Buganda Baagigoba Mu Uganda – Bazukulu Ba Buganda

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Bazzukulu Ba Buganda Intl /Kingdom Grassroots Buganda Baagigoba Mu Uganda – Bazukulu Ba Buganda

  • This topic has 6 voices and 5 replies.
Viewing 6 posts - 1 through 6 (of 6 total)
  • Author
    Posts
  • #18247
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    DDEMBE LYA BUGANDA OKWEFUGA YOKKA
    Mu 1962, Buganda yatuula n’amawanga amalala 14 e London nebakola endagaano eyali ettondawo ensi entongole Uganda eyawamu ne Gavumenti y’ayo. Endagaano eyo n’eteeka amawanga 15 agaagikola wansi w’obufuge bwa Gavumenti ya Uganda.Era omwo Buganda mweyapangisiza Gavumenti ya Uganda ettaka ly’eKampala n’eNtebe ekolereko emirimo gyayo. Okufanana amawanga amalala 14, Buganda endagaano yagiteekako omukono ng’eGgwanga ettongole.

    Mu 1966 eyali gavumenti ya Uganda entuufu endagaano eyali egitondawo ng’egiwa ebbeetu okufuga Buganda yagimenyawo. Kino kyali kitegeeza era kikyategeeza

    nti Buganda yagobwa mu Uganda mu 1966. Era nti Gavumenti ya Uganda yeegoba yokka ku ttaka lye’Kampala ne Ntebe.

    Kino kitegeeza nti kati Buganda terina ndagaano ya Bufuge na muntu yenna era nti kati Buganda erina ebbeetu OKWEFUGA YOKKA. Kitegeeza nti kati tewateekwa kubeerawo, kiyitibwa oba kyeyita “Gavumenti ya Uganda”. Kitegeeza nti kati ekyeyita oba ekiyitibwa “ Gavumenti ya Uganda” kiriwo mu bumenya bw’amateeka.Kitegeeza nti kati Buganda okwefuga tekigyeetaagisa kwekutulako ku Uganda, wabula kigyetaagisa kukkiriza bukkiriza kugobwa kwaayo mu Uganda.

    M. Junju Kamulari (Ssentebe)

    Olukiiko lw’Abazzukulu ba Buganda

    #25906
    NamukaabyaNamukaabya
    Participant

    Kino kituufu nnyo era ndowooza kati nga baganda bwebakungiddwa wonna mu buli kasonda webali bakimanye nti bo webali nga Buganda eyetongodde twasigala tujogebwa bujogebwa oli okukugoba munnyumbayo nasigala nga kakkalabizaamu ye emirimu gye naye nga bayise abagamba nti oyo wano naye waabwe wasula .

    Lwaaki kino tebangayo akisaamu maanyi kwongera kukisomesa Baganda ababadde tebakimanyi , omusaayi gwabantu baffe abangi oguyiise kyokka nga twesibye mu kintu , kyetutaliimu ekiyitibwa Uganda kati nno bakyusize ddala nelinnya batekewo agaabwe bagituume UNYANKOLE kubanga tebaamala nakutwebuzaako oba twagala erinnya lyaffe likozesebwe , kyoova olaba nga nabeeru abaleeta omugotteko nga nabo teri awaayo linnya lye kyebava bajja ne UNITED STATE, OBA UNITED KINGDOM

    Tekikyatwetagisa kwongera kukozesa linnya lyaffe nga bantu kyebatusasulamu kututta nakujja kwonoona bintu byaffebweeba endagaano yamenyebwaawo dda tetukyalina kitusiba mu bumu kati buli gwanga likole byaalyo tetwetaaga kuddamu kukola ndagaano namuntu yenna nga tuyise mukuttibwa okwengeri eno ,

    #25909
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Kati olwo ebbanga lino lyonna tubadde tufiira ki nga twakasukibwa dda wabweeru wa Uganda kati kyetulina okukola kukwaata linnya lyaffe netweyongerayo gyetubadde era abalala benonyeze erinnya eddala ffe twaali Buganda Nation nga tetunegatta ku balala kusala kulinnya lyaffe kugifuula uganda, kati ndowooza baleete kyebaneyita oba bayinza okweyita
    [UNITED TRIBES OF EAST AFRICA[/b]

    Buganda nge ddayo nge yambala erinnya lyaayo lyonna mu pride , ngo jeeko nti olwokuba amawanga amalala galina ekigagatta obutayagalira ddala Baganda kijja kubanguyiza okukulakulana kuba ku bonna tekujja kuba agamba nti wuuno ayagala okutuyitirirako, bonna bajja kussa kimu nga bwebabadde bakola nga omuganda yaali ku receiving end.

