Time To Start Sending Our Christmas Greetings

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Ebyeddiini / Religion Time To Start Sending Our Christmas Greetings

  • This topic has 4 voices and 4 replies.
Viewing 5 posts - 1 through 5 (of 5 total)
  • Author
    Posts
  • #17364
    MulongoMulongo
    Participant

    180px_Christmas_tree_bauble.jpg Down here, the television has started to air Christmas ads, some shops are starting to decorate. Seems like the Christmas spirit is coming down on us again. So people, for those of you who still love your snail mail, if your want your cards to be on time, start writing. All of you, together with those who use the email, can make you drafts here.

    #20491
    OmumbejjaOmumbejja
    Participant

    http://www.youtube.com/watch?v=wxO1iGGw8t4

    M is for MY friend, a truly special person I hold so dear,
    Y is for YOU, that person who by my side is always here,
    F is for FOREVER, the time I know our friendship will last,
    R is for REMINISCING, of the times you’ve been there in the past,
    I is for INSPIRATIONAL, for the way you’ve dealt with troubles through the years,
    E is for EMOTIONS we share, whether it’s laughter, love or tears,
    N is for NEVER doubting that your friendship will always be mine,
    D is for DOUBLE the happiness, I wish on you my friend, at Christmas time!

    MWENNA MBAGALIZA AMAZALIBWA AMALUNGI NOMWAAKA OMUJJA GUBABERERE GWABIBALA

    NAMMWE MWENNA ABATASIZE NSIGO MUKUNGULE NGA BAVUBI NAYE MWEWALE OKULYA NGA

    EYASIMATTUKA KKUNSA TWAGALA WAKIRI MUFUNE HANGOVER JUST BECAUSE YOU WOKE UP

    SI KUBA MWANYWEDDE NEMUGANGAYIRA TUNASISINKANA NATE NGA TUNYEENYA KU BYA TUWEEBWA)

    #20513
    JonaJona
    Participant

    Wali okimanyi nti Christmas (ONE OF THE HOLIDAYS) ssi lwerumu ku nnaku Katonda zeyalagira okukuza? Toyinza nakusanga kigambo “Christsmas” mu Bible. Wabula ennaku Katonda zayagala abantu okukuza mu Bible zirambikiddwa bulungi.

    Jesus Christ yamala kunsi emyaka nga 30 be ddu, kale lwaki tebakuza mazalibwage ng’akyali kunsi kuno.

    Wano wendi kati, abantu bawano bagala nnyo Christmas. Wempandikira bino, nga bamaze dda okutimba ekibuga kyonna, munguudo, buli wamu batimbye christmas. Bakola shopping wa christmas naawe newewuunya. Bakozesa sente nyingi nnyo okutimba, okugulira bannaabwe oba aba family yabwe ebirabo. Ebiseera bya christmas nga bituuse, traffic mu kibuga eba yamaanyi nnyo. Buli omu aba yetala.

    Wabula mu church osangayo babale.

    And what about the Christmas Tree??

    Even Jeremiah warned about Christmas tree as an idol practice. It seems, decorating a christmas tree (and dancing around it was) is an Idol practice. Here is what the Bible says:

    Jeremiah 10:1-4

    God and Idols

    1 Hear what the LORD says to you, O house of Israel. 2 This is what the LORD says:
    “Do not learn the ways of the nations
    or be terrified by signs in the sky,
    though the nations are terrified by them.

    3 For the customs of the peoples are worthless;
    they cut a tree out of the forest,
    and a craftsman shapes it with his chisel.

    4 They adorn it with silver and gold;
    they fasten it with hammer and nails
    so it will not totter.

    #20529
    MulongoMulongo
    Participant

    Eddako nga newano church ejjula bakadde. Naye ku Easter ne Christmas nga wabayo kko ku bantu, yadde nga era tekibeera nga bwewandikisubidde. Naye ennaku zino , church eri ku mulembe, kati abantu obasangayo. Yadde nga tebalina webenkanira babeera mu maduuka.

