Amadiini Engeri Gyegaayawulayawula mu Abaganda

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Ebyeddiini / Religion Amadiini Engeri Gyegaayawulayawula mu Abaganda

  • This topic has 3 voices and 3 replies.
Viewing 4 posts - 1 through 4 (of 4 total)
  • Author
    Posts
  • #17712
    MulongoMulongo
    Participant

    Sooka osome ku mboozi zino, tulyooke tudde emabega twejjukanye ngeri ki, na lwaki amadiini gayawula yawula Abaganda ne bizibu ku ebyatuviiramu.

    ‘Nafumbirwa atali wa ddiini yange, nninga musibe’

    1226751778woman.jpg
    Bisaso Omukatoliki (ku kkono) ne mukyala we Fatima Omusiraamu n’abaana baabwe.

    ABAFUMBO abatakwataganya ddiini nga Edward Bisaso Omukatoliki ne Fatina Nansubuga Omusiraamu baabuulidde MADIINAH SEBYALA ebizibu bye bayiseemu n’engeri gye basobodde okubigonjoolamu

    Edward Bisaso omuvuzi wa Loole e Kireka nga mutuuze w’e Ssonde Namugongo:

    Nnaakamala ne Fatina emyaka 8 era mmulinamu abaana 3. Bwe namuwasa nasooka kufuna buzibu kuba bazadde be baali Basiraamu nnyo naye olwokuba kitaawe amwagala nnyo, oluvannyuma yamusonyiwa. Waaliwo okusika omuguwa nga bazadde be naye baagala nkyuke nzire mu ddiini y’Obusiraamu. Kino n’okutuusa kati kikyagaanyi wabula olwokuba nze nnyini maka, eddiini yange y’ekola. Ku Ssande nsigala ne nsomesa abaana eddiini yange.

    Wadde ndi Mukatoliki, bwe namufuna nneesonyiwa omwenge n’okulya embizzi kuba bye bisinga okweraliikiriza omukyala Omusiraamu era bw’akuzuula nti obikola ng’omukwano gukendeera. Kino kye kinsobozesezza okubeera naye mu mirembe. Ye tagenda mu kkanisa era ne mu kubatiza abaana talinnyayo ng’agamba nti abeera alaba ng’abagenda okumukaka eby’okwogera ye by’atasobola. Abaana nabatwala mu masomero ga ddiini yange bannyambeko nange ntandikire awo.

    Omukwano bwe gubaawo eddiini terina buzibu mu bufumbo okuggyako okwesonyiwa ebintu ebimu ne mukwatagana bulungi. Eddiini tebagaana kufumbiriganwa kasita omukyala akwanjula mu bazadde be.

    Fatina Nansubuga:

    Obufumbo bwange bugenda bukwakku naye kumpi nninga omusibe kuba bye nteekeddwa okukola mu ddiini yange siyinza kubituukiriza gamba ng’okusiiba, okusaala era singa bino mbikola mba ntawaanira bbule kuba eddiini yange tekkiriza kubikola nga tofumbiddwa mu mateeka ga Busiraamu. Baze ne bw’aling’amba okunkuba empeta sigenda kukkiriza kuba kijja kunneetagisa okulinnya mu Eklezia kye siyinza kukola okuggyako ng’asazeewo nga bwe nsaba Allah asobole okusiramuka naye siyinza kuva mu ddiini yange.

    Bwe nafumbirwa Edward abeewaffe baatandika okunneekengera. Nzijukira jjajja lwe yalwala n’ayoya emmere gye yali asinga okwagala. Olwokuba nali kumpi n’eddwaaliro nagifumba kyokka bwe nagimutwalira yambuuza nti, “Mukyala wange tondiise enkaafu?” Kyannuma nnyo era ffembi twatulika ne tukaaba okutuusa lwe yalyako akatono.

    Nalowooza nti singa yali tanneekengera yandiridde ekisingako era yafa ng’emmere yange tayagala kugirya .

    Baganda bange tebaagala kunkyalira kuba mu nnyumba basangamu ebifaananyi bya bannaddiini ab’enzikiriza y’Ekikatoliki nga yesu, Abajulizi, bye beekwasa ne batasaala nga bagamba nti biremesa sswala yaabwe okutuuka eri Allah.

    Omukyala oteekwa okukkirizisa abaana eddiini ya kitaabwe baleme kusosolwa mu kika. Nze mbambaza buli Ssande ne bagenda okusaba ne kitaabwe. Kasita omusajja atuwa emmere, n’atwambaza ate n’atangoba, tombuulira ddiini ng’omukwano weeguli.

