Bannange Abaganda Abasiramu Bayombera ki?

Home Forums Ababaka Discussions for Unity and Peace Ebyeddiini / Religion Bannange Abaganda Abasiramu Bayombera ki?

  • This topic has 9 voices and 19 replies.
Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 20 total)
  • Author
    Posts
  • #19117
    KalibattanyaKalibattanya
    Participant

      Nsomangako mu mawulire nti Abasiramu bayombye, balwanye, bagoobye ba sheik, bataddeko sheik omulala e Kibuli. Naye sitegeera, bayombera ki? Ani ategedde ku mutawana oguliwo wakati wa Baganda bano?

      #21973
      MulongoMulongo
      Participant

        Nawulirako nti entabwe yava ku Mufti Mubajje kutunda ttaka lya Basiramu. Abakkiriza nebamunakuwalira. Kati kwekulonda Sheikh Kayongo owe Kibuli. Ebiwayi ebibiri tebiyamba Basiraamu

        Bukedde 29 01 2009
        ABASIRAAMU abawakanya Mufti Mubajje eggulo baatudde e Kibuli ne balonda Mufti owaabwe Sheikh Zubair Kayongo nga bagamba nti Mubajje takyasaanira kifo ekyo.

        Kino kiddiridde Bamaseeka okutuula ku Hotel Africana wiiki ewedde ne balangirira nti Mubajje takyali Mufti ne basuubiza okulangirira omulala.
        AMANGU ddala nga Sheikh Kayongo alangiriddwa, waabaddewo okwogera ebisongovu okuva ku ludda lwa Mubajje. Omwogezi w’olukiiko olufuga Obusiraamu (UMSC), Nsereko Mutumba yategeezezza nti Kayongo ali ku ddaala lya Imam n’olwekyo okusinziira ku bbo, Kayongo Imam w’e Kibuli so si Mufti.

        OKULONDEBWA kwa Kayongo kutuzzizzaayo mu myaka egyayita mwe tubeeredde n’obukulembeze bw’Abasiraamu obw’emirundi ebiri. Ekibi nti n’ekiseera ekyo Abasiraamu kye baamala nga balina obukulembeze bwa mirundi ebiri. Ekyo tekyagonjoola bizibu byabwe

        EKYETAAGISA kati bwe bukkakkamu ku buli ludda, okwewala okukozesa olulimi oluvuma n’okutyoboola ssaako okwebuuza ku bakulu mu ddiini eno n’okwegayirira Katonda agatte Abasiraamu kuba amaanyi gali mu kwegatta.

        ENTALO ez’ekika kino tezirina kye ziyamba mu kiseera kino ng’ebizibu bingi ebitusibyeko akanyaaga ebisaana okukolebwako nga tuli wamu kitole.

        #21974
        MulongoMulongo
        Participant

          Ab’e Kibuli balonze Mufti owaabwe
          Bukedde 29 01 2009
          Written by Meddie Musisi
          abasiramu.jpg
          Ab’e Kibuli balonze Mufti owaabwe

          BAMASHEIKH abakulu mu Busiraamu aboludda oluwakanya Sheikh Shaban Mubajje balangiridde Mufti owaabwe, nga ye Sheikh Zubairi Kayongo.

          Kyokka ab’e Kampalamukadde baayanguye okunafuya Mufti omupya eyalondeddwa.

          “Oyo bali mu katemba era mpozzi oyo Kayongo balonze Imam wa muzigiti gw’e Kibuli kubanga Abasiraamu ba Uganda bonna bakimanyi nti Sheikh Mubajje y’akyali Mufti omujjuvu,” Omwogezi wa UMSC Haji Nsereko Mutumba bwe yagambye.

          Mutumba yayongedde okujerega Sheikh Kayongo nti tamanyi Lungereza nti era tamanyi by’anaayogera bwe banaamuyita okusabira omukolo e Kololo.

          Kayongo yalangiriddwa lunaku lwa ggulo ku muzigiti e Kibuli n’oluvanyuma olukiiko lw’agenda okuddukannya nalwo Obusiraamu lw’abantu munaana ne lulangirirwa.

          Sheikh Nuuhu Muzaata Batte abadde omusaale mu kulwanyisa Mubajje yaweereddwa ekifo kya Sheikh wa Daawa nga kati y’avunanyizibwa ku kusomesa eddiini y’Obusiraamu mu ggwanga lyonna.

          Alhaji Muhamadi Ali Adrama eyali Ssentebe w’olukiiko lwa UMSC kyokka Mubajje n’amufuumula ku bukulu obwo kati ye Ssentebe w’olukiiko luno omuggya ng’amyukibwa Haji Muhamadi Kisambira eyali mmemba ku kakiiko akaakola okunoonyereza ku kutundibwa kw’ebintu by’Obusiraamu.

          Kayongo bamutaddeko abamyuka babiri okuli, Sheikh Abdul Hakim Ssekimpi ng’ono y’akulira abatabuliiki b’oku muzigiti gwa William, ne Sheikh Habib Idd Kabasa okuva e Jinja.

          Sheikh Yokub Manafa okuva e Mbale aludde ng’ali ku mbiranye ne Mubajje ye yalondeddwa ku bwassabawandiisi bw’olukiiko luno.
          Mu balala abalondeddwa, ye Sheikh Mahdi Kakooza okuvunanyizibwa ku nsonga z’eddiini era nga ky’ekifo kye yaliko nga tanafumuulwa Mubajje.

