Fr.Magimbi Eyawandiikira Kkwini Ku By’Abaganda

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Bazzukulu Ba Buganda Intl /Kingdom Grassroots Fr.Magimbi Eyawandiikira Kkwini Ku By’Abaganda

  • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #18303
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    Fr.Magimbi eyaloopera Kkwini Abaganda nga bwe batudde ku maggwa

    Rev. Fr. Irineous Magimbi ow’ekerezia ya Othodox bwe yali ng’aziikibwa ku ekerezia ya St. Nicholas Cathedral e Namuŋŋoona ku Lwokusatu nga 16 omwezi guno 2013, yayogerwako ng’abadde ayagala ennyo Ekerezia ye, Kabaka we era n’ekika kye ekyeffumbe.

    Eyakiikirira ekika ky’effumbe, Walusimbi Kasolo Ben ng’ayogera ku Fr. Magimbi yategeeza, nti abadde mwagazi wa Kabaka ne Buganda ng’ekyo okirabira kukuba omu ku abo abaatandikawo ekibiina ky’Abazzukulu mu 1985 ekyali kisala amagezi okuteekerateekera Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwe yali ajja okubeera ng’akomyewo mu nsi ye.

    Mu kiseera ekyo enkiiko z’ekibiina kino zaakubwanga mu ofiisi y’eyaliko Katikkiro wa Buganda, Owek. Mayanja Nkangi, olwo nga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ennyago yali azikekereza mu nsiko y’e Luweero ng’ayagala okumaamulako Milton Obote ne Tito Okello Lutwa.

    Kasolo yagambye nti oluvannyuma lwa Pulezidenti Museveni okuwamba baalina essuubi nti ebintu bijja kutereera ekintu ekitaatuukirira ekyatuusa n’Omugenzi Fr. Magimbi nga 7 Mukutulansanja 2012 okuwandiikira Kkwini Elizabeth owa Bungereza eggwanga eryali lifuga Uganda ebbaluwa ng’amulojjera ebizibu abantu ba Ssaabasajja bye balimu era ng’amulaajanira abeeko ne ky’akola.

    Kasolo agamba nti ekibiina ky’Abazzukulu kasookedde kitondebwawo kiwandiikidde Kkwini ebbaluwa nnyingi nga taziddamu nti kyokka ku bbaluwa Fr. Magimbi gye yamuwandiikira, yasobola okugiddamu.

    Ebbaluwa ya Fr. Magimbi yali etegeeza Kkwini nti, bennyamivu olwebyo ebiri mu Buganda bw’ogeraageranya n’ensi Uganda okuva lwe yatuuka ku bwetwaze gavumenti zibadde zikyusibwa kuyita mu ntalo ekintu ekiviiriddeko ebizibu by’ebyobufuzi n’okubaawo obutali butebenkevu.

    Yamunnyonnyola nti okuva Buganda lwe yafuulibwa ekitundu kya Uganda, ebiseera ebyo byonna bijjudde okuyuwa omusaayi, abantu ba Buganda abatemuddwa gavumenti ez’omuddiriŋŋanwa bali eyo mu bukadde era nga ne mu kiseera kino okubonaabona n’okuttibwa bikyagenda mu maaso.

    “Abaana ba Buganda bakyasaddaakibwa, abakazi bakyakakibwa omukwano emisana ttuku, bakubwa obutayimbwa, bookebwa ne asidi, ab’omu maka batemulwa ekirindi, Abaganda bangi baggaliddwa mu makomera nga n’obusambattuko obutaliiko kkomo bugenda mu maaso.” Fr. Magimbi.

    Yeeyongera okutegeeza Kkwini nti, “Abantu ba Buganda batemulwa mu ngeri eŋŋenderere, ettaka linyagibwa, abafu bataataaganyizibwa, okwokebwa kw’amasomero n’ebifo ebirala ebikolerwamu, okusaanyaawo amasiro, okufutyanka empisa n’obulombolombo ng’okwo kwe bagasse okutattana obutonde n’ebyafaayo byaffe.”

    Ebbaluwa ya Fr. Magimbi egamba nti Ssekabaka Edward Muteesa ne gavumenti ye baali bawadde emyaka 25 egyokugezesebwa, kyokka oluvannyuma lw’emyaka ena gyokka nga twefuze mu 1962, gavumenti ya Buganda n’eggyibwawo, endagaano zonna ne ziyuzibwa olwo ebikolobero ku Baganda ne bitandika. Emyaka 25 egyokugezesa gyaggwaako ng’erinnya Uganda mu nsi yonna limanyiddwa olwebikolobero.”

    Kwe kwongerako nti, “Buganda eteekwa okulekebwa nga Katonda ayinza byonna bwe yagitonda, eteekwa okuweebwa eddembe. Obulamu bungi busaanyiziddwawo omwaka guno ng’eno Uganda bw’ejaguza okuweza emyaka 50 mu bwetwaze okuva ku Bungereza, kyokka Buganda yo ekyali mu buwambe, Buganda kye yeetaaga kaakati kwe kufuna obwetwaze bwayo.”

    Wano kwe kusaba Kkwini nti nga ye bw’ali omutwe gw’amawanga agali mu luse olumu ne Bungererza (Commonwealth) nga ne Uganda mmemba, ng’omutwe gw’ekkanisa ya Bungereza eggwanga eryakulira okutondawo ensi Uganda, bateekwa okumanya engeri gye bayinza okugambululamu ekintu kino era n’amusaba ensonga eno agiyingiremu.

    Kyokka ebbaluwa eyamuddibwamu nga 3 Kasambula 2012 ng’eteereddwako omukono gw’omuwandiisi we, Miss Jannie Vine, Kkwini yategeeza Fr. Magimbi nti yali tayinza kweyingiza mu nsonga za ggwanga eryetwala.

    Kyokka ye Mw. Kasolo Ben yagambye nti okusinziira ku bbaluwa eno osanga ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni kwe yasinziira okuzza ebintu bya Buganda mu Kasambula wa 2013.

    TIMOTHY NTANDA LUKABI
    NE FRANCIS NDUGWA
    http://www.eddoboozi.co.ug/index2.php?page=article.php&x=5681

Viewing 1 post (of 1 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.