    Eddiini tesaana kukulemesa kufumbirwa munno. naye fuba musooke mukkiriziganye akyuke adde mu yiyo kuba obeera n’obudde bungi okumusomesa ebikwata ku ddiini yo.
    Bukedde
    Published on: Saturday, 15th November, 2008

    #20464
    MulongoMulongo
    Participant

    Eddiini kata etulemese okugattibwa
    1226751947woman.jpg
    Emmanuel ne Joyce ku mbaga yaabwe.

    ABAFUMBO abaawula eddiini balina ebizibu bye basanga naddala mu nkuza y’abaana. Bino bye bigambo Emmanuel Nsobya Ssekayi bye yatandise nabyo ng’anyumiza TERAH KAAYA engeri gye baagabanamu abaana :

    Mukyala wange Mukulisitaayo era kye kimu ku byandwisaawo okumukuba empeta. Nze ndi Mukatoliki. Ku baana baffe namuwaako omu (Christine Nabakka) n’ayingira mu ddiini ye olwa mmange omugenzi Christine Nassuuna eyali Omukulisitaayo. Twakamala emyaka 18 mu bufumbo. Tulina abaana 5. Ebimu ku bye twayogerako y’eddiini era nga tewali awaliriza munne kukyuka.

    Twayogera ku butalaga njawulo mu baana ku byeddiini era nga tebalina kwawula munnaabwe eyayingira mu ddiini ya nnyaabwe. Olumu Christine agenda mu Eklezia n’asoma ne banne ate nabo olumu bagenda mu kkanisa bwe wabaayo emikolo.

    Abaana okukibateekamu tekibadde kyangu wadde nga tukikuumye nnyo era olutalo olwo twalulinnyako oluvannyuma lw’okubalaga ng’abazadde bwe tutalina njawukana mu ddiini.

    Kino twakissizzaako envumbo nga 18, October omwaka guno bwe twakkiriziganyizza ne tugattibwa mu bufumbo obutukuvu mu Eklezia eya ‘Our Lady Of Fatima’ e Nakulabye. Ennyimba ezaayimbiddwa mwabaddemu ez’eddiini zombi. Sandiwadde baana bange magezi kwawulayawula mu ddiini naddala mu baana baabwe kubanga abazadde bwe mukyekuuma, bo basanga obuzibu naddala nga bakuze. Era kireetera abaana okwagala abazadde okusinziira ku ddiini gy’asoma.

    Joyce Nsobya:

    Okukyuka nsome eddiini ya baze saakirinaako mutawaana wadde nalwawo okukisalawo. Nayagala nnyo okubeera n’omwana asoma eddiini yange naye olw’okwagala okubakuumira awamu baleme kweyawulamu na kuboolagana, twakkiriziganya omu eyatwala amannya ga jjajjaawe y’aba asoma eddiini yange.

    Okwawukanya eddiini sikirabamu mutawaana kasita buli omu abeera ng’assa ekitiibwa mu ya munne n’okumuwa obudde okutuukiriza by’emwetaagisa. Okukkiririza mu biruubirirwa by’eddiini ya buli omu kye kimu ku bye twalina okusooka okukkaanyaako kubanga buli emu erina enkola n’obulombolombo.

    Nali mwetegefu okukyukirawo naye baze n’ang’amba nti tayinza kunkaka ate nga ne bazadde bange baayagala nnyo nsigale mu ddiini y’eka. Kikosa omwana abeera ayawukanye ku banne mu ddiini naddala ng’agenze na ya nnyina naye bwe balung’amizibwa abazadde, basobola okusigala nga bali kitole. Obuzibu bubeerawo mu kusaba okw’awamu awaka anti abangi be basinga okutwala omukisa naye n’omu alina okufunirwa obudde okumanya eddiini ye.

    Ku mbaga saafunamu nkenyera yonna olw’okungattira mu Eklezia ne tutagenda mu kkanisa kufunayo mikisa gyayo kubanga byonna bye nandifuniddeyo nabiweebwa n’ennyimba ezaffe ezaayimbibwa.
    Bukedde
    Published on: Saturday, 15th November, 2008

    #20473
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Nze kyenasooka okulaba nga ddala amadiini go kubwaago gandibadde malungi nga gatubulira ekigambo kya Katonda ebirala negabirekera abantu buli omu nasooka akulembeza egwanga lye .