    Lwaaki kino kyabusibwa amaaso ebbanga lino lyonna kubanga for sure bwekiba twatuula na mawanga amalal 14 netusaako endagaano etugatta ffenna kyokka nebagitukasukira ebweeru nebigenderako nge ttaka lye Kampala ne Entebe lye twa leasing-a gavumenti kati tusigadde kuwandiika wansi ssente zetubanja tusobola nokuzisasulwaamu ebintu ebikalu

    Nga Abaganda ffenna tutudde wansi netuteesa kunsonga zino tuzigoba bulungi bwezatandika nawa wetuli, abatwaala lease nakati tebanatusasula ate twabawa katundu ku Kampala na katundu Entebe bo nebagenda nga Buganda yonna bagyegabira wano tulina okukunganya ba Nnamateeka tukole embalirira buli abadde mu gavumenti ku ttaka lya Buganda aliko illegally.

    Kubanga endagaano eyali ekolebbwa bagimenya ate namawanga amalala nago negasirika ekitegeeza nti gakkiriza ekikolwa ekyakolebwa Buganda nolweekyo Buganda netongovu tetulina kitusiba kumawanga malala kati tukwaate mateeka gokka , okulaba nga tusasulwa ebyaffe ba mulyazamaanya byebakozesezza nga tebasasula ebbanga lino lyonna nokukunganya emisango.

    #25937

    Ensonga ya Buganda okwefuga yokka ng’Eggwanga eryetongodde kintu kikulu nnyo naye si kintu kitene era si kyangu ng’abasinga okukyogerera bwe balowooza oba nga bwe bayinza okutegeka okukifuna. Bwe kiba nga kisoboka Buganda okwekutula ku Uganda amakubo agakituukako tegasaanidde kubeera kuyiwa musaayi. Awo nno, waliwo ebibuuzo ebizito bye tulina okusooka okwebuuza kubanga Buganda okwefuga bwe kiba kitegeeza kufuna bwetwaaze (political independence) ekibuuzo kiri nti ani oyo aba agenda okugiwa obwetwaaze bwayo? Ani oyo akutte oba alina Obwetwaaze bwa Buganda? Bwe kiba nga gavumenti ya Uganda y’ekutte obwetwaaze bwa Buganda, gavumenti ya Uganda eneesobola okuteera Buganda obwetwaaze obwo? Bw’eba etbutadde, Buganda tulina kukola ki okubufuna?

    Sirowooza nti mu kunoonya okutuuka ku bwetwaaze obwo kyetaagisa kuyiwa musaayi. Nedda. Abaganda abasuubira okuyiwa omusaayi ku nsonga eno basaanidde beddemu beebuuze nti kkubo ki lye basuubidde okuyitamu okuyiwa omusaayi. Bwe kuba kukwaata na kukuba mmundu na sabasaba, nga balina obusobozi obwo okulwaanyisa Bannayuganda abasigaddewo ne gavument ya Uganda, nze ndaba kuba kwerimba bwerimbi era kuba kukendeeza bungi bwa Baganda abaliwo, ekintu ekitali kirungi eri Buganda n’akatono kokka. Tukimanye nti ensonga eyo eyinza okuleetawo olutalo olwoomunda (civil war) mu Uganda abantu bangi ne bafiira busa nga ekigendererwa tekigenda kutuukibwako.

    Bwe kuba kutuuka ku Bwetwaaze (Buganda Independence) oba okwefuga yokka nga kujja kuyita mu kuteesa buteesa ne gavumenti oba Bannayuganda abalala, nakyo nze ndaba kizibu okutuuka ku buwanguzi nga tukutte kkubo eryo. Bwe waba nga waliwo amakubo amalala agasuubirwa nsaba n’obuwombeefu tugamanye. Omulimu omukulu ogusinga byonna ku mulembe guno kwekukuuma obulamu bw’abantu. Kya mukisa mubi okulaba Africa eyali mu bufuge n’eba nga ebuvuddemu ate ffe mu Buganda okulaba nga tuddayo mu mbeera ey’okulwanirira okwefuga mu ngeri eno ku mulembe guno. Bangi batunuulira Eritria ne Bangladesh mbu zaayita mu kwekutula mu ngeri eyo, naye ensi ezo tezeetooloddwa mawanga malala kyokka Buganda yo eri wakati yeetooloddwa erudda n’erudda ate nga bwe kigambibwa, abatwetoolodde tebatwagaliza.

    Amazima gaki nti ssinga Buganda yalina obusobozi okulwanyisa emmundu mu ngeri y;okuyiwa omusaayi ku mulembe guno, Kabaka waffe teyandiremeddwa kugenda Kayunga lunojjolyabalamu. Abantu abasoba mu makumi abiri baafiira mu butabanguka obwo naye enkomerero ya byonna Ssaabasajja Kabaka era teyagenda Kayunga. Lwaki? Kubanga Uganda erina eggye lya maanyi ate lya mulembe ddala. Olutalo abakuuma ddembe baalulinnyako mangu.

