Omusolo gw’omutwe

  • This topic has 1 voice and 0 replies.
Viewing 1 post (of 1 total)
  • Author
    Posts
  • #17355
    MusajjalumbwaMusajjalumbwa
    Participant

      ‘Omusolo gw’omutwe gwandeka nfuuse ssekibotte’

      Emboozi Omutuuze ono yagitegeezezza Henry Ssennyondo.

      OMUSOLO gw’omutwe bwe gwavaawo nnandisse enkoko ne nneekulisa singa abaserikale abagukwata tebanzitira maka.

      Abaserikale bansambira Manyangwa mu ggombolola y’e Nangabo nga March 29 2003. Nnali ku kabangali okwali emigugu ne bannange nga tugenda mu katale k’omubuulo e Kiwenda ne tugwa mu bakwasi b’omusolo.

      Olwatuyimiriza, bannange abamu baamasuka ne badduka, nze ne bansikambula ku kabangali ne ngwa wansi ng’eno bwe bambuuza tikiti z’omusolo.

      Nnakanda kulaajana nti ndi muyizi nga buteerere. Bansamba mu busolo, ensigo zaamwo ne zitulika. Ssaasooka kuwulirirawo bulumi, naye e Mulago nnamalayo emyezi egiwera.

      Era abasawo bansalamu entula emu ne nsigaza emu. Bwe nnassuuka abasawo bandagira obutakola mirimu gya maanyi okumala ebbanga kubanga n’endira baazisamba ne zoonooneka.

      Naye nnali sirina waakunnyamba, era olwatandika okukola obulwadde ne buttuka ne nzira ku kitanda.

      Abansamba nnali mbamanyi ku maaso, naye amannya gaabwe nga sigamanyi.Nnatwala ensonga ku ggombolola e Nangabo era nga nnyambibwako eyali omubaka wa Kyaddondo East , Sitenda Ssebalu baaleeta abaserikale abaali mu kikwekweto ne nnondamu Moses Mukisa gwe nnali nkyajjukira.

      Naye awo we byakoma. Nnagezaako okuggulawo omusango mu kkooti e Nakawa mu 2005 nga mpaabira eggombolola y’e Nangabo.

      Looya wange Remmy Kasule bwe baamulonda ku Bulamuzi omusango ne guziringitana era awo we byakoma. Kati ntandise okuvunda mu ndira n’ebitundu by’ekyama.

      Ebiseera ebimu nnemererwa n’okufuuyisa ate bwe nkikola nvaamu musaayi. Nkimanyi siriyambibwa ggombolola oba Gavumenti kubanga ye yasindikanga abakwasi b’omusolo. Ate bazadde bange bombi baafa. Nsaba omuzirakisa asobola okunnyamba ne nnongoosebwa akube ku 0753-995174.
      Bukedde
      Published on: Friday, 25th July, 2008

      Waliwo eyaali e Uganda emyeezi mukaaga emabega eyanteegeza nti omusolo guno gukyakwatibwa bulungi mu makuubo. Ekyo kugujjaow kya myeezi gino? Kinajjukira nti omusolo guno gulina amyaaka egisukka mu kikumi mu Buganda. Gwasanga abatujju nebatandika okutulugunya abantu nobundooya nokukuba okwobukambwe obwekitemu.

    Viewing 1 post (of 1 total)
    • You must be logged in to reply to this topic.

    Comments are closed.