Omusaalaba kabonero ka buwanguzi

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Ebyeddiini / Religion Omusaalaba kabonero ka buwanguzi

  • This topic has 3 voices and 2 replies.
Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
  • Author
    Posts
  • #17134
    MulongoMulongo
    Participant

    Okulyowa emyoyo ne Fr. Kanyike

    KU Ssande eno tukuza olunaku olukulu olw’okugulumizibwa kw’omusaalaba. Omusaalaba kabonero ka kwagala na buwanguzi. Paulo mu bbalulwa gye yawandiikira ab’e Firipi 2,6-11, alaga nti Kristu Katonda ddala, yeemaliramu ddala n’afuuka omuddu, n’afaanana abantu, ne yessiza ddala okutuuka okufa ku musaalaba.

    Bino byonna Katonda yabikola ayolese okwagala kw’alina eri omuntu. Ku musaalaba kweyafiira yatulaga okwagala kwe kuno.

    Awo nno obanga Katonda yatulaga okwagala okutuuka awo, Kristu ky’ava atuyigiriza nti naffe okusiima enjagala gye yatwagalamu, naffe twagalanenga mu ngeri y’okwewaayo ku lwa bannaffe abali mu bwetaavu.

    Ku musaalaba, Omukama kw’atulagira nti abo abaali balowooza nti omuntu asaanyiziddwaawo, ate ye Katonda we yalagira obuyinza nti tewali kiyinza buyinza bwe, bwe yazuukiza Yezu mu kitiibwa n’amugulumiza.

    Awo nno Omusalaba mu kifo eky’okubeera akabonero ak’obuswavu, n’okuzikirira ne gufuuka akabonero ak’obuwanguzi n’okwagala. Eno y’ensonga lwaki buli kibuga kyonna gy’osanga amasinsizo, Amakristu ogawulira ku minaala gyago egiriko emisaalaba.

    Bakristu baganda bange tugulumize omusaalaba kuba mu gwo naffe Omukama mw’alitugulumiriza.
    Bukedde
    Published on: Saturday, 13th September, 2008

    #19661
    TontoTonto
    Participant

    Mulongo webale message eno.

    Mumbejja tulondere hymn jetuba tuyimbirako.

    #19924
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    ndowooza nti kano kanagendera wo

Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.