          Haji Mustafa Bahiga nga naye yali mmemba ku kakiiko akanoonyereza ku Mubajje kati y’avunanyizibwa ku by’ensimbi ku lukiiko luno. Ate Sheikh Hassan Ibrahim Kirya yakwasiddwa obuvunanyizibwa bw’okwogerera olukiiko luno.

          Ye Sheikh Obedi Kamulegeya yaweereddwa obuvunanyizibwa okukulira olukiiko olugenda okuba nga lwebuuzibwako ensonga enkulu zonna mu Busiraamu.

          Abalala abaweereddwa ebifo kyokka nga tebalina ofiisi ze bavunanyizibwako butereevu kuliko; Dr. Anas Kaliisa, Sheikh Abdu Karim Sentamu, Sheikh Yahaya Lukwago, Sheikh Ismail Mugomba, Sheikh Buruhani Semakula, Sheikh Ahmad Mukasa n’abalala.

          Sheikh Kirya yategeezeza mu lukungaana lwa bannamawulire nti Mufti eyalondeddwa n’olukiiko lwe ba kiseera kyokka n’agaana okwogera ebbanga lye bagenda okumalako.

          “Mubaje okuva lwe twamutwala mu kkooti tetukyamubala nga Mufti,” Kirya bwe yagambye.

          Yategeezeza nti bakwasiddwa obuvunanyizibwa okuzza emitima gy’Abasiraamu egibadde giri mu bweraliikirivu olw’emivuyo egiriwo, saako n’okukola Ssemateeka omuggya Obusiraamu kwe bugenda okutambulira.

          Kirya yagambye nti bagenda kuwandiikira gavumenti ssaako n’amawanga g’Abasiraamu nga babanjulira mu butongole Mufti omuggya.

          Yannyonnyodde nti ku lunaku Lwokutaano Mufti omuggya lw’agenda okulagibwa eri Abasiraamu ku Muzigiti e Kibuli era balagibwe ne ofiisi mwe bagenda okuddukanyiza emirimu gy’Obusiraamu.

          Oluvanyuma lw’okulangirirwa, Kayongo yasituse mu ntebe n’akuba emizira nti ‘Allahu Akbar’ ekivvuunulwa nti Katonda munene.

          #21975
          MulongoMulongo
          Participant

            Tutabagane -Mubajje
            29 01 2009
            Written by Ahmed Mukiibi
            MUFUTI w’e Kampalamukadde, Shaban Mubajje agambye nti mwetegefu okutabagana n’ekiwayi ky’e Kibuli ekyalonze Sheikh Zubair Kayongo ku bwamufuti.

            Bino Mubajje yabyogedde asisinkanye ababaka ba Palamenti Abasiraamu ku kitebe ky’Obusiraamu e Kampalamukadde eggulo.

            Ababaka Alhaji Ibrahim Lubega Kaddunabi (Butambala) ne Haji Hussein Kyanjo (Makindye West) abaakiikiridde bannaabwe, Mubajje baamusisinkanye mu kafubo akeetabiddwamu Ssaabawandiisi we Ying. Siraje Kavuma.

            Ensonda mu kafubo kano zaategeezezza nti ababaka baasabye Mubajje okukola buli ekisoboka okugatta Abasiraamu kubanga gwe gwali omulamwa g’obukulembeze bwe.

            Ababaka Kadunabbi ne Kyanjo bwe baatuukiriddwa baategeezezza nti guno si gwe mulondi ogusoose okusisinkana Mubajje ku nsonga eno ne bagattako nti wiiki bbiri eziyise baasisinkanye Jjajja w’Obusiraamu mu Uganda Omulangira Kassim Nakibinge. Kyanjo yagambye nti okulondebwa kwa Mufuti omulala kyasoomooza eri Obusiraamu.

            #21979
            KulabakoKulabako
            Participant

              BINO BYONNA BISONGA KU MUNTU OMU M7 AKOZESA DIVIDE AND RULE BULI WASANGA ABASSA EKIMU NGA BATAGGULURA ERA WABAVIRAKO NGA BATINKUDDE OKUMALIRIZA NGA BAWUKANYIZZA ,YASOKERA KU BWAKABAKA ,NAKWAATA AMAWANGA, NADDA KUMADIINI ,NAGENDA KUTTAKA BULI KKOLERO LYONNA LYEYASANGAWO BWATALITWAALA NGA LITUNDA KATI NNO MWE MUMWONGERE EBISANJA BYAMMWE ATE BWAMAZE UGANDA NATANDIKA ENSI ENDALA EKYEWUNYISA YO RWANDA TAGITAKULA ATE MU BULI GWANGA AKOZESA BAAYO

              Political implications of Uganda’s Muslim wrangles
              Uganda’s Muslim Community has made a familiar step backward, by having two rival leaderships. A rival Mufti, Sheik Zubair Kayongo was named on Thursday by Muslims opposed to Sheik Shaban Mubajje’s leadership. It has happened before. The discontent with Sheikh Mubajje who was elected Mufti in 2000 emanates from the controversial sale of Muslim property. After a court battle, Mubajje and co-accused Movement stalwart and beneficiary of well publicized cash bail- outs ordered by the president, tycoon Hassan Basajjabalaba and the former UMSC Secretary General, Dr Edris Kasenene were acquitted.

