Bano Abantu Balamu?

Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
 • Author
  Posts
 • #19096
  MugerekaMugereka
  Participant

  Abantu bano balamu? Bateka batya ebifananyi bwebiti mu mauwlire?bona abakola mu mawulire ga Banyankole Nabanarwanda bonna bagala kusiba mayiisa.

  Omuko Ogusooka Leero mu Bukedde Lead Story Bamunywesezza ebiragala ne bamusobyako
  rape_350_252.jpg
  Bamunywesezza ebiragala ne bamusobyako
  Bya fred mutyaba ne philp kimera
  Tuesday, 27 October 2009
  ABAVUBUKA baanwesezza omuwala ebiragala n’awunga ne bamusobyako. Kyokka erimu ku gavubuka gano, nalyo ebiragala byaliwunzizza ne balisanga nga livuyiza okumpi n’awaabadde omuwala.

  Oluvannyuma evvubuka lyazzeemu akategeera ne litegeeza nti omuwala baamunywesezza walagi.

  Omuwala (amannya galekeddwa) abeera mu Kikaaya Zone A e Kanyanya. Omuwala ono abeera wa mukungu akolera mu palamenti (naye amannya tugalese).

  Omuwala yabadde mu sikaati nzirugavu ne bulawuzi. Yabadde aggyiddwamu akawale k’omunda nga bamubambye nga yenna asaabaanye enkwaso mu bitundu by’ekyama. Ssapatu ze zaabadde kumpi n’akawale. Yabadde mu kasiko, mu bbanga lya miita nga 30 okuva ku kkubo kyokka nga taliimu wadde akategeera.

  Abantu abaabadde bayita mu kkubo ku ssaawa nga 4:30 ez’ekiro baawulidde enswagiro mu nsiko, kwe kutemya ku batuuze ne bafuna ttooci okugenda okulaba ekiguddewo.

  Abavubuka badduse, kyokka omu kubo alabika ebiragala bye baawadde omuwala naye byamutamiizizza n’asigalawo era we baamusanze.

  Baamukubye, ebiragala ne bimuggwaako n’agamba nti omuwala baabadde bamuwadde walagi.

  Abatuuze baagambye nti omuwala yabadde acuuma omwenge nga kirabika abaamusobezzaako baasoose kunywa naye mwenge. Omuwala yatwaliddwa mu kalwaliro k’omu kitundu n’ajjanjabibwa. Omuvubuka yatwaliddwa avunaanyzibwa ku byokwerinda agambibwa nti yamututte ku poliisi. Kyokka poliisi y’omu kitundu, omusango tegwatuusiddwayo.

  Baagambye nti guno mulundi gwakubiri ng’omuwala ono asobezebwako. Gye buvuddeko yagenda mu kinyumu n’abaako abavubuka abaamugulira omwenge oluvannyuma ne bamusobyako bwe baamukyamya mu nsiko nga bamuwerekera okuddayo eka.

  Atwala poliisi ya Universal evunaanyizibwa ku kifo kino, Grace Mutono, yategeezezza nti omusango guno tebaagututteyo. Kyokka mu kitundu kino mulimu poliisi endala okuli Komamboga ne Kanyanya, kyokka nayo Bukedde yategeezeddwa nti tewali yatutteyo lipoota eyo.

  Mu kitundu ky’ kimu, omuvubuka Frank Bihangana yakwata omusipi gw’emmotoka n’atuga muganziwe Sylvia Komugisha bwe yamuteebereza okwagala omuvubuka omulala.

  #25481
  KulabakoKulabako
  Participant

  Ekintu kimu abantu bonna Abaganda kyebalina okumanya nti bano ba lwa nyakitara bajja kusanyaawo Buganda nobuwangwa bwaabwe bwonna era olwokuba tebalina kyamagezi kyebawa bantu yensonga lwaaki banoonyaayo byesittazza, bya kitemu ,bya bukaba ate olwokuba amawulire gano ga mukulembeze kyoova olaba nti abantu nebwebagakubira enduulu tegalekeraawo byakigwenyufu byebawandiikamu . singa kyaali nti Abaganda bebaali bakola ekintu ekitasanyusa gavument ya m7 tekyandisuzeewo wadde nnaku bbiri.
  Bano bonna ababireeta betaaga kukuba mu kooti , era mukama waabwe bwaliba asiba obugugu bwe, nabo basibanga naye, kuba bajja kuvunaanwa bwo obujulizi webuli ,
  Era olwokuba bakimanyi nti kyebakola kikyaamu kyebava babissa mumawulire ge bavunudde mu luganda lwokka notobisanga mu ga luzungu oba age nnimi endala , naye buli kintu kibaako ekkomo

Viewing 2 posts - 1 through 2 (of 2 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.