Okulonda 2011 Kugumaaza Baganda – Bazzukulu B.B.

Home Forums Meeting Greeting & News Reports Bazzukulu Ba Buganda Intl /Kingdom Grassroots Okulonda 2011 Kugumaaza Baganda – Bazzukulu B.B.

  • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #18018
    Alex KigongoAlex Kigongo
    Keymaster

    EBBALUWA EY’OLWATU
    Eri,

    Katikkiro wa Buganda
    Owek J B Walusimbi
    Bulange Mmengo

    Ssebo,

    Omulamwa:Temuguumaaza Baganda, okulonda kutunywereza bunywereza mu buwambe

    Muvuddeyo ne mukubiriza Abaganda okwesimbawo era ne mubakubiriza n’okwewandiisa okulonda mbu basobole okukozesa obululu bwabwe balonde, mbu, abakulembeze abawagira ebya Buganda era abasobola okufunira Buganda Federo n’ebyayo ebirala. Lwaki muguumaaza Obuganda? Lwaki muwaayo obuyinza bwa Buganda okwesalirawo?

    Abangereza mu myaka gy’ataano baakakaatika enkola y’okulonda eya ‘ky’abanji’ ku Buganda ng’akakwakkulizo k’okuzza Ssekabaka Muteesa II gwe baali bawaηηangusizza mu 1953. Akakwakkulizo ako baakayisa mu kye baatuuma era kyetukyayita “endagaano ye Namirembe eya 1955”. Ebyatuviiramu tetulina kubyerabira. Okulonda okwaddirira kwazuukusa embiranye z’eddiini wakati w’Abapolotesitante n’Abakatuliki ekyaleetera Abaganda Abakatuliki abaawangulwa mu kulonda kw’obwa Katikkiro okufuuka abalabe ba Buganda abaasimbira Buganda ekkuuli okulaba nti efiirwa obutongole bwayo. Wakati wa 1955 ne 1962, Abaganda ng’okulonda kubaawuddemu Abakatuliki abeekolamu n’ekibiina ky’obufuzi n’abapolotesitante abaali bawangudde obwakatikkiro e Mmengo baamala amaanyi gaabwe gonna nga beerwanyisa. Kulw’okuwangulagana baasaddaaka n’obwetwaze bwa Buganda, Abakatuliki bwe beegatta ku balabe ba Buganda okusalawo ebisanyaawo Buganda ate n’Abapolotesitante nabo ne basembeza Obote olw’okwagala okuwangula Abakatuliki mu kibiina kyabwe ekya DP. Ebyaava mu kino nakati by’ebikyatukaabya amaziga. Lwaki twefuula abeerabidde gyetuva? Lwaki tetuyigira ku bitutuuseeko?

    Omuzungu yawugula Abaganda okuva ku bwetwaze nga yeeyambisa akakuubagano ako era ng’ayita mu kulonda n’atuzza mu mivuyo n’obutaliimu bwa Uganda. Weewaawo Ssekabaka Muteesa II yali amutebuse n’agaana Abaganda okwetaba mu kulonda kwa 1961, (ekyasobozesa Buganda okufunayoko ku byoya by’enswa naye era olwessuubi ly’obuwulize bwa Baganda mu kukuba akalulu, nga bwe mulagira kati Abaganda, Buganda yamira eddobo ly’abazungu n’edda mu butaliimu era obufuusa bwa Uganda.

    Mu 1961-62, Abaganda baali bakyalina ensa n’olwekyo baasobola ekitakyaddamu kusoboka bwe baakuba akalulu mu kitole nga bayise mu KY, ne bawangula, naye Obuwanguzi bwetwaggyamu bwatutuusaawa?

    Abaganda baakuba obululu mu 1981 ne babuwa muganda munnaabwe Paul Kawanga Ssemwogerere, naye baayambibwaki? Buganda yafunamu mu kulonda kwa 1981? Obutaliimu bw’olutalo lw’e Bulemeezi bwe mwagala Buganda eddemu?!

    Olwaleero abatali Baganda bebasinga obungi mu Buganda, ate nga tukimanyi nti okuva mu myaka gy’enkaaga obukyayi ku Buganda buzze busigibwa mu Banna Yuganda ne busomesebwa ne mu masomero. Olwaleero entekateeka ssinziggu zikoleddwa okusiga n’okufukirira embiranye ey’amaanyi wakati w’Abaganda n’abatali Baganda abali mu Buganda n’ebweeru wayo, nga n’abantu ababadde mu Buganda entende emyaka n’emyaka, kati bagguddewo olutalo ku Buganda, nga ne Kabaka takkirizibwa kugenda mu masaza ga Buganda gye batudde.

    Abaganda bonna ne bwe basalawo ne bakuba akalulu kaabwe wamu tebasobola kuwangula kubanga batono nnyo ku balala abatabaagaliza.

    Ne bwe kiba nti ekyewuunyo kibaddewo ababaka ba palamenti abava mu Buganda bonna abalondeddwa ne bawagira ebya Buganda; benkana ki ku babaka abava mu bitundu bya Uganda ebirala abawunyirwa ebya Buganda ziizi?