              Last week, a gathering of 500 learned Sheikhs and their students threw a spanner in the works. Doing what they perhaps should have done long before they regrettably took the matters to a secular court, they examined the matter of “unlawful sale of a Trust (Waqf)” in light of the Qur’an and Sunnah. (Sunnah are the documented traditions of the Prophet Muhammad, the second source of Muslim law after the Qur’an).

              A verdict was passed. Mubajje was banned from entering any mosque, until he repented and returned the sold property to the Muslim community. Although the UMSC Public Relations Officer was glad that Sharia was not applicable in Uganda and therefore the verdict was not enforceable, the organizers of the “Sharia Court” knew that too. But they were addressing the verdict to a learned person in Sharia, Mubajje, and his team of well educated Muslim scholars who know the spiritual weight of a verdict derived from the Holy Qur’an and Sunnah. The UMSC spokesperson was right. Mubajje has enough armed escorts supplied by the government to protect him from Islamic Law.

              The current Muslim crisis is unique. For, it is being played out by “all the President’s men”. To explain the verdict against Mubajje was Uganda’s Ambassador to Iran, another Movement loyalist. Like it was in the recent by-elections for Woman MP in Sembabule which pitted NRM’s Kabatsi against NRM’s Anifa Kawooya, in which Kakooza Mutale was briefly detained for supporting the ‘wrong’ candidate, the current tussle for Muslim leadership is an entirely Movement affair. President Museveni is fully in charge of the situation and doesn’t seem to lose any sleep over the issue. Whoever wins the battle for Muslim leadership will be “his own”. It is possible that one of these days he will have to summon his cadres on the opposite sides “for a cup of tea” at State House. The current Muslim crisis has demonstrated President Museveni’s grip on Uganda’s vital sections of society, including religious groups.

              Yet, there is another angle that is easy to ignore. Muslims seem to use their internal dynamics to prepare for national politics. The rebel group, Allied Democratic Forces, ADF, is alleged to be a product of government meddling in the internal affairs of the Muslim Community, a reaction to a similar leadership wrangle like the one we are witnessing today. From a security point of view, government may be advised to handle this crisis a little more maturely than it has done. It is also not a coincidence that some of the loudest voices in Uganda’s political parties across the board, are Muslims. They seem to have a collective national political influence much stronger than their statistical population figures.

              Twice in the past three presidential elections, Museveni used Haji Moses Kigongo and Jaberi Bidandi Ssali as the top guys of his campaign team. The head of the NRM’s youth league is Muslim. The Libyan factor in Uganda’s politics is growing by the day. The situation in the Democratic Party, hitherto understood to be a dominantly Roman Catholic party is not different. The meteoric rise of Nasser Ssebaggala, the increasing influence of a score of young Muslim politicians some of them in parliament in the party may be of interest. The late Dr Sulaiman Kiggundu’s rise to the now controversial post of Chairman FDC was based on two important factors: His religion and then his tribe. Although some have sought to reverse the two criteria and obtain political capital out of the Kiggundu’s ‘Bugandanness’, ultimately the dust may settle when (even) a non-Muganda Muslim becomes the party Chairman.

              There is also this sinister belief among some Muslim elite that they survive better when everybody else thinks that they are hopelessly divided, confused and incapable of planning for their community. They argue that although they cannot deliberately cause confusion in their community, they get less attention from their enemies when they appear disorganized.
              For them, a period of apparent disorganization allows them to do the more serious work to build their community, when the prying eyes of detractors are fixed on some inconsequential developments in the community. Could this explain why there is not a lot of effort being invested in solving the ongoing crisis by some of the community’s best brains?

              OMAR K FROM MONITOR

              #21980
              Badru MugaluBadru Mugalu
              Participant

                Ekilwanya abasiraamu oba ekibawukanya,nze kulwange oba nokunonyereza kwenakakola nalabye nga bino byebiimu ebivirakorako enjawukana.
                1]nga bwebiibadde bitambula era nokutuka nakati kiraga nga waliwo epalana zabwe bwombiriiri nga shk mubajje ne shk muzaata,okuva emabega naye,mpozi nokwagala ebyefuuna ebitali bikolelele oba okwagala ebyendola kati nga bwkiri kiri nti byeziize ngoberera ne garvoment nayo awo weyagala kuba nga eraba nga singa abasiraamu tuba buumu ebera yelalikiriira nnyo lwaki soka olabe ensala yomusango yali etya?era bebagamba abagula bali kuluddaki?basajja balaba wa side ki?kiraganga nti garvoment yenyiina yeyasindika abaguzi.
                2]ensi okukyuuka nabantu nebaba nga sibakyamanyi babatwala ate nabatutwala nabwo neberabira obuvunanyizibwa bwaabwe nakyo yensonga lwaki kati twawukana.
                3]kirabika nga abantu absinga obuunji bagamba nti lwakuba nti ali mutebe muft simuganda nedda kuba waliwo nabatali baganda abali ne shk muzaata era nga nabo bali ne muft naye nebawukana wabula jukira kyenayogeddeko nti ensiimbi oba ebyendola byebibatawanya.ndowooza munasonyiwa okukozesa olulimi luno nti nenkuza eyawukana,ate nomuntu ye nna mbabulire wakulira mu mpalana kiba kiziibu okumujjamu empalana eyo’oba akakukuuzi kumutima.naye nga sagala tukitwale nti muft awalana baganda nedda wabula nze wemba nga ndaba bakwata buubi ebintu byonna okuva mutandikwa.
                BYEBYO BYENAKAFUNAKO NAYE SIKULWANYISA BAGANDA

                #21988
                OmumbejjaOmumbejja
                Participant

                  Munnaffe Mugalu tukusanyukidde okutwegattako ensonga zo zibadde nnungi naye nange nja kuwagira ekya Kulabako nti M7 yalina kajiiko nattabula .

