Twagala ebintu bya Buganda bikolebweeko Baganda. Twakoowa okufuba okunyonyola abantu ate netufunamu kuvvoolebwa ka bintu byaffe. Mukyala Kiiza agende atongoze ebye waabwe ewaabwe. Tebongera kutukooya.
Batongozza Bulungibwansi
Feb 20, 2012
Kampala
Bya GODFREY LUKANGA
ABAKULEMBEZE n’abaserikale ba poliisi ku Ggombolola y’e Nabweru mu Wakiso batongozezza enkola ya Bulungibwansi nga batalaaga buli muluka nga bwe bagogola emyala, okuyoola ebisaaniiko n’okuyigiriza abantu okuyonja ebifo mwe bakolera n’amaka gaabwe okuziyiza obulwadde obuva ku bucaafu.
Akulira abakozi ku Ggombolola Muky. Florence Kiiza, bwe yabadde atongoza kaweefube ono, mu kabuga k’e Katooke mu muluka gw’e Wamala, yakunze abatunda ebyokulya n’okunywa okuyonja ebifo mwe bakolera n’abatuuze okuyonja amaka gaabwe kibasobozese okutereka ku ssente n’obudde bwe boonoonera mu kwejjanjabisa.
Yagambye nti Bulungibwa nsi ajja kukolebwanga buli mwezi omulundi gumu mu miruka egy’enjawulo nga bwe basomesa n’abantu ebyobulamu omuli n’okutangira abaddukanya ebirabo by’emmere okufumbira mu buveera, okukebera abatunda ebyokulya n’okunywa okwewala okutangira endwadde n’ebirala.
Kansala w’ekitundu ku Ggombolola e Nabweru, Godfrey Damulira, alabudde abatuuze okukomya omuze gw’okumansa ebisaaniiko buli wamu ekiyinza okuvaako obulwadde okubalukawo ng’enkuba etandise okutonnya, n’abasaba okusasulira ebisaniiko 500/- buli loole emutwala lw’eyita mu kitundu.