    Ye bwe mugamba nti mugenda kuwagira abaneesimbawo abamanyi okwogera ensonga za Buganda obulungi, kipimo ki kye munaakozesa okubamanya n’okubeesiga? Olwo Abaganda be munaaba temuwagidde munaaba mubasindiseewa?

    Okulonda tekulina kye kusobola kugasa Buganda. Mukimanyi bulungi nti Buganda ejja kuwangulwa mu buli ngeri yonna. Terina nkizo yonna mu nteekateeka y’okulonda kubanga beevuganya nabo beeba nnanyini kulonda n’okutegekebwa kwakwo.Be bakutegeka, be bakukubiriza, be babala obululu ate be babulangirira.

    Kirabika nga ekigendererwa kyammwe kuwaayo Buganda, kubanga Buganda bwe yeetaba mu kulonda mu butongole, n’ewangulwa, byonna ebirisalibwawo abaliba bawangudde okulonda okwo bijja kuba nga mu mateeka bikakata ku Buganda nga terina w’ebigaanira. Buganda bwe yeetaba mu kulonda mu butongole egenda kuba ekkirizza nti ebyaayo bisalibweewo abaliba bawangudde okulonda okwo.

    Leka tukimanye, tukitegeere era tukikkirize nti Buganda entonde etambulira ku butonde bwayo ate Uganda empange obupanzi etambulira ku bupanzi ng’okukuba obululu. N’olwekyo Buganda teyinza era teriyinza kuganyulwa mu bupanzipanzi. Ky’ova olaba ng’okuviira ddala obululu lwe bwaleetebwa Omukolooni mu gy’ataano, Buganda terina mulundi gwe yali eganyuddwa okuggyako okugwa mu Bizibu ebigyegezaamu okugisaanyaawo.

    Kisaanye kijjukirwe nti Olukiiko lwa Buganda olutongole mu 1966 lwayisa ekiteeso ekigoba gavumenti ya Uganda mu Buganda olw’okumenyawo endagaano ya 1962, eyali egatta Buganda ku Uganda kyeyagalire. Okuva olwo gavumenti ya Uganda yeekakaatika bwekakaatisi ku Buganda mu ngeri ya Kiriisamaanyi ekimenya amateeka g’ensi yonna. Okutuusa nga Buganda mu butongole emenyeewo ekirangiriro ky’olukiiko lwa Buganda ekyo ekyagoba gavumenti ya Uganda ku ttaka lya Buganda, gavumenti ya Uganda efuga Buganda mu bumenyi bw’amateeka era Buganda bwewaaba mu kooti y’ensi yonna, Uganda esobola okukakibwa okuddiza Buganda obwetwaaze bwaayo.

    Abeebitiibwa b’e Mmengo, kirabika ng’ekigendererwa kyammwe gavumenti ya Uganda kye yabatuma, kwe kuguumaaza Abaganda, mbu, ebya Buganda bigenda kugonjoolwa nga tuyise mu kulonda kwa 2011, olwo mu kukola ekyo mwefuule abakiikirira Buganda mulabise Buganda ng’eyeetabye mu kulonda okwo mu butongole, n’olwekyo, mulabise Buganda ng’emenyeewo ekirangiriro ekyagoba gavumenti ya Uganda ku ttaka lya Buganda era kitegeeze nti Buganda eri mu Uganda kyeyagalire (teri mu buwambe); ekyo kiggyewo ensonga Omuganda yenna gy’asobola okusinziirako okuwaabira gavumenti ya Uganda mu kooti y’ensi yonna ku lw’okufunira Buganda Obwetwaaze.

    Ekigendererwa kino mukiruddeko nnyo nga kikyabalemye okutuukiriza. Mwasooka kwagala kukiyisa mu Charter, bwe yalemwa, ne mutegeka kukiyisa mu Regional Tier. Obuganda bwe bwagigaana, mwe ne mukama wammwe pulezidenti-gavana mukoze binji okukaka Ssabasajja Kabaka akozese omukono gwe ku lwa Buganda amenyewo ekirangiriro kya 1966 nga muyita mu kye mwatuuma okuteesa.

    Kati ekkubo mu lizudde mu kulonda kwa 2011.!!!

    Bwe muba temulina kigendererwa kibi ku Buganda, obudde tebunnayita.

    Mukomye okukola ebirabisa Buganda ng’eyokwetaba(mu butongole) mu kulonda kwa Uganda okwa 2011 oba okulonda kwonna okulala okutegekeddwa Uganda. Abakungu abaagala okwesimbawo balekulire emirimu gya Kabaka beetabe mu kulonda okwo ku lwabwe ng’abantu so ssi ng’abasimbiddwaawo oba abatumiddwa Buganda. Bwe muba temusobola kuyamba Baganda butawaayo dembe lyabwe kwesalirawo na kwefuga nga bayita mu kiguumaaza w’okukuba obululu, mubaleke babwetabemu olw’emmundu eyabateekebwaako, so si mwe kubakulembera kubatwalamu.

    Wangaala Buganda

    Awangaale Ssaabasajja Kabaka

    M . Jjunju Kamulali
    (Ssentebe)

Viewing 1 post (of 1 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.