ERI ABAZADDE MWENNA ABAGANDA

 • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
 • Author
  Posts
 • #16703
  Alex KigongoAlex Kigongo
  Keymaster

  ERI ABAZADDE MWENNA ABAGANDA

  OMUZADDE OMUGANDA YIGA OKUFISSA ESSAAWA BBIRI BULI LUNAKU WESOMESEZE ABAANA BO. TEWALI MAGEZI NSI GEGENDA KUBAWA NGA GASINGA AGAVA KU GGWE MUZADDE WAABWE. ATE TEWALI BINTU BYEBAGENDA KUKWATA OKUSINGA GGWE BYOBESOMESEREZA MU MUKWAANO. KINO KITEGEEZA NAAWE OLINA OKUYIGA OBA OKUMANYA EBINTU EBYENSONGA. OBA SSI EKYO SEMBERERA ABOLUGANDA ABALINA OKUMANYA BAKUYAMBE OKUSOMESA ABAANA BA BUGANDA EBINTU OMUGANDA YENNA BYALINA OKUMANYA. OKUVA KU KUKUUMA ENSI OKUTUUKA KU KUGIKULAKULANYA. BA JJAJJA FFE BWEBAKIKOLA NAFFE BYE BIGERE MWETULINA OKUTAMBULIRA. TEWALI MUKWANO GWOSOBOLA KULAGA MWAANA WO NGA GUSINGA OKUMUTEGEKA OKUBEERA MU NSI YE NEMIREMBE NGA AMANYI BULUNGI NOKWEKUUMA OKUVA KU BATABUZITABUZI ABALI MUNDA NABAVA EBWEERU.
  TEMULINDA BALABE BAMMWE NA ZI GOVERNMENT ZA NJAWULO EZAMANKWEETU KUBASOMESEZA BAANA BINTU BYA BULABE GYEBALI.
  BULI AWULIDDE ATEGEEZE MUNNE.

  AWANGAALE LUKOMA NANTAWETWA NNAMUNSWA
  OLUKIIKO LWA BAZZUKULU BA BUGANDA INTERNATIONAL.

Viewing 1 post (of 1 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.