Lord Fred Sebatta

Viewing 4 posts - 1 through 4 (of 4 total)
  • Author
    Posts
  • #19051
    MulongoMulongo
    Participant

    Ssebatta akoze kkampuni ekuume ennyimba ze
    1221158058zulu.jpg
    Ssebatta ng’annyonnyola.

    Bya Ibrahim Ssegirinya

    OMUYIMBI wa kadongokamu Fred Ssebatta akoze kkampuni gy’atuumye Matendo Enterprises egenda okukuuma ennyimba ze n’ebintu bye. Ekitebe kya kkampuni eno kisangibwa Kibuye okuliraana essundiro ly’amafuta erya Kobil.

    “Okukola kkampuni eno, mbadde nkooye abantu abeefuula abatuyamba naye nga batubba bubbi. Abagula ennyimba zaffe bangi batubba kyokka nga bbo bafunamu nnyo.

    Eky’okulabirako nneekokkola omusajja gwe naguza olutambi lwange olwa Musango gwa Bazadde okwali oluyimba Sam Wange. Yampa bukaseti 150 n’okutuusa kati taddangamu kulabika,’’ bwe yagambye.

    Agamba nti n’eyagula olutambi lwe olwa Gambling tannamuwa yadde ekikumi.
    Bukedde
    Published on: Thursday, 11th September, 2008

    #19651
    MulongoMulongo
    Participant

    Nsoosewo ka article naye nga omuyimbi waffe ono yoomu ku basinga okuba nennyimba ennyingi ennungi mu tterekero lyaabwe erye nnyimba. Ekisinga okubeera nga kizzamu amaanyi, yoomu kwaabo abatakyuuse na mulembe, era nga yadde ebiseera biringa bwebiri, yye akyawereza ebintu ebyekwasiza ddala ku nnono yaffe eyo Buganda.

    #22742
    EfulansiEfulansi
    Participant

    Lord Fred Sebatta
    Thursday, 26 March 2009
    Fred Sebatta y’omu ku bayimbi ba Kadongo-kamu abatayisibwamu maaso. Aludde mu kisaawe ky’okuyimba era obulamu bwe bujjudde ebisirikko.

    Ye nnannyini Matendo Band, okusooka eyayitibwanga Matendo Promoted Singers.
    “Nnazaalibwa Nakwaya ku mayiro 45 ku lw’e Hoima. Nnasomera Nakwaya Pulayimale gye nnamalira ekyomusanvu era nnafuna guleedi ‘A’.

    Nnagenda mu siniya y’e Kalinaabiri mu 1972 kyokka yadde nze nnalinga nkulembera bannange mu kibiina, okusoma kwange tekwakoma wala. Nnakoma mu siniya yaakubiri era awo ensi we yatandikira okunkuba obuswanyu. Nnadda eka ne nkwata enkumbi n’okunoga emmwaanyi.

    Okuyimba nnakutandikira mu pulayimale naye nnali sikwagala ng’abasomesa be bakunsibako.
    Saalwa nnyo waka nga nnaakava mu ssomero. Mwannyinaze, Evona Nabatta y’ajja mu kyalo n’annona n’andeeta e Kampala, ne ntandika okubeera naye e Kibuye gye yali yafumbirwa.

    Nnatandika okukanika pikipiki mu Kiyembe mu 1974. Eno nnamalayo akaseera katono ne ngobwa oluvannyuma lwa mukama wange okuntuma sipanda n’ebyuma ebirala nga sibimanyi ne ndwawo okubimutwalira.

    Mukama wange yasooka kunkuba bikonde olw’obusungu kuba nnannyini pikipiki gye baali baleese yagitwala mu kifo ekirala bagikanike. Ekyaddirira kungoba.

    Nnasalawo okuyigirira omulimu gw’okukuba ebikonde mu ‘KBC’ (Kampala Boxing Club) e Nakivubo era n’eno saalwayo ate ne nzira mu kukanika emmotoka.

    Nnafuna galagi mu Ndeeba ewa Kawalya. Wabula buli lwe nnannyukanga nga ng’enda okuyiga okusuna endongo oluvannyuma lw’okunyumirwa ennyimba za Ssebadduka ne Eclas Kawalya.
    Eddalu lye nnalina mu kiseera ekyo lyansuula mu buzibu obutagambika. Olumu nnasimbula emmotoka y’omusajja ne ngivuga ne bannange okwetooloola Kampala ne ngikuba ekigwo. Amawulire gaatuuka eri mukama wange Kawalya n’awunga. Nze banzirusa mu ddwaaliro Nsambya ebyaddirira nnabimanya bansiibudde.

