Arrest of 3rd D/Premmier Kirunda Kivejinja if he

Home Forums Ababaka Website, Noticeboard and Off-Topic Kintabuli / Salmagundi Arrest of 3rd D/Premmier Kirunda Kivejinja if he

Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
  • Author
    Posts
  • #18583
    Mirembemirembe
    Participant

    [quotWritten by Dick Nvule
    Monday, 13 September 2010 17:17
    0Share

    The Court of Appeal has threatened to order for the arrest of 3rd D/Premier Kirunda Kivejinja if he does not pay 40.8M/= to Bugweri County MP Abdu Katuntu by September 22nd 2010.
    The money in question arose from costs of an election petition Appeal which Katuntu won against Kivejinja in the Court of Appeal.
    Katuntu filed an election petition against Kivejinja in the 2006 general elections and won in Jinja High Court which prompted Kivejinja to appeal against the decision.
    Kivejinja lost the first appeal in the Court of Appeal and went to the Supreme Court where he withdrew the appeal before it was heard. Katuntu was awarded costs right in all the three courts.
    Assistant Registrar Court of Appeal Deo Nizeimana today issued the order following Kivejinja’s failure to appear and explain why he does not pay the money.
    Katuntu’s lawyer Erias Lukwago wanted Court to order to Kivejinja’s arrest by his Lawyer Muzamir Kibedi informed Court that his client got an operation two weeks ago ad is still sick.
    Kibedi asked for more time to enable his client settle the payment with Katuntu.
    Registrar Nizeimana then ordered that by 22nd September, 2010, Kivejinja should have paid the money lest he orders for his arrest.
    The money in question is only in relation to Court of Appeal Costs. The minister has other pending costs of the Jinja High Court and Supreme Court which amount to over 100M/= e][/ simba news quote]

    #27038
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant


    ABAGANDA MUMANYE ABALABE BAAMMWE ERA MUBALINNYE AKAGERE NABO ESAAWA EJJA KUTUUKA MBUGA MUNUNULA BAGYOLEKEZE OBWEENYI

    Kivejjinja tali smart at bwooba tolina kyakwogera tosirika envi zikufubutuka ne mumatu naye tolinaamu kongo nakamu.
    Bwebalitandika nammwe okukalakata obwongo bwabantu bammwe ku kolaasi lwemulikimanya nti okutta abaana babanammwe si kirungi ono Kivaejjinja envunza zimulidde obwongo takyalina byamagezi bimuvaamu
    Kivaebusoga tetukuyitanga mu Buganda sigalayo Ebusoga gyooba owuttukira otukoyesezza ekisembayo

    mukimanyi nti temwatta 25 bawera nekikumi nebemwasiba 600 nebemwatta nga musuula mubibira omuwendo munene nabamu mubatidde mu makomera nammwe olwammwe lujja kutuuka ate kati Abganda mubawadde essomo tekyaali kwesembereza batemu

    Wangu, Mutunda 19, 2010

    Gavumenti eyimirizza okunoonyereza ku batta abantu mu kwekalakaasa
    DEO WALUSIMBI NE ALEX NSUBUGA

    Gavumenti eyimirizza okunoonyereza ku bajaasi abaakuba mu bantu amasasi mu kwekalakaasa kwa Buganda omwaka oguwedde.

    Abantu abaasukka mu 25 be baafa mu kwekalakaasa okwabuutikira ebitundu bya Buganda wakati wa Mutunda 9 ne 11 mu 2009 oluvannyuma lw’okugaanibwa kwa Katikkiro okugenda e Bugerere okutegeka okukyala kwa Ssaabasajja.

    Waakayitawo omwaka gumu kasookedde kwekalakaasa kubeerawo mu Buganda.

    Minisita Kivejinja

    Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda era nga y’amyuka Ssaabaminisita owookusatu, Ali Kirunda Kivejinja yagambye nti gavumenti terina busobozi bwa kunoonyereza ku baserikale abaakuba amasasi mu bantu abaali beekalakaasa.

    “Abange mmwe temumanyi nti tuli bbize ku bintu ebirala? Tetulina budde kati kudda ku ebyo.

    Wakyaliwo ebyetaagisa bingi ng’okunoonyereza ku butujju obwatukolebwako. Abantu baffe ebiseera ebisinga babitadde ku kunoonyereza ku bya bbomu. Bwe kinaggwa nga tuddamu okunoonyereza.” Kivejinja.

    Yagasseeko nti ensonga z’okunoonyereza ku bintu ebirala zikyali nnyingi.
    “Tulina ensonga nnyingi nnyo ez’okunoonyerezaako nga gavumenti. Tetuyinza byonna kubikola mulundi gumu. Wabula tulina kukola kimu kimu. Waliwo abaserikale emitwalo etaano.

