Abaazirwanako bagaanye okuwagira Museveni
Bya Kasaato Fred.
Abaazirwanako okuleeta ekibiina kya National Resistance Army (NRA) mu buyinza ku balaze obutali bumativu olwa Gavumenti buli kaseera okubalimbalimba nga bw’egenda okubasasula.
Mu kiwandiiko ekiteekeddwako omukono gwa Ssaalongo Mugumya Lubega, agamba nti ye Ssentebe w’ekibiina ekigatta abaali abayeekera mu bibiina ekya FEDEMU, KRA, UFM ne NRA, abaazirwanako bagamba nti emirundi egiwerako naddala ng’okulonda kutuuse, ab’obuyinza basindika abantu ababalimbalimba, nebatuuka n’okubakuba obufaananyi, obubakakasa nti bagenda kusasulwa.
Mugumya agamba nti ffoomu zebaasembyeyo okufuna, zaateekebwako emikono ogwa Brig. Kasirye Ggwanga ne Nnyombi Thembo, naye nga nazo, zaali zakiguumaaza.
Ekiwandiiko kisabye abaazirwanako, tebaddamu okulonda pulezidenti Museveni, nti kuba okuva lwebaamutuusa mu buyinza, yasalawo okubeerabira.
‘Awo wensabira ba veteran, ku luno bazibuke amaaso, tulimbiddwa ekimala, era tuzibuke amaaso’. Ekiwandiiko bwekikomekkereza.