                  Wewaawo tetugaanye nti amadiini gonna nga tegannayingira mu Buganda twaali bumu era twaali mumirembe , olwajja buli emu netandika okusika ngezza waayo era nge matiza Omuganda nti yyo yennyini yeeri okumpi ne Katonda nti endala byakwewojjola , era zamaliriza nga buli ddiini efunye abagoberezi, awo kanyamberege weyatandikira kuba jjukira Obuganda bwebuba bwegatta mu mikolo gyobuwangwa teri agamba nti aba Katuliki bebasinga okubumanya oba nti Abasiraamu bebabuluddemu , oba aba Polestante bebabusookamu oba aba Orthodox bebasinga okubukuuma .

                  Ffenna tubeera tubukolera wamu kyenkanyi era kyekitugatta nga Baganda ffenna kabe kasinge kyetusigazza okuva obukyaayi bwebuyingidde nga buli omu kati alina ensonga kumulala.

                  Nekirala lwaaki Buganda yokka yeteekwa okuba nti yekkiriza abamawanga amalala okulya ebitiibwa nokufugibwa mu Buganda nga jobeera temuli Baganda balina busobozisi obwekifo ekyo ekiba kiwereddwa omugwiira, mujjukire nti bo abagwiira bwebabaletera atali wagwanga lyaabwe tebamukkiriza lwaaki bo Abaganda nabo tebesalirawo nebasaako owaabwe ? Jjukira nti omuntu owuwo oluusi ayinza okukwatibwa ensonyi nga kola ebintu ebikontana nobulombo lombo bwammwe songa avudde ebunayira ayinza nokwekwaasa nti ffe ewaffe ekyo tekirina mutawaana.

                  Bwebuba bukulu bwebuleese leenya lwaaki Mubajje tasinziira Bugisu nga fuga gwe olowooza singa yatunda bye Bugisu bandi mulese nga ayinayina? nekirala wano muba mulina okusalawo oba awereza mwe nokuwulira nokutambulira kumateeka agafuga obusiraamu oba alina kusalawo nawereza mukama we M7, buli omu nafuna obuwerero naye nga ekisinga obukulu mulina kuleka amazzi okulukutira gye gamanyi okulukutira Abaganda museeko Baganda banammwe mu nsi yammwe lwemujja okukulakulana nga temusika migwa bwaaba tasanideewo nga mumufumuula teri kunyigira kumuntu yenna liiso kati mugoloke tuzimbe OBUGANDA NGA NE KATONDA BWATUKWATIDDEKO

                  #22019
                  NdibassaNdibassa
                  Participant

                    Muslim leaders must stop this bickering

                    Editorial
                    The current crisis that threatens to tear apart the Muslim community in Uganda reached a new twist this week. A group of Muslim clerics opposed to the Mufti Shaban Ramathan Mubajje, on Wednesday elected Sheikh Zubair Kayongo to serve as their new mufti. Sheikh Kayongo, along with more than two dozen other leaders on the new executive, will be sworn in after Juma prayers at Kibuli Mosque today.

                    Apparently, the “rebel” faction is following through on an announcement it made during celebrations to mark Eid-el-Adhuha in early December last year, that they would name a parallel leadership, having withdrawn their allegiance from what they described “as the disgraced leadership of Mufti Mubajje.

                    This followed the Mufti’s highly publicized Court battle, though he was cleared of fraud and forgery charges over the controversial sale of Muslim properties in Kampala. The magistrate, however, ruled that the Mufti had repeatedly lied to the Muslim community about the property transactions. His opponents say this should be enough grounds for him to step down.

                    While everyone would understand the feelings of Sheikh Mubajje’s opponents, this new crisis is as sad as it is retrogressive for the Muslim community in Uganda as it seems to open up old wounds. The acrimony that was generated by the wars between Sheik Obed Kamulageya and the late Sheik Kassim Mulumba in the 1980s and those of Sheik Saad Luwemba and Sheik Rajak Kakooza in the 1990s is still too fresh in the minds of Ugandans on account of the embarrassment it brought to Muslims in this country.

                    A solution to the bickering must be found in the spirit of brotherhood and reconciliation. We think there is need for a neutral arbitrator in this situation. President Yoweri Museveni played a key and commendable role in helping to resolve the previous wrangles in the Muslim community. He could be called upon to do the same this time also.

                    Secondly, Libyan leader Muamar Gadaffi has for several decades been a great friend and brother to the Muslim community in particular and to Uganda in general. Given that he knows a great deal about Islam in this country, he could be given an opportunity to act as an arbitrator. We think it is not in the best interests of the country that these wrangles should keep recurring.

