OVERCOME EVIL WITH GOOD: IRRATIONALITY WITH REASON

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Ebyeddiini / Religion OVERCOME EVIL WITH GOOD: IRRATIONALITY WITH REASON

  • This topic has 6 voices and 7 replies.
Viewing 8 posts - 1 through 8 (of 8 total)
  • Author
    Posts
  • #18604
    KasibanteKasibante
    Participant

    This is an appeal to forum members. Though the Baganda’s frustration and rage are understandable, we must try to overcome evil with good, irrationality with reason. It’s in the teasurebox of reason that the key to the chains that bind us is hidden. But if we give insult for insult, we won’t be any different from the bad hateful people who’ve irritated us in the first place.

    #21019
    NdibassaNdibassa
    Participant

    Mwami Kasibante kyoyogera kituufu yensonga lwaaki tulinze bu sabbuuni tusuule bulungi akalulu kaffe wetumanyi wekateekwa okusulibwa ne bisanja twesibe kasita tebaayo ba nnugu kubikumako muliro, by the way oli musajja wa Kabaka oba oli Muganda we Mbarara just asking you don’t need to answer

    #21027
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Nange njakusemba tetwagala kuba babi yesonga lwaaki twagala kusibamu bugugu tubukasuke wabweeru no bad feelings naye abalala abo abalina ekkonda eryokwetakulako bo tujja kubaleka bagende bamale eggoga kuba jjukira tuli bantu baddembe ekitali ekyo ffe twandibadde tukutte ebiso nga nemimwa tugikanyuga left and right.Nga twesasuza abaffe bebazikanga nga balamu.

    #21029
    Justus ZaguduJustus Zagudu
    Participant

    But maybe Kasibante could give us an example of how exactly to go about this. For example a well treated house guest calls his host a fox, and the guest says…

    #21035
    TontoTonto
    Participant

    Kasibante wrote:

    Quote:
    This is an appeal to forum members. Though the Baganda’s frustration and rage are understandable, we must try to overcome evil with good, irrationality with reason. It’s in the teasurebox of reason that the key to the chains that bind us is hidden. But if we give insult for insult, we won’t be any different from the bad hateful people who’ve irritated us in the first place.

    Kashibante, we have been doing just what you are suggesting for years and years and years. We have tried to overcome evil with good all this time. See what is happening to BUGANDA today. Is it any wonder that BUGANDA wants to secede – and remain an independent nation? It is surprising that you want us to continue being good to you when you are being murderous to us. In such situations, humans are entitled to defend themselves. It is a natural law.

    If there is any voting taking place in 2011, let all BAGANDA people vote for a MUGANDA. Not any Muganda (the Kashibantes, the tamale-mirundis) We must vote for a muganda person who respects our Kabaka, respects BUGANDA, a muganda who will return “ebyaffe” to BUGANDA.

    Abo abashaija mubaveeko. Tebalina jebatwaala BUGANDA. They are destroying our nation. Soon BUGANDA will be like Zimbabwe, because of them. Olumala okutuula kubwa president, nga bakola byabwe.

    BUGANDA is an independent nation since 8 October 1962.

    #21050
    MugerekaMugereka
    Participant

    Ndibassa wrote:

    Quote:
    Mwami Kasibante kyoyogera kituufu yensonga lwaaki tulinze bu sabbuuni tusuule bulungi akalulu kaffe wetumanyi wekateekwa okusulibwa ne bisanja twesibe kasita tebaayo ba nnugu kubikumako muliro, by the way oli musajja wa Kabaka oba oli Muganda we Mbarara just asking you don’t need to answer

    Bululu ki, obwo bukaba bwereere. Teri bululu, Abaganda twekunge, bwetunadda mwebyo bi democracy simanyi diplomacy, ebyo obikola nababitegera. Kiringa okuntuma omulimu mu lu China, era manya olinga atayogedde.

    Kasibante byoyogera mu ddini bituufu, naye ne Katonda yenyini, yakwatanga abantu bulungi nababulira nababulira nebagaana okumutegeera. Neboonona buli kimu kyeyatonda, nebakifuula ekibi ekyeko. Kyeyavanga atandika okubabonereza. Awo awasasula good twayitawo, kati tugenda ku bidirira.