    Bwe nnawona nnaddayo ewa Kawalya. Yantunuulira n’angamba mmuviire mu maaso.
    Nnafuna galagi endala mu Ndeeba. Eno saalwayo ng’ate mmaze n’okuyiga okukuba ebivuga kwe kuyiiya oluyimba lwange olwasooka ‘Sam wange’ mu 1982. Nnagattako ennyimba endala ttaano n’enkola ‘ejjinja’.
    Nnasaba omulimu mu kibiina kya Buganda Cultural Company ekyakulirwanga Dan Mugula.
    Mu kibiina kino twafunanga omusaala gwa 150/- buli mwezi.
    Nga ndi ne Prossy Nabigumira, twayawukana ku kibiina kino ne tukola ekyaffe mu 1984 kye twayitanga Kadongokamu Super Singers. Twalimu ne Matiya Luyima.

    Wabula mu 1990 nnatandika Matendo Promoted Singers oluvannyuma ne nkifuula bbandi”.
    Sebatta yaakafulumya entambi z’ennyimba ezisoba mu 20. Olukyasembyeyo yalutuumye ‘Gambling’ okuli oluyimba lwa ‘Ayi Ssaabasajja mw’aloopera abamuyeekera mu kisaawe ky’okuyimba. Ye yayimba ‘Ddole w’omwana’, Nnalwewuuba ne ‘Gologoosa’.

    Musajja mufumbo, alina abaana era alina ke yeekoledde.
    Ku Ssande eno, Sebatta alina ekivvulu ku C&C e Kibuye.
    sebatta.jpg
    Mukyala wa Sebatta nabamu ku baana baabwe.

    #22743
    EfulansiEfulansi
    Participant

    bukedde Thursday, 26 March 2009
    OLUYIMBA LWA ‘AYI SSAABASAJJA’
    EBISOOKERWAKO:
    AYI Ssaabasajja Kabaka Mukama wange gusinze. Gwe mbuga gutta atatuuse…

    EKITUNDU EKISOOKA
    Obwongo obundaga awali ensobi nkwata butamba kye nva nnaganja mu nsi, Ne Kabaka okusiima okunnyambaza ebitiibwa yava ku bye nkola era, Naye waliwo be kyayisa obubi, be siiyatule era omuntu wa wano kkoyi, Kye baava banzisa mu kkutiya ne basuula eyo ne bakotoggera ensi, Ndi mabega wa firiigi Beene mpunyira eyo gye banzisa baganje, Kyokka obabuuza mu nju ekiwunya basajja bo abo ne bawoza mmese nfu, Ssebo Mukama wange bakulimba abantu abo kamwakoogera nze ncuuma, Bukyanga nsirika si bwa jjo, oba kizigo kyogererweko…

    EKITUNDU EKYOKUBIRI
    Balina omukisa ab’emyoyo emibi egitabafaanana ne bw’agenda ku lumbe, bagiteebeza ssewagetto olw’obutamiivu nga nnyini kukikola akaga Nsaba osiime Kitaffe owulire ensonga bangi abamettebwa enziro ate nga b’olaba nga bennyini ddala Abaganda be beenyigidde mu kyo, Bawandula abasajja abamanyi ennono obulungi fitina ya wano etekya, Mu byoyo by’endiga mwe bamansa ensanga kitange banoonya okubba embuzi, Ne basagambiza bawoomese enkolwa ku kawunga mbu kawooma okukira enkoko, Weegendereze abakulya mu ngalo, mu ngalo… abasinga banoonya byabwe…

    EKITUNDU EKYOKUSATU
    Si buli awoza Ssebo Ssebo wangi Mukama wange nti abeera mwesigwa nnyo, Mbadde eyalyamu Yesu olukwe naye yajja bw’atyo Nnamunswa tebaba bbo, Waliwo abawoza bbaffe w’oligwa sirikusuula nga beggamyewo lwa nkuba, Ng’olulengera akasana ate awoza leka oti, Omuganda wa wano kkoyi, Bateeseza ebituufu mu nsobi abantu abaffe ne baguma tufiirwe, N’oluusi boogera ebifa e Buganda babikyusa bamala geerogozza, Olaba n’amanyi nti eno ewaffe tulya ndaggu atussizaamu kaaama, Tufuna okutya nga katemba agenda mu maaso mu beekulubeesa e mbuga… N’EBIRALA

Viewing 4 posts - 1 through 4 (of 4 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.