    Kuba bwotunulira abagaleeta mu Africa naddala mu Buganda we mmanyi basanga Abaganda batudde ntende tekitegeeza nti omweeru yeyajja ne katonda kuba na Baganda baali bakimanyi nti eriyo liiso ddene Katonda Kamala byonna naye olwobunyoomi bwo mweeru bwalina eri omuddugavu, ekyo teyakitunulamu.

    Buli eyaleetanga eddiini ngasika azza wuwe , eyareeta obukatuliki yakakasa abamadiini amalala nti eyiyye Katonda gye yakwaasa ensi ,nomu protestant nti ye kennyini Katonda gweyayitamu okusobola okubeera wanmu ne Katonda ,kati no musiraamu naye najja nagamba nti abatali basiraamu bo tebamanyi Allah .
    Kyokka bwogenda ku buli omu eyaleeta eddini mu Africa ewaabwe osanga bakulembezza gwanga lyaabwe nebalyooka bo begattira mu diini.

    Ekyo nosooka okyewuunya kwe kukwaata eddini yaabwe gyebakugamba nti enekusembeza awali Katonda nogisoma nyukuta ku nyukuta nobagammba nti nze bannange kati nebwemunsala eddiini yammwe endi mu musaayi , awo nebakakutema nti kirungi naye nga bwooli mu africa ate omuddugavu gwe wawali wooba osinziza .

    Oba okyawunikiridde ogenda okulaba ebikolwa byaabwe nga actually tebifanana nabigambo byebakeera okuleeta okwawula yawula mu baddugavu nga babaletera eddiini mu Africa.

    Webigweera nga mumazima ddala nabo bennyini abagamnba okuba nti bebasinga okumanya Katonda tebagala kubeera wamu wabula buli omu negwanga lye , Kati awo nekisigalira kuba eri gwe okusinza Katonda wo gwe naye, nga toyise mu bava bunayira kuba nabo balina ebigendererwa byanjawulo ate ebitakwatagana na Katonda.

    #20476
    TontoTonto
    Participant

    Abagamba nti eddiini eyawula mubantu (abafumbiriganwa) bebatafuddeeyo kwetegereza kki eddiini kyegamba ku bufumbo. Eddiini egamba ki ku bafumbiriganwa nga ba ddiini za njawulo (abakkiriza Jesus Christ nabatamukkiriza)? Mu butuufu eddiini eyongera kubagatta, sso ssi kubawula.

    Kati wetegereze Paul kyeyagamba bweyali awandiikira aba Corinthians ku nsonga y’obufumbo. Mu bbaluwa eno tojja kusangamu kwawula mubafumbiriganwa.

    Mu Luganda

    1 Abakkolinso 7:12-16

    12 Naye abalala mbagamba nze, (si Mukama waffe): ow’oluganda yenna bw’abanga n’omukazi atakkiriza, omukazi bw’atabagananga naye okubeera naye, bamulekangayo.
    13 N’omukazi bw’abeeranga n’omusajja atakkiriza; naye bw’atabagananga naye okubeea naye, tanobanga ku musajja we.
    14 Kubanga omusajja atakkiriza atukuzibwa na mukazi, n’omukazi atakiriza atukuzibwa na wa luganda: singa tekiri bwe kityo, abaana bamwe tebandibadde balongoofu; naye kaakano batukuvu.
    15 Naye atakkiriza bw’ayawukananga: ayawukane: ow’oluganda omusajja oba omukazi tali mu buddu mu bigambo biri bwe bityo: naye Katonda yabayitira mirembe.
    16 Kubanga, gwe omukazi; omanyi otya nga tolirokola musajja wo? oba, ggwe musajja, omanyi otya nga tolirokola mukazi wo?

    +++++++++++++++++++++++++++++++++++

    Mu Lungereza

    1. Corinthians 7:12-16

    12To the rest I say this (I, not the Lord): If any brother has a wife who is not a believer and she is willing to live with him, he must not divorce her. 13And if a woman has a husband who is not a believer and he is willing to live with her, she must not divorce him. 14For the unbelieving husband has been sanctified through his wife, and the unbelieving wife has been sanctified through her believing husband. Otherwise your children would be unclean, but as it is, they are holy.

    15But if the unbeliever leaves, let him do so. A believing man or woman is not bound in such circumstances; God has called us to live in peace. 16How do you know, wife, whether you will save your husband? Or, how do you know, husband, whether you will save your wife?

Viewing 4 posts - 1 through 4 (of 4 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.