                    An amicable solution must be reached sooner rather than later in an effort to save Islam from plunging into the confusion witnessed in the past as a result of leadership wrangles between warring factions based at Kibuli and Old Kampala.

                    from Monitor

                    #22038
                    OmumbejjaOmumbejja
                    Participant

                      Mufuti alyowe myoyo gya bantu eby’ezirukanya y’emirimu abiveeko | Print | E-mail
                      Friday, 30 January 2009 14:54
                      [Sheikh Mubajje ng’ayogera eri Abasiraamu.]

                      Sheikh Mubajje ng’ayogera eri Abasiraamu.
                      NG’ENO Abasiraamu b’omu Uganda bazzeemu okwetemamu ebiwayi bibiri ebigujubanira obwamufuti bwa Uganda, waliwo ebigambo bya mirundi esatu ebyayogerwa edda, ebisaanidde okukozesebwa, okumalawo akaleegabikya akaliwo.
                      Idi Amin bwe yatuuza olukiiko lw’eddiini zonna e Kabale mu 1971, gye yatabaganyiza Ekkanisa ya Uganda eyabulako akatono okuwagukwako Buganda, era n’awonya n’ekkanisa Lutikko e Namirembe obutatwalibwa bwassaabalabirizi, yafuba nnyo okulaba nga n’Abasiraamu abaali bawaguseemu ebiwayi ebiwerako beegatta wansi w’obukulembeze obumu.

                      Ebibiina ebyasinga obugundiivu mu byali e Kabale, mwe mwali Africa Muslim Community Juma Sect Bukoto Nateete, Uganda Muslim Community Juma and Zukuri Sect e Kawempe, ne National Association for the Advancement of Muslims (NAAM) e Wandegeya.

                      Mu baayogera ennyenje ne zikunkumuka, mwe mwali eyali Pulezidenti Genero wa AMC Bukoto Nateete, omugenzi Sheikh Zaidi Kateregga Mugenyasooka, eyasemba UMSC ebeere lukiiko bukiiko ttabamiruka olugatta ebibiina by’Obusiraamu eby’enjawulo oluteeyingiza mu byansinza.

                      Newankubadde ekirowoozo kye tekyayitamu bukolokolo, UMSC yatondwawo mu 1972 nga kkampuni buli Musiraamu wa Uganda mw’ali mmemba. Olw’okuba okuva edda nga Uganda yayawulwamu ebitundu bina; Buganda, obuvanjuba, obugwanjuba n’obukiikakkono, wassibwawo ba Regional Khadi era ye kennyini Sheikh Zaidi Mugenyiasooka ne bamulonda okubeera Regional Khadi wa Buganda. Naye bino byali bya kiyita mu luggya. Mu myaka ebiri gyokka Amin yabiggyawo obuyinza bwonna n’abutuuma ku kitebe.

                      Ekyokubiri kyaliwo mu 1983 omugenzi Sheikh Kassim Mulumba bwe yalekulira obwa Chief Khadi wadde oluvannyuma yeefuula n’alemerako. Yasikirwa eyali amumyuka Sheikh Abdul Obeid Kamulegeya. Ono bwe yalonderwako Sheikh Anasi Juma Kinyiri okuva e Busoga, okumumyuka, amaloboozi gaawulirwa nga geemulugunya nti oba ekiseera kyali kituuse atali Muganda okulya obumyuka bwa Chief Khadi.

                      Ekyokusatu kyayogerwa Pulezidenti Museveni mu 1991. Yagamba nti ekyali kiyombya abakulembeze b’Obusiraamu mu Uganda baali bagujubanira kukkusa mbuto zaabwe.

                      Okusinziira ku biriwo kaakati, ekiseera kituuse tuddeyo twetegereze ebigambo bya Sheikh Mugenyasooka. UMSC era Abasiraamu baasigala bakkiririza mu bibiina byabwe nga Kibuli, Bukoto, Kawempe n’awalala okwo kwe batadde Spidiqa Foundation ne Tabligh ne Salaf. Newankubadde Abasiraamu b’omu Uganda abasinga Basunni, Abashiya bazze gawanye naddala e Busoga era ekitebe kyabwe ekya Ahalal Baiti kiri Bunia mu Busoga. Abayindi Abasimayiri nabo balina omukulembeze owaabwe omulangira Aga Khan. Abahumadiyya nabo balina ekitebe e Wandegeya n’amatabi e Jinja, Mbale ne Kyotera.

                      Kikyamu okubeera ne Ssemateeka disitulikiti y’e Mpigi erimu essaza ly’e Butambala ne Iganga erimu ery’e Bugweri, okukiikirirwa kyenkanyi ne disitulikiti nga Acholi gy’osobola n’okunoonya Abasiraamu ne bakubula. Kisaanidde mu lukiiko ttabamiruka buli ssaza likiikirirwe kyokka ago agasingamu Abasiraamu abangi nga Butambala ne Bugweri, gakiikirirwe ababaka bangi.

                      Twagala Mufuti n’omumyuka we babeerenga balyoyi ba myoyo nga tebatuula ku kakiiko kafuzi eby’enzirukanya y’emirimu babirekere Ssaabawandiisi.

