Adwadwalikanye lw’abatuliisa embwa,

  • This topic has 3 voices and 2 replies.
Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
  • Author
    Posts
  • #17018
    KulabakoKulabako
    Participant


      Adwadwalikanye lw’abatuliisa embwa Palamenti n’ebaleka okuyinaayina

      Bya Mumansa

      OSOLOBEZA era otendereza nga omucomo bwe gukuwoomedde ennyo naye ennyama gy’olidde ogimanyi? Oyinza okuba ng’olidde mbwa!

      Kyantiisa nnyo kubanga abasuubuzi b’omu katale k’oku Kaleerwe mu Kampala, poliisi yabakutte lubona nga babaaga embwa bagende bagyokye omuchomo bagiguze abalyi b’emichomo.

      Poliisi y’e Wandegeya yagambye nti bamaze ebbanga nga bafuna lipoota nga ku Kaleerwe bw’eriyo abasuubuzi abawujja emichomo gy’embwa ne bagiguza abantu. Kyokka ku luno poliisi kwe kusitukiramu n’ezinduukiriza Abapere abo nga bali ku mbwa babaaga n’ebakwata.

      Tewannaba agamba nti abaliisa abantu embwa bali ku Kaleerwe wokka, era bonna bonna baakwatibbwa nedda. Kirabika nga kati bangi era nga basaasaanidde ebifo bingi. Ne leero oli ku muchomo olya, naye tomanya oyinza okuba ng’oli ku mbwa weeriira.

      Okumanya ng’ebintu bibi nnyo, kirabika n’amateeka agavunaanirwamu abo abaliisa bannaabwe embwa tegaliiwo. Anti poliisi yagambye nti abo abakwatibbwa ku Kaleerwe, egenda kubaggulako omusango gwa kuyisa bubi mbwa, ne bazittira mu bulumi nga bazisalako obulago n’okuzibaaga nga ababaaga ente oba embuzi.

      Toyinza butadwadwalikana ng’oliisibwa embwa, kyokka nga yo Palimenti y’eggwanga mu kifo ky’okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abalabbayi abatuliisa embwa beefunire lupiiya, yo eri mu kwefulukutira mu birala ebitalina nnyo kye bitugasa.

      Yonna nnyama naye tonamanya nnyama ya kika ki? Olwaleero abatuliisa embwa be bakwatibbwa kyokka kimanye nti eriyo abatuliisa n’emmese abatannakwatibwa.

      Abalabbayi bwe bawulira nga bakubirizibwa okulembeka bafune ensimbi ez’okweyimirizaawo, bwe batyo bo basazeewo kulembekera mu mbwa na mmese.

      Buli ggwanga n’ebyalo, newankubadde awalala embwa n’emmese ziriibwa, naye ewaffe wano okulya embwa oba emmese kikyali kya kivve eri abantu bangi ddala.

      Awo nno Palimenti yaffe esaanye okussaawo amateeka aganaatutaasa obutaliisibwa ebyo bye tutalya. Abatuliisa embwa banoonya nsimbi, naye enkya oba luli bajja kutandika n’okuwujja emirambo gy’abantu nagyo bagituliise emichomo beefunire ssente, kaakati tunadda wa bwe watabeewo mateeka makakali agatutaasa?

      Abalabbayi beeyisizza bubi nnyo mu kutunoonyamu ssente nga batuliisa ne bye tutalya. Singa abalabbayi bano tebeekube mu kifuba ne beggyamu omuze guno , era singa tewabeewo ngeri nabo ebagolola ettumba ogamba tebatuuse n’okuliisa Abasiraamu embizzi?

      Ddwaddwaddwa Mumansa nze nkikinadde okubuuza nti lwaki Palimenti etuvuddemu tuliisibwe bye tutalya nga abatubiriisa bali mu kulembeka beenoonyeza lupiiya empya n’enkadde?

      Published on: Wednesday, 20th August, 2008

      #19447
      MulongoMulongo
      Participant

        Ekyo kivudde mu kintabuli kya namungi womufuutifuuti Omuyeye kalonda wa bantu abava e bule ne bweeya abatalina atangira yadde akuba ku mukono abakola buli omu kyayagala wano mu Buganda yattu. Kubanga e Saudi Arabia toyinza kuwujjirayo mbizzi, mu Buyindi toriraayo nte na mmese naddala enjeru. Luno lwonna lumanyiro lwa bano ba serwajja okwoota. Mu Buganda embwa mukwano gwa muntu, tetugirya, naye oli kyaava agiwujja nagibaliisa lwa mpaka nga bwasekera ne mu kikondoolo, nga n’okuvuma kwatadde nga bwebamanyiira. Ffe ewaffe twagulanga enyama ku bantu babiri basatu abo betwaalinga tumanyi, oba nga waliwo omulala gwebatulaze. Abaganda musaanye mulekerawo okugula ebintu ku buli gwemulabye. Muteeke abantu bammwe bemumanyi mu bifo bya business mugule, kwaabo. Kitwetaagisa okwekunga mu buli ngeri yonna. It’s a matter of life and death. Kubanga ezo embwa bazijjawa? Embwa zokumakubo zitera okubeera ne kalusu azisuula eddalu erikwata nabantu! Omukyomo guyinza okukuviiramu okuyita mu kkubo nga weyambudde, olwo oba obadde semaka, namaka ,munnamateeka, musawo, Yinginiya, bwobeera owonye(Anti tewali na malagala,) ozzemu otya okuzimba erinnya lyo mu Society? Obulabe buli wonna.

        #19455
        OmumbejjaOmumbejja
        Participant

          Luli kyaali nti bwogenda ebusontola mbwa naawe omugunya maguja
          kati bikyuuse abaziwomerwa bayiika buli lukya ,kobbo nti lwaaki tufa obwaavu
          naye kino kiviira ddala waggulu gwaate bino byonna , byaliwo nga tukyekolera kubintu byaffe?
          Kasita ekintabuli kiyitirira ekitaliiko mwasirizi bino byosanga tekyaali kulumirwa kasita ebye kibbibbi bwe biyitirira nebifukira ddala eddini buli omu kyasanga kyakola.Ensi nefukira ddala ekyenyinyalwa,

        Viewing 3 posts - 1 through 3 (of 3 total)
        • You must be logged in to reply to this topic.

        Comments are closed.