OBUSIRAAMU: ‘Okwagaliza Ssekukkulu musango”

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Ebyeddiini / Religion OBUSIRAAMU: ‘Okwagaliza Ssekukkulu musango”

  • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #17553
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    OBUSIRAAMU: ‘Okwagaliza Ssekukkulu musango gwa naggomola’
    Dec 20, 2013

    Bya Hafswa Nankanja

    EBULA ennaku mbale tutuuke ku lunaku lwa banaffe abakuza Ssekukkulu. Mu kiseera kino Abasiraamu bangi bayitwako emirimu gy’Obusiraamu gye bateekeddwa okukola nga beekwasa kimu nti tebalina budde.

    Bwe gutuuse ku basuubuzi ne gujabagira kuba abasinga kati ekiseera kino bakyeyitira ‘ka sizoni’. ‘Ka sizoni’ kano kabakutte omubabiro bangi ne batuuka okwerabira okutendereza Allah n’okusaala nga batya bakasitoma okubalekawo singa bagenda okutendereza.

    Wabula okimanyi nti, mu kiseera kino ensobi ntono ddala gy’okola ekyayinza okukuggya mu busiraamu?

    Abakulembeze mu busiraamu bannyonnyodde ku ngeri gy’oteekeddwa okweyisa ku lunaku luno.

    Katonda tazaala

    Deputy supreme Mufti, Sheikh Mahmood Kibaate: “Ffe ng’Abasiraamu tetukkirizibwa kulaga nti Katonda yazaala. Tukimanyi bulungi nti, Allah kennyini yayogera n’atutegeeza mu kitabo kye ekitukuvu ekya Kulaani mu Surat ikraasi : 112 nti ye tazaala era tazaalibwa, ali omu bwa nnamunigina nga talina na ba kiyambi.

    Omukkiriza yenna agoberera ekitabo kya Kulaani ateekeddwa okwetamwa buli kintu kyonna ekikolebwa nga kivvoola ebigambo amaanyi ga Katonda.

    Okwogera ekigambo ekyo eky’okuzaaza Katonda, eggulu n’ensi biba bijula kwabika bitubuutikire, wabula olw’ekisa kya Allah eri abaddu be ababeera bakyamutendereza nga bakakasa nti tazalanga akkakkanya obusungu bw’eggulu n’ensi ne bitatubuutikira.

    Omuntu ajaguza oba eyeetaba mu bikujjuko byonna abeera ng’omuntu akoze shiriki era bw’afa nga teyeenenyezza Allah amwokya omuliro.

    ‘Okwagaliza Ssekukkulu musango gwa naggomola’

    Amiir Daulah Sheikh Sulaiman Kakeeto: Abasiraamu tetukkiririza mu lunaku olwo. Omukkiriza yenna talina kulwenyigiramu wadde okulwagaliza omulala yenna alukkiririzaamu.

    Mu busiraamu tukimanyi bulungi nti Nabbi Isa naye kitonde nga ffe nga yatondebwa Allah (Katonda). Katonda taba muntu era tasobola kuzaalibwa muntu. Tetukkirizibwa kwetaba mu bikujjuko nga bino.

    Ku lunaku luno, omusiraamu ateekeddwa okwongera okukola emirimu emirungi mu maaso ga Allah ng’okwongeza mu kumutendereza, okusoma Kulaani, okugenda mu darasa ez’enjawulo n’oyongera okumanya ku busiraamu bwo.

    Okusaala ennyo sswala za sunna nga bwe weegayirira Allah akusonyiwe n’okukulung’amya.

    Bwe weetaba mu bikujjuko bino, naawe obeera okakasizza nti katonda yazaala era obeera ozzizza omusango gwa naggomola mu maaso ga Allah ogujja okukubonerezesa ku lunaku lwa kiyaama. Amakulu ojja kuba mu kufaafaagana.

    Okulya emmere efumbiddwa olwa Ssekukkulu kiri haraam

    Sheikh Sulaiman Guggwa, Imaam w’omuzigiti gwa Masgid Fayibah ku Fayibah Plaza mu Kampala.

    Kiri haraamu, kiri haraamu, kiri haraamu. Teri lunaku lunyiiza Allah ng’olunaku lwa ssekukkulu.

    Omusiraamu ng’amanyi nti ajja kusisinkana Allah we amubuuze ku butya bwe yakozesa ebiseera bye n’ebiyungo bye talina kwetaba mu kantu konna akeekuusa ku lunaku luno.

    Olaba n’emmere gye baba bakuwadde nga yafumbiddwa na kigendererwa kya kukuza lunaku olwo tolina kugirya. Nabbi Muhammad (S.A.W) yatugamba nti Allah ajja kusonyiwa omuntu omulala yenna gw’aliba ayagadde naye tajja kusonyiwa muntu eyamugattako kintu kirala kyonna.

    Omuntu bw’ozaaza katonda obeera omugasseko ekintu ekirala era toba na njawulo na muntu akoze shiriki.

    Bw’omuzaaza obeera omaze okuva mu Busiraamu era bw’ofiira awo ofa oli mukaafiiri kuba oba ng’akoze shiriki.

    Tolina kukulisa, wadde okugamba omuntu nti weebale kulutuukako kuba gwe omusiraamu terukukwatako.

    Jjukira nti watondebwa kusanyusa Allah wo eyakutonda sso si bantu banno. Tolina kubasanyusa ng’onyiiza katonda.

    http://www.bukedde.co.ug/news/75769-obusiraamu-okwagaliza-ssekukkulu-musango-gwa-naggomola.html

Viewing 1 post (of 1 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.