                      Njagala okwatulira abakaayanira Obwamufuti n’ebifo ebisava mu UMSC nti okuggyawo omuntu omu oba abantu ab’olubatu n’okubasikiza abalala si kiriiko nkyukakyuka za mbala ze kikoze bukya UMSC etondwawo. Nga temunnagenda mu kulonda kwa mizikiti omwaka ogujja nga bwe kiri mu Ssemateeka, musooke mulongoose UMSC efuuke federo ya Buganda, Busoga, Eastern, Western, Southern, Northern, North Eastern ne West Nile. Buli kitundu kibeera ne Regional Khadi era ng’alina nolukiiko ttabamiruka, akakiiko akafuzi n’olukiiko lwa bamaseeka.

                      ATE NAKINO MULEME KUKIBUUSA MAASO BULI GWANGA LIKIKIRIRWE OWAAYO EBYO EBYOKUSSA OMUTWE MUMUSENYU BUGANDA ESOOKE EBITE OMUGANDA YATEEKWA OKUFUGA ABAGANDA EBUGANDA LWEMUNAJJAWO GOGOLIMBO MU GWANGA BWEMUTAMUSIIMA NGOMUGANDA OMULALA ALINNYAWO

                      #22044
                      KulabakoKulabako
                      Participant

                        SSEMUJJU NGANDA: Challenges facing Mufti Kayongo Print E-mail
                        Ssemujju Ibrahim Nganda
                        Written by Ssemujju Ibrahim Nganda
                        Wednesday, 04 February 2009 20:06

                        On Friday last week I went to Kibuli Mosque to attend the inauguration of Mufti Sheikh Zubair Kayongo Sowedi.
                        I have attended several Friday Juma prayers at this mosque but this was a euphoric one. Muslims filled the mosque, its compound and parking yard.

                        The behaviour of the crowd was telling. They exhibited deep love towards one another. Every person appeared to treat Kayongo’s inauguration as a personal triumph; the reason it is the subject of this column this week.
                        Many Muslims who attended this function simply wanted to make a statement that they had withdrawn faith in Sheik Shaban Mubajje, a former fraud suspect.

                        I am longing for a day the rest of Ugandans will begin treating leaders suspected of fraud the way Muslims have treated Mubajje. If a minister grabs workers’ savings, we must collectively make public places a no-go area for him. We shouldn’t allow individuals who have dipped their fingers in the public till to walk with their heads held high on streets of Kampala.

                        I am not an anarchist, but individuals who steal public property should only enjoy their loot inside their residences. That is the spirit under which I went to attend Sheikh Zubair Kayongo’s inauguration. Kayongo’s leadership emerges out of a struggle to protect public property for the benefit of all Muslims.

                        I saw that message written all over people’s faces as Kayongo and his team took turns to swear in by the Quran at the stairs of Kibuli Mosque. They all pledged to serve with honesty.

                        Kayongo may not have the same access to Muslim property as Mubajje has, but we shall judge him on the little he will lay his hands on. We will also judge him on how well he uses his office. He may not steal but might be tempted to use his office for personal interests.
                        One of the reasons religious leaders have lost influence in this country, like I argued recently, is because of their limited participation or involvement in matters affecting the lives of their followers.

                        Politicians have presided over swindling of our wealth and because they buy them vehicles, religious leaders have kept quiet. In fact, they have become accomplices to this crime. The un bothered public has made this stealing a lucrative job.

                        We expect the new Mufti to be honest and truthful. Some of the Sheikhs, including those on his side, are not honest. They are like Mubajje. I hope Kayongo will organize a seminar to teach such leaders Islamic values.
                        The other day I attended special prayers at Kololo Airstrip dedicated to the suffering Muslims in Palestine. There were lots of placards, including those calling for African unity as propagated by Libyan leader, Col. Muammar Gaddafi. I have now learnt that a Libya-based faith NGO with offices in Uganda sponsors demonstrations against Israeli brutality and occupation of Arab lands.

                        The Sheikhs who gathered us for prayers at Kololo photographed us with placards calling for African unity and presented them as evidence for payment. This stupidity was repeated at Wandegeya Mosque the following week. Sheikhs have become mercenaries.

                        This is dishonesty of the highest order. Religious leaders are not supposed to work for immediate and earthly gains. Sheikh Kayongo should call such Sheikhs to order. They make us lose the war against Mubajje because they are behaving even worse.

                        Finally, Sheikh Kayongo’s ‘Muftiship’ must be responsive to all national matters. My brother Sheikh Ismail Ssebuwufu tells me that Islam covers every aspect of life, including environmental degradation.
                        Muslims need to begin acting as a buffer against human rights abuses, deforestation, land grabbing, abuse of office and corruption. The Sheikhs who sat at Hotel Africana to condemn Mubajje to hell must sit regularly to condemn other thieves.

                        That is the only way we are going to clean up this country. Leaving the war against corruption and abuse of office to the media and sometimes Parliament is irresponsible.
                        Like I suggested earlier, Sheikh Kayongo should publish a list of corrupt Muslims and we expel them from our mosques. I understand that an order stopping Mubajje from entering mosques has been issued but we need to widen it.

                        Sheikh Kayongo should re-establish Muslims as a formidable civil force that is consulted on all national matters. At the moment because of corruption, Museveni passes on some handouts to some fellows who claim they speak for us all. Muslims must establish positions on all national matters and support a leader willing to respect them. I know Museveni consults the Catholic Church because of its high level of organization, although he has sometimes lied to them.
                        Our aspirations are larger than removing Mubajje. Let the removal of Mubajje be a short term project and re-establishing the Muslim bargaining power be Kayongo’s main project.

