Erinnya lyo essomi litegeeza ki?

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Ebyeddiini / Religion Erinnya lyo essomi litegeeza ki?

 • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
 • Author
  Posts
 • #17082
  KalibattanyaKalibattanya
  Participant

  Okusookera ddala Katonda waffe owe Butonda bweyatuumanga omuntu erinnya, nga ligendana nebimukwatako, nga embeera ye, oba emirimu gye munsi. Ne Jajja ffe Kintu bweyatuuma ebitonde mu nsi Mukama waffe mweyamussa amannya era yabituumanga okusinziira ku mirimu gyaabyo. Abaganda nabo edda bwebatuumanga abaana amannya nga bagenderera erinnya kyeritegeeza. Oluusi batuumanga okusinzira ku bigenda mu maaso mu ggwanga, mu butonde, mu maka, oba mu kugabira abaana abo emikisa.

  Eddiini bweyajja mu Buganda, abeeru baaleeterako namannya, agabatukuvu, naye nagaabwe ku bwaabwe. Olwokuba amannya gano gali mu nnimi ngenyi, abantu bangi abatamanyi mannya gaabwe kyegategeza. Anti nabazadde abamu nga bafa gatuuma; kyonna ekibavugira obulungi. Kirungi okubyetegereza bino, naddala kikulu mu nsangi zino Obuganda bwattu nga bwalumbibwa Walumbe okuva mu nsonda ezisukka emu. Wasaanidde okubeerawo amannya getusinga okutuuma kati, nga Samson, Solomon, Kayiikuuzi, namalala agabasajja nabakazi abaali abazira, netuddamu okwoola emyooyo emimaririvu mukwetangira ebizibu.

  Kale kannondeyo ku mannya getusinga okutuuma mu Buganda ne kiki kyegategeeza. Kino bwetunakyemanyiza, netujjukiranga okunonyereza, kijja kutuyamba okumanya amannya getutuuma abaana baffe. Kijja kutuyamba mu kawefube wokujja obuvuyo obuli mu mbeera zaffe.

Viewing 1 post (of 1 total)
 • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.