Ekigambo Mu Nyukuta 2 Ezisemba – Akazannyo VII

Home Forums Culture, Edutainment and Pure Fun Obuzannyo/ Games Ekigambo Mu Nyukuta 2 Ezisemba – Akazannyo VII

  • This topic has 12 voices and 35 replies.
Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 36 total)
  • Author
    Posts
  • #19028
    MulongoMulongo
    Participant

      Kola ekigambo ekipya mu nyukuta ebbiri ezisemba ku kigambo kyoddiridde mu kuwandiika.

      Ekyokulabirako:

      Senga
      Ngabo
      Kati tutandika

      Bonna

      #21620
      KulabakoKulabako
      Participant

        Nnampawengwa

        #21625
        OmumbejjaOmumbejja
        Participant

          Wangaana

          #21636
          MubiruMubiru
          Participant

            Nakugamba

            #21642
            SengoobaSengooba
            Participant

              Mbaata

              #21647
              OmumbejjaOmumbejja
              Participant

                Atabaala

                #21662
                NdibassaNdibassa
                Participant

                  Alabankana

                  #21674
                  TontoTonto
                  Participant

                    lamuliriza

                    #21679
                    KalibattanyaKalibattanya
                    Participant

                      lamuliriza? Kitegeezako ekyo?

                      zaaki?

                      #21685
                      KulabakoKulabako
                      Participant

                        Tonto tetwagala otwekwatire ddi lwokozesa ekigambo kino ate nekirala la si zezabadde zisembayo kuluno wayagadde kuleeta kawuna nga tubuuka mugwa,
                        Kalibattannya tokola Tonto kyeejo wano abadde atubuuka tetumuttira ku liiso Tonto nze nkubuuse nzizeeyo ku Ndibassa

                        Anakumegga

                        #21688
                        TontoTonto
                        Participant

                          Kalibattanya wrote:

                          Quote:
                          lamuliriza? Kitegeezako ekyo?

                          zaaki?

                          Atamanyi “okulamuliriza” kyekitegeeza awanike omukono. Genda mu katale oba mu maduuka obuuze abatunda bajja kukubulira.

                          galamira

                          #21697
                          KalibattanyaKalibattanya
                          Participant

                            Lamuuliriza, kye kigambo ekituufu, ssebo za teacher.

                            Waliyo ekigambo mu Luganda ekitandika ne Ra bannange? Ebigambo bitandika na La, r eyingirawo nga wazzewo ebyukuta i ne e.

                            Tonto akazanyo okasibye, jangu okasumulule.

                            #21698
                            OmumbejjaOmumbejja
                            Participant

                              Ndowooza oyinza oggira ngosaawo rabayo nolinda teacher omukugu ye akaddemu anti tabuuka banne yereka alaba kati bwanajja okubuuka nze nga ngolodde omukono ekigambo nenkigwa nga ye akituusa tukulinze Tonto mbuuka kuluno nzikirizza

                              rabayo

                              #21700
                              MubiruMubiru
                              Participant

                                Omumbejja wrote:

                                Quote:
                                Ndowooza oyinza oggira ngosaawo rabayo nolinda teacher omukugu ye akaddemu anti tabuuka banne yereka alaba kati bwanajja okubuuka nze nga ngolodde omukono ekigambo nenkigwa nga ye akituusa tukulinze Tonto mbuuka kuluno nzikirizza

                                rabayo

                                Kyokka mumbejja naawe!!!! Ebigambo ebitandika ne “r” ssi byaffe. Bya ba Rwamirundi, oba Rwakinwa, oba Rusulire, oba Ruhakana Rugunda etc.

                                Kirabika tutuuse kukizibu. Tunajjawa ekigambo mu luganda ekitandika ne ‘r’? Mpozzi erinya ly’omuntu omuganda. Kangezeeko tulabe:

                                Rakeri

                                #21709
                                MulongoMulongo
                                Participant

                                  Rakeri? Olwo Luganda lwa wa? Lwe Buyudaya? Muyite tica Tonto.

                                Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 36 total)
                                • You must be logged in to reply to this topic.

                                Comments are closed.