    Naye yo Christmas yafukira ddala commercial holiday. Abantu bangi tebamanyi nti waliwo nekisiibo, ne ssala ezenjawulo ebikolebwa okwetegekera Christmas. Bbo bategeka ngoye zebalyambala nga bagenda — Out. Na sente ziribatwaala ku Christmas holidays.

    Wewaawo Christmas tree yatandikira mu batali bakkiriza. Naye nasomako ku Saint Boniface eyaginyonyola nagiwa amakulu geki kuristaayo. Nolunaku lwenyini olwalondebwa 25 December, kigambibwa si lwelunaku Yesu kweyazalibwa. Luno Olunaku bagamba nalwo lwaali lwabatali bakkiriza naye lwakozesebwa Abakrisitaayo kugezaako kwekwekwa kubanga baali bayigganyizibwa. Bwebatyo basobolanga okujaguza nga tebabawudde ku bali aba pagans.

    Lwo olunaku olutuufu lunonyezebwa nabuli kati. Nga nomwaka gwenyini si mumanyifu bulungi. Abamu bagamba mbu Kalenda bagijja lu 1BC nebagitwaala ku 1AD nga omwaka gwa 0AD tebagubaze. Nabalala bagamba ebirala, emboozi mpanvu.

    Kati ate ku lunaku lwomwezi ate awo wewakyasinga obuzibu. Waliwo abagamba nti lwaali 6 January, 28 March, 2 April, 11 September, 29 September, 18 November nennaku endala.

    Ebyesigamizibwako ku lwa buli lunaku oluweebwa bya njawulo, waliwo katugambe okubalirira okusinziira ku;

    – Abalunzi be ndiga bwebali baliisa endiga zaabwe ekiro. Nga kino tekibaawo mu biseera bya bunyogovu…

    – Okuzaalibwa kwa John Omubatiza. Kitaawe yali akola mu yekaalu gyeyava nagenda eka, mukyaala we alyooke afune olubuto lwa John. Ate nga John yazalibwa emyeezi 6 okusooka Yesu…

    -Olunaku Yesu lweyayanjulwa mu yekaalu nga muwere. Mwalimu omukyaala ayali asuzemu nga asaba, ate nga waliwo olunaku lumu mu mwaka abantu lwebasulanga mu yekaalu nga basaba, nga mu biseera ebirala yekaalu yabanga nsibe okuva ku budde nga buwungeera…

    – Okubala abantu okwateekebwawo aba Roman; kuno bagamba nti mu bantu balimi kwaali kulina kukolebwa mu kiseera nga amakungula gawedde…

    – Emunyenye abasajja abagezi abasatu gyebalaba nebagigoberera, eyo nayo bagipima ddi lweyaboneka…

    Naye bamaliriza bonna bakkiriziganya ku kimu nti amazalibwa ssi ga 25 December. Nti ate nekirala Yesu yatugamba kujjukira kufa kwe.

    Naye nze ku bwange obwa Mulongo ngamba, nti kasita ennaku zonna za Mukama waffe, bwetulondamu olumu netujjukira bweyawereza omwana we okulokola ensi, kitwongera okunyweera mu nzikiriza. Singa tujjukiranga bulijjo, nti okwetegeka okukulu kuli mu myooyo gyaffe, nokujaguza kuli mu masinzizo okusinga mu maduuka getusinga okweyunira.

    180px_Juletr_C3_A6et.jpg Merry Xmas.

    #20567
    EfulansiEfulansi
    Participant

    180px_ShornTree.jpg This goes to Mum and Dad and all my first family.

    This goes to hubby and kids and all my inlaws.

    This goes to all my friends old and new.

    Thanks for every peice you all contributed to making me the person I am.

    I love you all.

    Merry Xmas and a Happy New Year.

    http://www.youtube.com/watch?v=hfDUYazIvgk

    180px_ShornTree.jpg

Viewing 5 posts - 1 through 5 (of 5 total)
  • You must be logged in to reply to this topic.

Comments are closed.