    Ekituusizza Abaganda ku kulowooza bino byonna ddala bwe kiba kimu oba bingi, twebuuze, twefumiitirize nnyo era tunoonye n’Obuwabuzi okuva awalala mu mawanga ag’ebweeru oboolyawo n’okuva mu Batuukirivu abalamu abaliwo kati ku nsi batuwe ku magezi ku nsonga eyo obuzibu obwo butuuke okumalibwawo awatali kugenda mu ntalo za kuyiwa musaayi.

    Kyangu nnyo okukubiriza abantu okubateekamu obutabanguko naye emirundi egisinga obungi abatera okukubiriza abantu okwetabangula tebatera kufiira mu butabanguko obwo kubanga tebabeerayo gye buba buli era batera okudduka ne badda ebbali ne baleka abantu ba bulijjo okuyiwa emisaayi gyabwe.

    Kyangu nnyo okukuba eng’oma z’olutalo (drums of war) naye okululwana kintu kirala nnyo. Nkubira Abaganda omulanga nti ddala bwe wabaawo ensonga eziruma ennyo Abaganda, gamba ng’ezo ze nsomyeko (kubanga mmaze emyaka egisoba mu kkumi nga siriiyo eka ndi ku ggwanga), gamba nga Buganda okugobwa mu Uganda, okuttibwa kw’abantu e Kyengera, okukutulakutula mu Buganda, n’ebirala, nze ndaba nga bwe kiba kituufu nti Abaganda tulaba tuli mu katyabaga ka kittabantu (genocide) ng’abamu bwe balabika okukiteekawo batyo, okwekubira omulanga mu mawanga ag’ebweeru ne mu Kibiina ky’Amawanga Amagatte kye kyandisinzeeko.

    Bwe kiba bwe kityo, obujulizi obumala busaanidde bubeerewo obusoboka okwolekebwa eri amawanga g’ebweeru amakulu nga America, Bungereza, Bufaransa, Russia, China, Girimaani n’amalala era n’eri Ekibiina ky’Amawanga Amagatte (United Nations). Mu kukola kino ekinyusi kiba kirina kubeera kukuba nduulu nga twoleka nga bwe waliwo ekittabantu(genocide) eva kukuyigganya eggwanga oba abantu Abaganda mu nsi Uganda.

    Bwe waba tewaliiwo bujulizi bwoleka nsonga ng’eyo, awo nno ekkubo lye ndaba liba limu kunoonya makubo ga kuteeseganya ebiruma Buganda ebisoboka era ebitegeerekeka ne bikolwako. Mu kuteeseganya ng’okwo wateekwa okubaawo okutuuka ku kunzikiriziganya (compromise); ekitegeeza buli ludda luteekwa okubeerako bye lufuna ne bye lwefiiriza. Mu kino tuteekwa okubeera nga tuli beetegefu okutuuka okukkiriziganya ku nsonga ezitali zimu.

    Mu bye mpandiise bwe mubaamu ebitaliimu nsa, nsaba munsaasire naye ssaagala kulaba ng’omusaayi gw’abantu guyiika mu nsi yattu Buganda nate. Nkakasa Mukama ajja kutuyamba Abaganda n’Abatali Baganda tukkaanye naye tuleme okuyiwa omusaayi mu nsi kubanga kalumanaywera eva mu kintu ekyo ebeera nzito nnyo ate teggwawo mangu; Mukirabire ku baganda baffe ab’e Rwanda. Ekittabantu kyasooka mu myaka agya 1950 Abanyarwanda ne baddukira mu mawanga ageetoolodde Nnalubaale. Laba ekittabantu bwe kiddamu nate lunojjolyabalamu mu 1994. Abaffe eyo gye twagala okugenda naffe?

    #25942
    KulabakoKulabako
    Participant

    Omukulu Ntanzi obadde munsi ki oba oli munsi ki gyebayinza okkukkiriza okutta bannansi baayo oba okugenda nowamba ettaka lyomuntu ?, era nsi ki eyo gyolimu gwe ngo mugwiira gyogenda nokyuusa amateeka gabanansi.

    Wano waliwo kyototegeera kimu nti singa lyaali gwanga ddala nga lyerikolebbwa bino byonna Abaganda ebibakolebwa okuviira ddala mu gye 66 teryanditudde, era okiraba nti lwebagamba obote nti enough is enough basituka nebamujjako kati olwokuba M7 yeweeka ku migongo gyaabwe tekitegeeza nti lyafuuka gwanga ddala erinafu nti siryeriri erya lwaana , jjukira nti Abaganda bavudde wala nga balwanirira emirembe gyaabwe era bwebasirisizza kwekulaba nga basanjagibwa okuviira ddala ku kawere akatanatuula okutukira ddala ku mukadde owe 100.