    #21142
    KasibanteKasibante
    Participant

    Sebo Tonto nze siri Mushaija, nze ndi musajja wa Kabaka, Muganda Nakabala, ku kika neku bukojja. Tekibera kituufu buli alina endowooza eteri nga eyaffe bwetumuvvola netumufula ekitagasa. Ku bwange kyendaba nga ekkubo ettufu lyelyokukwata abantu bano obulungi naye nga tumanyi byetugenderera. Abaganda tumanyi okusalira abalala omusango ogandibadde ogwafe. Abantu ba mawanga amalala bafunye batya amataka mu Buganda? Baganda si bebagabaguziza? Ekyokuwamba bakitandise kati, nga tumaze kubalaga nti tetufayo. Lwaki tewaliwo tteka ligaana muganda kutunza mugwiira ttaka? Nga bwolimutunza olimala emyaaka lukumi, nabaana nabazzukulu nga tebazzemu kufuna lukusa lukwata ku kyapa? Lwaki fe tetulina mateeka gekuuma kyokka netusalawo okusalira balala omusango? Fe tuteekwa okwekuma, so si abatuyingiramu betutamanyi betutalinako ndira. Bwetutyo nobutuufu wakati waffe bwetuyinza okulwanyisa obukyaamu obutwetolodde.

    #21143
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    Kasibante ensonga yo ngiraba naye kati webituuse Abaganda okuba nti batuuse ku suula emala okukuba nebalyooka babuuza oluvannyuma kivudde ku buntu bulamu bwaabwe nobulungi bwaabwe nobugumukiriza banaffe kyebavvunulamu nti bujega .

    Kino kulyaakyo kyatuletera omutawaana naye webuuze ne bajjajja ffe bakirina naye bo balina ekkomo , nga tosala line gyebakutereddewo yensonga lwaaki twasanga byonna bye balwanirira, kati ffe byetulese buli omu najja neyeyononera nga bwayagala kati bebatubegerako.

    Naye kuludda olulala ndowooza nabo bajjajja ffe gyebebase bagamba nti ka enkonge emmale okubakuba, bajja kubuuka kuba ku guno omulundi nga buli omu alabye ku nnaku ajja kumanya ekyo kukola siffe tusoose okufugibwa obumbula era yensonga lwaaki bwogenda munsi nosanga abenunula nga balina amateeka gaabwe amakakali, nga nokusosola bakukoza nga nva ,bye bino byebimu nabo byebaba bayiseemu nebasooka babeera abantu balamu bagenda okulaba nga bo babalinnya kumitwe ko bbo nti kati kimala .

    Kyetugamba Abaganda nti kuluno tetujja kunyigira ku muntu yenna liiso oba oli naffe oba oli mulabe waffe.
    Kati bwogenda mumawanga amalala osanga bakyatambulira kumateeka gaba jjajja bwe bakugamba nti tosobola kugulayo ttaka era tosobola kufunayo kibanja naye nga bwebatyo bwebekuuma .

    Wano abo mu North bayingiza buli mugwiira asobole okubalwanirako olutalo olwokukyaawa nokutta Abaganda tebereza nga tebasinziira mu gwanga lyaabwe mu North wabula wano ewaffe mu Buganda nga jobeera twabayita, bonna nebatuula era nga buli omu yetolera kukitali kikye nga bwayagala nokutuusa kati ,kuba Abaganda bwebogerako kubibaluma nge mundu , ne tear gas nga bivaayo.

    Kati buli omu bwabonabonako ajja kumanya ekyokukola , na Baganda abalowoleza okumpi nebatunda buli kamu ate nga bakatunza mu gwiira mujjukire nti tebajja kutulawo nga banyini nsi bakomyeewo oku gi claiming-a eri mwe abagwiira mbawa gabwereere mutere musibemu mpola nga akaseera kokusindika tekanatuuka kuba muyinza okugenderawo nga bwe mwajja Abaganda babonyebonye ekimala.

    Kati luli olusasa-sasa telukyaliwo alina amatu awulire , wakiri balibibakimako eyo ewaamwe naye nga mwetegudde bagamba nti embulirire tefa yonna , lwaaki mulowooza nti amateeka gemwasaawo ewammwe gegateekwa okukola mwe mu jje mu Buganda mukyuuse buli kyonna ffe kyetutambulirako , musimuulewo amateeka gaffe , mutulemu mirembe ffe banyini nsi tubonebone tunoonye obubudamu awalala ate nga si wammwe .IDONT THINK SO WALIWO ABAGAMBA NTI TOBALABULA KUBA MPULUKUTU ZA MU SOTA ZIWULIRA NAMUGGO NABO BALOZE KU KYEBATUKOZE

Viewing 8 posts - 1 through 8 (of 8 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.