiza nti bo bakube ye abali mabega ajja era olabye bweyakuuma ekigambo kye naava emabega gyeyali mu Sweden gyeyali yekukumye najja mumaaso nayitawo bulungi ku baganda beyalagirira okulwaana olutalo nebaluwangula najja bulungi nabafuga

    in reply to: The richest men in Africa #20238
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Naye banange abakayana bakayanira bwereere kuba ekitagwaawo kikuwa entoolamu. Ssebo kati ne m7 yekunganyiza obugagga bwe buli omu amukubira ensiingo, wakiri bwotokolera bantu birungi kisingako nebakujjukirako engalo empaavu era kyendowooza yayokesa dda ekitwe kye ekyo kitimba e Lwakitura oh mbadde nerabidde yabumba dda ekibumba nga ye yakekeza emundu yekka banne nabassa mubutonnyeze bwenyukuta ate nga bamu West bokka , he naye ssebo alina ebirungi byakoze yaleeta otulo yemuvumbuzi eyasooka era mu record books mwaali nga Tulologist eya sooka e Buganda kale siraba nsonga lwaaki takungaanya busente bwe bu billions bwakoledde mu ntuuyo nga balala be njoying-a product gyeyabaletera eyo tulo.

    in reply to: Ebikwaata Ku Lubiri Lwe Mengo #20242
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Oba bambi Bukenya ayagala kuyamba nga laba nti Baganda banne bayalise ate nga ye yoomu ku Baganda abatabinikibwa misolo kusuula bossiness zaabwe nga bwebasudde eye ngoye eyo Muganda songa zi TRISTAR zonna bazisaamu sente ate era nezimala nezigwa .
    Oba bambi twandi muwadde chance ate wuuyo Mahogany ate ye mukamaawe m7 ye tamuboggolera osanga yanatuletera obugagga nga butandikira e Mengo nebubutikira Buganda yonna.
    Ate ssebo tomanya kati abo muwest takyaali just an employer ya Banyankole Mukoddomi mulamba, Tulina okwekwaata ku Baganda bano abalya mu lulime nemuluzise ate wuuyo alina sente ate nebyobulimi abimanyi ,siraba lwaaki Buganda efa obwaavu nga tulina abantu baffe ngaabo

    AWANGAALE MAGULU NNYONDO

    in reply to: Awasizza munyankole #20227
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Tosobola kutambulako na munnoowo nga teri akusongamu mimwa, era teri kyongera stress nga bulikiseera kuba nga mulina kwewozaako oba nga buli omu alina kuba ngalwanirira oba okuvumagana side emusososla era mumaliriza mwawukanye nga kati olutalo mulurekedde baana bo basalewo gyebalowooza gyebasinga okwagalibwa
    teri kisinga kabi nga kintu kyakusulibwaamu nga tewesalideewo oli aleme nakulimba nti mukwaano gwokka gwegubaawo wabaawo nobutaloworeza munno atesimidde kuyingira ntalo zagenda kulwaana obulamu bwe bwonna.

    in reply to: Tutonteze Ku Bigambo – Akazannyo #20226
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Aligukwatako

    in reply to: Mbu Atalina Sente Tawa Magezi #20101
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Kino kyoyogerako kituufu nnyo omanyi oluganda bweruyingiddemu oluyaaye abantu nebagunjaawo enjogera ebanguyira ngooli tamaze nakwetegereza oba kyayogera kirina omulamwa ate guno omulembe. Ekikwewunyisa abasinga okwewaana ssente baziggye mu bukumpanya tebakedde kuzituyanira kyebava basaawo ebigombo ebye kiryaake mbu atalina sente tawa magezi naye webigweera nga nga bataalina ssente naye nga balina obugagga bwamagezi bebatambuza ensi okusobola nabo abewaana ssente okugisanga.

    in reply to: ABANTU BONNA BALINA KUMALA KUFIIRWA #20100
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Munyambe mutunulira ekifananyi ekyo Ekisoose mugerageranye buli omu ekimuli mu bwongo singa bwaali buwoggana abasirikale abo bandibadde nokuyimirirawo tebayimiriddeewo naye kye batajjukira nti buli atulugunya abantu abaako ejje lyeyesiga naye akasaawa bwekatuuka nomala ogamba nti gwe wali mujje lyooyo yakwesooka onkukuziba emimwa oleme nakukisinyaako kuba aba amanyi nti ozannyira kubulamu bwe.
    Naye ba kitawe basasire bagasimbaganye nabatuuze abasunguwavu awo tebagala nakussa, bagamba nti any bad move can trigger their end anti kati batambula n’obubiriiti bwaabwe songa n’owemipiira gyemotoka naye alinda kiragiro ,naye nga lwaaki wesanga mu situation bweeti akussa kubunkenke kabe kasinge ye ali mukaliri ke awumuzizza ku birowooza ,banne abataddewo nga toy soldier and on their own kuba kati nabo babetegereza era mpozzi nga bebamu kubano bebasomba ku loore ekiro nga bamanyi nti kasita byononeka nga bamalamu omusubi.

    in reply to: Undergarmet enjulifu esobola okulemya akaboozi? #20099
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Bagamba nti muwogo akayira akkuse naye omuntu okutandika okwelonda mbu ate ndaba oba nkutte awayulifu aba yakkuse dda. Naye kasita wabaawo obuyonjo the raggedier the better wesanga owenjudde nabuwenjuzi nga tewetaaze nakujjamu kintu kyonna, oba ngokozesezza obukodyo noyitira ddala awali ekituli notuuka jolaga kasita ate obuswandi tebukwaata mwaana wamunno ekibadde ekituli nomulekera kawero ka mpale.

Viewing 14 posts - 766 through 779 (of 779 total)