Ekyokweyerusa Olususu Okiraba Otya?

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Wenyirize / Beauty Ekyokweyerusa Olususu Okiraba Otya?

  • This topic has 8 voices and 8 replies.
Viewing 9 posts - 1 through 9 (of 9 total)
  • Author
    Posts
  • #18921
    MugerekaMugereka
    Participant

      Abakyala nabami abamu besiga ebizigo nga snowfire, cleartone, ambi, Drulla nebilala okweyelusa olususu lwabwe. gwe ekintu kino ekyokweyelusa okyogelako ki?

      #22707
      OmumbejjaOmumbejja
      Participant

        Bwewali ngo kyaali ka naddala mu biseera biri ebirungi nga mazzi malungi nga nempewo etukula bulungi nga kizibu okulaba abantu abalabika obubi naddala kuno okulabika obubi okuletebwa emmere gyoolya oba ekitundu wooli .

        Era singa oyongera okwetegereza mu bifananyi bya banyaffe ne bajjajja ffe olaba abakyaala ababalagavu ate nga tebewerebye gazigo oba okweziika mu make up wabeeru , era ndowooza singa tuddayo ku ngeri zaffe ezedda oli nga bwaaba ayagala okulongoosa olususu lwe, natateekwa kulukuusa jik nalulongoosa naddagala Gganda lyajje mu butonde bwensi kuba abeyerusa kyebasooka okwekwaasa
        nti balongoosa lususu oli bwaaba ayagala nnyo okwenyumunguza yewerebe muzigo muganda asigale munyumba okumala nga weeki bbiri nga tafuluma bweeru naye simanyi nsowera gyonozidda .

        ekirala alowooza nti obulungi buli kuba nga olina kufuuka mirinda nga tasoose kutuula kulowooza olususu kyelunafuuka nga ekikufudde owa kyenvu olekedaawo okukikozesa, awo wabaawo obuzibu , kulwange ndowooza nti buli omu awomerayo ku langi ye kasita abanga agifuddeko bulungi nagirabirira nga talina kugyookya kuba ate kasita ogiyitirirako kwekuletera ebibala byotoyinza kwejjamu ate nga nekyowali ogenderera tokifunye ngoyiseewo newewali.

        okweyerusa oli bwakukola mubuto ngokumanya talina kunji ku kiki ekinaddirira olwa asepso gwatamanyi nti alimu obutwa ( mercury ), oyinza okumuddiramu, ate nomuyamba nti asobola okwelongoosa olususu lwe nebintu nge bibala byaalya ebitajja kumwookya lususu nakululwaaza kokolo mudda.

        Wonna waliwo akabi abeeru abagala okweddugaza nabaddugavu abaagala okweyerusa bonna bafuna ekintu kyekimu kokolo wa lususu kale waliwo okwegendereza awo eri ffe abaddugavu bwokozesa ebibala ofuna omuganyulo ate nga teweretedde nabulwadde.
        njakuleeta ebintu byoyinza okukozesa kulususu lwo ngo kozesa bibala mu katwezigule yitayo obigezeeko olabe .

        #22715
        BusagwaBusagwa
        Participant

          Wamma Mumbejja kyogereko. edda waaliwo magazine gyebayitanga Drum mu Afrika yafulumya article nga eraga side effects eziri ku kweyerusa nga mulimu ebifanaanyi bya bakyala abamu abalekera
          wo okwesiiga ebizigo ebyo nebafuna amabomboola ku mubiri gwonna
          nga bafaanaana nga emmoondo..iyiihhh bambi nabasasiira nyo era bwemba wa kwagala njagala kaddugala oba mweru wa langi ye…

          #22723
          MulongoMulongo
          Participant

            Ekireeta obuzibu kwekweyerusako mu maaso yonna nemyuuka nensingo, ate nga emikono middugavu zigizigi. Ekyo kyebayita okubeera nga waggulu oli Fanta, nga wansi oli coca-cola.

            Bwennali omuwala omuto mutiini nga nkyenoonya neyerusa nzenna, okuva ku mutwe okutuusa ku bigere. Nzijukira emboozi bbiri ku mbeera eno. okusooka nga nakatandika, mukulu wange yali amaze ebbanga nga tandaba, olwandako natulika naseka. Nangamba, mbu “Oyeruseko busukuttu bwokka!! Kati face ogira ogireka okwate ebirala.” Ate omulenzi omu eyammanya mu biseera ebyo nga neyerusa, yaddamu nansanga nga wayise emyaaka esatu nagamba, “Omuwala oyo nga akyuuse, yali mweeru nnyo kati wa nkoba bbiri!!!”

            #22734
            Justus ZaguduJustus Zagudu
            Participant

              Owaye ebiwala ebimu bimanyi okwezigulamu nebinyilila bulungi. Era ndowoza nabyo byalaba nga bwebyeyelusamu beyi erinya. Wano ninawo omuvubuka mukwano gwange omu Congo, yesiga ambi ate yakola ne nviri.wabula ku musajja langi tezivamu bulungi.

              #22796
              KalibattanyaKalibattanya
              Participant

                Waliwo ebizigo ebimu nga Drulla, asooka nakwookyayokya nakufunyafunya olususu naluddugaza lwonna. Bwomala noyubuka wenna, olwo nolyooka oleeta olususu olupya olweeluse. Naye oba omutandika omanya olina leave ya mweezi okuva ku mulimu, oba nga tokola, kubanga olina okumala ebbanga nga oli mu nju. Drulla oyo alabika aleeta ebilwadde lwadde.

                #22801
                KulabakoKulabako
                Participant

                  Ekyo drulla kyakola bakiyita kufunyulula kuzza ku bikukujju , kati ate bwomulekayo naddamu nakufunyulula nate okukuzaayo gyeyakujja so nno nakutte omuliro neyeyokya olususu naye afuna olweeru ate oluli permanate.

                  #22812
                  MusajjalumbwaMusajjalumbwa
                  Participant

                    Mukulu wange yye agamba nti eyo engeri abakyaala gyebekolako, kubeera kukungaanya omunyiriro ogwe myaaka gyomumaso gwonna nebagwessako mu kiseera ekiriwo, oluvanyuma nebaalika. Ebyokweyerusa kyebiva oluvanyuma bikaddiya olususu, omuntu nalabika nga omukulu okusinga emyaaka gye emituufu.

                    #23622
                    MulongoMulongo
                    Participant

                      Naye abasajja bbo omukazi eyeyerusa bamwagala bulungi. Buli mukazi eyali yeyerusizzako ekyo akimanyi. Mpozzi nga okweyerusa bbo bakulabanga akabonero komukazi agamba nti anoonya. Era ogenda noolaba nga abakazi bajja nga balinga abali ku mpaka zokweyerusa. Nga kiringa ekigamba nti asinga obweeru nokuganja. Kyokka abakazi ebizibu byaabwe bingi basajja bebabibareteera bambi.

                    Viewing 9 posts - 1 through 9 (of 9 total)
                    • You must be logged in to reply to this topic.

                    Comments are closed.