Amajaani galongoosa olususu
WEEBUUZA engeri abawala aboolesa emisono gye basobola okwekuumamu nga batono mu sayizi?
Ekyama kiri mu majaani ge banywa ne gabatangira okugejjulukuka, sso ng’ensusu zaabwe zisigala zinyirira okukamala.
Amajaani agamanyiddwa nga ‘Green tea’ ensangi zino geegulidde erinnya mu bakyala n’abaami abaagala okukogga.
Okunoonyereza okukoleddwa ku majaani gano kuzudde nti osobola okuganywera mu mazzi agookya n’ofunamu, sso nga bw’ogeesiiga era ofunamu kinene kubanga galina engeri gye galongoosaamu olususu.
Ekirala amajaani gano bw’ogakozesa galina engeri gye gazibukulamu obutuli ku mubiri naye ate nga mu ngeri y’emu gatangira omusana okwokya n’okwonoona olususu.
Galimu n’ekirungo ekiyamba omuntu obutakaddiwa mu mubiri ate ng’era galimu ebirungo ebirwanyisa endwadde ez’enjawulo ezirumba omubiri ne zigunafuya.
Wano mu Kampala amajaani g’ekika kino osobola okugasanga mu maduuka ag’enjawulo agatunda ebikola ku nsusu ne mu malwaliro agajjanjabisa eddagala ly’ekinnansi.
Published on: Friday, 11th July, 200