    Ggwe osuubira bameka be tuba tussa mu kunoonyereza, ate abalala bakole emirimu gy’okukuuma eddembe?” Kivejinja bwe yategeezezza Eddoboozi.

    “Twagenda mu nsiko kukuuma ddembe ly’abantu ng’abamu ku mmwe temuliiwo. Kati ate otusuubira otya okugayaalirira omulimu gwaffe?”

    Wabula ye omwogezi wa Buganda era nga minisita w’ensonga z’amawulire, Owek. Charles Peter Mayiga, yeewuunyizza lwaki gavumenti esuuliridde ensonga ezaavaako okwekalakaasa wamu n’abaafiiramu.

    “Kino kikyamu era kireeta ennaku okuwulira ebigambo ebisasamaza nga biva mu minisita omukulu mu gavumenti nti tewali busobozi bukola mulimu gavumenti gw’eteekeddwa kukola mu mateeka. Gavumenti ereke kudyekadyeka bannayuganda nti terina busobozi bwa kunoonyereza ku bannayuganda abaatirimbulirwa obwemage wabula eyogere kimu nti terina bwagazi bwa kukola mulimu guno ogugikakatako kubanga y’erina okukuuma bannayuganda n’ebintu byabwe.” Mayiga.

    Yagasseeko nti, “Mengo tesobola kukkiririza mu bigambo bya minisita wadde akatono nti gavumenti terina busobozi bwa kunoonyereza ku bantu batta bannayuganda nga bakozesa amasasi n’okubakwata.”

    Mayiga yeebuuzizza, “ Oba ng’obusobozi obunoonyereza ku baatega bbomu mu gwomusanvu nga kati kumpi enaatera kubifundikira, ate olwo okutemulwa kw’abantu mu Buganda okwaliwo omwaka mulamba emabega? Ekyo kimala bumazi okulaga omutima gavumenti gw’erina eri abaatirimbulirwa mu kwekalakasa.”

    Yawadde gavumenti amagezi okuvaayo etandike okuvunaana abajaasi abeetaba mu kukuba amasasi mu bantu, abaalumya bannayuganda nga n’abamu bakyali mu malwaliro.

    Okwekalakaasa kuno kunajjukirwanga nnyo ng’emmanduso eyaviirako gavumenti okuggalawo leediyo ya Ssaabasajja Kabaka eya CBS.

    Akulira bambega ba poliisi, Edward Ochom yagaanye okwogera ku kunoonyereza wekutuuse.

    “Ensonga ezo nga nnene ku nze, lwaki tokubidde omwogezi wa Poliisi, Judith Nabakooba n’akutegeeza ebyokukwata abantu abo webituuse? Ochom bwe yategeezezza.

    Ye amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Vicent Ssekatte yategeezezza nti, “Nneetaagayo akadde nsobole okutuukirira abaakwasibwa omulimu gw’okunoonyereza ku nsonga z’okwekalakaasa okusobola okukuwa amawulire ku webatuusizza ensonga zino na butya bwe bazitambuzza. Mu kiseera kino simanyi nsonga lwaki poliisi tennaba kukwata bantu bano era simanyi na kunoonyereza wekutuuse.”

    Omukulembeze wa Uganda Federal Alliance era omubaka wa palamenti owa Lubaga North, Betty Kamya yagambye nti kano kakodyo akalaga nti gavumenti tefuddeeyo ku nsonga za Buganda.

    “Tetuyinza kulowooza nti gavumenti ebuliddwa obusobozi ku kunoonyereza era ku bikwata ku Buganda ate ng’abanene baayo balinnya ennyonyi enkya n’eggulo okugenda okubajjanjaba ebweru ku nsimbi z’omuwi w’omusolo. Ndowooza waliwo kikyamu bukyamu.” Kamya.

    #27040
    Mirembemirembe
    Participant

    Kino kyeraga bwerazi nti bbo bebalina obuvunanyizibwa kubantu abaserikale babwe bebakuba amasasi. Abo abakulu abogeddwako waggulu singa bagezi tebandizze mumpapula zamawulire kutubulira byakitumbavu. Twenyiwa dda era twabakowa dda ekikulu basirike busirisi okusinga okutulaga emitima gyabwe emibi gyebalina mulwatu. Kitegeza bebalagira abaserikale babwe okutta abantu abatalina musango. Ekigendererwa kumalawo buli ayitibwa omuganda kuttaka lya Uganda. Njagala okujjukizza mwenna abali mubikolwa bino nti essaawa ya kakokola tondeka nyuma nga etuuse ebyobugagga byemubye temulibijjukira. ABAGANDA TULINA OLUGEERO OLUGAMBA NTI BWOBA OGOBA MUSAJJA MUNNO OLEKAMU EZINAKUZZA.

Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.