                        Ssemujju Ibrahim Nganda, The author is Political Editor of The Weekly Observer
                        ssemujju@observer.ug

                        #22114
                        OmumbejjaOmumbejja
                        Participant

                          250 Kampala Imams back rival mufti

                          Al-Mahdi Ssenkabirwa
                          Kampala

                          A total of 250 Imams from mosques around Kampala yesterday withdrew their allegiance from Mufti Shaban Mubajje and crossed to the Kibuli-based rival faction.

                          The clerics agreed to support rival mufti, Sheikh Zubair Kayongo, arguing that the leadership of Sheik Mubajje had abused the trust of Muslims. “We have been keenly following the affairs dogging Sheikh Mubajje’s leadership. He is unfit to continue being our leader. We are calling upon Mubajje to resign for the good of Islam,” said Sheikh Sariman Farisil, the Imam of Kabowa Diniya Mosque.

                          Sheik Farisil, who spoke on behalf of other Imams, said they had also banned Mubajje from entering all mosques under their jurisdiction until he resigns and returns all property that he allegedly disposed of. “We don’t want to see him in any of our mosques until he admits wrongdoing and makes effort to return our property,” he said. “He sold a mosque, a clear indication that he doesn’t want Moslems. It is better he prays from his home until he comes back to his senses,” Sheikh Farisil added.

                          The property that Mubajje is accused of selling includes plots 30 and 102 on William Street in Kampala. Plot 30 houses Masjid Noor mosque.

                          UMSC publicist, Nsereko Mutumba said the Imams had no authority to prohibit his boss from going to city mosques. “That is loose talk. All mosques belong to Allah and everyone is free to pray in any mosque,” he said.

                          The Imams were mobilized by Kampala District Khadi Sheikh Siriman Ndirangwa who also defected to the rival mufti’s camp last week.

                          Mw Nsereko Mutumba eddoboozi lya bangi oluusi liba ddoboozi lya Mukama nga tolina ngeri gyoyinza kuliwakanya naddala bwebabaako webasinziira obutaba basanyufu, Kati Mubajje asooke addeko wabbali yebuuze ani gweyali asanyusa nga kola bino byonna byeyakola kuba bagamba nti akusigula takugula ate balina nengombo yaabwe eyo kukozesa abantu nga kalimpitawa nakakasuka eri nga maze ye okufuna kyayagala

                          #22117
                          MulongoMulongo
                          Participant

                            Ekiruma Omuganda omu, kiruma Abaganda bonna. Nange kanyingireko mu nsonga za Baganda baffe aba Islam. Leero nange oyo Mufti Mubajje mugobye. Gwe atunda atya essinzizo? Era kiki ekisinga enyumba ya Katonda kyagenda okugulamu mu sente ezo? Olwo abantu bakunganire wa? Ate kale bwekiba kyaali kyetaagisa okutunda ekifo ekyo, awali abakulu abangi bwebatyo, lwaki teyabatuuza nateesa nabo ku nsonga enkulu bweetyo? Nedda Mubajje alimba. Nze kati siraba nabyakaayana, yagoba abakkiriza mu ssinzizo nalitunda, kati nabo nebamugoba gyebaddukira. Kyeyasiga kyeyakungula. Ate nze kati ebintu bya bantu ba mawanga amalala bingi mbyekengera. Anti sekawula kaali kakulumye.

                            #22124
                            NamukaabyaNamukaabya
                            Participant

                              Ebintu byonna ebituuse ku Baganda butassa kimu amawanga amalala go kino gaakimanyirawo naye kati nabo bagenda okulaba ekiri ewaabwe nga ne Buganda ekissa mu nkola bwooba toli waaayo tolina kyokwatako bwoguguba wakiri bakuttirayo nebefuula nti batemu bebakuyingiridde.

                              Teri Muganda afuga mu mawanga gaabwe akiwakanya kino asomeko mubitundu ebya Uganda ebirala atubulire Abaganda abafugayo mu West oba mu North ffe wano Abaganda olwokuba batujjamu nebakyuusa namannya gaabwe nebayiika kirindi nemwesanga nga bannyini nsi mwe batono nga abagwiira abajja obuzzi okunoonya emirimu naye nga baliko ewaabwe gyebaddukira buli lwebagadde babamazeeko buli kifo .

                              Kino banaffe abalala kyebatagala kuba naffe bwetunakola nga bbo tewali webajja kuyita kutujogera mu nsi yaffe naye kati nga bwetukirabye nti engeri yokka gyetuyinza okutegeragana nga buli omu asinziira waabwe nga bwekiri awalala wonna.

                              #22167
                              MusajjalumbwaMusajjalumbwa
                              Participant

                                Kakooza yeetonze olw’okuleeta Mubajje

                                Bya Meddie Musisi
                                EYALEETA Mufti Shaban Mubajje okumutunda mu Basiraamu abeetondedde n’agamba nti teyamanya nti omusajja gw’aleese agenda kutyoboola Busiraamu n’okutunda ebyobugagga byabwo.

                                Sheikh Mahdi Kakooza yakuutira wa Mubajje akadingidi era bwe yawangula n’amuwa ekifo ky’okukulira eby’eddiini, ye yeetondedde Abasiraamu bwe yabadde mu kusaala Juma ku muzigiti gw’e Kawempe Muslim.

