Ebika Ne Mirimu Gyaabyo Mu Buganda

Viewing 5 posts - 31 through 35 (of 35 total)
 • Author
  Posts
 • #27287
  NdibassaNdibassa
  Participant

  [attachment=2420]1290891182rhino_2010-11-30.jpg[/attachment]
  Abenkula be balunzi ba Kabaka

  Bya Mariam Kyabangi

  OMUKULU w’ekika ky’Enkula Owakasolya ayitibwa Muwangi atuula e Kapeeka mu Bulemeezi.

  Akabbiro k’Abenkula katiko ka Nnassogolero.
  Omubala gwabwe guvuga nti, “Wankula tatya takyuka.
  Wankula yambala amayembe, Wankula asimmbye ejjembe”
  Omulimu gw’Abenkula ku Kabaka gwa bulunzi.

  Be baalundanga ente ya Kabaka eyitibwa Namala. Omulimu baagukola nnyo ku mulembe gwa Ssekabaka Kimera.

  Published on: Saturday, 27th November, 2010

  #27316
  NamukaabyaNamukaabya
  Participant

  Abennyange be bakuuma ekyoto Ggombolola

  Bya Mariam Kyabangi

  OMUKULU w’Akasolya
  mu kika ky’ennyonyi Ennyange ye Mbaziira atuula e Bulimu mu Kyaggwe. Akabbiro kaabwe kkunguvvu.

  Omubala gwabwe guvuga nti,
  ‘Bampe omuggo nneewerekeze
  Mu Kyambadde mulimu engo’.

  Emirimu gy’Abennyange ku Kabaka gye gino:
  1. Be bakuuma ekyoto Ggombolola ekisangibwa ku Wankaaki.
  Ekyoto kino kwe balabira nti Omutanda mw’ali alamula.
  Tekizikira okuggyako ng’Omutanda akisizza omukono.
  [attachment=2433]1292078091moro.jpg[/attachment]

  2. Be bakuuma eng’oma entamiivu.
  3. Be baleeta omukyala Nannyange.

  #27385
  NdibassaNdibassa
  Participant

  [attachment=2453]1294499112poooo.jpg[/attachment]

  Abensuma be babajja Nnamulondo
  Kabaka Mutebi II ng’ateredde mu Nnamulondo. Entebe eno ebajjibwa bazzukulu ba Kibondwe, Abensuma

  Bya Mariam Kyabangi

  ENSUMA oluusi eyitibwa kasulubbana oba kasulu. Kino nakyo kika mu bika by’Abaganda 62.

  Akabbiro k’Ensuma kasulubbana akatono.
  Omukulu w’ekika Owaakasolya ayitibwa Kibondwe, atuula e Bukibondwe mu Buvuma.

  Omubala gwabwe guvuga nti, ‘Kibondwe yeddira Nsuma, Kibondwe atambula.’
  Wammanga gye mirimu gy’Abensuma mu Lubiri:

  1. Be bavuga eryato lya Kabaka eriyitibwa Nnakakweya. Eryato eryo lisangibwa Bugerere mu kitundu ekyayitibwanga Bulondoganyi.

  Omuziransuma akuuma eryato eryo ayitibwa Munyagwa Kiwana atuula e Kirindi mu Bugerere.

  2. Be bamyuka abakuuma Mujaguzo. Mujaguzo ng’oma za Kabaka ezikuumibwa Kawuula Owoolugave. Ono amyukibwa Omuziransuma, Kimoomera ow’e Mmanze. Ng’oggyeeko okukuuma Mujaguzo, Kimoomera era ye mugoma amyuka Kawuula.

  3. Era be bamyuka Ssaabawaali w’essenero lya Kabaka.

  4. Bayambako Bannaggunju (Aboobutiko) mu kusanyusa Kabaka nga bayita mu kumuzinira amazina.

  5. Be babajja Nnamulondo, entebe Kabaka kw’atuula. Omulimu ogwo gukolebwa Ssekagga Owensuma ne Ggunju Owoobutiko.

  6. Nabo baggazi ba Kabaka.

  Published on: Saturday, 8th January, 2011

  #45894
  Rardpreog Rardpreogrardpreog rardpreog
  Participant

  posso usare l’italiano or english

  #45931
  Rardpreog Rardpreogrardpreog rardpreog
  Participant

  i am from Italy hello. Can you help me translate? /rardor

Viewing 5 posts - 31 through 35 (of 35 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.