Wednesday, 24 August 2011 00:00
Kansala Bernard Luyiga: Abantu basaanidde okumanya nti buli kintu kibaako entandikwa n’enkomerero. Gaddafi bwe yajja wano mujjukira bye yayogerera e Kololo era bye bimu ku bireese obuzibu mu ggwanga lyaffe. Yiga Faisal Makabaga ow’e Lubya Kasubi: Oyo Gaddafi yawedde dda era kimusaanidde. Pokopoko gw’asaasaanya nti akyalina embavu tajja kumuyamba. Abakulembeze abalala bakozese ebimutuuseeko okuyiga obutesiba ku bantu.
Osaman Kabonge ow’e Kibuli: Yasalawo okusuulirira abantu be ne yeegula mu mawanga ag’ebweru. Abantu mu ggwanga lye bali bubi kyokka bw’ajja wano mu Uganda n’olyoka olaba bwe yeeraga. Kabampaane we agende naye.
Joseph Mbaziira ow’e Kabalagala: Oyo abantu baali baamukyawa dda kyokka ng’akozesa lyanyi lya mmundu okubeesibako. Yaggyawo Obwakabaka mu ggwanga lye ng’agamba nti tayagala balwa mu buyinza!
kyokka ate naye akoze ekintu kye kimu. Agende. Kimusanide.
Deo Ddumba ow’e Namuwongo: Twagala enkyukakyuka ezibadde mu Libya zituuke wano ewaffe. Ggwe ogula otya ssukaali ku 7,000/-? Buli mukulembeze assussizza emyaka 20 atuviire tuleete abalala aboogi. Embiri za Gaddafi zisana okusaanyizibwawo.
Bob Bwete, Makindye: Okugenda kwa Gaddafi kufuule Libya eggwanga eppya. Abadde yeefudde Gavumenti nga ye buli kintu. Yatta ebitongole mu ggwanga lye lyonna nga buli kimu y’asalawo. Nze mugerageranya ku FDC oba NRM wano mu Uganda.
ezby’efugiddwa Musevi ne Besigye. Abo bombi bwe bagenda ebibiina ebyo tebiyinza kuba na lugendo kubanga bitambulira ku bantu. PulezidentI Obama owa Amerika yagamba nti Afirika yetaaga bitongole eby’amanyi so ssi basajja ab’amaanyi. bukedde news