    Simanyi oba gwe wali ofiridwa ku muntu obwemage naye sirowooza nti oyinza okugenda nogamba omuzadde gwebayiridde omwana we obwongo ku pavement, nti teri lutalo abantu tebafa leeta proof.
    Bwemba sikola nsobi Ssekabaka Muteesa bweyayita aba UN ngo Obote alumbye olubiri bamuddamu nti ebyo tetubiyingiramu ebyo byammwe byamunda , mu bimpi mpi Abaganda tubadde kulwaffe nga buli ayagala yasanjaga nga teri noomu anyega.

    Wano mu kwekalakaasa mwalimu abamawulire abeeru bameka bewawulira bakuba enduulu nti wuuno M7 akubye abaana babanne abato amasasi? oba agalidde nokuttira Abaganda 6000 mu makomera nga buli lwabatwaala mu makomera bamala kubakuba mukka gwa butwa oba ebiyiso ebyobutwa nga batwalayo abasawo abatamiivu abagenda nga besiye amagengere, babakwatiridde okuyimirira ndowooza bazibikirize guilty olwekikolwa ekyobutemu kyebaba bagenda okukola abaana babanaabwe.

    Nkubulireko ku kyaama kati M7 nebwajja nga yesaabye …….takyalina kyakya takiriza nebwasindika Abaganda abenkanawa, okuwooya wooya oba okubuzabuza kiri too late Abaganda banyiivu ekigenda ewala buli lukya beyongera ku kyebaali jjo okutuusa nga bamaze okwenunula tewali kiyinza kukyuusa mbeera era bwooba wazze kukyuusa ndowooza za bantu kubigenda mumaaso eka ozze buyise.

    #25943
    MulongoMulongo
    Participant

    Mmilodi owandiise ebintu bingi ku nsonga ya Buganda okufuna eddembe n’emirembe byaayo naye mu byo nze sirabyeemu mulamwa. Simanyi nsi ki gyolimu eyo gyobadde nga towulira kiki ekifa mu Buganda, ate nga ogamba nti oli Muganda. Ekibba ttaka, obutemu, okwookya amasomero nabaana, okuwaata abaana abawere okutuuka ku bakadde, okusaddaaka abantu, ebyo byonna tobiwulirangako? Bwogamba nti Buganda teyinza kutuuka ku buwanguzi, oba nogamba nti kizibu nnyo ekyo kiraga ebintu bibiri. Ekisooka mu mazima mu kwogera olabika toyagaliza Buganda buwanguzi obwo. Bwooba oli Muganda kyendowooza nti kizibu, nkusaasidde. Naye ekisinga okubeera ekyomutawana gyooli nti mu ebyo byowandiise, kyeraga lwaatu nti wadde ofuba okukuguka mu bya ba Lubaale, naye ate tolina kukkiriza mu Katonda we Butonda owa Baganda. Nga mwekyo mwosinziira obutakkiriza nti obulungi buwangula obubi.

    Mu butakkiriza bwo buno, wegendereza notosigalamu wekka. Abaganda ba Katonda bakimanyi nti bajja kuwangula. Omusaayi gwaayiika dda era gukyayiika, ogwa Baganda. Era bweguba gujja kwongera okuyiika gujja kuyiika. Kuluno wakiri gunaaba guyikiira nsonga. Ate oluusi bwobeera oli omu ku ba Rwanyakitara oyinza okubanga oyogera nga ozimbye nekifuba nga ebyokwewaana amaanyi bwebyabafuukira eddiini. Naye okugaaya okwewaana tonnatanaka. Ebyo tubirekere Mukama. Jjukira kimu, sikirabanga yamala akiraba. Erabika ewammwe teri ku ntaana mpya, oba nfuukuze.

    Buganda teringa zino zi Uganda zowaana ezakolebwa katonda wa bamu ku mmwe abaddugavu – omweeru. Ekye ddembe lya buli ggwanga Katonda we Butonda lyeyatonda nga erya Buganda Katonda yeyaligiwa. Nobwetwaaze bwayo okwo. Era ye Katonda atuwagira okulwanyisa buli yenna abeera ayingira mu ddembe lyaffe. Amazima gali nti Buganda ejja kuwangula. Nolweekyo ebingi tuleme kubamalira wano, nga tuwakanira ebaagwa oba erimu egwaako.

Viewing 6 posts - 1 through 6 (of 6 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.