Ab’akatale e Nakasero beegugunze olwa bendera ya Buganda
Mar 22, 2012
[attachment=2543]abakatale ke nakaseor ku bendera ya Buganda.jpg[/attachment]
Poliisi ng’ekuuma abasuubuzi nga baddamu okuwanika bendera yaabwe waggulu ku muti. Ekif: Meddie Musisi
Kampala
Bya Margaret Ziribaggwa ne Meddie Musisi
POLIISI ekkakkanyizza abasuubuzi b’omu katale k’e Nakaseero ababadde beekumywemu ogutaaka nga bawakanya abaawanuddeyo bendera ya Buganda ku muti kw’ebadde yeewuubira.
Abasuubuzi baakedde ku makya ne basanga nga bendera yaabwe teriiyo nga kino kyabanyiiziza nga bagamba nti kubeera kutyoboola kitiibwa kya Buganda.
Baatandise mpola okwegugunga era poliisi yabalabukiridde ne ssaawo emmotoka za poliisi ennawunyi nnya wamu n’abasirikale abakkakkanya akajagalalo kano. Abasuubuzi baakitadde ku bakulira akatale kano nga bagamba nti be baawanuddeyo bendera eno.
Akulira akatale, Godfrey Kakooza ebyabadde byogerwa yabiwakanyizza n’agamba nti tebayinza kuggyayo bendera eno. Abasuubuzi baayanguye okwekung’anyamu ensimbi ne bagula bendera endala gye baawanise mu kifo kyennyini eri w’ebadde.