Jjuuko ebikonde by’Ebika bimuyinze
Bukedde Monday, 20 April 2009
EBIKONDE by’Ebika ebyabadde eby’okuggyibwako akawuuwo eggulo byongezeddwaayo olw’embeera y’obudde.
Ssentebe w’akakiiko akaddukanya empaka zino Justin Jjuuko yagambye nti bongezzaayo empaka zino kubanga tebalina we babizannyira. Baali bafunye ku Centenary Park naye embeera y’obudde tebasobozesa kuzannyirawo kubanga buli kiseera enkuba ejja kuba ebatawaanya.
Yagambye nti batuukiridde Ssaabawandiisi wa NCS, Jasper Aligaweesa abakkirize bazannyire e Lugogo nga tebannamenyawo kizimbe ekyo naye yeeremye.
Jjuuko yagambye empaka zino zijja kuzannyibwa nga 23 May ku Centenary Park. Yakubirizza abakulira ttiimu z’Ebika okugenda mu maaso n’okutendeka abazannyi baabwe.
Empaka zino zisuubirwa okuwemmenta obukadde musanvu.