                                “Bannange ssaamanya munsoyiwe, bwe nalaba omusajja ng’atemye empale ssaako ekirevu ekinene, ne ndowooza nti eniiya eri kw’ono y’asaanira Obwamufti naye kimbuuseeko okulaba by’atukoze,” Kakooza bwe yagambye.

                                Ye omwogezi w’ekiwayi ky’e Kibuli, Sheikh Hassan Ibrahim Kirya yagambye nti ababagamba okuteesa ne Mubajje basooke bamugambe amale okuzza eby’Obusiraamu bye yatunda.
                                Published on: Saturday, 14th February, 2009
                                bukedde

                                #24376
                                NdibassaNdibassa
                                Participant

                                  Kino kikulaga Buganda kyegenda okubeera eri abantu abakolaganye nabantu abatulugunyizza Abaganda tebajja kuba namirembe kuba kale tebereza Mubajje kati ye alya butaala era kati yegirisiza mu bamawanga malala nga effujjo nokutunda ebintu byo busiraamu yalikola mu Buganda .

                                  Kati ye nalekayo abagoberezi bebaba basasula, wano mukifo kya Baganda bonna abasiraamu okwegatta nebakaliga Mubajje emigoba nte batandise kwagala kutta Muganda munnabwe lwaaki abagwiira mubatya okubabonereza nga babayingirira wewaawo mulina nokubonereza Abaganda abafuuka kaasa abalala babalabireko obutaddayo kukikola, naye omusango gwaali gwammwe Abaganda okuleeta omugisu ajje abakulembere mu Buganda nga jobeera temwalina Muganda yali asobola kukola mu kifo ekyo.

                                  Buganda ekigitusizza ku mirerembe nokuyiwa omusaayi okutatadde kusuula bulombolombo bwaayo nempisa, na Baganda okugaana okufa nokwekolera ebyaabwe nebasalawo abagwiira babaletere ebyaabwe , babafuge era babasalirewo ani ateekwa okufa no kuberawo. kyokka Abaganda bwebatuuka okubonereza, tebabonereza bagwiira baba babaletedde mirerembe gino gyonna wabula okulinda nomulala nayongereza kuyasoose weyakomye,kati kino kibafukire essomo mufe kubyammwe era mukole ebyo byokka empisa nobulombolombo byammwe bye bikkiririzaamu kuba gyemukoma okunayiza ebyabagwiira mujja kwesanga nga tebakyabayita na Baganda

                                  Abasiraamu bakubye Khadi w’e Masaka
                                  Bya Ali Mambule
                                  Thursday, 09 July 2009 18:20
                                  000001abasiramu.jpg

                                  [Isabirye nng’addusa Kiruuta.]

                                  Isabirye nng’addusa Kiruuta.
                                  ABAWAGIZI b’ekiwayi kya Sheikh Zubair Kayongo baalumbye Disitulikiti Khadi w’e Masaka, Sheikh Uzairu Kiruuta ne bamukuba era poliisi y’emutaasizza.
                                  Kiruuta baamukubidde ku ofiisi z’omuzikiti omukuku mu Masaka eggulo gye yagenze ng’avudde mu kkooti okugisaba eyongezeeyo ekiragiro ekimukkiriza okubeera mu ofiisi eno ekyamuweebwa gye buvuddeko.

                                  Kiruuta eyabadde n’abawagizi musaanvu okwabadde Sw-aibu Kirumira, Erias Nyindo, Zuli Waitotya, Yasin Lubowa kko n’abalala yazindiddwa abawagizi ba Kayongo abaamugoberedde, bwe yabadde ayingira ofiisi y’omuzikiti guno.

                                  Kino kyaddiridde omu ku bawagizi ba Kayongo okwogerera ku muzindaalo kwe baaziinira okuyita Abasiraamu okusaala nti “omubbi wuuyo ayingidde ofiisi zaffe”. Abasi-raamu abaabadde okumpi baamulumbye nga bwe balee-kaana nti ‘Allahu akibar’.

                                  Kiruuta olwabiwulidde n’apapa okuggulawo, kyokka yabadde akyakikitana, ebbiina ly’abawagizi ba Kayongo ne limuzingiriza ku luggi ne limuggunda agakonde n’okumusamba.

                                  Sheikh Haruna Mulindwa omu ku baabaddewo yamenye oluggi lwa ofiisi ya Imaamu n’addusiizaamu Kiruuta n’amuggalira omwo okutuusa poliisi lwe yazze okumutaasa.

                                  Mulindwa yabawoyawoyezza obutakuba Kiruuta, wabula naye ne baagala okumutwaliramu. Aduumira poliisi mu Masaka, Haruna Isabirye yawaliriziddwa okusikayo basitoola ng’alaba abavubuka Abasiraamu beesomye nga bwe bamulumba, oluvannyuma ne bakkakkana.

                                  DPC Isabirye yalagidde poliisi n’ereeta mmotoka ne baddusa Kiruuta, wabula Abasiraamu baamuwereekerezza amayinja ng’agamu Isabirye ye yataddeyo emikono okugatangira.

                                Viewing 15 posts - 1 through 15 (of 20 total)
                                • You must be logged in to reply to this topic.

                                Comments are closed.